Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 50

Yakuwa Akuwa Eddembe

Yakuwa Akuwa Eddembe

“Munaalangiriranga eddembe mu nsi eri abantu bonna abagibeeramu.”​—LEEV. 25:10.

OLUYIMBA 22 Obwakabaka Bwassibwawo​​—Ka Bujje!

OMULAMWA *

1-2. (a) Jjubiri kye ki? (Laba akasanduuko “ Jjubiri Kyali Ki?”) (b) Nga bwe kiragibwa mu Lukka 4:16-18, kiki Yesu kye yayogerako?

MU NSI ezimu kabaka bw’aweza emyaka 50 ng’afuga wabaawo emikolo egitegekebwa, era omwaka ogwa 50 gutera okuyitibwa jjubiri. Ebikujjuko ebibaawo mu mwaka gwa jjubiri biyinza okumala olunaku lumu, wiiki emu, oba n’okusingawo, naye bimala ne biggwa era essanyu eribaawo ne lyerabirwa.

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba Jjubiri esingawo obulungi, esinga n’embaga eyakwatibwanga okumala omwaka mulamba mu Isirayiri ey’edda mu mwaka ogwa 50. Abantu abaakwatanga Jjubiri eyo baafunanga eddembe. Lwaki tusaanidde okumanya ebikwata ku Jjubiri eyo? Kubanga Jjubiri eyo etujjukiza enteekateeka ey’okufuna eddembe ery’olubeerera Yakuwa gy’atukoledde era ng’enteekateeka eyo tusobola n’okuganyulwamu kati. Yesu yayogera ku ddembe eryo.​—Soma Lukka 4:16-18.

Ekiseera kya Jjubiri mu Isirayiri kyabanga kya ssanyu, ng’abo abaabanga mu buddu bakomyewo eri abantu baabwe ne ku butaka bwabwe (Laba akatundu 3) *

3. Nga bwe kiragibwa mu Eby’Abaleevi 25:8-12, Abayisirayiri baaganyulwa batya mu Jjubiri?

3 Okusobola okutegeera obulungi Yesu kye yali ategeeza bwe yayogera ku “kuteebwa,” ka tusooke twekenneenye ebikwata ku Jjubiri Yakuwa gye yateerawo abantu be ab’edda. Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti: “Munaatukuzanga omwaka ogw’ataano era munaalangiriranga eddembe mu nsi eri abantu bonna abagibeeramu. Omwaka ogwo gunaabanga Jjubiri gye muli, era buli omu anaddangayo ku ttaka ly’obusika bwe ne mu bantu be.” (Soma Eby’Abaleevi 25:8-12.) Mu kitundu ekyayita twalaba engeri Abayisirayiri gye baaganyulwanga mu Ssabbiiti eyakwatibwanga buli wiiki. Naye Abayisirayiri baaganyulwa batya mu Jjubiri? Singa Omuyisirayiri yabanga n’ebbanja eddene ne kimuviirako okutunda ettaka lye asobole okusasula ebbanja eryo, mu mwaka gwa Jjubiri ettaka lye lyalinanga okumuddizibwa. N’olwekyo omuntu oyo yalinga asobola ‘okuddayo ku ttaka lye,’ mu ngeri eyo n’atafiirwa ttaka lya busika bwe, era kyandisobozesezza n’abaana be okulisikira. Ate mu mbeera endala omuntu eyabanga mu buzibu obw’amaanyi yabanga asobola okutunda omu ku baana be oba ye kennyini okwetunda mu buddu asobole okusasula ebbanja. Mu mwaka gwa Jjubiri omuntu eyabanga mu buddu yalinanga okuddayo “mu bantu be.” N’olwekyo mu Isirayiri tewaali muntu yali asobola kuba muddu wa nkalakkalira, nga talina ssuubi lya kuteebwa! Mazima ddala Yakuwa yafangayo nnyo ku bantu be!

4-5. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ebikwata ku Jjubiri eyabangawo mu biseera eby’edda?

4 Ngeri ki endala Abayisirayiri gye baaganyulwanga mu Jjubiri? Yakuwa yagamba nti: “Tewali n’omu mu mmwe ajja kwavuwala, kubanga Yakuwa ajja kukuwa emikisa mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa ng’obusika.” (Ma. 15:4) Ekyo nga kyawukana nnyo ku ekyo ekiriwo mu nsi leero ng’abagagga beeyongera kugaggawala ate ng’abaavu beeyongera kwavuwala!

5 Abakristaayo tetuli wansi w’Amateeka ga Musa. Ekyo kitegeeza nti tetukyagoberera tteeka lya Jjubiri eryali likwata ku kuta abaddu, ku kusonyiwa amabanja, ne ku kuddiza abantu ettaka lyabwe ery’obusika. (Bar. 7:4; 10:4; Bef. 2:15) Wadde kiri kityo, kikulu okwekenneenya ebikwata ku Jjubiri eyo. Lwaki? Kubanga tusobola okufuna eddembe eritujjukiza enteekateeka Yakuwa gye yakolera Abayisirayiri.

YESU YALANGIRIRA OKUTEEBWA

6. Abantu beetaaga kusumululwa mu ki?

6 Ffenna twetaaga okusumululwa kubanga tuli mu buddu bw’ekibi. Olw’okuba tuli boonoonyi, tukaddiwa, tulwala era tufa. Bangi balaba obutuufu bw’ekyo buli lwe beetunuulira mu ndabirwamu oba buli lwe bagenda okulaba omusawo. Ate era kitumalamu amaanyi bwe tukola ekibi. Omutume Pawulo yagamba nti yali ‘muddu wa tteeka ly’ekibi eryali mu mubiri’ gwe. Era yagamba nti: “Nze nga ndi muntu munaku! Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa?”​—Bar. 7:23, 24.

7. Kiki Isaaya kye yayogera ku kuteebwa oba ku kusumululwa?

7 Eky’essanyu kiri nti Katonda yatukolera enteekateeka tusobole okusumululwa mu kibi. Yesu y’atusobozesa okusumululwa. Emyaka egisukka mu 700 nga Yesu tannajja ku nsi, nnabbi Isaaya yayogera ku kusumululwa okwandibaddewo mu biseera eby’omu maaso okwandibadde kusingira ewala okwo okwabangawo mu mwaka gw’Abayisirayiri ogwa Jjubiri. Yagamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa Mukama Afuga Byonna gundiko, kubanga Yakuwa yanfukako amafuta okubuulira abawombeefu amawulire amalungi. Yantuma okusiba ebiwundu by’abo abalina emitima egimenyese, okulangirira nti abawambe bajja kuteebwa.” (Is. 61:1) Obunnabbi obwo bukwata ku ani?

8. Obunnabbi bwa Isaaya obwogera ku kuteebwa bukwata ku ani?

8 Obunnabbi obwo obukwata ku kuteebwa bwatandika okutuukirizibwa Yesu bwe yatandika obuweereza bwe obw’oku nsi. Yesu bwe yagenda mu kabuga k’ewaabwe ak’e Nazaaleesi, yasomera Abayudaaya abaaliwo ebigambo bya Isaaya ebyo. Yesu yalaga nti ebigambo bino byali bikwata ku ye: “Omwoyo gwa Yakuwa gundiko, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi; yantuma okulangirira nti abawambe bajja kuteebwa era nti n’abazibe b’amaaso bajja kulaba, okusumulula abo abanyigirizibwa, okubuulira omwaka gwa Yakuwa ogw’okukkiririzibwamu.” (Luk. 4:16-19) Yesu yatuukiriza atya obunnabbi obwo?

ABAASOOKA OKUTEEBWA

Yesu mu kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi ng’alangirira okuteebwa (Laba akatundu 8-9)

9. Bangi mu kiseera kya Yesu baali basuubira kuteebwa kwa ngeri ki?

9 Eddembe Isaaya lye yalagulako era Yesu lye yasomako, abantu baatandika okulifuna mu kyasa ekyasooka. Ekyo bwe kityo bwe kiri kubanga Yesu yagamba nti: “Olwa leero ekyawandiikibwa kino kye muwulidde kituukiridde.” (Luk. 4:21) Bangi ku abo abaali bawuliriza Yesu ng’asoma ebigambo ebyo oboolyawo baali basuubira nkyukakyuka mu by’obufuzi, bave wansi w’obufuzi bwa Rooma. Bayinza okuba nga baali bawulira ng’abasajja ababiri abaagamba nti: “Twali tusuubira nti omusajja oyo ye yali agenda okununula Isirayiri.” (Luk. 24:13, 21) Naye nga bwe tukimanyi, Yesu teyakubiriza bagoberezi be kujeemera bufuzi bwa Rooma. Mu kifo ky’ekyo, yabakubiriza okuwa ‘Kayisaali ebya Kayisaali.’ (Mat. 22:21) Kati olwo Yesu yaleeta atya eddembe mu kiseera ekyo?

10. Yesu yasumulula abantu kuva mu ki?

10 Omwana wa Katonda yayamba abantu okuteebwa, oba okufuna eddembe, mu ngeri bbiri. Esooka, Yesu yayamba abantu okusumululwa mu njigiriza z’abakulembeze b’eddiini ezaali zinyigiriza. Abayudaaya bangi mu kiseera ekyo baali mu buddu bw’obulombolombo n’enjigiriza enkyamu. (Mat. 5:31-37; 15:1-11) Abo abaali beetwala okuba nti baali babawa obulagirizi mu by’omwoyo baali bazibe b’amaaso. Bwe baagaana Masiya n’amazima ge yayigiriza baasigala bali mu kizikiza ne mu kibi. (Yok. 9:1, 14-16, 35-41) Olw’okuba Yesu yayigiriza amazima era n’assaawo ekyokulabirako ekirungi, yalaga abantu abawombeefu engeri gye baali bayinza okusumululwa okuva mu njigiriza ez’obulimba.​—Mak. 1:22; 2:23–3:5.

11. Ngeri ki endala Yesu gye yasumululamu abantu?

11 Engeri ey’okubiri Yesu gye yasobozesaamu abantu okufuna eddembe ekwata ku kusumulula abantu mu buddu bw’ekibi kye baasikira. Olw’okuba Yesu yawaayo obulamu bwe ng’ekinunulo, Katonda yali asobola okusonyiwa ebibi by’abo abakkiririza mu kinunulo era abooleka okukkiriza okwo mu bye bakola. (Beb. 10:12-18) Yesu yagamba nti: “Singa Omwana abafuula ba ddembe, mujja kubeerera ddala ba ddembe.” (Yok. 8:36) Tewali kubuusabuusa nti eddembe eryo lyali lisingira wala eddembe Omuyisirayiri lye yafunanga mu mwaka gwa Jjubiri! Ng’ekyokulabirako, omuntu eyateebwanga mu mwaka gwa Jjubiri yalinga asobola okuddamu okuba omuddu, era yamalanga n’afa.

12. Baani abaasooka okuganyulwa mu ddembe Yesu lye yayogerako?

12 Ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., Yakuwa yafuka omwoyo omutukuvu ku batume ne ku basajja n’abakazi abalala abeesigwa. Yabafuula baana be era ekiseera kyandituuse ne bazuukizibwa ne bagenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu. (Bar. 8:2, 15-17) Abo be baasooka okuganyulwa mu ddembe Yesu lye yayogerako bwe yali mu kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi. Abasajja n’abakazi abo baali tebakyali mu buddu bw’enjigiriza ez’obulimba ez’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya n’obulombolombo bwabwe obutaali bwa mu Byawandiikibwa. Ate era Katonda yali abatwala ng’abaali basumuluddwa mu kibi. Jjubiri ey’akabonero eyatandikira ku kufuka omwoyo omutukuvu ku bagoberezi ba Kristo mu mwaka gwa 33 E.E., ejja kukoma ku nkomerero y’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi. Bintu ki ebirungi ebinaaba bimaze okukolebwa?

ABANTU ABALALA BUKADDE NA BUKADDE BAFUNA EDDEMBE

13-14. Ng’oggyeeko abaafukibwako amafuta, baani abalala abafuna eddembe Yesu lye yayogerako?

13 Mu kiseera kyaffe, abantu ba Katonda okuva mu mawanga gonna abasinga obungi ba ‘ndiga ndala.’ (Yok. 10:16) Katonda teyabayita kugenda kufugira wamu ne Yesu mu ggulu. Mu kifo ky’ekyo, balina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Eryo lye ssuubi naawe ly’olina?

14 Ne mu kiseera kino naawe oganyulwa mu bimu ku bintu ebirungi abo abalina essuubi ery’okufugira awamu ne Yesu bye balina. Olw’okuba okkiririza mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa, osobola okusaba okusonyiyibwa ebibi. Ekyo kikusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda n’okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. (Bef. 1:7; Kub. 7:14, 15) Ate era lowooza ku ngeri gy’oganyuddwa mu kuba nti wasumululwa mu njigiriza ez’obulimba! Yesu yagamba nti: “Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” (Yok. 8:32) Mazima ddala tuli basanyufu nnyo okuba n’eddembe eryo!

15. Ddembe ki na mikisa ki bye tusuubira mu biseera eby’omu maaso?

15 Waliwo eddembe erisingawo erijja. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu agenda kusaanyaawo amadiini ag’obulimba n’obufuzi bw’abantu. Katonda ajja kukuuma ‘ab’ekibiina ekinene’ abamuweereza, era oluvannyuma ajja kubakkiriza okubeera mu nsi eneeba efuuse olusuku lwe. (Kub. 7:9, 14) Abantu bangi nnyo bajja kuzuukira era bajja kufuna akakisa ak’okusumululwa mu bintu ebibi ebyaleetebwa ekibi kya Adamu.​—Bik. 24:15.

16. Ddembe ki ery’ekitalo abantu lye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso?

16 Mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, Yesu n’abo b’anaafuga nabo bajja kusobozesa abantu okufuuka abatuukiridde n’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Ekiseera ekyo eky’okusumululwa n’okuzzibwawo kijja kuba nga Jjubiri eyali mu Isirayiri. Aba bonna abanaaba ku nsi nga baweereza Yakuwa n’obwesigwa bajja kufuuka abatuukiridde, nga tebalina kibi.

Mu nsi empya, tujja kukolanga emirimu egy’omugaso era egimatiza (Laba ekitundu eky’okusoma 50, akatundu 17)

17. Isaaya 65:21-23 walaga nti abantu ba Katonda banaaba mu mbeera ki? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

17 Isaaya 65:21-23 (Soma.) walaga obulamu bwe bunaabeera ku nsi. Mu bulamu obwo tetujja kubeera awo bubeezi nga tetulina bye tukola. Bayibuli eraga nti abantu bajja kukola emirimu egy’omugaso era egimatiza. Ku nkomerero y’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi, ebitonde “bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.”​—Bar. 8:21.

18. Lwaki tuli bakakafu nti tujja kuba n’ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu?

18 Nga Yakuwa bwe yakakasa nti Abayisirayiri baba n’ekiseera eky’okukola n’ekiseera eky’okuwummula, era bw’atyo bw’ajja okukolera abantu be mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Tewali kubuusabuusa nti wajja kubangawo n’ekiseera eky’okusinza Katonda. Okusinza Katonda kituleetera okuba abasanyufu era bwe kityo bwe kijja okuba ne mu nsi empya. Abantu bonna abeesigwa bajja kuba basanyufu mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi kubanga bonna bajja kuba n’emirimu egimatiza era bonna bajja kuba baweereza Katonda.

OLUYIMBA 142 Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe

^ lup. 5 Yakuwa yakola enteekateeka abantu mu Isirayiri ey’edda okuweebwa eddembe. Enteekateeka eyo yali eyitibwa Jjubiri. Abakristaayo tetuli wansi w’Amateeka ga Musa, naye tulina kye tuyigira ku Jjubiri. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Jjubiri eyabangawo mu Isirayiri gy’etujjukiza enteekateeka Yakuwa gy’atukoledde n’engeri gye tuyinza okugiganyulwamu.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Mu mwaka gwa Jjubiri, abantu abaabanga mu buddu baateebwanga ne baddayo eri abantu baabwe ne ku butaka bwabwe.