Noonya Ekintu eky’Omuwendo Okusinga Zzaabu
Wali onoonyezza ku zzaabu n’omuzuula? Bantu batono nnyo abaali banoonyezza zzaabu ne bamuzuula. Kyokka waliwo abantu bukadde na bukadde abazudde ekintu eky’omuwendo okusinga zzaabu, nga gano ge magezi agava eri Katonda, ‘agatayinza kugulwa zzaabu alongooseddwa.’—Yob. 28:12, 15.
ABASOMI ba Bayibuli abanyiikivu bayinza okugeraageranyizibwa ku bantu abanoonya zzaabu. Abasomi ba Bayibuli abo balina okufuba ennyo okunoonyereza mu Byawandiikibwa okusobola okuzuula amagezi ag’omuwendo. Kati ka tulabe ebintu bisatu abanoonya zzaabu bye bakola okusobola okumuzuulu na ki kye tuyinza okubayigirako?
OZUULA EKINTU EKY’OMUWENDO!
Kuba akafaananyi ng’oli ku lubalama lw’omugga otambula, era olaba akantu akamasamasa. Okutama wansi n’okalonda, era bw’okeetegereza osanyuka nnyo okukimanya nti olonze zzaabu. Katono okusinga akatwe k’akati k’ekibiriiti era tekasangikasangika. Kya lwatu nti weeyongera okutunulatunula mu kifo ekyo okulaba obanga waliwo zzaabu omulala.
Okufaananako embeera eyo eyogeddwako waggulu, oyinza okuba ng’okyajjukira olunaku omu ku Bajulirwa ba Yakuwa lwe yajja ewuwo n’akubaganya naawe ebirowoozo ku bintu ebiri mu Bayibuli. Oboolyawo ojjukira lwe wazuulu eky’obugagga eky’omwoyo ekyasooka. Oyinza okuba nga wakizuula ku mulundi gwe wasooka okulaba erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu Bayibuli. (Zab. 83:18) Oba lwe wakimanya nti osobola okufuuka mukwano gwa Yakuwa. (Yak. 2:23) Wakirabirawo nti wali ozudde ekintu eky’omuwendo okusinga zzaabu. Era oyinza okuba nga wayagala nnyo okuzuula eby’obugagga ebirala eby’omwoyo.
WEEYONGERA OKUZUULA EBY’OBUGAGGA!
Ebiseera ebimu obuweke bwa zzaabu bwekuŋŋaanyiza ku mbalama z’ennyanja oba ez’emigga. Oluusi abantu bagenda ne bakuŋŋaanya obuweke bwa zzaabu obwo ne bafunira ddala zzaabu awera, era nga bwe bamutunda bafunamu ssente nnyingi ddala.
Bwe watandika okusoma Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, oyinza okuba nga wawulira ng’omuntu atuuse mu kifo awali obuweke bwa zzaabu obungi. Okufumiitiriza ku nnyiriri z’omu Bayibuli ezitali zimu kyakusobozesa okwongera ku bintu bye wali omanyi, bw’otyo ne weeyongera okugaggawala mu by’omwoyo. Bwe weeyongera okuyiga amazima ag’omuwendo agali mu Bayibuli, wategeera engeri gy’oyinza okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda n’engeri gy’oyinza okwekuumira mu kwagala kwe, ne kikuyamba okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yak. 4:8; Yud. 20, 21.
WEEYONGERE OKUNOONYA!
Omuntu anoonya zzaabu ayinza okulaba obutundutundu obutono ennyo obwa zzaabu mu lwazi. Ebitundu ebimu eby’olwazi biba byekuŋŋanyirizzaamu zzaabu omuntu gw’ayinza okufuna singa aba ayasizza olwazi olwo. Omuntu bw’ateetegereza bulungi, ayinza obutalaba zzaabu oyo. Lwaki? Kubanga mu tani emu ey’olwazi muyinza okubaamu gramu 10 zokka eza zzaabu! Wadde kiri kityo, omuntu amanyi omuwendo gwa zzaabu afuba okwasa olwazi olwo okusobola okufuna zzaabu oyo.
Mu ngeri y’emu, bw’omala okuyiga “enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo,” kiba kikwetaagisa okufuba ennyo okweyongera okufuna eby’obugagga ebirala eby’omwoyo. (Beb. 6:1, 2) Kikwetaagisa okufuba ennyo okusobola okuyiga ebintu ebipya mu Bayibuli. Kiki ky’oyinza okukola okweyongera okuganyulwa mu kusoma Bayibuli wadde ng’omaze emyaka egiwerako ng’ogisoma?
Weeyongere okwagala okuyiga ebisingawo. Fumiitiriza ku by’osoma. Bwe weeyongera okufuba, ojja kuzuula eby’obugagga bingi eby’omwoyo, nga gano ge magezi n’obulagirizi ebiva eri Katonda. (Bar. 11:33) Bw’ofuba okukozesa ebintu bye tulina ebituyamba okunoonyereza, kijja kukuyamba okwongera okutegeera Ebyawandiikibwa. Bw’obaako obulagirizi bwe weetaaga oba ng’olina ekibuuzo ekikwata ku Bayibuli kye weebuuza, fuba okunoonyereza. Buuza abalala bakubuulire Ebyawandiikibwa n’ebitundu ebiri mu bitabo byaffe ebibayambye. Buulirako abalala ku birungi by’oba ozudde nga weesomesa.
Kya lwatu nti ekigendererwa kyaffe ekikulu si kya kufuna bufunyi kumanya. Omutume Pawulo yagamba nti “okumanya kuleetera omuntu okwegulumiza.” (1 Kol. 8:1) N’olwekyo, fuba okusigala ng’oli mwetoowaze era ng’oli munywevu mu kukkiriza. Bw’ofuba okwesomesa Bayibuli n’okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa, kijja kukusobozesa okukola Yakuwa by’ayagala era kijja kukukubiriza okuyamba abalala. N’ekisinga byonna, ojja kuba musanyufu kubanga ojja kuba ozudde ekintu eky’omuwendo okusinga zzaabu.—Nge. 3:13, 14.