Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 39

Bw’Oba Omukkakkamu, Oba wa Maanyi

Bw’Oba Omukkakkamu, Oba wa Maanyi

“Omuddu wa Mukama tekimwetaagisa kuyomba, wabula alina okuba omukkakkamu eri bonna.”​—2 TIM. 2:24.

OLUYIMBA 120 Koppa Obuwombeefu bwa Kristo

OMULAMWA a

1. Kiki bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe kye bayinza okutubuuza?

 MUKOZI munno oba muyizi munno bw’akubuuza ebikwata ku ebyo by’okkiririzaamu, muli owulira otya? Owulira ng’otidde? Bangi ku ffe tuwulira nga tutidde. Naye oluusi omuntu bw’atubuuza ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu, kituyamba okumanya ky’alowooza n’ebyo by’akkirizaamu era kituwa akakisa okumubuulira amawulire amalungi. Kyokka ebiseera ebimu omuntu ayinza okutubuuza ekibuuzo ng’ayagala kutuwakanya. Ekyo tekyanditwewuunyisizza, kubanga abantu abamu babuuliddwa eby’obulimba ku ebyo bye tukkiririzaamu. (Bik. 28:22) Ate era olw’okuba tuli mu “nnaku ez’enkomerero,” abantu bangi “tebakkiriza kukkaanya” era “bakambwe.”​—2 Tim. 3:​1, 3.

2. Lwaki kikulu okuba abakkakkamu?

2 Oyinza okwebuuza, ‘Nnyinza ntya okwogera mu ngeri ey’ekisa era ey’amagezi ng’omuntu awakanya ebyo bye nzikiririzaamu?’ Kiki ekiyinza okukuyamba. Obukkakkamu bwe buyinza okukuyamba. Omuntu omukkakkamu tanyiiga mangu, wabula yeefuga nga waliwo abamuwakanya oba nga si mukakafu ku ekyo ky’ayinza okuddamu. (Nge. 16:32) Naye oyinza okugamba nti ekyo kyangu okwogera kyokka si kyangu kukolerako. Oyinza otya okuyiga okuba omukkakkamu? Omuntu bw’aba ng’awakanya ebyo by’okkiririzaamu, oyinza otya okumuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu? Ate bw’oba muzadde, oyinza otya okuyamba abaana bo okuyiga okunnyonnyola abalala mu ngeri ey’obukkakkamu ebyo bye bakkiririzaamu? Ka tulabe.

ENGERI GYE TUYINZA OKUYIGA OKUBA ABAKKAKKAMU

3. Lwaki kigambibwa nti omuntu omukkakkamu aba wa maanyi? (2 Timoseewo 2:​24, 25)

3 Omuntu omukkakkamu aba wa maanyi. Kyetaagisa okuba ow’amaanyi okusigala ng’oli mukkakkamu ng’oyolekagana n’embeera enzibu. Obukkakkamu kye kimu ku ebyo “ebiri mu kibala eky’omwoyo.” (Bag. 5:​22, 23) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “obukkakkamu” oluusi kikozesebwa okutegeeza embalaasi ebadde ey’omu nsiko n’etendekebwa n’eba ng’esobola okufugibwa abantu. Lowooza ku mbalaasi eyo. Eba nzikakkamu kyokka ng’erina amaanyi. Tuyinza tutya okuyiga okuba abakkakkamu ate mu kiseera kye kimu ne tuba nga tuli ba maanyi? Ekyo tetuyinza kukikola mu busobozi bwaffe. Tusaanidde okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okukulaakulanya engeri eyo ennungi. Waliwo ebyokulabirako bingi ebiraga nti ekyo kisoboka. Abajulirwa ba Yakuwa bangi baddamu mu ngeri ey’obukkakkamu abo ababawakanya, era ekyo kiyambye abantu abamu okuba n’endowooza ennungi ku Bajulirwa ba Yakuwa. (Soma 2 Timoseewo 2:​24, 25.) Oyinza otya okuyiga okuba omukkakkamu?

4. Ebyo bye tusoma ku Isaaka bituyigiriza ki ku kuba abakkakkamu?

4 Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga obukulu bw’okuba abakkakkamu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Isaaka. Bwe yali abeera mu kitundu ky’Abafirisuuti ekyali kiyitibwa Gera, baliraanwa be abaali bamukwatiddwa obuggya baaziba enzizi abaweereza ba kitaawe ze baali baasima. Mu kifo ky’okulwanira enzizi ze, Isaaka yasengula ab’omu nnyumba ye n’agenda n’asima enzizi awalala. (Lub. 26:​12-18) Kyokka era Abafirisuuti baagamba nti amazzi ag’omu kitundu ekyo nago gaali gaabwe. Wadde kyali kityo, Isaaka yasigala mukkakkamu. (Lub. 26:​19-25) Kiki ekyamuyamba okusigala nga mukkakkamu wadde ng’abalala bamuyisa mu ngeri embi? Kya lwatu nti yeetegereza bazadde be n’ayigira ku ngeri Ibulayimu gye yagonjolangamu ensonga mu ngeri ey’emirembe, era ne ku ngeri Saala gye yayolekamu “omwoyo omuteefu era omuwombeefu.”​—1 Peet. 3:​4-6; Lub. 21:​22-34.

5. Kyakulabirako ki ekiraga nti abazadde basobola okuyigiriza abaana baabwe okuba abakkakkamu?

5 Abazadde, nammwe musobola okuyigiriza abaana bammwe okuba abakkakkamu. Lowooza ku muvubuka ayitibwa Maxence, ow’emyaka 17. Yabeeranga mu bantu abakambwe ku ssomero era ne mu kubuulira n’asanga abantu abakambwe. Bazadde be baafuba nnyo okumuyamba okuyiga okuba omukkakkamu. Bagamba nti, “Kati Maxence akimanyi nti omuntu bwe bamukola ebintu ebimunyiiza kiba kyangu okwogera oba okweyisa mu ngeri ey’obukambwe, naye kimwetaagisa okuba ow’amaanyi okusobola okusigala nga mukkakkamu.” Kya ssanyu nti Maxence yayiga okuba omukkakkamu.

6. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okuba abakkakkamu?

6 Kiki kye tuyinza okukola bwe twolekagana n’embeera eyinza okukifuula ekizibu gye tuli okusigala nga tuli bakkakkamu, gamba ng’abalala boogedde eby’obulimba ku linnya lya Yakuwa oba ku Bayibuli? Tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu n’amagezi tusobole okuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu. Watya singa oluvannyuma tukiraba nti engeri gye tuzzeemu omuntu si gye twandisaanidde okumuddamu? Tuyinza okusaba Yakuwa ku nsonga eyo era tufumiitiriza ku ngeri ennungi gye tuyinza okuddamu omuntu ng’oyo omulundi omulala. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa atuwa omwoyo gwe ne tusobola okwefuga n’okusigala nga tuli bakkakkamu.

7. Okukwata mu mutwe ebyawandiikibwa ebimu kiyinza kitya okutuyamba okwegendereza ebyo bye twogera ne bye tukola? (Engero 15:​1, 18)

7 Waliwo ennyiriri mu Bayibuli ezisobola okutuyamba okwegendereza bye twogera nga twolekaganye n’embeera ezitali nnyangu. Omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba okujjukira ennyiriri ezo. (Yok. 14:26) Ng’ekyokulabirako, emisingi egiri mu kitabo ky’Engero gisobola okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu. (Soma Engero 15:​1, 18.) Ekitabo ky’Engero era kiraga emiganyulo egiri mu kwefuga nga twolekaganye n’embeera enzibu.​—Nge. 10:19; 17:27; 21:23; 25:15.

OKUTEGEERA KUTUYAMBA OKUBA ABAKKAKKAMU

8. Lwaki tusaanidde okulowooza ku ekyo ekiyinza okuba nga kye kiviiriddeko omuntu okutubuuza ekibuuzo ku ebyo bye tukkiririzaamu?

8 Okutegeera nakwo kutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu. (Nge. 19:11) Omuntu omutegeevu yeefuga abalala bwe baba nga bawakanya by’akkiririzaamu. Emirundi mingi, omuntu bw’atubuuza ekibuuzo tatubuulira nsonga lwaki aba akitubuuzizza. N’olwekyo omuntu bw’atubuuza ekibuuzo, kiba kirungi okukimanya nti tuyinza okuba nga tetumanyi kimuviiriddeko kukitubuuza.​—Nge. 16:23.

9. Gidiyoni bwe yali addamu Abeefulayimu yayoleka atya obukkakkamu n’okutegeera?

9 Lowooza ngeri Gidiyoni gye yaddamu abasajja ba Efulayimu. Baamuyombesa olw’okuba teyabayita ng’agenda okulwanyisa abalabe ba Isirayiri. Naye nsonga ki eyabaviirako okumuyombesa? Kyandiba nti gaali malala? K’ebe nsonga ki, Gidiyoni yayoleka amagezi n’agezaako okutegeera ensonga lwaki baanyiiga era n’abaddamu mu bukkakkamu. Biki ebyavaamu? Bayibuli egamba nti “bakkakkana.”​—Balam. 8:​1-3.

10. Kiki ekiyinza okutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okuddamu abo ababaako bye batubuuza ku ebyo bye tukkiririzaamu? (1 Peetero 3:15)

10 Oboolyawo mukozi munnaffe oba muyizi munnaffe ayinza okutubuuza ensonga lwaki tutambulira ku mitindo gya Bayibuli. Tusaanidde okumunnyonnyola ebyo bye tukkiririzaamu ate mu kiseera kye kimu ne tussa ekitiibwa mu ndowooza ye. (Soma 1 Peetero 3:15.) Kiba kirungi okutwala ekyo ky’atubuuzizza ng’ekituyamba okumanya endowooza ye so si nti akitubuuzizza kutuwakanya. K’ebe nsonga ki eba eviiriddeko omuntu okutubuuza ekibuuzo, tusaanidde okumuddamu mu ngeri ey’ekisa era mu bukkakkamu. Bwe tukola bwe tutyo, ekyo kye tumuddamu kiyinza okumuleetera okwongera okufumiitiriza ku ekyo ky’alowooza. Ne bw’aba nga teyeeyisizza mu ngeri nnungi, ffe tusaanidde okumuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu.​—Bar. 12:17.

Tusobola okuddamu omuntu obulungi singa tusooka kwebuuza ensonga lwaki atuyise ku kabaga k’amazaalibwa (Laba akatundu 11-12)

11-12. (a) Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tetunnaddamu ekibuuzo ekizibu ekiba kitubuuziddwa? (Laba n’ekifaananyi.) (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ekibuuzo omuntu ky’aba abuuzizza gye kiyinza okutuyamba okweyongera okunyumya naye.

11 Ng’ekyokulabirako, singa mukozi munno akubuuza ensonga lwaki tetukuza mazaalibwa, weebuuze: Kyandiba nti yeebuuza obanga ffe tetukkirizibwa kwesanyusaamu? Oba kyandiba nti olowooza nti olw’okuba tetukuza mazaalibwa tuyinza okubuzaako bakozi bannaffe emirembe? Tuyinza okumwebaza olw’okufaayo ku balala era ne tumukakasa nti twagala nnyo okukola ne bakozi bannaffe nga basanyufu era nga naffe tuli basanyufu. Ekyo kiyinza okumuyamba okukkakkana, era ne kituwa akakisa okumubuulira ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mazaalibwa.

12 Tuyinza okukola kye kimu nga tubuuziddwa ebibuuzo ebirala ebitali byangu. Ng’ekyokulabirako, muyizi munnaffe ayinza okugamba nti Abajulirwa ba Yakuwa balina okukyusa endowooza gye balina ku kulya ebisiyaga. Kyandiba nti ayogera bw’atyo olw’okuba tategeera bulungi ekyo Abajulirwa ba Yakuwa kye bayigiriza ku kulya ebisiyaga? Oba kyandiba nti alina mukwano gwe oba omu ku b’eŋŋanda ze alya ebisiyaga? Kyandiba nti alowooza nti tusosola abantu abalya ebisiyaga? Kiyinza okutwetaagisa okumukakasa nti tufaayo ku bantu bonna, era nti tukimanyi nti buli muntu alina eddembe okwesalirawo ku ngeri y’okutambuzaamu obulamu bwe. b (1 Peet. 2:17) Oluvannyuma tuyinza okumulaga emiganyulo egiri mu kutambulira ku mitindo gya Bayibuli.

13. Oyinza otya okuyamba omuntu avumirira abo abakkiriza nti Katonda gyali?

13 Omuntu bw’aba atuwakanya, tetusaanidde kwanguwa kulowooza nti tumanyi by’akkiririzaamu. (Tit. 3:2) Ng’ekyokulabirako, watya singa muyizi munno agamba nti si kya magezi kukkiririza mu Katonda? Ekyo kyandikuleetedde okulowooza nti akkiririza mu njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa era nti alina bingi by’amanyi ku njigiriza eyo? Mu butuufu, ayinza okuba ng’ensonga eyo tagirowoozangako nnyo. Mu kifo ky’okutandika okukubaganya naye ebirowoozo ku ebyo ebikwata ku Ssaayansi, oyinza okunoonyaayo engeri y’okumubuuliramu ekintu ky’anaafumiitirizaako oluvannyuma. Oboolyawo oyinza okumugamba okugenda ku jw.org asome ebikwata ku ssaayansi n’okutondebwa kw’ebintu. Oluvannyuma ayinza okuba omwetegefu okukubaganya naawe ebirowoozo ku ekyo ky’aba asomye oba ku vidiyo gy’aba alabye ku mukutu. Bw’omuddamu mu ngeri eyo eraga nti omussaamu ekitiibwa, kiyinza okumuleetera okwagala okumanya ebisingawo ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza.

14. Niall yakozesa atya obulungi omukutu gwaffe okuyamba muyizi munne eyalina endowooza enkyamu ku Bajulirwa ba Yakuwa?

14 Omuvubuka ayitibwa Niall yakozesa omukutu gwaffe okuyamba muyizi munne okumanya nti abantu abamu bye boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa si bituufu. Agamba nti, “Muyizi munnange yaŋŋambanga nti sikkiririza mu ssaayansi olw’okuba nzikiririza Bayibuli, ye gy’ayita ekitabo ky’engero obugero era ekyogera ku bintu ebitaliiko bukakafu.” Omuyizi oyo bwe yagaana okuwa Niall akakisa okumunnyonnyola by’akkiririzaamu, Niall yamugamba agenda ku mukutu gwaffe asome ku ebyo ebiri wansi w’ekitundu “Ssaayansi ne Bayibuli.” Oluvannyuma Niall yakitegeera nti kirabika omuyizi oyo yasoma ebiri wansi w’ekitundu ekyo, era yali mwetegefu okukubaganya naye ebirowoozo ku ngeri ebintu ebiramu gye byajjawo. Naawe bw’okola bw’otyo muyinza okuvaamu ebirungi.

MUTEGEKERE WAMU NG’AMAKA

15. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu nga bayizi bannaabwe bababuuzizza ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu?

15 Abazadde basobola okuyigiriza abaana baabwe okuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu nga babuuziddwa ebikwata ku ebyo bye bakkiririzaamu. (Yak. 3:13) Ekyo abazadde abamu bakikola nga beegezaamu n’abaana baabwe mu kusinza kw’amaka. Boogera ku nsonga ezimu eziyinza okujjawo ku ssomero ne bazikubaganyaako ebirowoozo, era ne beegezaamu ku ngeri abaana baabwe gye bayinza okuddamu ekibuuzo ekiba kibabuuziddwa, era n’engeri gye bayinza okwogeramu mu ngeri ey’obukkakkamu era esikiriza.​—Laba akasanduuko, “ Okwegezaamu Kisobola Okuyamba ab’Omu Maka Go.”

16-17. Okwegezaamu kuyinza kutya okuyamba abaana?

16 Okwegezaamu kusobola okuyamba abaana okuba abakakafu ku ebyo bye bakkiririzaamu era n’okuba nga basobola okubinnyonnyola abalala. Ku jw.org wansi w’ekitundu “Abavubuka Babuuza” waliwo ebintu ebitali bimu abavubuka bye basobola okukolako. Ebintu ebyo bisobola okuyamba abavubuka okweyongera okuba abakakafu ku ebyo bye bakkiririzaamu era n’okuba abeetegefu okuddamu omuntu mu bigambo byabwe. Bwe tusomera awamu ebitundu ebyo ng’amaka, ffenna tuyinza okuyiga engeri gye tusobola okunnyonnyolamu abalala ebyo bye tukkiririzaamu mu ngeri ey’obukkakkamu era esikiriza.

17 Omuvubuka ayitibwa Matthew alaga engeri okwegezaamu ng’amaka gye kimuyambye. Oluusi mu kusinza kw’amaka, Matthew ne bazadde be boogera ku bintu ebiyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo ku ssomero. Agamba nti: “Tulowooza ku mbeera eyinza okujjawo, era ne twegezaamu ku engeri gye tuyinza okugikwatamu nga tukozesa ebyo bye tuba tunoonyerezza. Bwe mba mmanyi bulungi ensonga kwe nsinziira okukkiririza mu ebyo bye nzikiririzaamu, mpulira nga sitya era kinnyanguyira okubuulira abalala mu bukkakkamu ebyo bye nzikiririzaamu.”

18. Abakkolosaayi 4:6 watukubiriza kukola ki?

18 Kyo kituufu nti ne bwe tunnyonnyola abantu mu ngeri etegeerekeka obulungi era eraga obukakafu, abamu bayinza obutaagala kukkiriza bye tubagamba. Naye okwogera mu ngeri ey’amagezi era ey’obukkakkamu kisobola okutuyamba. (Soma Abakkolosaayi 4:6.) Okubuulira abalala ebyo bye tukkiririzaamu kiyinza okugeraageranyizibwa ku kukasuka omupiira. Tuyinza okugukasuka empolampola oba okugukasuka n’amaanyi. Bwe tugukasuka empolampola, oyo gwe tuba tuzannya naye kimwanguyira okugubaka era ne tweyongera okuzannya. Mu ngeri y’emu, bwe tubuulira abalala bye tukkiririzaamu mu ngeri ey’amagezi era ey’obukkakkamu, bayinza okwagala okutuwuliriza ne tweyongera okunyumya nabo. Kya lwatu nti omuntu bw’aba ng’ayagala kuwakana buwakanyi oba ng’ajerega ebyo bye tukkiririzaamu, tuyinza okusalawo okukomya emboozi. (Nge. 26:4) Ekirungi kiri nti abantu abasinga obungi baba beetegefu okutuwuliriza.

19. Lwaki tusaanidde okuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu abo ababa batubuuzizza ebyo bye tukkiririzaamu?

19 Kikulu nnyo ffenna okukulaakulanya obukkakkamu. Saba Yakuwa akuwe amaanyi ge weetaaga okusobola okusigala ng’oli mukkakkamu nga bakubuuzizza ekibuuzo ekizibu oba nga bavumirira by’okkiririzaamu. Kijjukire nti bw’oddamu abalala mu bukkakkamu era ng’obassaamu ekitiibwa, kisobola okukuyamba okwewala okuwakana nabo, era kiyinza okuleetera abamu okukyusa endowooza gye balina ku Bajulirwa ba Yakuwa ne ku mazima agali mu Bayibuli. Bulijjo ‘beeranga mwetegefu okuddamu buli muntu akubuuza ebikwata’ ku ebyo by’okkiririzaamu, ‘ng’okikola mu bukkakkamu era mu ngeri eraga nti omussaamu ekitiibwa.’ (1 Peet. 3:15) Mu butuufu, bw’oba omukkakkamu oba wa maanyi!

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

a Ekitundu kino kirimu amagezi agatuyamba okumanya engeri gye tuyinza okunnyonnyolamu abalala mu bukkakkamu ebyo bye tukkiririzaamu bwe baba nga baliko kye batubuuzizza oba nga baliko kye bawakanya ku nzikiriza zaffe.

b Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku Kulya Ebisiyaga?” mu Zuukuku! Na. 4 eya 2016.

c Osobola okufuna ebirala ebisobola okukuyamba ku jw.org, mu kitundu ekirina omutwe, “Abavubuka Babuuza,” ne wansi w’ekitundu ekirina omutwe, “Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza.”