Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki abalabe ba Yesu baakuliriza ensonga ey’okunaaba mu ngalo?

Okunaaba mu ngalo kye kimu ku bintu abalabe ba Yesu kye baakozesa okunoonya ensobi mu Yesu awamu n’abayigirizwa be. Amateeka ga Musa gaalimu ebiragiro ebitali bimu ebikwata ku kwetukuza, gamba ng’omuntu alwadde obulwadde bw’ekikulukuto, ebigenge, oba ng’akutte ku mulambo, oba ku nsolo efudde. Ate era gaalimu n’obulagirizi obukwata ku ngeri y’okumalawo obutali bulongoofu. Ekyo kyali kisobola okukolebwa okuyitira mu kuwaayo ssaddaaka, okwoza, okunaaba, oba okumansira.​—Leev., sul. 11-​15; Kubal., sul. 19.

Abayudaaya balabbi baazimbulukusa amateeka ago. Ekitabo ekimu kigamba nti ku buli kintu ekyali kiyinza okuviirako omuntu oba ekintu obutaba kirongoofu, balabbi “baalondolanga kalonda yenna akwata ku ngeri obutali bulongoofu gye bwali buyinza okujjamu, ku ngeri gye bwali buyinza okusaasaanamu, ekigero kye bwali buyinza okusaasaanirako, ne ku bintu ebyali bisobola okufuuka oba ebyali bitasobola kufuuka bitali birongoofu, era n’obulombolombo obwali bulina okukolebwa okutukuza omuntu oba ekintu.”

Abalabe ba Yesu baamubuuza nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe naye ne balya emmere n’engalo ezitali nnongoofu?” (Mak. 7:5) Abakulembeze b’eddiini abo baali teboogera ku kabi akali mu kulya emmere ng’omuntu tanaabye mu ngalo. Balabbi baalina akalombolombo ak’okuyiwa amazzi ku ngalo zaabwe nga bagenda okulya. Ekitabo ekyogeddwako waggulu kigattako nti: ‘Ate era baafangayo nnyo ku bintu ki ebyalina okukozesebwa okufukirira omuntu amazzi, amazzi agaalina okukozesebwa, ani eyalina okufukirira abalala amazzi, na kitundu kyenkana wa eky’emikono ekyalina okufukirirwa.’

Ng’ayogera ku mateeka ago abantu ge baali bataddewo, Yesu yagamba nti: “Isaaya bye yayogera ku mmwe bannanfuusi bituufu, nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala. Batawaanira bwereere okunsinza, kubanga bayigiriza biragiro bya bantu.’ Muleka amateeka ga Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”​—Mak. 7:​6-8.