Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 51

Yakuwa Omumanyi Kyenkana Wa?

Yakuwa Omumanyi Kyenkana Wa?

“Abo abamanyi erinnya lyo banaakwesiganga; abo abakunoonya tolibaabulira, Ai Yakuwa.”​—ZAB. 9:10.

OLUYIMBA 56 Nyweza Amazima

OMULAMWA *

1-2. Kiki kye tuyigira ku Angelito?

BAZADDE bo baweereza Yakuwa? Bwe kiba kityo, kijjukire nti okuba nti bazadde bo balina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa tekitegeeza nti naawe ogirina. Ka kibe nti bazadde baffe baweereza Katonda oba nedda, buli omu ku ffe alina okufuna enkolagana eyiye ku bubwe ne Yakuwa.

2 Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Angelito. Bazadde be bombi baali Bajulirwa ba Yakuwa. Naye bwe yali akyali muto, yali tawulira nti alina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Agamba nti, “Nnali mpeereza Yakuwa olw’okuba bazadde bange nabo baali bamuweereza.” Naye Angelito yasalawo okuwangayo obudde obuwerako okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako era yatandika n’okusabanga emirundi egiwerako. Biki ebyavaamu? Angelito agamba nti, “Nnakizuula nti engeri yokka ey’okufunamu enkolagana ey’oku lusegere ne Kitange Yakuwa kwe kumumanya.” Ekyokulabirako kya Angelito kireetawo ebibuuzo bino: Njawulo ki eriwo wakati w’okubaako kye tumanyi ku Yakuwa n’okumumanya obulungi? Era biki bye tuyinza okukola okusobola okumanya Yakuwa obulungi?

3. Njawulo ki eriwo wakati w’okubaako kye tumanyi ku Yakuwa n’okumumanya obulungi?

3 Tuyinza okugamba nti omuntu alina ky’amanyi ku Yakuwa singa aba amanyi erinnya lya Katonda n’ebimu ku bintu Katonda bye yayogera oba bye yakola. Naye okumanya obulungi Yakuwa kisingawo ku ekyo. Tulina okuwaayo ebiseera okuyiga ebikwata ku Yakuwa ne ku ngeri ze. Ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki yayogera ekintu ekimu oba yakola ekintu ekimu. Mu ngeri eyo tusobola okumanya obanga endowooza yaffe, ebyo bye tusalawo, n’ebyo bye tukola bisiimibwa mu maaso ge. Bwe tumanya ebyo Yakuwa by’ayagala tukole, tusaanidde okubikola.

4. Okwekenneenya ebyokulabirako by’abantu abamu aboogerwako mu Bayibuli kinaatuyamba kitya?

4 Abantu bamu bayinza okutusekerera bwe tukiraga nti twagala okuweereza Yakuwa, era bwe tutandika okukuŋŋaana awamu n’abantu ba Yakuwa bayinza okutuyigganya. Naye bwe twesiga Yakuwa, tasobola kutwabulira. Tujja kuba tutandise okukola omukwano ne Katonda gwe tujja okuba nagwo obulamu bwaffe bwonna. Naye ddala tusobola okumanya obulungi Yakuwa? Yee! Ekyokulabirako abasajja nga Musa ne Kabaka Dawudi kye bassaawo, wadde nga baali tebatuukiridde, kiraga nti kisoboka. Nga tulaba ebibakwatako, tujja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino bibiri: Baatuuka batya okumanya Yakuwa? Biki bye tubayigirako?

MUSA YALABA “OYO ATALABIKA”

5. Kiki Musa kye yalondawo?

5 Musa yakolera ku bye yayiga. Musa bwe yaweza emyaka nga 40, yasalawo okubeera awamu n’abantu ba Katonda, Abayisirayiri, mu kifo ky’okumanyibwa nga “mutabani wa muwala wa Falaawo.” (Beb. 11:24) Musa yeerekereza ekifo ekya waggulu. Mu kubeera awamu n’Abayisirayiri abaali mu buddu mu Misiri, yessa mu kabi ak’okwolekezebwa obusungu bwa Falaawo, omufuzi eyali ow’amaanyi era eyali atwalibwa nga katonda. Mazima ddala Musa yayoleka okukkiriza okw’amaanyi! Yeesiga Yakuwa. Okuba nti Musa yali yeesiga nnyo Yakuwa kyamusobozesa okufuna omukwano ogw’oku lusegere ne Yakuwa, omukwano gwe yaba nagwo obulamu bwe bwonna.​—Nge. 3:5.

6. Kiki kye tuyigira ku Musa?

6 Ekyo kituyigiriza ki? Okufaananako Musa, buli omu ku ffe alina okusalawo: Tunaasalawo okuweereza Katonda n’okubeera awamu n’abantu be? Kiyinza okutwetaagisa okubaako bye twefiiriza okusobola okuweereza Katonda, era tuyinza okuyigganyizibwa abo abatamanyi Yakuwa. Naye bwe twesiga Kitaffe ow’omu ggulu, ajja kutuyamba!

7-8. Biki Musa bye yeeyongera okuyiga?

7 Musa yeeyongera okuyiga ku ngeri za Yakuwa n’okukola Yakuwa by’ayagala. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yagamba Musa okukulemberamu eggwanga lya Isirayiri okuva mu buddu, Musa yali yeetya era emirundi egiwerako yagamba Yakuwa nti yali talina busobozi. Yakuwa yasaasira Musa era n’amuyamba. (Kuv. 4:10-16) N’ekyavaamu, Musa yasobola okulangirira eri Falaawo emisango egy’amaanyi Yakuwa gye yali asaze. Musa yalaba engeri Yakuwa gye yakozesaamu amaanyi ge okununula Abayisirayiri naye n’azikiriza Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu.​—Kuv. 14:26-31; Zab. 136:15.

8 Musa bwe yamala okuggya Abayisirayiri mu Misiri, enfunda n’enfunda beemulugunya ku bintu ebitali bimu. Ne mu mbeera eyo, Musa yalaba engeri Yakuwa gye yalagamu obugumiikiriza obw’ekitalo ng’akolagana n’abantu abo be yali aggye mu buddu. (Zab. 78:40-43) Ate era Musa yalaba obwetoowaze obw’ekitalo Yakuwa bwe yalaga, Musa bwe yamusaba okukyusa mu ekyo kye yali agenda okukola era n’akyusaamu.​—Kuv. 32:9-14.

9. Okusinziira ku Abebbulaniya 11:27, enkolagana Musa gye yalina ne Yakuwa yali nnywevu kwenkana wa?

9 Oluvannyuma lwa Yakuwa okuggya Abayisirayiri e Misiri, enkolagana ya Musa ne Yakuwa yafuuka ya ku lusegere nnyo ne kiba nti Musa yali ng’alaba Kitaawe ow’omu ggulu. (Soma Abebbulaniya 11:27.) Ng’eyogera ku nkolagana ey’oku lusegere Musa gye yalina ne Yakuwa, Bayibuli egamba nti: “Yakuwa yayogeranga ne Musa maaso ku maaso ng’omuntu bw’ayogera n’omuntu omulala.”​—Kuv. 33:11.

10. Okusobola okumanya Yakuwa obulungi, kiki kye tulina okukola?

10 Ekyo kituyigiriza ki? Okusobola okumanya Yakuwa obulungi tetulina kuyiga buyizi bikwata ku ngeri ze, naye era tulina okukola by’ayagala. Leero, Yakuwa ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:3, 4) Engeri emu gye tukolamu Katonda by’ayagala kwe kuyigiriza abalala ebimukwatako.

11. Okuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa, kituyamba kitya okweyongera okumumanya?

11 Emirundi mingi, okuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa kituyamba okweyongera okumumanya obulungi. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bw’atusobozesa okuzuula abantu ab’emitima emirungi tulaba obusaasizi bwe. (Yok. 6:44; Bik. 13:48) Ekigambo kya Katonda bwe kireetera abantu be tuyigiriza okulekayo emize emibi ne bambala omuntu omuggya, tulaba amaanyi gaakyo. (Bak. 3:9, 10) Ate era okuba nti abantu bangi mu kitundu mwe tubuulira Katonda abawadde akakisa okumanya ebimukwatako, kituyamba okulaba obugumiikiriza bwe.​Bar. 10:13-15.

12. Nga bwe kiragibwa mu Okuva 33:13, kiki Musa kye yasaba, era lwaki?

12 Enkolagana Musa gye yalina ne Yakuwa yagitwala nga ya muwendo nnyo. N’oluvannyuma lwa Yakuwa okumukozesa ebyamagero bingi, Musa yasaba Yakuwa amusobozese okweyongera okumumanya. (Soma Okuva 33:13.) Mu kiseera Musa we yasabira Yakuwa ekyo, yali asussa emyaka 80, naye era yali akimanyi nti yalina bingi bye yali akyalina okuyiga ku Kitaawe ow’omu ggulu.

13. Engeri emu gye tulagamu nti enkolagana yaffe ne Katonda tugitwala nga ya muwendo y’eruwa?

13 Ekyo kituyigiriza ki? Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, bulijjo tusaanidde okutwala enkolagana gye tulina naye nga ya muwendo. Engeri emu ekyo gye tukiragamu kwe kwogeranga naye okuyitira mu kusaba.

14. Lwaki okusaba kye kimu ku bintu ebikulu ebituyamba okweyongera okumanya Katonda?

14 Okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu, olina okuba ng’oyogeranga naye. N’olwekyo, weeyongere okusemberera Katonda ng’osaba obutayosa, era totya kumweyabiza. (Bef. 6:18) Krista, abeera mu Butuluuki agamba nti: “Buli lwe ntegeeza Yakuwa ebindi ku mutima era ne ndaba engeri gy’annyambamu, okwagala kwe nnina gy’ali kweyongera era nneeyongera okumwesiga. Okulaba engeri Yakuwa gy’addamu okusaba kwange kindeetedde okutwala Yakuwa nga Kitange era Mukwano gwange.”

OMUSAJJA ASANYUSA OMUTIMA GWA YAKUWA

15. Yakuwa yayogera atya ku Dawudi?

15 Kabaka Dawudi yazaalibwa mu ggwanga eryali lyewaayo eri Yakuwa. Naye okuba nti ab’omu maka mwe yazaalibwa baali basinza Yakuwa si kye kyaleetera Dawudi okusinza Yakuwa. Dawudi yafuna enkolagana eyiye ku bubwe ne Yakuwa era Yakuwa yamwagala nnyo. Yakuwa yagamba nti Dawudi yali ‘asanyusa omutima gwe.’ (Bik. 13:22) Kiki ekyasobozesa Dawudi okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

16. Okwetegereza ebitonde, kyayigiriza ki Dawudi ku Yakuwa?

16 Dawudi yayiga ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu bitonde. Dawudi bwe yali akyali muto, yamalanga ebiseera bingi ku ttale ng’alunda endiga za taata we. Oboolyawo eyo gye yatandikira okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda. Ng’ekyokulabirako, Dawudi bwe yatunulanga ku ggulu ekiro yalabanga nnamungi w’emmunyeenye era n’abaako by’ayiga. Emmunyeenye ezo zaamuyamba okulaba engeri z’oyo eyazikola. Dawudi yawandiika nti: “Eggulu lirangirira ekitiibwa kya Katonda; ebbanga limanyisa emirimu gy’emikono gye.” (Zab. 19:1, 2) Dawudi bwe yafumiitiriza ku ngeri abantu gye baatondebwamu, yakiraba nti Yakuwa alina amagezi mangi nnyo. (Zab. 139:14) Dawudi bwe yafumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda, yakiraba nti wa wansi nnyo ku Mutonzi.​—Zab. 139:6.

17. Biki bye tuyiga bwe tufumiitiriza ku butonde?

17 Ekyo kituyigiriza ki? Yagala obutonde. Tobeera bubeezi mu nsi eno erabika obulungi Yakuwa gye yatonda; weetegereze ebigirimu! Buli lunaku fumiitiriza ku bintu ebikwetoolodde, gamba ng’ebimera, ensolo, n’abantu, olabe kye bikuyigiriza ku Yakuwa. Bw’okola bw’otyo, buli lunaku ojja kubaako ky’oyiga ku Kitaawo ow’omu ggulu. (Bar. 1:20) Era buli lunaku okwagala kw’olina gy’ali kujja kweyongera.

18. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 18, kiki Dawudi kye yamanya?

18 Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa yali amuyamba. Ng’ekyokulabirako, Dawudi bwe yawonya endiga za kitaawe obutaliibwa mpologoma na ddubu, yakiraba nti Yakuwa ye yamuyamba okulwanyisa ensolo ezo ez’amaanyi. Dawudi bwe yawangula Goliyaasi eyali omulwanyi omuwagguufu, yakiraba nti Yakuwa ye yamuyamba. (1 Sam. 17:37) Ate era bwe yawona okuttibwa Kabaka Sawulo eyali amukwatirwa obuggya, Dawudi yakiraba nti Yakuwa ye yamuwonya. (Zab. 18, obugambo obuli waggulu) Singa Dawudi yali wa malala, yandibadde akitwala nti ebyo yabikola mu maanyi ge. Naye olw’okuba Dawudi yali mwetoowaze, yakiraba nti Yakuwa ye yalinga amuyamba.​—Zab. 138:6.

19. Kiki kye tuyigira ku Dawudi?

19 Ekyo kituyigiriza ki? Ng’oggyeeko okusaba Yakuwa atuyambe, tulina okufuba okumanya ddi na ngeri ki gy’atuyambamu. Bwe tuba abeetoowaze, tukiraba nti tetusobola kukola buli kimu mu maanyi gaffe era nti Yakuwa atuyamba okukola ebintu bye tutasobola kukola mu maanyi gaffe. Buli lwe tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu, enkolagana yaffe naye yeeyongera okunywera. Ekyo Isaac, ow’oluganda abeera mu Fiji era aweerezza Yakuwa okumala emyaka mingi yakiraba. Agamba nti: “Bwe ndowooza gye nvudde, nkiraba nti Yakuwa azze ennyamba okuviira ddala lwe nnatandika okuyiga Bayibuli. Mazima ddala Yakuwa wa ddala gye ndi.”

20. Kiki kye tuyigira ku nkolagana Dawudi gye yalina ne Yakuwa?

20 Dawudi yakoppa engeri za Yakuwa. Yakuwa yatutonda nga tusobola okwoleka engeri ze. (Lub. 1:26) Gye tukoma okuyiga ku ngeri za Yakuwa, gye kikoma okutwanguyira okumukoppa. Dawudi yamanya bulungi Kitaawe ow’omu ggulu n’asobola okumukoppa ng’akolagana n’abalala. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yakola ekibi mu maaso ga Yakuwa bwe yayenda ku Basuseba era n’akola olukwe bbaawe n’attibwa. (2 Sam. 11:1-4, 15) Naye Yakuwa yalaga Dawudi ekisa olw’okuba Dawudi naye yali alaze abalala ekisa. Olw’okuba Dawudi yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, y’omu ku bakabaka ba Isirayiri abaasinga okwagalibwa era Yakuwa yamukozesa ng’ekyokulabirako eri bakabaka ba Isirayiri abalala.​—1 Bassek. 15:11; 2 Bassek. 14:1-3.

21. Okusinziira ku Abeefeso 4:24 ne 5:1, kiki ekivaamu bwe ‘tukoppa Katonda’?

21 Ekyo kituyigiriza ki? Tusaanidde ‘okukoppa Katonda.’ Bwe tukola tutyo, kituganyula era kituyamba okwongera okumumanya. Bwe tufuba okwoleka engeri za Katonda tuba tukiraga nti tuli baana be.​—Soma Abeefeso 4:24; 5:1.

FUBA OKWEYONGERA OKUMANYA YAKUWA

22-23. Kiki ekiva mu kukolera ku ebyo bye tuyiga ku Yakuwa?

22 Nga bwe tulabye, Yakuwa atuyamba okumumanya okuyitira mu bitonde ne mu Kigambo kye, Bayibuli. Bayibuli erimu ebyokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa, gamba nga Musa ne Dawudi, be tuyinza okukoppa. Yakuwa ogugwe agukoze. Kiri eri ffe okukola ogwaffe nga tufuba okuyiga ebintu bingi nga bwe kisoboka ebikwata ku Yakuwa.

23 Tetulikoma kuyiga bikwata ku Yakuwa. (Mub. 3:11) Ekikulu si bye bintu byenkana wa bye tumanyi ku Yakuwa wabula ye ngeri gye tukozesaamu ebyo bye tumumanyiiko. Bwe tukolera ku ebyo bye tuyiga era ne tufuba okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu, ajja kweyongera okutusemberera. (Yak. 4:8) Okuyitira mu Kigambo kye, atukakasa nti tasobola kwabulira abo abamunoonya.

OLUYIMBA 80 “Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”

^ lup. 5 Abantu bangi bakkiriza nti Katonda gy’ali, naye tebamumanyi. Kitegeeza ki okumanya Yakuwa, era kiki kye tuyigira ku Musa ne Kabaka Dawudi ku ngeri gye tuyinza okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? Ekitundu kino kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.