EKITUNDU EKY’OKUSOMA 41
Bye Tuyiga mu Bbaluwa za Peetero Ebbiri
“Nja kubajjukizanga ebintu bino.”—2 PEET. 1:12.
OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki?
OMULAMWA a
1. Bwe waali wabula ekiseera kitono Peetero afe, kiki kye yaluŋŋamizibwa okukola?
OMUTUME Peetero yali akimanyi nti yali anaatera okufa. Mu myaka emingi gye yali amaze ng’aweereza n’obwesigwa, yatambulanga ne Yesu, yabuulira mu bitundu ebyali bitabulirwangamu, era yaweereza ne ku kakiiko akafuzi. Naye obuweereza bwe bwali tebunnaggwa. Awo nga mu 62-64 E.E., Yakuwa yamukozesa okuwandiika amabaluwa abiri, mu kiseera kino agasangibwa mu Bayibuli era agayitibwa Ebbaluwa ya Peetero Esooka n’Ey’Okubiri. Yali asuubira nti obulagirizi obugalimu bwandiyambye Abakristaayo n’oluvannyuma lw’okufa kwe.—2 Peet. 1:12-15.
2. Lwaki ebbaluwa Peetero ze yawandiika zajjira mu kiseera ekituufu?
2 Mu kiseera Peetero we yawandiikira ebbaluwa ze, bakkiriza banne baali ‘banakuwavu olw’okugezesebwa okutali kumu’ kwe baali boolekagana nakwo. (1 Peet. 1:6) Abantu ababi baali bagezaako okuyingiza enjigiriza enkyamu n’enneeyisa etasaana mu kibiina Ekikristaayo. (2 Peet. 2:1, 2, 14) “Enkomerero ya byonna,” kwe kugamba, Abaruumi okuzikiriza ekibuga Yerusaalemi n’enteekateeka y’Ekiyudaaya, yali eneetera okutuuka, era ekiseera ekyo tekyandibadde kyangu eri Abakristaayo abaali babeera mu Yesurusaalemi. (1 Peet. 4:7) Awatali kubuusabuusa, ebbaluwa za Peetero zaabayamba okugumira ebizibu bye baali boolekagana nabyo n’okweteekerateekera ebyo bye baali bagenda okuyitamu mu biseera eby’omu maaso. b
3. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ebbaluwa Peetero ze yawandiika?
3 Wadde nga Peetero ebbaluwa ze yaziwandiikira Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yazissa mu Kigambo kye Bayibuli. N’olwekyo, naffe tusobola okuganyulwa mu ebyo ebiri mu bbaluwa ezo. (Bar. 15:4) Olw’okuba mu nsi leero abantu bangi tebagoberera mutindo gya Yakuwa egy’empisa, naffe twolekagana n’ebigezo ebikifuula ekizibu okuweereza Yakuwa. Ate era, tunaatera okutuuka mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene ekisingira ewala ennyo ekibonyoobonyo ekinene ekyasaanyaawo enteekateeka y’Ekiyudaaya. Mu bbaluwa za Peetero ebbiri mulimu ebintu ebikulu bye tujjukizibwa. Ebintu ebyo bijja kutuyamba okulindirira olunaku lwa Yakuwa, okulekera awo okutya abantu, n’okweyongera okwagala ennyo baganda baffe. Ate era bisobola okuyamba abakadde okumanya engeri ye bayinza okulabiriramu obulungi ekisibo kya Katonda.
LINDIRIRA OLUNAKU LWA YAKUWA
4. Nga bwe kiragibwa mu 2 Peetero 3:3, 4, kiki ekiyinza okunafuya okukkiriza kwaffe?
4 Abantu abasinga obungi mu nsi tebakkiririza mu bunnabbi bwa Bayibuli. Abamu bayinza okutujerega olw’okuba tumaze emyaka mingi nga tugamba nti enkomerero eneetera okujja. Ate abalala bagamba nti enkomerero terijja. (Soma 2 Peetero 3:3, 4.) Bwe tuwulira ebigambo ng’ebyo okuva eri abantu be tubuulira, bakozi bannaffe, oba ab’eŋŋanda zaffe, okukkiriza kwaffe kuyinza okutandika okunafuwa. Peetero yalaga ekiyinza okutuyamba.
5. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu ku bikwata ku nkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno? (2 Peetero 3:8, 9)
5 Abamu bayinza okulowooza nti Yakuwa aluddewo okuzikiriza omulembe guno omubi. Ebigambo bya Peetero bisobola okutuyamba. Yalaga nti engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebiseera ya njawulo nnyo ku ngeri abantu gye babitunuuliramu. (Soma 2 Peetero 3:8, 9.) Eri Yakuwa, emyaka olukumi giringa olunaku olumu. Yakuwa mugumiikiriza, tayagala muntu n’omu kuzikirizibwa. Naye olunaku lwe bwe lunaatuuka, enteekateeka y’ebintu eno ejja kusaanawo. Tulina enkizo okukozesa ekiseera ekisigaddeyo okubuulira abantu ab’omu mawanga gonna.
6. ‘Tukuumira’ tutya olunaku lwa Yakuwa mu ‘birowoozo byaffe’? (2 Peetero 3:11, 12)
6 Peetero yatukubiriza ‘okukuumira mu birowoozo byaffe’ olunaku lwa Yakuwa. (Soma 2 Peetero 3:11, 12.) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Buli lunaku bwe kiba kisoboka, tusaanidde okufumiitiriza ku bintu ebirungi ebijja okuba mu nsi empya. Kuba akafaananyi ng’oli mu nsi ennyonjo, ng’olya emmere ennungi, ng’oyaniriza abaagalwa bo abanaaba bazuukiziddwa, era ng’oyigiriza abantu abaaliwo emyaka mingi emabega engeri obunnabbi bwa Bayibuli gye bwatuukirizibwamu. Okufumiitiriza ng’okwo kujja kukuyamba okulindirira n’obugumiikiriza ekiseera ekyo, n’okuba omukakafu nti enkomerero eneetera okujja. Olw’okuba ‘ebintu ebyo byatutegeezebwa nga bukyali,’ tetujja “kutwalirizibwa” abo abayigiriza eby’obulimba.—2 Peet. 3:17.
LEKERA AWO OKUTYA ABANTU
7. Okutya abantu kuyinza kutukwatako kutya?
7 Nga bwe tulindirira okujja kw’olunaku lwa Yakuwa, tufuba okubuulira abalala amawulire amalungi. Wadde kiri kityo, mu mbeera ezimu tuyinza okutya okubuulira abalala. Lwaki? Oluusi tuyinza okuwulira nga tutidde abantu. Ekyo kyatuuka ne ku Peetero. Mu kiro Yesu lwe yakwatibwa, Peetero yatya okwemanyisa nti yali omu ku bayigirizwa ba Yesu era yatuuka n’okumwegaana nti tamumanyi! (Mat. 26:69-75) Kyokka nga wayise ekiseera, Peetero yasobola okwogera nga yeekakasa nti: “Ebyo bye batya temubityanga era temweraliikiriranga.” (1 Peet. 3:14) Ebigambo bya Peetero ebyo biraga nti tusobola okuggwamu okutya abantu.
8. Kiki ekiyinza okutuyamba okulekera awo okutya abantu? (1 Peetero 3:15)
8 Kiki ekiyinza okutuyamba okuggwamu okutya abantu? Peetero yatugamba nti: “Mutukuzenga Kristo nga Mukama wammwe mu mitima gyammwe.” (Soma 1 Peetero 3:15.) Ekyo kizingiramu okufumiitiriza ku kifo n’obuyinza Mukama waffe era Kabaka waffe, Kristo Yesu by’alina. Bw’ofuna akakisa okubuulira amawulire amalungi naye n’owulira ng’otidde, jjukiranga Kabaka waffe. Kuba akafaananyi ng’omulaba mu ggulu nga yeetooloddwa bamalayika bangi nnyo. Kijjukire nti alina “obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi” era nti ajja kuba naawe “ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:18-20) Peetero yatukubiriza ‘bulijjo okubeera abeetegefu’ kulwanirira okukkiriza kwaffe. Wandyagadde okubaako b’obuulira ku mulimu, ku ssomero, oba okubuulira embagirawo mu ngeri endala? Lowooza nga bukyali ddi lw’oyinza okubuulira embagirawo era teekateeka ekyo ky’onooyogera. Saba Yakuwa akuwe obuvumu ng’oli mukakafu nti ajja kukuyamba okuggwaamu okutya abantu.—Bik. 4:29.
“MWAGALANENGA NNYO”
9. Lumu Peetero yalemererwa atya okwoleka okwagala? (Laba n’ekifaananyi.)
9 Peetero yayiga engeri y’okulagamu abalala okwagala. Yaliwo Yesu bwe yagamba nti: “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana.” (Yok. 13:34) Wadde kyali kityo, Peetero yalekera awo okulya ne bakkiriza banne ab’amawanga olw’okutya Abakristaayo Abayudaaya. Ekyo Peetero kye yakola omutume Pawulo yakiyita “bunnanfuusi.” (Bag. 2:11-14) Peetero yakkiriza okuwabula okwamuweebwa era n’abaako ky’akuyigirako. Mu bbaluwa ze zombi, yakikkaatiriza nti tetulina kuwulira buwulizi nti twagala bakkiriza bannaffe naye era tulina okwoleka okwagala okwo.
10. ‘Okwagalana okw’ab’oluganda okutaliimu bukuusa’ kuva mu ki? Nnyonnyola. (1 Peetero 1:22)
10 Peetero yagamba nti tulina okulaga bakkiriza bannaffe ‘okwagala okutaliimu bukuusa.’ (Soma 1 Peetero 1:22.) Okwagala ng’okwo kuva mu ‘kugondera amazima.’ Amazima ago gazingiramu enjigiriza egamba nti: “Katonda tasosola.” (Bik. 10:34, 35) Tetusobola kugamba nti tugondera ekiragiro kya Yesu ekikwata ku kwagala bwe kiba nti okwagala tukulaga bamu na bamu mu kibiina. Kyo kituufu nti, tuyinza okuba n’omukwano ogw’oku lusegere eri abamu okusinga eri abalala, nga bwe kyali ne ku Yesu. (Yok. 13:23; 20:2) Naye Peetero yatukubiriza okufuba okulaga ‘baganda baffe bonna okwagala,’ kubanga ffenna tuli ba mu maka gamu.—1 Peet. 2:17.
11. Kiki ekizingirwa mu kwagala ennyo abalala “okuviira ddala ku mutima”?
11 Peetero yatukubiriza ‘okwagalana ennyo okuviira ddala ku mutima.’ Kino kizingiramu okulaga abalala okwagala ne bwe kiba nga si kyangu gye tuli. Ng’ekyokulabirako, watya singa mukkiriza munnaffe akola oba ayogera ekintu ekitulumya? Kya bulijjo okuwulira nti twagala okumwesasuza mu kifo ky’okumulaga okwagala. Kyokka Peetero yayigira ku Yesu nti bwe twesasuza abo ababa batukoze ekibi, tekisanyusa Katonda. (Yok. 18:10, 11) Peetero yagamba nti: “Temukola muntu kibi olw’okuba abakoze ekibi era temuvuma oyo aba abavumye, naye mwogere naye bulungi.” (1 Peet. 3:9) Leka okwagala okw’amaanyi kw’olina kukuleetere okuba ow’ekisa eri bakkiriza banno, ka babe abo ababa bakoze oba aboogedde ekintu ekikulumya.
12. (a) Kiki ekirala okwagala ennyo abalala kye kinaatuleetera okukola? (b) Kiki ky’oyagala okufuba okukola, nga bwe kiragibwa mu vidiyo Kuuma Obumu Obw’Omuwendo Bwe Tulina?
12 Peetero yatukubiriza ‘okwagalana ennyo,’ kubanga okwagala okw’engeri eyo kubikka ku “bibi bingi.” (1 Peet. 4:8) Oboolyawo, Peetero yali ajjukira ekyo Yesu kye yayigiriza emyaka mingi emabega ekikwata ku kusonyiwa. Mu kiseera ekyo, Peetero ayinza okuba nga yali alowooza nti asonyiwa nnyo bwe yagamba nti yandisonyiye muganda we “emirundi musanvu.” Naye Yesu yamuyigiriza awamu naffe ffenna nti tulina okusonyiwa “emirundi 77,” kwe kugamba, nti okusonyiwa tekuliiko kkomo. (Mat. 18:21, 22) Bwe kiba nti oluusi okisanze nga kizibu okusonyiwa abalala, toggwaamu maanyi! Abaweereza ba Yakuwa bonna abatatuukiridde oluusi bazibuwalirwa okusonyiwa abalala. Ekintu ekikulu ky’olina okussaako omwoyo kati kwe kukola kyonna ky’osobola okusonyiwa mukkiriza munno n’okutabagana naye. c
ABAKADDE, MULUNDENGA EKISIBO
13. Kiki ekiyinza okukifuula ekizibu eri abakadde okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi?
13 Peetero teyeerabira obuvunaanyizibwa Yesu bwe yamuwa oluvannyuma lw’okuzuukira. Yamugamba nti: “Lundanga endiga zange.” (Yok. 21:16) Bw’oba ng’oli mukadde, oteekwa okuba ng’okimanyi nti ebigambo ebyo naawe bikukwatako. Kyokka oluusi omukadde kiyinza obutamubeerera kyangu okufuna ebiseera okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obukulu ennyo. Abakadde balina okusooka okukola ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe eby’omwoyo n’eby’omubiri. Ate era bawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira awamu n’okuteekateeka era n’okukola ku bitundu bye baba nabyo mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Abamu bali ku bukiiko obukwanaganya eby’eddwaliro oba bayambako mu kitongole ekikola ku kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka. Mazima ddala abakadde balina eby’okukola bingi nnyo!
14. Kiki ekiyinza okuleetera abakadde okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi? (1 Peetero 5:1-4)
14 Peetero yakubiriza bakadde banne nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda.” (Soma 1 Peetero 5:1-4.) Bw’oba ng’oli mukadde, tuli bakakafu nti oyagala nnyo bakkiriza banno era oyagala okubazzaamu amaanyi. Kyokka oluusi oyinza okuwulira nti olina eby’okukola bingi oba nti oli mukoowu nnyo nti tosobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo. Mu mbeera ng’eyo, kiki ky’oyinza okukola? Saba Yakuwa era omutegeeze ekyo ekikuli ku mutima. Peetero yagamba nti: “Omuntu yenna bw’aweereza, aweereze nga yeesigama ku maanyi Katonda g’agaba.” (1 Peet. 4:11) Bakkiriza banno bayinza okuba nga boolekagana n’ebizibu ebiyinza okuba nga tebiyinza kugonjoolwa mu bujjuvu mu nteekateeka y’ebintu eno. Naye kijjukire nti “omusumba omukulu,” Yesu Kristo, asobola okubayamba okusinga omuntu omulala yenna. Asobola okubayamba mu kiseera kino era ajja kubayamba ne mu nsi empya. Katonda ky’ayagala abakadde bakole kwe kulaga bakkiriza bannaabwe okwagala, okubazzaamu amaanyi, n’okuba ‘ebyakulabirako eri ekisibo.’
15. Omukadde omu azzaamu atya abakkiriza banne amaanyi? (Laba n’ekifaananyi.)
15 Ow’oluganda ayitibwa William, amaze ekiseera kiwanvu ng’aweereza ng’omukadde amanyi obukulu bw’okuzzaamu abalala amaanyi. Ekirwadde kya COVID-19 bwe kyabalukawo, ye ne bakadde banne baakola enteekateeka okuwuliziganya na buli omu ku bakkiriza bannaabwe abali mu bibinja byabwe buli wiiki. Alaga ensonga lwaki baakola bwe batyo. Agamba nti: “Bangi ku bakkiriza bannaffe bali babeera bokka awaka era kyandibabeeredde kyangu okufuna endowooza ezimalamu amaanyi.” Mukkiriza munne bw’aba ayolekagana n’ekizibu, William amuwuliriza bulungi ng’alina by’amubuulira asobole okutegeera ebimweraliikiriza era ne bye yeetaaga. Oluvannyuma afuna ebitabo ne vidiyo ku mukutu gwaffe ebisobola okuyamba mukkiriza munne. Agamba nti: “Mu kiseera kino kikulu nnyo okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi. Tufuba nnyo okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa; tulina okufuba mu ngeri y’emu okuzzaamu abaweereza ba Yakuwa amaanyi, nga tubayamba okunywerera mu mazima.”
KKIRIZA YAKUWA OKUMALIRIZA OKUTENDEKEBWA KWO
16. Tuyinza tutya okukolera ku ebyo bye tuyize mu bbaluwa za Peetero?
16 Twetegerezzaayo ebintu bitonotono okuva mu bbaluwa za Peetero ebbiri ezaaluŋŋamizibwa. Oboolyawo olina w’olabye we weetaaga okulongoosaamu. Ng’ekyokulabirako, wandyagadde okweyongera okufumiitiriza ku bintu ebirungi ebijja okubeera mu nsi empya? Weeteereddewo ekiruubirirwa eky’okubuulira ku mulimu, ku ssomero, oba okubuulira embagirawo mu ngeri endala? Okirabye nti weetaaga okwongera ku kwagala kw’olina eri bakkiriza banno? Abakadde, mumaliridde okuzzaamu endiga za Yakuwa amaanyi, nga mukikola kyeyagalire? Bwe weekebera mu bwesimbu, oyinza okukiraba nti olina we weetaaga okulongoosaamu, naye toggwaamu maanyi. “Mukama waffe wa kisa,” era ajja kukuyamba okulongoosamu. (1 Peet. 2:3) Peetero yagamba nti: “Katonda . . . ajja kumaliriza okutendekebwa kwammwe. Ajja kubanyweza, ajja kubafuula ba maanyi, era ajja kubateeka ku musingi omugumu.”—1 Peet. 5:10.
17. Bwe tweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa era ne tumukkiriza okututendeka, biki ebinaavaamu?
17 Lumu Peetero yali awulira nti tasaana kubeera kumpi n’Omwana wa Katonda. (Luk. 5:8) Naye Yakuwa ne Yesu baamuyamba ne yeeyongera okugoberera Kristo wadde nga yalina obunafu. Era bwe kityo Peetero yaweebwa empeera ‘ey’okuyingizibwa mu Bwakabaka obutaliggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo.’ (2 Peet. 1:11) Eyo nga nkizo ya kitalo nnyo! Naawe singa oweereza n’obwesigwa nga Peetero bwe yakola era n’okkiriza Yakuwa okukutendeka, ojja kufuna empeera ey’obulamu obutaggwaawo. Olw’okukkiriza kwo, ‘ojja kulokolebwa.’—1 Peet. 1:9.
OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima
a Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri ebimu ku ebyo bye tuyiga mu bbaluwa za Peetero gye bituyamba okugumira ebizibu. Ate era, ekitundu kino kigenda kuyamba abakadde okulaba engeri gye bayinza okutuukirizaamu obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okuzzaamu abalala amaanyi.
b Kirabika Abakristaayo abaali babeera mu Palesitayini baafuna ebbaluwa za Peetero zombi ng’ekibuga Yerusaalemi tekinnaba kulumbibwa omulundi ogusooka mu 66 E.E.
c Laba vidiyo Kuuma Obumu Obw’Omuwendo Bwe Tulina, ku jw.org.