Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki ebyo Enjiri ya Matayo n’Enjiri ya Lukka bye zoogera ku bulamu bwa Yesu ng’akyali muto byawukana?

Ebyo Enjiri ya Matayo by’eyogera ku kuzaalibwa kwa Yesu ne ku myaka gye egy’obuto byawukanamuko ku ebyo ebiri mu Njiri ya Lukka kubanga essira balissa ku bantu ba njawulo.

Matayo essira alissa ku Yusufu. Ayogera ku ngeri Yusufu gye yawuliramu nga yaakakimanya nti Maliyamu ali lubuto, ku ngeri malayika gye yamulabikira mu kirooto n’amunnyonnyola ebikwata ku lubuto lwa Maliyamu, era alaga nti Yusufu yakkiriza ebyo malayika bye yamugamba. (Mat. 1:19-25) Matayo era ayogera ku kirooto Yusufu kye yaloota nga malayika amugamba addukire e Misiri, alaga nti Yusufu yagenda n’ab’omu maka ge e Misiri, ayogera ku kirooto kye yaloota nga malayika amugamba addeyo mu Isirayiri, ayogera ku kudda kwa Yusufu mu Isirayiri, n’engeri gye yasalawo okubeera mu Nazaaleesi awamu n’ab’omu maka ge. (Mat. 2:13, 14, 19-23) Mu ssuula ezisooka ez’Enjiri ya Matayo erinnya lya Yusufu lirimu emirundi munaana, so ng’ate erya Maliyamu lirimu emirundi ena gyokka.

Ku luuyi olulala, Lukka essira asinga kulissa ku Maliyamu. Ayogera ku Maliyamu ng’alabikiddwa malayika Gabulyeri, ng’akyalidde Erizabeesi gwe yalinako oluganda, ne ku bigambo Maliyamu bye yayogera ng’atendereza Yakuwa. (Luk. 1:26-56) Lukka era ayogera ku bigambo Simiyoni bye yagamba Maliyamu ebikwata ku kubonaabona Yesu kwe yandiyiseemu. Ne bwe yali ayogera ku kiseera Yusufu n’ab’omu maka ge bwe baagenda ku yeekaalu nga Yesu wa myaka 12, Lukka awandiika bigambo bya Maliyamu so si bya Yusufu. Lukka era alaga nti ebintu ebyo Maliyamu yabikuumira ku mutima. (Luk. 2:19, 34, 35, 48, 51) Mu ssuula ebbiri ezisooka ez’Enjiri ya Lukka, erinnya lya Maliyamu lyogerwako emirundi 12, naye erya Yusufu lyogerwako emirundi 3 gyokka. Nga bwe tulabye, Matayo essira alissa ku Yusufu, so ng’ate Lukka essira alissa ku Maliyamu.

Ate era n’olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu lwawukana mu Njiri ezo ebbiri. Matayo agoberera olunyiriri lw’obuzaale bwa Yusufu n’alaga nti mu mateeka, Yesu yali agwana okusikira entebe ya Dawudi. Lwaki? Kubanga Yusufu kitaawe eyamukuza yava mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi okuyitira mu Sulemaani. (Mat. 1:6, 16) Kyokka ate ye Lukka agoberera olunyiriri lw’obuzaale bwa Maliyamu n’alaga nti Yesu yali agwana okusikira entebe ya Dawudi kubanga yali muzzukulu wa Dawudi ow’omu musaayi. (Bar. 1:3) Lwaki? Kubanga Maliyamu yali muzzukulu wa Kabaka Dawudi okuyitira mu Nasani mutabani wa Dawudi. (Luk. 3:31) Naye lwaki Lukka tayogera ku Maliyamu nti muwala wa Keri ng’ate Keri ye yali kitaawe? Kiri kityo kubanga mu biwandiiko ebiraga ennyiriri z’obuzaale, baalondoolanga mannya ga basajja. N’olwekyo, mu lunyiriri olwo olw’obuzaale Lukka bwe yayogera ku Yusufu era n’agamba nti Yusufu mwana wa Keri, abantu baakitegeera nti Yusufu yali bba wa muwala wa Keri.​—Luk. 3:23.

Ennyiriri z’obuzaale eziri mu Matayo ne mu Lukka ziwa obukakafu nti Yesu ye Masiya eyasuubizibwa. Abantu bangi baali bamanyi bulungi ebikwata ku lunyiriri lw’obuzaaIe bwa Yesu ne kiba nti Abafalisaayo n’Abasaddukaayo nabo baali tebasobola kuluwakanya. Mu butuufu, ennyiriri z’obuzaale bwa Yesu ezisangibwa mu Matayo ne mu Lukka zinyweza okukkiriza kwaffe era zitukakasa nti byonna Katonda bye yasuubiza bijja kutuukirira.