EKITUNDU EKY’OKUSOMA 37
Weesige Yakuwa nga Samusooni Bwe Yakola
“Yakuwa Mukama Afuga Byonna, nkwegayiridde, nzijukira ompe amaanyi.”—BALAM. 16:28.
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
OMULAMWA a
1-2. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ebikwata ku Samusooni?
BW’OWULIRA erinnya Samusooni, kiki ekikujjira mu birowoozo? Oboolyawo olowooza ku musajja eyalina amaanyi amangi ennyo. Ekyo kituufu, naye Samusooni alina ekintu ekitaali kya magezi kye yasalawo ekyamuviiramu ebizibu eby’amaanyi. Wadde kyali kityo, Yakuwa yatunuulira ebirungi Samusooni bye yakola ng’amuweereza era n’abiwandiisa mu Bayibuli tusobole okubiganyulwamu.
2 Yakuwa yakozesa Samusooni okukola ebintu ebyewuunyisa ennyo okuyamba abantu be Abayisirayiri. Nga wayise ebyasa bingi nga Samusooni amaze okufa, Yakuwa yaluŋŋamya omutume Pawulo okumenya amannya g’abasajja abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi nga mw’otwalidde n’erya Samusooni. (Beb. 11:32-34) Ekyokulabirako Samusooni kye yassaayo ffenna kisobola okutuzzaamu amaanyi. Yeesiga Yakuwa ne mu mbeera enzibu ennyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo bye tuyinza okuyigira ku Samusooni era n’engeri eky’okulabirako kye gye kiyinza okutuzzaamu amaanyi.
SAMUSOONI YEESIGA YAKUWA
3. Buvunaanyizibwa ki Samusooni bwe yaweebwa?
3 Mu kiseera Samusooni we yazaalibwa, Abafirisuuti be baali bafuga Abayisirayiri era baali babanyigiriza nnyo. (Balam. 13:1) Ekyo kyaviirako Abayisirayiri okubonaabona ennyo. Yakuwa yalonda Samusooni “okulokola Isirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti.” (Balam. 13:5) Mazima ddala obuvunaanyizibwa obwo tebwali bwangu! Okusobola okubutuukiriza, Samusooni yalina okwesiga Yakuwa.
4. Yakuwa yayamba atya Samusooni okwetakkuluza ku Bafirisuuti? (Ekyabalamuzi 15:14-16)
4 Lowooza ku kyokulabirako kimu ekyalaga nti Samusooni yali yeesiga Yakuwa okumuyamba. Lumu eggye ly’Abafirisuuti lyali lizze okumukwata ng’ali e Leki, kirabika ekyali mu Yuda. Abasajja ba Yuda baatya nnyo, era bwe kityo baasalawo okuwaayo Samusooni eri Abafirisuuti. Era bennyini be baamusiba nga bakozesa emiguwa ebiri emipya, ne bamuwaayo eri Abafirisuuti. (Balam. 15:9-13) Naye ‘omwoyo gwa Yakuwa gwawa Samusooni amaanyi’ ne yeesumululako emiguwa egyo. Oluvannyuma yalaba “oluba lw’endogoyi ensajja eyali yaakafa,” n’alulonda n’alukozesa okutta abasajja Abafirisuuti 1,000!—Soma Ekyabalamuzi 15:14-16.
5. Okuba nti Samusooni yakozesa oluba lw’endoggoyi okulwanyisa Abafirisuuti, kiraga kitya nti yali yeesiga Yakuwa?
5 Lwaki Samusooni yakozesa luba lwa ndogoyi? Oluba olwo tekyali kyakulwanyisa kya bulijjo! Kya lwatu, yali akimanyi nti Yakuwa ye yandimusobozesezza okuwangula abalabe be, so si eky’okulwanyisa kye yakozesa. Omusajja oyo eyali omwesigwa yakozesa ekintu kye yasobola okufuna okutuukiriza Yakuwa kye yali ayagala. Olw’okuba Samusooni yeesiga Yakuwa, Yakuwa yamusobozesa okuwangula abalabe be.
6. Kiki kye tuyigira ku Samusooni bwe tuba n’obuvunaanyizibwa bwe tulina okutuukiriza mu kibiina?
6 Naffe Yakuwa asobola okutuwa amaanyi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe, ka bube obwo obulabika ng’obuzibu ennyo. Oluusi Yakuwa asobola okutuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo mu ngeri eyeewuunyisa. Toba na kubuusabuusa kwonna nti Yakuwa eyawa Samusooni amaanyi naawe asobola okukuyamba okukola by’ayagala singa omwesiga.—Nge. 16:3.
7. Kyakulabirako ki ekiraga obukulu bw’okwesiga Yakuwa okutuwa obulagirizi?
7 Bakkiriza bannaffe bangi abeenyigira mu kuzimba ebizimbe ebikozesebwa ekibiina bakiraze nti beesiga Yakuwa. Emabega, ab’oluganda be baateranga okukuba pulaani z’Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa ekibiina era ne babizimba. Naye olw’okuba buli lukya abantu bangi beeyongera okwegatta ku kibiina kya Yakuwa, waali weetaaga okubaawo enkyukakyuka ezikolebwa. Ab’oluganda abatwala obukulembeze baasaba Yakuwa okubawa obulagirizi, era ne bagezaako enkola endala, gamba ng’okugula ebizimbe ne biddaabirizibwa. Ow’oluganda Robert azze yeenyigira mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe by’ekibiina mu bitundu by’ensi ebitali bimu agamba nti: “Mu kusooka enkola eyo teyatubeerera nnyangu. Yali ya njawulo nnyo ku eyo gye twali tugoberera okumala emyaka. Naye ab’oluganda baali beetegefu okutuukana n’enkyukakyuka eyo, era kyeyolese kaati nti Yakuwa awadde omukisa enkola eyo empya.” Ekyo kyakulabirako kimu ekiraga engeri Yakuwa gy’awaamu abantu be obulagirizi okusobola okutuukiriza by’ayagala. Buli luvannyuma lwa kiseera ffenna tusaanidde okwebuuza nti, ‘Nfuba okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa, era ndi mwetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okumuweereza mu ngeri esingayo obulungi?’
SAMUSOONI YAKOZESA EBYO YAKUWA BYE YAMUWA
8. Kiki Samusooni kye yakola lumu ennyonta bwe yamuluma ennyo?
8 Oyinza okuba ng’olinayo ebyawandiikibwa ebirala by’ojjukira ebyogera ku bintu ebyewuunyisa Samusooni bye yakola. Lumu yatta empologoma ng’ali yekka, ate oluvannyuma n’atta n’abasajja 30 mu kibuga ky’Abafirisuuti ekyali kiyitibwa Asukulooni. (Balam. 14:5, 6, 19) Samusooni yali akimanyi yali tayinza kukola bintu ebyo awatali buyambi bwa Yakuwa. Ekyo kyeyoleka lumu ennyonta bwe yamuluma ennyo oluvannyuma lw’okutta Abafirisuuti 1,000. Kiki kye yakola? Mu kifo ky’okwesigama ku busobozi bwe okufuna amazzi ag’okunywa, yasaba Yakuwa okumuyamba.—Balam. 15:18.
9. Yakuwa yaddamu atya essaala ya Samusooni? (Ekyabalamuzi 15:19)
9 Yakuwa yaddamu okusaba kwa Samusooni ng’amusobozesa okufuna amazzi mu luzzi lwe yassaawo mu ngeri ey’ekyamagero. Samusooni bwe yanywa amazzi ago, ‘yaddamu amaanyi n’atereera.’ (Soma Ekyabalamuzi 15:19.) Kirabika oluzzi olwo lwali lukyaliwo ne mu kiseera nnabbi Samwiri we yaluŋŋamizibwa okuwandiika ekitabo ky’Ekyabalamuzi nga wayise emyaka. Abayisirayiri abaalabanga amazzi g’oluzzi olwo nga gakulukuta, bayinza okuba nga bajjukiranga nti omuntu bwe yeesiga Yakuwa, asobola okumuyamba mu biseera ebizibu.
10. Kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okusobola okutuyamba? (Laba n’ekifaananyi.)
10 Naffe tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba, ka tube nga tulina bitone ki oba busobozi bwa ngeri ki, abo ka kibe ki kye tuba tutuuseeko mu buweereza bwaffe. Tusaanidde okukijjukiranga nti okusobola okutuukiriza obulungi ebyo bye tukola mu buweereza bwaffe, tulina okwesiga Yakuwa. Nga Yakuwa bwe yazzaamu Samusooni amaanyi oluvannyuma lw’okunywa amazzi ge yamuwa, naffe ajja kutuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo singa tukozesa ebintu byonna by’atuwa okuyitira mu kibiina kye.—Mat. 11:28.
11. Tuyinza tutya okwesiga Yakuwa okutuyamba? Waayo ekyokulabirako.
11 Lowooza Aleksey, omu ku b’oluganda ababeera mu Russia aboolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Kiki ekimuyambye okusigala nga munywevu ng’ayolekagana n’embeera enzibu ennyo? Ye ne mukyala we beeteerawo enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo. Agamba nti: “Nfuba okunywerera ku nteekateeka yange ey’okwesomesa n’okusoma Bayibuli buli lunaku. Buli ku makya nze ne mukyala wange tukubaganya ebirowoozo ku kyawandiikibwa ky’olunaku era tusabira wamu.” Ekyo kituyigiriza ki? Mu kifo ky’okwesigama ku busobozi bwaffe, tusaanidde okwesiga Yakuwa. Ekyo tukikola tutya? Nga tweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe okuyitira mu kwesomesa Bayibuli, era n’okwenyigira mu bintu ebirala eby’omwoyo. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwaffe. Nga bwe yawa Samusooni amaanyi, naffe ajja kugatuwa.
SAMUSOONI TEYALEKAYO KUWEEREZA YAKUWA
12. Kintu ki ekitaali kya magezi Samusooni kye yasalawo, era enkolagana gye yalina ne Derira yali eyawukana etya ku eyo gye yalina n’abakazi abalala?
12 Samusooni yali tatuukiridde, era oluusi yasalangawo mu ngeri etaali ya magezi. Ekimu ku bintu bye yasalawo kyamuviirako okufuna ebizibu eby’amaanyi. Oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’aweereza ng’omulamuzi, yaganza “omukazi ow’omu Kiwonvu ky’e Soleki eyali ayitibwa Derira.” (Balam. 16:4) Emabegako, Samusooni yali yayogerezaako omukazi Omufirisuuti, naye “ekyo kyali kivudde eri Yakuwa,” kubanga “yali anoonya kakisa okulwanyisa Abafirisuuti.” Oluvannyuma Samusooni yagenda mu nnyumba ya malaaya mu kibuga Gaaza eky’Abafirisuuti. Ku olwo, Katonda yamuwa amaanyi n’akuulamu enzigi za bbugwe w’ekibuga ekyo ne kisigala nga tekirina bukuuma bumala. (Balam. 14:1-4; 16:1-3) Kyokka kirabika Derira yali Muyisirayiri, n’olwekyo Samusooni okumuganza kyali tekiyinza kumusobozesa kufuna kakisa kulwanyisa Bafirisuuti.
13. Kiki Derira kye yakola ekyasuula Samusooni mu buzibu?
13 Derira yakkiriza Abafirisuuti okumuwa ssente nnyingi nnyo asobole okulyamu Samusooni olukwe. Kyandiba nti Samusooni yali ayagala nnyo Derira ne kiba nti yalemererwa okumanya ekigendererwa ky’omukazi oyo? Derira yabeebanga Samusooni buli lunaku okumubuulira ensibuko y’amaanyi ge, era kyaddaaki yamubuulira. Kya nnaku nti Samusooni yessa mu mbeera eyamuviirako okufiirwa amaanyi ge n’enkolagana ye ne Yakuwa okumala ekiseera.—Balam. 16:16-20.
14. Bizibu ki Samusooni bye yafuna olw’okwesiga Derira?
14 Samusooni yafuna ebizibu eby’amaanyi ennyo olw’okwesiga Derira mu kifo ky’okwesiga Yakuwa. Abafirisuuti baamukwata ne bamuggyamu amaaso. Baamusibira mu kibuga Gaaza emabegako kye yali akuddemu enzigi za bbugwe waakyo, era ne bamuwa omulimu gw’okusa emmere ey’empeke mu kkomera, ogwakolebwanga abaddu. Oluvannyuma baayongera okumuweebuula bwe baakuŋŋaana awamu okujaguza. Baawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo eri katonda waabwe ow’obulimba eyali ayitibwa Dagoni, olw’okuba baali balowooza nti ye yali abayambye okukwata Samusooni. Baggya Samusooni mu kkomera ne bamuleeta ku kabaga ke baali bakoze, nga baagala ‘abasanyuseemu.’—Balam. 16:21-25.
15. Kiki ekiraga nti Samusooni yaddamu okwesiga Yakuwa? (Ekyabalamuzi 16:28-30) (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
15 Wadde nga Samusooni yali akoze ensobi ey’amaanyi, teyalekayo kuweereza Yakuwa. Yanoonya akakisa okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yali amuwadde obw’okulwanyisa Abafirisuuti. (Soma Ekyabalamuzi 16:28-30.) Samusooni yasaba Yakuwa nti: “[Ka] mpoolere eggwanga ku Bafirisuuti.” Yakuwa yawuliriza okusaba kwa Samusooni n’addamu okumuwa amaanyi mu ngeri ey’ekyamagero. N’ekyavaamu, Samusooni yatta Abafirisuuti bangi nnyo ku olwo okusinga emirundi emirala gyonna.
16. Kiki kye tuyigira ku nsobi Samusooni gye yakola?
16 Wadde nga Samusooni yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ebyava mu nsobi gye yakola, teyalekera awo kufuba kukola Katonda by’ayagala. Naffe bwe tuba nga tukoze ensobi nga kitwetaagisa okukangavvulwa oba okuggibwako enkizo, tetusaanidde kulekera awo kuweereza Yakuwa. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa. (Zab. 103:8-10) Wadde nga tuba tukoze ensobi, Yakuwa asobola okutuwa amaanyi okukola by’ayagala nga bwe yagawa Samusooni.
17-18. Ekyokulabirako kya Michael kikuzzaamu kitya amaanyi? (Laba n’ekifaananyi.)
17 Lowooza ku w’oluganda omuvubuka ayitibwa Michael. Yali munyiikivu nnyo mu buweereza bwe ng’akola ng’omuweereza mu kibiina era nga payoniya owa bulijjo. Kyokka eky’ennaku, alina ensobi gye yakola n’emuviirako okuggibwako enkizo ze. Agamba nti: “Ng’ekyo tekinnabaawo, nnali munyiikivu nnyo mu buweereza bwange eri Yakuwa. Naye mu kaseera buseera, nnawulira nti sikyalina kye nsobola kukola mu buweereza bwange. Saakitwala nti Yakuwa yali anjabulidde, naye mmuli nneebuuzanga obanga enkolagana yange naye yali eyinza okuddawo nga bwe yalinga edda, era obanga nnali nsobola okumuddamu okumuweereza nga bwe nnakolanga edda.”
18 Ekirungi, Michael teyaggwamu maanyi. Agamba nti: “Nnafuba okutereeza enkolagana yange ne Yakuwa nga mmusaba obutayosa, nga nneesomesa, era nga nfumiitiriza.” Oluvannyuma lw’ekiseera, Michael yaddamu n’afuna enkizo ze yalina mu kibiina. Kati aweereza ng’omukadde era nga payoniya owa bulijjo. Agamba nti: “Obuyambi n’okubudaabudibwa bye nnafuna, okusingira ddala okuva eri abakadde, byannyamba okukiraba nti Yakuwa akyanjagala. Kati nsobodde okuddamu okuweereza mu kibiina nga nnina omuntu ow’omunda omuyonjo. Kino kinjigirizza nti Yakuwa asobola okusonyiwa omuntu yenna eyeenenya mu bwesimbu.” Tusobola okuba abakakafu nti naffe Yakuwa ajja kutukozesa era atuwe emikisa, ka tube nga tukoze ensobi, kasita tufuba okutereeza amakubo gaffe era ne tweyongera okumwesiga.—Zab. 86:5; Nge. 28:13.
19. Ekyokulabirako kya Samusooni kikuzzizzaamu kitya amaanyi?
19 Mu kitundu kino, tulabye ebimu ku bintu ebyewuunyisa ebyaliwo mu bulamu bwa Samusooni. Wadde nga yali tatuukiridde, teyalekera awo kuweereza Yakuwa. N’oluvannyuma lw’ensobi gye yakola mu ngeri gye yakolaganamu ne Derira, Yakuwa teyamuleka. Yamusonyiwa era ne yeeyongera okumukozesa. Yali akyamutwala ng’omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi, era erinnya lye yalissa mu lukalala lw’abantu abeesigwa aboogerwako mu Abebbulaniya essuula 11. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okuba nti tuweereza Kitaffe ow’omu ggulu atwagala, omwetegefu okutuzzaamu amaanyi naddala bwe tuba nga tunafuye. Okufaananako Samusooni, naffe ka tusabenga Yakuwa nti: “Nzijukira ompe amaanyi.”—Balam. 16:28.
OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
a Samusooni ayogerwako mu Bayibuli amanyiddwa abantu bangi, nga mwe muli n’abo abatalina nnyo kye bamanyi ku Byawandiikibwa. Ebimukwatako biragibwa mu mizannyo, mu firimu, era byogerwako mu nnyimba. Naye ebimukwatako tebyawandiikibwa kuba nga bitunyumira bunyumizi. Waliwo bingi bye tusobola okuyigira ku musajja oyo eyalina okukkiriza okw’amaanyi.