Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olaba Obwetaavu bw’Okutendeka Abalala?

Olaba Obwetaavu bw’Okutendeka Abalala?

“Nja kubayigiriza ebintu ebirungi.”​—NGE. 4:2.

ENNYIMBA: 93, 96

1, 2. Lwaki tulina okutendeka abalala mu kibiina?

OKUBUULIRA amawulire amalungi ag’Obwakabaka kye kintu ekyali kisinga obukulu mu bulamu bwa Yesu. Wadde kyali kityo, Yesu yafunangayo ekiseera okutendeka abalala okulabirira ekibiina n’okuba abayigiriza. (Mat. 10:​5-7) Wadde nga Firipo yalina eby’okukola bingi mu mulimu gw’okubuulira, yayamba bawala be abana okuba ababuulizi abalungi. (Bik. 21:​8, 9) Lwaki kikulu okutendeka abalala leero?

2 Leero abantu bangi okwetooloola ensi bakkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Abapya abo ababa batannabatizibwa beetaaga okumanya obukulu bw’okwesomesa. Era beetaaga okutendekebwa basobole okuyiga okubuulira n’okuyigiriza. Ate ab’oluganda mu bibiina beetaaga okukubirizibwa okufuba ennyo okutuukiriza ebisaanyizo okufuuka abaweereza oba abakadde. Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bwe bayigiriza obulungi abapya, basobola okubayamba okukulaakulana mu by’omwoyo.​—Nge. 4:2.

YAMBA ABAPYA OKUYIGA OKWESOMESA BAYIBULI

3, 4. (a) Pawulo yalaga atya nti okwesomesa Bayibuli kisobozesa omuntu okufuna ebibala mu mulimu gw’okubuulira? (b) Nga tetunnakubiriza bayizi baffe aba Bayibuli kwesomesa, kiki ffe kennyini kye tulina okuba nga tukola?

3 Lwaki kikulu omuntu okwesomesa Bayibuli? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi. Yabagamba nti: “Tetulekangayo kubasabira n’okwegayirira Katonda ku lwammwe musobole okujjuzibwa okumanya okutuufu okw’ebyo [Katonda] by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera eby’omwoyo, mulyoke musobole okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa okusobola okumusanyusiza ddala nga mweyongera okubala ebibala mu buli mulimu omulungi era nga mweyongera okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda.” (Bak. 1:​9, 10) Okumanya ebyo Katonda by’ayagala, kyandiyambye Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi “okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa okusobola okumusanyusiza ddala.” Ekyo kyandibasobozesezza okweyongera “okubala ebibala mu buli mulimu omulungi,” naddala omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Okusobola okuweereza obulungi Yakuwa, omuntu alina okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa Bayibuli. Ekyo tusaanidde okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okukitegeera.

4 Bwe tuba ab’okuyamba abalala okulaba obukulu bw’okwesomesa Bayibuli, ffe kennyini tulina okuba ng’okwesomesa tukutwala nga kukulu nnyo. Tulina okuba nga tulina enteekateeka ennungi ey’okwesomesa. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Omuntu bw’awa endowooza ekontana n’Ebyawandiikibwa oba bw’abuuza ebibuuzo ebizibu, nsobola okumuddamu nga nkozesa Bayibuli? Bwe nsoma ku ngeri Yesu, Pawulo, n’abalala gye baabuuliramu n’obunyiikivu, ndowooza ku ngeri gye nnyinza okubakoppamu?’ Ffenna twetaaga amagezi n’okuwabulwa okuva mu Kigambo kya Katonda. Bwe tubuulira abalala ku miganyulo gye tufunye mu kwesomesa Bayibuli, nabo kiyinza okubakubiriza okutandika okwesomesa basobole okufuna emiganyulo egyo.

5. Biki bye tuyinza okukola okuyamba abapya okuyiga okwesomesa obutayosa?

5 Oyinza okuba nga weebuuza, ‘Nnyinza ntya okuyamba omuyizi wange owa Bayibuli okwagala okwesomesa obutayosa?’ Osobola okutandika ng’omulaga engeri gy’ayinza okutegeka amasomo agali mu katabo k’oba ogenda okusoma naye. Oyinza okumukubiriza okusoma ebyongerezeddwaako ebiri mu katabo Kiki Ddala Baibuli ky’Eyigiriza? n’okusoma ebyawandiikibwa ebiba biweereddwa. Muyambe okuyiga okwetegekera enkuŋŋaana ng’alina ekigendererwa eky’okuzeenyigiramu. Mukubirize okusoma buli magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ne Zuukuka! efulumizibwa. Bwe kiba nti Watchtower Library oba LAYIBULALE KU MUKUTU GWAFFE eri mu lulimi lw’ategeera, mulage engeri gy’ayinza okugikozesaamu okuddamu ebibuuzo ebikwata ku Bayibuli. Bw’ofuba okuyamba omuyizi wa Bayibuli mu ngeri ng’eyo, kisobola okumuleetera okwagala okwesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa.

6. (a) Oyinza otya okuyamba omuyizi wa Bayibuli okwagala Ekigambo kya Katonda? (b) Kiki omuyizi wa Bayibuli ky’ayinza okukola singa omuyamba okwagala Ekigambo kya Katonda?

6 Kya lwatu nti tetusaanidde kukaka muntu yenna kusoma Bayibuli na kwesomesa. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukozesa ebintu byonna Yakuwa by’atuwadde okuyitira mu kibiina kye okuyamba abayizi baffe okwagala Ekigambo kya Katonda. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omuyizi wa Bayibuli ayinza okutandika okuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Okusemberera Katonda kirungi gye ndi. Yakuwa Mukama Afuga Byonna mmufudde kiddukiro kyange.” (Zab. 73:28) Omwoyo omutukuvu guyamba abayizi ba Bayibuli abaagala okusemberera Yakuwa.

YAMBA ABAPYA OKUYIGA OKUBUULIRA N’OKUYIGIRIZA

7. Yesu yatendeka atya abatume be okubuulira? (Laba ekifaananyi ku lupapula 25.)

7 Mu Matayo essuula 10, mulimu obulagirizi Yesu bwe yawa abatume be 12. Yababuulira ebintu ebitali bimu bye baalina okukuumira mu birowoozo nga babuulira. [1] Abatume baawuliriza bulungi nga Yesu abayigiriza engeri y’okubuuliramu. Oluvannyuma abatume abo baagenda okubuulira. Olw’okuba beetegereza engeri Yesu gye yayigirizangamu, kyabayamba okuyiga engeri y’okuyigirizaamu obulungi. (Mat. 11:1) Naffe tusobola okutendeka abayizi baffe aba Bayibuli okuba ababuulizi abalungi. Ka tulabe ebintu bibiri bye tuyinza okukola nga tubatendeka.

8, 9. (a) Yesu yatandikanga atya okwogera n’abantu ng’abuulira? (b) Tusobola tutya okuyamba ababuulizi abapya okuyiga okutandika emboozi n’abantu nga Yesu bwe yakola?

8 Okunyumya n’abalala. Yesu yateranga okwogera n’abantu kinnoomu ebikwata ku Bwakabaka. Ng’ekyokulabirako, yanyumya n’omukazi ku luzzi lwa Yakobo okumpi n’ekibuga Sukali, era ebyavaamu byali birungi. (Yok. 4:​5-​30) Era yanyumya ne Matayo Leevi, omusolooza w’omusolo. Bayibuli tetubuulira bingi bikwata ku mboozi eyo, naye eraga nti Matayo yakkiriza okufuuka omugoberezi wa Yesu. Matayo n’abantu abalala baawuliriza Yesu ng’ayogera okumala ekiseera kiwanvu bwe baali ku kijjulo mu nnyumba ya Matayo.​—Mat. 9:9; Luk. 5:​27-​39.

9 Ku mulundi omulala, Yesu yanyumyako ne Nassanayiri mu ngeri ey’omukwano, wadde nga Nassanayiri yalina endowooza eteri nnuŋŋamu ku bantu abaali bava e Nazaaleesi. Naye Nassanayiri yakyusa endowooza ye. Yakkiriza okuwuliriza ebyo Yesu, omusajja ow’e Nazaaleesi, bye yali ayigiriza. (Yok. 1:​46-​51) N’olwekyo kikulu okuyamba ababuulizi abapya okuyiga okunyumya n’abantu mu ngeri ey’omukwano. [2] Bwe tuyamba ababuulizi abapya okuyiga okunyumya n’abalala, bajja kusobola okulaba engeri abantu gye bakwatibwako nga banyumizzaako nabo mu ngeri eraga nti babafaako, era ekyo kijja kubaleetera essanyu.

10-12. (a) Yesu yayambanga atya abo abaayagalanga okuyiga ebisingawo? (b) Tuyinza tutya okuyamba ababuulizi abapya okufuuka abayigiriza abalungi?

10 Yamba abo abaagala okumanya ebisingawo. Yesu yalina ekiseera kitono eky’okukoleramu omulimu gw’okubuulira. Wadde kyali kityo, yafubanga okuyamba abo abaali baagala okumanya ebisingawo. Ng’ekyokulabirako, lumu Yesu yayigiriza ekibiina ky’abantu ng’ali mu lyato. Ku olwo, mu ngeri ey’ekyamagero, yasobozesa Peetero okukwata ebyennyanja bingi era n’amugamba nti: “Okuva leero ojja kuvubanga bantu.” Biki ebyavaamu? Bayibuli egamba nti Peetero ne banne ‘baakomyawo amaato ku lukalu, ne baleka buli kimu, ne bagoberera Yesu.’​—Luk. 5:​1-​11.

11 Nikodemu, omu ku b’omu lukiiko lw’Abayudaaya olukulu, yayagala nnyo ebyo Yesu bye yali ayigiriza. Yali ayagala okumanya ebisingawo naye ng’atya ekyo abalala kye bandirowoozezza nga bamulaba ayogera ne Yesu. Yesu yafissaawo akadde n’ayogerako ne Nikodemu ekiro ng’ekibiina ky’abantu tekiriiwo. (Yok. 3:​1, 2) Ekyo kituyigiriza ki? Omwana wa Katonda Yesu yafunanga akadde okuyamba abantu abaali baagala okuyiga ebisingawo. Ekyo naffe kyanditukubirizza okufuba okuddayo eri abantu abaagala okuyiga ebisingawo era n’okubayigiriza Bayibuli.

12 Bwe tubuulirako awamu n’ababuulizi abapya, kisobola okubayamba okufuuka abayigiriza abalungi. Tusaanidde okubakubiriza okuddayo eri abantu, ka babe abo abatasiimye nnyo bubaka bwaffe. Tusobola okusaba ababuulizi abapya okutuwerekerako nga tuddayo eri abo abaasiima obubaka bwaffe oba nga tugenda okuyigiriza abantu Bayibuli. Bwe tutendeka ababuulizi abapya mu ngeri eyo, kisobola okubaleetera okwagala okuddayo eri abo abaagala okuyiga ebisingawo era n’okubayigiriza Bayibuli. Ate era kijja kubayamba obutaggwaamu mangu maanyi n’okuba abagumiikiriza nga bakola omulimu gw’okubuulira.​—Bag. 5:​22; laba akasanduuko “ Kikulu Okuba Abagumiikiriza.”

TENDEKA ABAPYA OKUYAMBA BAKKIRIZA BANNAABWE

13, 14. (a) Kiki ky’oyigira ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abeefiirizanga okusobola okuyamba abalala? (b) Oyinza otya okutendeka ababuulizi abapya n’abato mu myaka okuyiga okufaayo ku bakkiriza bannaabwe?

13 Ebyawandiikibwa biraga nti kikulu okwagala bakkiriza bannaffe n’okubaweereza. (Soma 1 Peetero 1:​22; Lukka 22:​24-​27.) Ng’ekyokulabirako, Omwana wa Katonda yeerekereza bingi, n’atuuka n’okuwaayo obulamu bwe, okusobola okuweereza abalala. (Mat. 20:28) Doluka “yayitirira mu kukola ebikolwa ebirungi.” (Bik. 9:​36, 39) Maliyamu, mwannyinaffe eyali abeera mu Rooma, ‘yakola nnyo’ okuyamba bakkiriza banne mu kibiina. (Bar. 16:6) Tuyinza tutya okuyamba abapya okukiraba nti kikulu okuyamba bakkiriza bannaabwe?

Tendeka abapya okufaayo ku bakkiriza bannaabwe (Laba akatundu 13, 14)

14 Abajulirwa ba Yakuwa abakulu mu by’omwoyo basobola okusaba abapya babawerekereko nga bagenda okulaba ab’oluganda abalwadde oba abakaddiye. Bwe kiba nga kituukirawo, abazadde bayinza okugenda n’abaana baabwe okulaba ab’oluganda ng’abo. Abakadde mu kibiina basobola okukolera awamu n’abalala okukakasa nti bannamukadde abali mu kibiina balina emmere era nti amaka gaabwe gali mu mbeera nnungi. Ekyo kisobola okuyamba abato n’abapya mu kibiina okuyiga okukolera abalala ebirungi. Ng’ekyokulabirako, omukadde omu mu kibiina bwe yabanga abuulira, yafissangawo akaseera n’agenda okulaba ku bakkiriza banne ab’omu kitundu. Ow’oluganda omuto eyateranga okumuwerekerako yakiraba nti buli muntu mu kibiina yeetaaga okuwulira nti afiibwako.​—Bar. 12:10.

15. Lwaki kikulu abakadde okuyamba abasajja mu kibiina okukulaakulana?

15 Okuva bwe kiri nti Yakuwa akozesa basajja okuyigiriza mu kibiina, ab’oluganda basaanidde okuyiga okuyigiriza obulungi. Bw’oba oweereza ng’omukadde, osobola okufissaawo akadde n’owuliriza omuweereza nga yeegezaamu mu mboozi gy’agenda okuwa? Bw’okola bw’otyo osobola okumuyamba okukulaakulana mu ngeri gy’ayigirizaamu.​—Nek. 8:8. [3]

16, 17. (a) Pawulo yayamba atya Timoseewo okukulaakulana? (b) Abakadde bayinza batya okutendeka ab’oluganda abanaaweereza ng’abakadde mu biseera eby’omu maaso?

16 Waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’abakadde mu kibiina, era abo abanaaweereza ng’abakadde mu biseera eby’omu maaso beetaaga okutendekebwa. Pawulo yalaga engeri ab’oluganda gye bayinza okutendekebwamu bwe yagamba Timoseewo nti: “Mwana wange, funanga amaanyi mu kisa eky’ensusso ekiri mu Kristo Yesu; era ebintu bye wawulira okuva gye ndi, bangi bye baawaako obujulirwa, bitegeeze abasajja abeesigwa basobole okuba n’ebisaanyizo eby’okuyigiriza abalala.” (2 Tim. 2:​1, 2) Timoseewo alina bingi bye yayiga ng’aweerereza wamu ne Pawulo, omusajja eyali amusinga emyaka. Ebyo Timoseewo bye yayigira ku Pawulo byamuyamba nnyo mu buweereza bwe.​—2 Tim. 3:​10-​12.

17 Okusobola okutendeka obulungi Timoseewo, Pawulo yakakasa nti akolerako wamu naye okumala ekiseera ekiwera. (Bik. 16:​1-5) Bwe kiba kituukirawo, abakadde basobola okukoppa Pawulo nga bagenda n’abaweereza okukyalira ab’oluganda. Bwe bakola batyo, ekyo kiwa akakisa abaweereza okulaba engeri abakadde gye bayigirizaamu, gye boolekamu okukkiriza, obugumiikiriza, n’okwagala, ebintu abo abaweereza ng’abakadde bye basaanidde okwoleka. Ekyo kiyamba okutendeka ab’oluganda abanaalunda “ekisibo kya Katonda” mu biseera eby’omu maaso.​—1 Peet. 5:⁠2.

ENSONGA LWAKI KIKULU OKUTENDEKA ABALALA

18. Lwaki tulina okufuba okutendeka abalala mu kibiina?

18 Mu nnaku zino ez’enkomerero, abapya bangi beetaaga okutendekebwa okusobola okubeera ababuulizi abalungi. Ate era ab’oluganda beetaaga okutendekebwa okusobola okulabirira ekibiina. Yakuwa ayagala abaweereza be bonna okutendekebwa obulungi era atuwadde enkizo ey’okutendeka abapya. N’olwekyo, kikulu nnyo okufuba okutendeka abalala nga Pawulo ne Yesu bwe baakola. Tulina okutendeka ab’oluganda ne bannyinaffe bangi nga bwe kisoboka kubanga wakyaliwo eby’okukola bingi mu mulimu gw’okubuulira ng’enkomerero tennatuuka.

19. Lwaki osaanidde okuba omukakafu nti bw’ofuba okutendeka abalala ojja kufuna ebibala?

19 Kyetaagisa okuwaayo ebiseera n’okufuba ennyo okusobola okutendeka abalala. Naye Yakuwa ne Yesu bajja kutuyamba okusobola okutendeka abalala. Bwe tulaba abo be tutendese nga beeyongera okuweereza n’obunyiikivu, kituleetera essanyu lingi. (1 Tim. 4:​10) N’olweyo ka tweyongere okufuba okukulaakulana mu by’omwoyo.

^ [1] (akatundu 7) Ebimu ku bintu Yesu bye yayogerako bye bino: (1) Obubaka obutuufu bwe baalina okubuulira. (2) Okubeera abamativu n’ebintu Katonda by’abawa. (3) Okwewala okuwakana n’abantu. (4) Okwesiga Katonda nga waliwo ababaziyiza. (5) Obutatya.

^ [2] (akatundu 9) Ekitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, lup. 62-​64, kirimu amagezi amalungi agakwata ku ngeri gye tuyinza okunyumya n’abantu nga tubuulira.

^ [3] (akatundu 15) Ekitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, ku lupapula 52-​61, kiraga ebyetaagisa omuntu okusobola okuyigiriza obulungi.