Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 38

Abato—Bulamu bwa Ngeri Ki Bwe Mwagala?

Abato—Bulamu bwa Ngeri Ki Bwe Mwagala?

Okutegeera kunaakukuumanga.’​—NGE. 2:11.

OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

OMULAMWA a

1. Kusoomooza ki Yekowaasi, Uzziya, ne Yosiya kwe baayolekagana nakwo?

 WANDIWULIDDE otya singa olondebwa obufuga abantu ba Katonda ng’okyali muto nnyo oba nga wa kavubuka? Wandikozesezza otya obuyinza bwo? Mu Bayibuli tusoma ku baana abawerako abaafuuka bakabaka ba Yuda. Ng’ekyokulabirako, Yekowaasi yatandika okufuga nga kabaka ng’alina emyaka 7 gyokka, Uzziya yalina 16, ate Yosiya yali 8. Obuvunaanyizibwa obwo tebwali bwangu eri abaana abo! Kyokka, Yakuwa awamu n’abalala, baabayamba ne basobola okukola ebintu ebirungi bingi.

2. Lwaki kirungi okwekenneenya ebikwata ku Yekowaasi, ku Uzziya, ne ku Yosiya?

2 Ffe tetulina buvunaanyizibwa bwa kufuga nga bakabaka, naye waaliwo bingi bye tusobola okuyigira ku Yekowaasi, ku Uzziya, ne ku Yosiya. Baakola ebintu ebirungi bingi, naye era balina n’ensobi ez’amaanyi ze baakola. Ebyo bye tubasomako bituyamba okukiraba nti kikulu okulonda emikwano emirungi, okusigala nga tuli beetoowaze, n’okunoonyanga obulagirizi bwa Yakuwa.

LONDA EMIKWANO EMIRUNGI

Leero tusobola okukoppa Yekowaasi nga tuwuliriza amagezi agatuweebwa emikwano emirungi (Laba akatundu 3, 7) c

3. Yekoyaada, kabona asinga obukulu, yayamba atya Yekowaasi okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

3 Yigira ku ngeri ey’amagezi Yekowaasi gye yasalangawo. Kabaka Yekowaasi bwe yali akyali muto yasalangawo mu ngeri ey’amagezi. Olw’okuba teyalina kitaawe, yakoleranga ku bulagirizi obwamuweebwanga Yekoyaada kabona asinga obukulu eyali omwesigwa. Kabona oyo yabuulirira Yekowaasi ng’abuulirira mutabani we gw’azaala. N’ekyavaamu, Yekowaasi yasalawo okuweereza Yakuwa n’okuyamba abantu okukola kye kimu. Yekowaasi yakola n’enteekateeka ey’okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa.​—2 Byom. 24:​1, 2, 4, 13, 14.

4. Tuganyulwa tutya bwe twagala amateeka ga Yakuwa era ne tugagondera? (Engero 2:​1, 10-12)

4 Bwe kiba nti bazadde bo oba omuntu omulala akuyigiriza okwagala Yakuwa n’okutambulira ku mitindo gye, ekyo kirabo kya muwendo ekikuweebwa. (Soma Engero 2:​1, 10-12.) Abazadde basobola okutendeka abaana baabwe mu ngeri nnyingi. Weetegereze engeri taata wa mwannyinaffe ayitibwa Katya gye yamuyamba okusalawo obulungi. Buli lunaku taata we bwe yabanga amutwala ku ssomero, yakubaganyanga naye ebirowoozo ku kyawandiikibwa ky’olunaku. Katya agamba nti: “Ebyo bye twakubaganyangako ebirowoozo byannyambanga okukola ekituufu nga njolekaganye n’embeera enzibu.” Watya singa obulagirizi obuva mu Bayibuli bazadde bo bwe bakuwa bulabika ng’obukukugira ennyo? Kiki ekiyinza okukuyamba okubukkiriza? Mwannyinaffe ayitibwa Anastasia agamba nti bazadde be baafubanga okumunnyonnyola ensonga lwaki baamuteerangawo amateeka agamu. Agamba nti: “Ekyo kyannyamba okukiraba nti amateeka ago tebaagampanga kunkugira, wabula okunkuuma olw’okuba baali banjagala.”

5. Ebyo by’okola bikwata bitya ku bazadde bo ne ku Yakuwa? (Engero 22:6; 23:​15, 24, 25)

5 Bw’okolera ku magezi agakuweebwa ageesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, ojja kusanyusa bazadde bo. N’ekisinga obukulu, ojja kusanyusa Katonda era enkolagana yo naye ejja kweyongera okunywera. (Soma Engero 22:6; 23:​15, 24, 25.) Ekyo tekyandikuleetedde okufuba okukoppa ekyokulabirako Yekowaasi kya yassaawo bwe yali ng’akyali muto?

6. Magezi ga baani Yekowaasi ge yatandika okuwuliriza, era biki ebyavaamu? (2 Ebyomumirembe 24:​17, 18)

6 Yigira ku ngeri embi Yekowaasi gye yasalawo. Oluvannyuma lwa Yekoyaada okufa, Yekowaasi yalonda emikwano emibi. (Soma 2 Ebyomumirembe 24:​17, 18.) Yekowaasi yasalawo okuwuliriza abaami ba Yuda abaali bataagala Yakuwa. Oyinza okuba nga naawe okiraba nti Yekowaasi yali asaanidde okwewala abantu abo. (Nge. 1:10) Kyokka yasalawo okuwuliriza amagezi amabi ge baamuwa. Zekkaliya eyali mutabani wa Yekoyaada bwe yagezaako okumuwabula, Yekowaasi yalagira attibwe. (2 Byom. 24:​20, 21; Mat. 23:35) Ekyo nga kyali kya busiru nnyo! Mu kusooka Yekowaasi yali muntu mulungi, naye eky’ennaku oluvannyuma yafuuka kyewaggula era omutemu. Gye byaggweera, abaweereza be bennyini baamwekobaanira ne bamutta. (2 Byom. 24:​22-25) Singa yeeyongera okuwuliriza Yakuwa awamu n’abo abamwagala, teyandifunye bizibu ng’ebyo! Kiki ky’oyinza okuyigira ku kyokulabirako kya Yekowaasi ekyo ekibi?

7. Baani b’osaanidde okufuula mikwano gyo? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Ekimu ku ebyo bye tuyigira ku kusalawo kwa Yekowaasi okubi kiri nti, kikulu okulonda emikwano egituzimba, kwe kugamba, emikwano egyagala Yakuwa era egyagala okumusanyusa. Tetusaanidde kulonda mikwano mu abo bokka ab’emyaka gyaffe. Kijjukire nti Yekowaasi yali muto nnyo ku mukwano gwe Yekoyaada. Ku bikwata ku mikwano gy’olonda, weebuuze: ‘Bannyamba okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa? Bankubiriza okutambulira ku mitindo gye? Boogera ku Yakuwa n’amazima ag’omuwendo agali mu Kigambo kye? Bassa ekitiibwa mu mitindo gya Yakuwa egy’empisa? Bwe mba mpabye, bampabula, oba baŋŋamba ebyo bye njagala okuwulira?’ (Nge. 27:​5, 6, 17) Ekituufu kiri nti, mikwano gyo bwe giba tegyagala Yakuwa, oba togyetaaga. Naye bw’oba olina emikwano egyagala Yakuwa, ginywerereko, gijja kukuyamba.​—Nge. 13:20.

8. Bwe tuba nga tukozesa emikutu emigattabantu, kiki kye tusaanidde okulowoozaako?

8 Emikutu emigattabantu gitusobozesa okuwuliziganya n’ab’eŋŋanda zaffe awamu ne mikwano gyaffe. Kyokka abantu bangi bagikozesa okwewaanira ku balala nga bagiteekako ebifaananyi oba vidiyo ez’ebintu bye baba bakoze oba bye baba baguze. Bw’oba ng’okozesa emikutu emigattabantu, weebuuze: ‘Ekigendererwa kyange kya kwewaanira ku balala? Ekiruubirirwa kyange kya kuzimba balala oba kwegulumiza? Nkoppa enjogera n’enneeyisa embi ey’abantu abali ku mikutu egyo?’ Ow’Oluganda Nathan Knor, eyali aweerereza ku Kakiiko Akafuzi, yawa okubuulirira kuno: “Togezaako kusanyusa bantu, kubanga ojja kumaliriza tolina n’omu gw’osanyusizza. Naye bw’onoosanyusa Yakuwa, ojja kusanyusa n’abo bonna abamwagala.”

TWETAAGA OKUBEERA ABEETOOWAZE

9. Kiki Yakuwa kye yayamba Uzziya okukola? (2 Ebyomumirembe 26:​1-5)

9 Yigira ku ngeri ennungi Uzziya gye yasalawo. Kabaka Uzziya bwe yali omuto, yali mwetoowaze. Yayiga “okutya Katonda ow’amazima,” era ekiseera ekisinga obunene eky’emyaka 68 gye yawangaala, Yakuwa yamuwa emikisa. (Soma 2 Ebyomumirembe 26:​1-5.) Uzziya yawangula abalabe ba Isirayiri bangi, era n’ayongera okunyweza eby’okwerinda bya Yerusaalemi. (2 Byom. 26:​6-15) Uzziya yali musanyufu nnyo olw’ebyo byonna Katonda bye yali amusobozesezza okukola.​—Mub. 3:​12, 13.

10. Kiki ekyatuuka ku Uzziya?

10 Yigira ku ngeri embi Uzziya gye yasalawo. Kabaka Uzziya yali amanyidde kubuulira balala eky’okukola. Kyandiba nti ekyo kyamuleetera okulowooza nti yali asobola okukola buli kimu kye yali ayagala? Lumu yagenda mu yeekaalu ya Yakuwa n’ayotereza obubaani ku kyoto, ate ng’ekyo bakabaka baali tebakkirizibwa kukikola. (2 Byom. 26:​16-18) Azaliya eyali kabona asinga obukulu yagezaako okumuwabula, naye Uzziya yasunguwala busunguwazi. Kya nnaku nti Uzziya teyasigala nga mwesigwa eri Yakuwa, era Yakuwa yamubonereza n’amulwaza ebigenge. (2 Byom. 26:​19-21) Singa Uzziya yasigala nga mwetoowaze, teyandifunye bizibu ebyo!

Mu kifo ky’okwewaana olw’ebyo bye tuba tukoze, ettendo tusaanidde kuliwa Yakuwa (Laba akatundu 11) d

11. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli beetoowaze? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Uzziya bwe yafuuka ow’amaanyi, yeerabira nti Yakuwa ye yali amusobozesezza okuba ow’amaanyi era nti ye yali amuwadde emikisa. Ekyo tukiyigirako ki? Kikulu okukijjukiranga nti emikisa gye tufuna awamu n’enkizo ze tulina biva eri Yakuwa. Mu kifo ky’okwewaana olw’ebyo bye tuba tutuuseeko, ettendo tusaanidde kuliwa Yakuwa. b (1 Kol. 4:7) Tusaanidde okukimanya nti tetutuukiridde era nti twetaaga okukangavvulwa. Ow’oluganda omu ali mu myaka 60 yagamba nti: “Njize nti abalala bwe bandaga ensobi gye mba nkoze, sisaanidde kunyiiga. Bwe bankangavvula olw’ensobi ze nkola, nfuba okukyusaamu era ne nneeyongera okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi.” Ekituufu kiri nti, bwe tutya Yakuwa era ne tusigala nga tuli beetoowaze, obulamu bwaffe buba bulungi.​—Nge. 22:4.

NOONYANGA YAKUWA

12. Yosiya yanoonya atya Yakuwa ng’akyali muto? (2 Ebyomumirembe 34:​1-3)

12 Yigira ku ngeri ennungi Yosiya gye yasalawo. Yosiya yali akyali mutiini we yatandikira okunoonya Yakuwa. Yali ayagala okukola Yakuwa by’ayagala era n’okuyiga ebimukwatako. Kyokka obulamu tebwali bwangu eri kabaka ono eyali akyali omuto. Mu kiseera kye, abantu bangi baali basinza bakatonda ab’obulimba. N’olwekyo kyali kyetaagisa obuvumu okusobola okukomya okusinza okw’obulimba. Era ekyo kyennyini kye yakola! Yosiya bwe yali tannaweza myaka 20, yatandika okuggyawo okusinza okw’obulimba mu Isirayiri.​—Soma 2 Ebyomumirembe 34:​1-3.

13. Bw’oneewaayo eri Yakuwa kinaakwata kitya ku bulamu bwo?

13 Ne bw’oba ng’okyali muto, osobola okusalawo okukoppa Yosiya, ng’oyiga ebikwata ku Yakuwa ne ku ngeri ze ennungi. Bw’onookola bw’otyo, kijja kukuleetera okwagala okwewaayo eri gy’ali. Okwewaayo okwo kunaakwata kutya ku bulamu bwo? Luke, eyabatizibwa ng’alina emyaka 14 agamba nti, “Okuva kati, okuweereza Yakuwa kye nja okukulembezanga mu bulamu, era nja kufubanga okumusanyusa.” (Mak. 12:30) Singa naawe oba n’ekiruubirirwa ekyo, ojja kufuna emikisa mingi!

14. Waayo ebyokulabirako ebiranga engeri abavubuka abamu gye bakoppamu Kabaka Yosiya.

14 Ng’omuweereza wa Yakuwa akyali omuto, kusoomooza ki kw’oyinza okwolekagana nakwo? Johan, eyabatizibwa nga wa myaka 12, ayogera ku ngeri bayizi banne gye baamupikirizaamu okunywa ssigala ng’akozesa enkola ya vaping. Okusobola okufuna obuvumu n’atatwalirizibwa kupikirizibwa okwo, Johan yalowooza ngeri okunywa sigala gye kyandikosezzaamu obulamu bwe n’engeri gye kyandyonoonye enkolagana ye ne Yakuwa. Rachel, eyabatizibwa ng’alina emyaka 14 ayogera ku ekyo ekyamuyamba okwaŋŋanga okusoomooza kw’ayolekagana nakwo ng’ali ku ssomero. Agamba nti: “Buli mbeera ebaawo nfuba okugikwataganya n’ekintu ekimu eky’eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tusoma ebyafaayo, mbaako ekintu ekyogerwako mu Bayibuli kye nzijukira oba obunnabbi bwe nzijukira. Ate oluusi bwe mba nnyumyako n’abaana be nsoma nabo, ndowooza ku kyawandiikibwa kye nnyinza okubasomera.” Okusoomooza kw’oyolekagana nakwo kuyinza okuba nga kwawukana ku okwo Kabaka Yosiya kwe yayolekagana nakwo, naye osobola okwoleka amagezi era n’oba mwesigwa nga ye. Bw’oyiga engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu ng’okyali muto, kikuteekateeka okwaŋŋanga ebizibu by’ojja okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso.

15. Kiki ekyayamba Yosiya okuweereza Yakuwa n’obwesigwa? (2 Ebyomumirembe 34:​14, 18-21)

15 Kabaka Yosiya bwe yaweza emyaka 26, yatandika omulimu gw’okuddaabiriza yeekaalu. Yeekaalu bwe yali eddaabirizibwa, baazuula “ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa agaaweebwa okuyitira mu Musa.” Yosiya bwe yawulira nga kisomebwa, yakwatibwako nnyo era n’atandikirawo okukolera ku ebyo ebyakirimu. (Soma 2 Ebyomumirembe 34:​14, 18-21.) Wandyagadde okusoma Bayibuli obutayosa? Oboolyawo ogezezzaako okugisoma buli lunaku. Naye onyumirwa by’osoma? Ofuba okukwata ennyiriri ezisobola okukuyamba mu mbeera ezitali zimu? Luke ayogeddwako waggulu, alina akatabo mw’awandiika ebyo ebiba bimukutteko by’azuula nga yeesomesa. Naawe bw’okola bw’otyo kiyinza okukuyamba okujjukira ennyiriri oba ensonga eziba zikukutteko nga weesomesa. Gy’onookoma okumanya ebiri mu Bayibuli n’okugyagala, gy’ojja okukoma okwagala okuweereza Yakuwa. Era okufaananako Kabaka Yosiya, ojja kwagala okukolera ku ebyo by’onooyiga mu Bayibuli.

16. Lwaki Yosiya yakola ensobi ey’amaanyi, era ekyo tukiyigirako ki?

16 Yigira ku ngeri embi Yosiya gye yasalawo. Yosiya bwe yali wa myaka nga 39, alina ensobi ey’amaanyi gye yakola eyamuviirako kufiirwa obulamu bwe. Lumu yeesigamu ku kutegeera kwe mu kifo ky’okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa. (2 Byom. 35:​20-25) Kino kituwa eky’okuyiga. Ka tube nga tulina emyaka emeka oba ka tube nga tumaze bbanga ki nga tusoma Bayibuli, bulijjo tulina okunoonyanga Yakuwa. Kino kizingiramu okumusabanga atuwe obulagirizi, okusoma Ekigambo kye, wamu n’okuwuliriza amagezi agatuweebwa bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo. Bwe tukola bwe tutyo, kituyamba okwewala okukola ensobi ez’amaanyi era tuba basanyufu.​—Yak. 1:25.

ABATO, MUSOBOLA OKUFUNA ESSANYU MU BULAMU

17. Biki bye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku bakabaka ba Yuda abasatu?

17 Waliwo ebintu bingi by’osobola okukola ng’okyali muto. Ebyo bye tusoma ku Yekowaasi, ku Uzziya, ne ku Yosiya, biraga nti abaana basobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi era ne beeyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa. Kyo kituufu nti ne bakabaka abo balina ensobi ze baakola ezaavaamu ebizibu eby’amaanyi, naye bwe tukoppa ebyokulabirako ebirungi bye bassaawo era ne twewala okukola ensobi nga ze baakola, tusobola okufuna essanyu.

Dawudi yafuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa ng’akyali muto; yasiimibwa mu maaso ga Yakuwa era yafuna essanyu (Laba akatundu 18)

18. Byakulabirako ki okuva mu Bayibuli ebiraga nti osobola okufuna essanyu mu bulamu? (Laba n’ekifaananyi.)

18 Ebyawandiikibwa byogera ku bavubuka abalala abaafuba okukola Katonda by’ayagala, ne bafuna emikisa, era ne baba basanyufu. Dawudi y’omu ku bo. Bwe yali akyali muto, yasalawo okuba mukwano gwa Yakuwa era oluvannyuma yafuuka kabaka omwesigwa. Kyo kituufu nti waliwo ensobi ze yakola, naye okutwalira awamu, Katonda yali amutwala nti yali mwesigwa gy’ali. (1 Bassek. 3:6; 9:​4, 5; 14:8) Bw’onoosoma ebikwata ku Dawudi, kijja kukuyamba okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Oba oyinza okusoma ebikwata ku Makko oba ku Timoseewo. Ojja kukiraba nti baatandika okuweereza Yakuwa nga bakyali bato, era ne beeyongera okumuweereza n’obwesigwa. Yakuwa yasanyuka nnyo okuba nti baasalawo okumuweereza, era nabo baafuna essanyu.

19. Kiki ekiyinza okukuviirako okufuna essanyu mu bulamu oba obutalifuna?

19 Engeri gy’osalawo okukozesaamu obulamu bwo kati ejja kukuviirako okufuna essanyu mu biseera eby’omu maaso oba obutalifuna. Bw’oneesiga Yakuwa mu kifo ky’okwesiga obusobozi bwo, ajja kukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 20:24) Osobola okufuna essanyu mu bulamu. Kijjukire nti Yakuwa asiima nnyo by’omukolera. Okuweereza Yakuwa ye ngeri asingayo obulungi gy’oyinza okukozesaamu obulamu bwo.

OLUYIMBA 144 Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!

a Abato, Yakuwa akimanyi nti oluusi kiyinza obutababeerera kyangu kukola kituufu ne musobola okusigala nga mulina enkolagana ennungi naye. Muyinza mutya okusalawo mu ngeri enaasanyusa Kitammwe ow’omu ggulu? Mu kitundu kino tugenda kulabayo ebyokulabirako bya balenzi basatu abaafuuka bakabaka ba Yuda. Weetegereze by’oyinza okuyigira ku ebyo bye baasalawo.

b Laba akasanduuko, Beware of the ‘Humble Brag’ ku jw.org mu kitundu ekirina omutwe “How Important Is Online Popularity?”

c EBIFAANANYI: Mwannyinaffe akuze mu myaka abuulirira mwannyinaffe omuto.

d EKIFAANANYI: Mwannyinaffe ng’alina ekitundu kye yeenyigiramu ku lukuŋŋaana olunene. Yeesiga Yakuwa era amutendereza olw’okumusobozesa okukola ebintu ebitali bimu.