Obufumbo—Ani Yabutandikawo era Yalina Kigendererwa Ki?
“Yakuwa Katonda n’agamba nti: ‘Si kirungi omusajja okweyongera okubeeranga yekka. Ŋŋenda kumukolera omuyambi.’”—LUB. 2:18.
ENNYIMBA: 36, 11
1, 2. (a) Obufumbo bwatandikawo butya? (b) Kiki ekikwata ku bufumbo omusajja n’omukazi abaasooka kye balina okuba nga baategeera? (Laba ekifaananyi waggulu.)
OBUFUMBO kintu kikulu nnyo. Okumanya ensibuko y’obufumbo n’ensonga lwaki bwatandikibwawo kisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bufumbo n’okuba n’obufumbo obulimu essanyu. Katonda bwe yamala okutonda Adamu, omusajja eyasooka, yamuleetera ensolo azituume amannya. “Naye ye omusajja teyalina muyambi; teyalina munne amusaanira.” Bwe kityo, Katonda yaleetera Adamu otulo tungi, n’amuggyamu olubiriizi, n’alukolamu omukazi, omukazi n’amuleeta eri Adamu. (Soma Olubereberye 2:20-24.) N’olwekyo, obufumbo Katonda ye yabutandikawo.
2 Yesu yakiraga nti Katonda ye yagamba nti: “Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era ababiri abo banaabanga omubiri gumu.” (Mat. 19:4, 5) Katonda okukozesa olumu ku mbiriizi za Adamu n’alukolamu omukazi eyasooka kiteekwa okuba nga kyayamba abafumbo abo abaasooka okukiraba nti Katonda ayagala abafumbo okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ennyo nga balinga abali omuntu omu. Tekyali mu nteekateeka ya Katonda abafumbo okugattululwa oba okuwasa oba okufumbirwa omuntu asukka mu omu.
ENGERI OBUFUMBO GYE BUTUUKIRIZAAMU EKIGENDERERWA KYA YAKUWA
3. Emu ku nsonga lwaki Katonda yatandikawo obufumbo y’eruwa?
3 Adamu yasanyuka nnyo okufuna omukazi, era omukazi oyo yamutuuma Kaawa. Okuba nti omukazi oyo yali ‘asaanira’ Adamu, yandibadde akolera wamu ne Adamu ng’omuyambi we, era buli omu bwe yandituukirizza obuvunaanyizibwa bwe kyandibaleetedde essanyu lingi mu bufumbo bwabwe. (Lub. 2:18) Emu ku nsonga lwaki Katonda yatandikawo obufumbo kwe kuba nti ensi ejjula abantu. (Lub. 1:28) Wadde ng’abaana bandibadde baagala nnyo bazadde baabwe, ekiseera kyandituuse ne bava mu maka ga bazadde baabwe ne batandikawo amaka agaabwe. Abantu bandijjuzza ensi ku kigero ekisaanira era bandigenze bagaziya olusuku lwa Katonda okutuusa ensi yonna lwe yandifuuse olusuku lwa Katonda.
4. Kiki ekyatuuka ku bufumbo obwasooka?
4 Obufumbo obwasooka bwagwamu ekizibu eky’amaanyi, Adamu ne Kaawa bwe baakozesa obubi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo ne bajeemera Yakuwa. “Omusota ogw’edda,” Sitaani Omulyolyomi, yalimbalimba Kaawa n’amuleetera okulowooza nti singa alya ku muti “ogw’okumanya ekirungi n’ekibi” kyandimusobozesezza okufuna magezi ag’enjawulo n’aba ng’asobola okwesalirawo ekirungi n’ekibi. Kaawa teyassa kitiibwa mu bukulembeze bw’omwami we kubanga teyasooka kumwebuuzaako ku nsonga eyo. Ate ye Adamu mu kifo ky’okugondera Katonda, yakkiriza okulya ekibala Kaawa kye yamuwa.—Kub. 12:9; Lub. 2:9, 16, 17; 3:1-6.
5. Kiki kye tuyigira ku ngeri Adamu ne Kaawa gye baddamu Yakuwa ng’ababuuzizza ensonga lwaki baali bamujeemedde?
5 Katonda bwe yabuuza Adamu ensonga lwaki yali amujeemedde, Adamu yanenya mukazi we, n’agamba nti: “Omukazi gwe wampa okubeera nange y’ampadde ekibala ky’omuti nange ne ndya.” Kaawa ye yanenya musota. (Lub. 3:12, 13) Bombi beekwasa obusongasonga, naye ekyo tekyabayamba! Olw’okuba omusajja n’omukazi abaasooka baajeemera Katonda, baali tebakyasiimibwa mu maaso ge. Ekyo kituyigiriza ki? Obufumbo okusobola okubaamu essanyu, buli omu ku bafumbo alina okukkiriza ensobi ze era alina okugondera Yakuwa.
6. Nnyonnyola amakulu g’ebyo ebiri mu Olubereberye 3:15?
6 Wadde nga Sitaani yaleetera Adamu ne Kaawa okujeemera Yakuwa, Yakuwa yakola enteekateeka okuyamba abantu. (Soma Olubereberye 3:15.) Obunnabbi obwasooka mu Bayibuli bulaga nti ‘ezzadde ly’omukazi’ lyandibetense Sitaani. Okuyitira mu bunnabbi obwo Yakuwa yayamba abantu okukiraba nti alina enkolagana ey’oku lusegere n’ebitonde bye eby’omwoyo ebiri mu ggulu ebimuweereza n’obwesigwa. Ebyawandiikibwa era biraga nti mu bitonde ebyo eby’omu ggulu, ebigeraageranyizibwa ku mukazi wa Katonda, Katonda yandironzeemu ekitonde ‘ekyandibetense’ Omulyolyomi ekyo ne kisobozesa abantu abawulize okufuna obulamu obutaggwaawo Adamu ne Kaawa bwe baafiirwa.—Yok. 3:16.
7. (a) Kiki ekituuse ku bufumbo okuva Adamu ne Kaawa lwe baajeemera Katonda? (b) Kiki Bayibuli kye yeetaagisa abasajja n’abakazi okukola?
7 Adamu ne Kaawa okujeemera Katonda kyakosa nnyo obufumbo bwabwe n’obufumbo bw’abantu abalala bonna. Ng’ekyokulabirako, Kaawa n’abakazi abalala bonna bandifunye obulumi obw’amaanyi nga bali mbuto era nga bazaala. Abakazi bandibadde beegomba nnyo babbaabwe, era abasajja bandifuze bakyala baabwe era ng’oluusi babayisa bubi, nga bwe kiri mu bufumbo bungi leero. (Lub. 3:16) Bayibuli eragira abasajja okukulembera ab’omu maka gaabwe mu ngeri ey’okwagala. Ate bo abakazi balina okugondera obukulembeze bw’abaami baabwe. (Bef. 5:33) Olw’okuba abafumbo abatya Katonda bafuba okukolera ku mitindo gye egy’obutuukirivu, tebatera kufuna bukuubagano mu maka gaabwe era oluusi tebabufunira ddala.
OBUFUMBO OKUVA MU KISEERA KYA ADAMU OKUTUUKA MU KISEERA KY’AMATABA
8. Kiki ky’oyinza okwogera ku bufumbo okuva mu kiseera kya Adamu okutuuka mu kiseera ky’Amataba?
8 Adamu ne Kaawa bwe baali tebannafa olw’ekibi kye baakola, baasooka kuzaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala. (Lub. 5:4) Kayini, mutabani waabwe eyasooka, yawasa omukazi okuva mu b’eŋŋanda ze. Lameka, omu ku bazzukulu ba Kayini ye muntu Bayibuli gw’esooka okwogerako eyawasa abakazi ababiri. (Lub. 4:17, 19) Mu bantu abaaliwo okuva mu kiseera kya Adamu okutuuka mu kiseera kya Nuuwa, batono nnyo aboogerwako nti baali baweereza Yakuwa. Mu abo abaali baweereza Yakuwa mwe mwali Abbeeri, Enoka, Nuuwa n’ab’omu maka ge. Bayibuli egamba nti mu kiseera kya Nuuwa, ‘abaana ba Katonda ow’amazima baalaba ng’abawala b’abantu balabika bulungi, era baatandika okuwasa bonna be baalondangamu.’ Bamalayika abo okweyambaza emibiri gy’abantu ne bawasa abantu kyali kikontana n’enteekateeka ya Katonda, era baazaala abaana abayitibwa Abanefuli abaakola ebikolwa eby’obukambwe. Ate era ‘ebikolwa by’omuntu ebibi byayitirira mu nsi era n’ebirowoozo byonna eby’omu mutima gwe byali bibi ekiseera kyonna.’—Lub. 6:1-5.
9. Kiki Yakuwa kye yakola abantu ababi abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa, era ebyaliwo mu kiseera ekyo bituyigiriza ki?
9 Mu kiseera kya Nuuwa, Yakuwa yaleeta Amataba n’azikiriza abantu ababi. Mu kiseera ekyo abantu baali beemalidde ku bintu ebya bulijjo, gamba ng’okuwasa n’okufumbirwa, ne batassaayo mwoyo ku bubaka obukwata ku kuzikiriza okwali kujja, “Nuuwa omubuulizi w’obutuukirivu,” bwe yali abuulira. (2 Peet. 2:5) Yesu yalaga nti ekiseera kyaffe kyandibadde ng’ekiseera kya Nuuwa. (Soma Matayo 24:37-39.) Leero, abantu abasinga obungi tebassaayo mwoyo ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda agabuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, ng’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu tennajja. Ffe tetusaanidde kukkiriza bintu, gamba ng’obufumbo bwaffe oba okukuza abaana, kutuwugula ne twerabira nti olunaku lwa Yakuwa lusembedde.
OBUFUMBO OKUVA MU KISEERA KY’AMATABA OKUTUUKA MU KISEERA KYA YESU
10. (a) Bikolwa ki ebibi amawanga mangi bye gaakolanga? (b) Kyakulabirako ki ekirungi Ibulayimu ne Saala kye baateerawo abafumbo?
10 Wadde nga Nuuwa ne batabani be abasatu buli omu yawasa omukazi omu yekka, abantu bangi mu kiseera ekyo baawasanga abakazi abasukka mu omu. Abantu ab’amawanga agatali gamu baakolanga ebikolwa eby’obugwenyufu, era ng’abamu ebikolwa ebyo kitundu kya kusinza kwabwe. Ibulaamu (Ibulayimu) ne mukyala we Salaayi (Saala), baagondera Katonda ne bagenda mu nsi ya Kanani, naye abantu b’omu nsi eyo baali bakola ebikolwa ebityoboola obufumbo. N’olwekyo, Yakuwa yazikiriza ebibuga Sodomu ne Ggomola ebyali mu Kanani olw’okuba abantu baamu baali bagwenyufu ekisusse. Ibulayimu yakulemberanga bulungi ab’omu maka ge era Saala yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kugondera obukulembeze bw’omwami we. (Soma 1 Peetero 3:3-6.) Ibulayimu yakakasa nti mutabani we Isaaka awasa omukazi aweereza Yakuwa. Ate era olw’okuba Yakobo, mutabani wa Isaaka, yali ayagala nnyo okusinza okw’amazima, kyamuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ng’alonda ow’okuwasa. Mu batabani ba Yakobo mwe mwava ebika bya Isirayiri 12.
11. Amateeka ga Musa gaayamba gatya Abayisirayiri?
11 Ekiseera kyatuuka Yakuwa n’akola endagaano ne bazzukulu ba Yakobo (Isirayiri). Ekyamateeka 7:3, 4.) Singa omwami n’omukyala baafunanga obuzibu mu bufumbo bwabwe, abakadde baabayambanga. Amateeka gaalimu obulagirizi obukwata ku ky’okukola ng’omuntu ayenze, ng’akwatiddwa omulala obuggya, oba ng’ateeberezebwa okuba ng’ayenze. Amateeka era gakkirizanga abafumbo okugattululwa, naye nga tebamala gagattululwa ku buli nsonga yonna. Omusajja okuggatululwa ne mukazi we yalina okuba ng’amulabyemu ekintu “ekitasaana.” (Ma. 24:1) Bayibuli tetubuulira byali bizingirwa mu kintu ekyo “ekitasaana,” naye ekintu ekyo kiteekwa okuba nga kyali kibi kya maanyi so si buntuntu obutaliimu.—Leev. 19:18.
Amateeka ga Musa gaalimu obulagirizi obukwata ku bufumbo, nga mwe muli n’obufumbo obw’omusajja okuba n’abakazi abasukka mu omu. Amateeka ago gaakuuma Abayisirayiri mu by’omwoyo kubanga gaali gabagaana okuwasa oba okufumbirwa omuntu atasinza Yakuwa. (SomaTOKUUSAKUUSANGA MUNNO MU BUFUMBO
12, 13. (a) Mu kiseera kya nnabbi Malaki abasajja abamu baayisanga batya bakyala baabwe? (b) Leero singa Omukristaayo atwala omukazi oba omusajja w’omuntu omulala, biki ebivaamu?
12 Mu biseera bya nnabbi Malaki abasajja Abayudaaya bangi baakuusakuusanga bakazi baabwe nga bagattululwa nabo ku buli nsonga yonna. Abasajja abo baagobanga abakazi be baawasa mu buvubuka bwabwe oboolyawo ne bawasa abakazi abato oba abaali batasinza Yakuwa. Ne mu kiseera kya Yesu abasajja Abayudaaya baali bakuusakuusa bakyala baabwe nga bagattululwa nabo “ku buli nsonga yonna.” (Mat. 19:3) Yakuwa tayagalira ddala kugattululwa ng’okwo.—Soma Malaki 2:13-16.
13 Leero, ekikolwa eky’omuntu okukuusakuusa munne mu bufumbo tekikkirizibwa mu kibiina kya Yakuwa. Naye watya singa omusajja oba omukazi Omukristaayo atwala muka munne oba bba wa munne era n’amuwasa oba n’amufumbirwa oluvannyuma lw’okugattululwa? Omwonoonyi oyo bw’ateenenya agobebwa mu kibiina, ekibiina kisobole okusigala nga kiyonjo. (1 Kol. 5:11-13) Okusobola okukomezebwawo mu kibiina, alina okusooka ‘okubala ebibala ebiraga nti yeenenyezza.’ (Luk. 3:8; 2 Kol. 2:5-10) Wadde tewali kiseera kigereke ekiteereddwawo okusobola okukomyawo omuntu ng’oyo mu kibiina, ekintu eky’obukuusa ng’ekyo ekitatera kubaawo mu kibiina kya Yakuwa tekirina kutwalibwa ng’ekitono. Kiyinza okwetaagisa ekiseera ekiwerako okuyitawo, gamba ng’omwaka oba n’okusingawo, omwonoonyi oyo okusobola okukakasa nti yeenenyezza. Omuntu oyo ne bw’akomezebwawo mu kibiina aba ajja kuvunaanibwa “mu maaso g’entebe ya Katonda ey’okusalirako emisango.”—Bar. 14:10-12; laba Watchtower, eya Noovemba 15, 1979, lup. 31-32.
OBUFUMBO MU BAKRISTAAYO
14. Kiki Amateeka ga Musa kye gaakola?
14 Amateeka ga Musa gaawa Abayisirayiri obulagirizi okumala emyaka egisukka mu 1,500. Gaabayamba okulowooza ku misingi gya Katonda egy’obutuukirivu nga bakola ku nsonga ezikwata ku maka ne ku bintu ebirala, era gaakola ng’omukuumi okutuusa Masiya lwe yajja. (Bag. 3:23, 24) Yesu bwe yafa, Amateeka ago gaakoma era Katonda n’atandikawo enteekateeka empya. (Beb. 8:6) Mu nteekateeka eyo ebintu ebimu ebyali bikkirizibwa mu Mateeka ga Musa byali tebikyakkirizibwa.
15. (a) Mutindo ki ogukwata ku bufumbo Abakristaayo gwe balina okugoberera? (b) Biki Omukristaayo by’alina okusooka okulowoozaako ng’ayagala okugattululwa ne munne mu bufumbo?
15 Bwe yali addamu ekibuuzo Abafalisaayo abamu kye baamubuuza, Yesu yagamba nti wadde nga Musa yakkiriza abafumbo okugattululwa, ekyo “si bwe kyali okuva ku lubereberye.” (Mat. 19:6-8) Mu ngeri eyo Yesu yakiraga nti Abakristaayo balina okugoberera omusingi ogukwata ku bufumbo Katonda gwe yateekawo mu lusuku Edeni. (1 Tim. 3:2, 12) Okuba nti abafumbo baba “omubiri gumu,” kiraga nti buli omu alina okunywerera ku munne, era ng’okwagala kwe balina eri Katonda n’okwo kwe balina wakati waabwe kubaleetera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere. Omwami n’omukyala bwe bagattululwa nga tewali n’omu ku bo ayenze, baba tebalina kuddamu kuwasa oba kufumbirwa muntu mulala. (Mat. 19:9) Kya lwatu nti omuntu ayinza okusalawo okusonyiwa munne aba ayenze naye ne yeenenya, nga ne nnabbi Koseya bwe yasonyiwa mukyala we Gomeri eyali omwenzi. Yakuwa naye yasonyiwa Abayisirayiri abaayenda mu by’omwoyo ne beenenya. (Kos. 3:1-5) Naye kikulu okukijjukira nti singa omu ku bafumbo akimanyaako nti munne yayenze kyokka n’akkiriza okuddamu okwegatta naye, ekyo kiba kiraga nti amusonyiye era okusinziira ku Byawandiikibwa aba tasobola kugattululwa naye.
16. Kiki Yesu kye yayogera ku ky’omuntu okusigala nga si mufumbo?
16 Oluvannyuma lw’okukiraga nti Abakristaayo abafumbo tebalina kugattululwa okuggyako ng’omu ku bo ayenze, Yesu yayogera ku “abo abalina ekirabo” eky’okusigala nga si bafumbo. Yagattako nti: “Oyo asobola okusigala nga si mufumbo asigale nga si mufumbo.” (Mat. 19:10-12) Bangi basazeewo okusigala nga si bafumbo basobole okuweereza Yakuwa nga tewali kibawugula, era basiimibwa nnyo.
17. Kiki ekiyinza okuyamba Omukristaayo okusalawo okuyingira obufumbo oba obutabuyingira?
17 Buli muntu y’alina okwesalirawo ku lulwe obanga anaasigala nga si mufumbo obanga anaayingira obufumbo. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo okusigala nga si bafumbo, naye n’agamba nti: “Olw’obwenzi obuyitiridde, buli musajja abeere ne mukyala we, n’omukazi abeere n’omwami we.” Pawulo yagattako nti: “Naye bwe baba tebasobola kwefuga, bayingire obufumbo, kubanga okuyingira obufumbo kisinga okufugibwa okwegomba okw’amaanyi.” Omuntu bw’ayingira obufumbo kiyinza okumuyamba okwewala ebikolwa ebibi, gamba ng’okwemazisa n’ebikolwa ebirala eby’obugwenyufu, abantu abamu bye bakola olw’okwagala ennyo okwegatta. Kyokka era Pawulo yalaga nti emyaka omuntu gy’asaanidde okuyingiriramu obufumbo nagyo mikulu. Yagamba nti: “Omuntu yenna alowooza nti okusigala nga si mufumbo kimuleetera okweyisa mu ngeri etesaana, bw’aba ng’amaze okuyita mu kiseera ekya kabuvubuka, era ng’okuyingira obufumbo kye kintu ekituufu okukola, akole ky’ayagala; aba takoze kibi. Abantu ng’abo bayingire obufumbo.” (1 Kol. 7:2, 9, 36; 1 Tim. 4:1-3) Naye okwagala ennyo okwegatta si kwe kwandikubirizza omuntu okuyingira obufumbo. Ayinza obutaba mukulu kimala kutuukiriza buvunaanyizibwa abafumbo bwe balina okutuukiriza.
18, 19. (a) Omusajja n’omukazi Abakristaayo ababa bagenda okufumbiriganwa balina kuba batya? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
18 Omusajja n’omukazi Abakristaayo ababa bagenda okuyingira obufumbo basaanidde okuba nga baweereza ba Yakuwa ababatize era nga baagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Ate era bateekwa okuba nga baagalana nnyo ne kiba nti kati baba baagala okubeera awamu mu bufumbo. Tewali kubuusabuusa nti baba bajja kufuna emikisa mu bufumbo bwabwe olw’okufumbirwa mu “Mukama waffe mwokka” nga Bayibuli bw’eragira. (1 Kol. 7:39) Bwe bamala okufumbiriganwa era ne bafuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli bafuna essanyu lingi.
19 Ekitundu ekiddako kijja kulaga emisingi gya Bayibuli egisobola okuyamba Abakristaayo abafumbo okwaŋŋanga okusoomooza okutali kumu kwe boolekagana nakwo mu ‘nnaku zino ez’enkomerero’ ng’abasajja n’abakazi bangi bakola ebintu ebityoboola obufumbo. (2 Tim. 3:1-5) Okuyitira mu Kigambo kye, Yakuwa atuwadde amagezi agasobola okutuyamba okuba n’obufumbo obw’essanyu nga tutambulira wamu n’abantu be mu kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo.—Mat. 7:13, 14.