Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Okugumira Ebizibu Kinviiriddemu Emikisa Mingi

Okugumira Ebizibu Kinviiriddemu Emikisa Mingi

OMUKUNGU omu ow’ekitongole kya KGB * yamboggolera n’aŋŋamba nti: “Oli musajja mubi nnyo. Oyabulidde mukyala wo ne kawala ko akato. Ani anaabafunira eky’okulya era ani anaabalabirira? Ggwe gamba bugambi nti tokyali Mujulirwa wa Yakuwa, tukute oddeyo ewuwo.” Nnamuddamu nti: “Sinnayabulira ba mu maka gange. Mmwe munkutte. Munkwatidde ki?” Omukungu oyo yanziramu nti: “Okubeera Omujulirwa wa Yakuwa gwe gumu ku misango egisingayo okuba egya nnaggomola.”

Ebyo byaliwo mu 1959 mu kkomera erimu eryali mu kibuga ekiyitibwa Irkutsk mu Russia. Kati ka mbabuulire ensonga lwaki nze ne mukyala wange Maria twali beetegefu ‘okubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu’ era n’engeri Yakuwa gye yatuwaamu emikisa olw’okusigala nga tuli beesigwa.​—1 Peet. 3:13, 14.

Nnazaalibwa mu 1933 mu nsi ya Ukraine ku kyalo ekiyitibwa Zolotniki. Mu 1937 maama wange omuto n’omwami we abaali Abajulirwa ba Yakuwa baatukyalira okuva mu Bufalansa era ne batuleetera ebitabo, Government ne Deliverance, ebyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Taata wange bwe yasoma ebitabo ebyo yakwatibwako nnyo. Eky’ennaku, mu 1939 yalwala obulwadde obw’amaanyi, era bwe yali anaatera okufa yagamba maama nti: “Gano ge mazima. Fuba okugayigiriza abaana.”

TUBUULIRA MU SIBERIA

Mu Apuli 1951, ab’obuyinza baatandika okuggya Abajulirwa ba Yakuwa mu bugwanjuba bwa Soviet Union okubatwala mu nkambi z’abasibe e Siberia. Nze ne maama wange ne muganda wange omuto ayitibwa Grigory baatuggya mu kitundu kya Ukraine eky’ebugwanjuba ne batutwala. Baatulinnyisa eggaali y’omukka eyatambula olugendo lwa mayilo ezisukka mu 3,700 n’etutuusa mu kibuga Tulun mu Siberia. Oluvannyuma lwa wiiki bbiri, muganda wange omukulu ayitibwa Bogdan naye yaleetebwa mu nkambi y’abasibe eyali mu kibuga Angarsk ekyali okumpi ne Tulun. Yali asaliddwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka 25.

Nze ne maama wange ne Grigory twatandika okubuulira mu Tulun naye nga tubuulira na bwegendereza. Ng’ekyokulabirako, twabuuzanga abantu nti, “Mu kitundu kino mulimu omuntu atunda ente?” Bwe twasanganga omuntu atunda ente, twayogeranga ku ngeri ey’ekitalo ente gye zaakulamu. Mpolampola twakyusanga emboozi ne tutandika okwogera ku Mutonzi. Mu kiseera ekyo olupapula olumu olw’amawulire lwayogera ku Bajulirwa ba Yakuwa nti bagenda banoonya ente naye ng’ekituufu kiri nti baagala ndiga! Era ddala twazuula abantu abalinga endiga! Kyatuleetera essanyu lingi okuyiga Bayibuli n’abantu ab’emitima emirungi abaali babeera mu kitundu ekyo ekyali kitabuulirwangamu. Leero mu Tulun eriyo ekibiina ekirimu ababuulizi abasukka mu 100.

OKUKKIRIZA KWA MARIA KUGEZESEBWA

Mukyala wange Maria amazima yagayigira mu Ukraine mu kiseera kya Sematalo II. Maria bwe yali nga wa myaka 18 omukungu omu owa KGB yagezaako okumuwaliriza okwegatta naye kyokka Maria n’agaana. Lumu Maria bwe yakomawo awaka, yasanga omusajja oyo agalamidde ku buliri bwe. Maria bwe yamulaba yadduka. Omusajja oyo yasunguwala nnyo era n’atiisatiisa okusibisa Maria olw’okubeera Omujulirwa wa Yakuwa, era mu 1952 Maria yasalirwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka 10. Maria yagamba nti yawulira nga Yusufu, eyasibibwa mu kkomera olw’okunywerera ku misingi gya Katonda. (Lub. 39:12, 20) Omusajja eyavuga Maria okuvu ku kkooti okutuuka ku kkomera gye yasibibwa yamugamba nti: “Totya. Abantu bangi basibibwa mu kkomera naye oluvannyuma ne bateebwa nga bakyalina ekitiibwa kyabwe.” Ebigambo ebyo byagumya nnyo Maria.

Okuva mu 1952 okutuuka 1956, Maria yakozesebwa emirimu egy’amaanyi mu nkambi y’abasibe eyali okumpi n’ekibuga Gorkiy (kati ekiyitibwa Nizhniy Novgorod) mu Russia. Baamulagiranga okusigula emiti ne mu budde obw’obutiti. Obulamu bwe bwakosebwa nnyo naye 1956 baamuta n’agenda mu Tulun.

NTWALIBWA WALA NNYO OKUVA AWALI AB’OMU MAKA GANGE

Ow’oluganda omu mu Tulun bwe yaŋŋamba nti waaliwo mwannyinaffe eyali ajja, nnakwata eggaali yange ne ŋŋenda awaali wasimba bbaasi nsobole okumuleeterako ku mugugu gwe. Bwe nnasisinkana Maria, nnamwagalirawo. Tekyali kyangu kumumatiza anfumbirwe naye nnamala ne mmuwangula. Twafumbiriganwa mu 1957. Oluvannyuma lw’omwaka gumu twazaala Irina, muwala waffe eyasooka. Naye essanyu ery’okubeera n’omwana wange teryamala kiseera kiwanvu. Mu 1959 nnakwatibwa olw’okukuba mu kyapa ebitabo eby’esigamiziddwa ku Bayibuli. Nnamala emyezi mukaaga nga nsibiddwa nzekka mu kaduukulu. Okusobola okusigala nga ndi musanyufu mu kiseera ekyo, nnasabanga buli kiseera, nnayimbanga ennyimba z’Obwakabaka, era nneegezangamu engeri gye nnali ŋŋenda okubuuliramu abantu nga nnyimbuddwa.

Nga ndi mu nkambi y’abasibe, mu 1962

Bwe baali bambuza ebibuuzo mu kkomera, omukungu omu yagamba nti: “Mu kiseera kitono tugenda kubasaanyaawo ng’abasaanyaawo emmese!” Nnamuddamu nti, “Yesu yagamba nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka gajja kubuulirwa mu mawanga gonna, era ekyo tewali ayinza kukiremesa.” Oluvannyuma omukungu oyo yakyusa akakodyo n’agezaako okunsalira amagezi nnekkiriranye ng’aŋŋamba ebigambo bye njogeddeko ku ntandikwa. Bwe nnagaana okwekkiriranya, nnasalirwa ekibonerezo kya kumala emyaka musanvu nga nkola emirimu egy’amaanyi mu nkambi y’abasibe eyali okumpi n’ekibuga Saransk. Bwe nnali ntwalibwa mu nkambi eyo, nnakitegeerako nti muwala waffe ow’okubiri, Olga, yali azaaliddwa. Wadda nga mukyala wange n’abaana bange baali wala nnyo okuva we nnali, kyanzizangamu nnyo amaanyi okukimanya nti ze ne Maria twali tunyweredde ku Yakuwa.

Maria ne bawala baffe, Olga ne Irina, mu 1965

Maria yajjanga e Saransk okunkyalira omulundi gumu buli mwaka. Olugendo olwo lwamutwaliranga ennaku 12 amagenda n’amadda, era yatambuliranga mu ggaali ya mukka okuva e Tulun okutuuka e Saransk. Buli mwaka yandeeteranga omugogo gw’engatto. Mu soole z’engatto ezo yateekangamu magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ez’emyezi egyali gyakayita. Lumu Maria yajja okunkyalira ng’ali ne bawala baffe ababiri era ku olwo essanyu lyampitirirako.

TWOLEKAGANA N’OKUSOOMOOZA OKULALA MU BIFO EBIRALA

Mu 1966 nnateebwa era nze ne mukyala wange ne bawala baffe twasengukira mu kibuga Armavir okumpi n’Ennyanja Enzirugavu. Eyo batabani baffe, Yaroslav ne Pavel gye baazaalibwa.

Waayita ekiseera kitono aba KGB ne batandika okwazanga amaka gaffe okulaba oba nga twalina ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Baanoonyanga buli wamu, ne mu mmere y’ente. Lumu mu budde obw’ebbugumu aba KGB baali waka nga banoonya ebitabo, era baali batuyanye nga n’engoye zaabwe zijjudde enfuufu. Maria bwe yabatunuulira yabakwatirwa ekisa kubanga baali bagondera bugondezi biragiro. Yabaleetera eby’okunywa, ne bbulaasi okwekubako enfuufu, n’akataasa k’amazzi, n’obugoye obw’okwesiimuuza. Oluvannyuma mukama waabwe bwe yajja, abasajja abo baamubuulira engeri ennungi gye baali bayisiddwamu. Bwe baali bagenda, omukungu oyo yatutunuulira nga bw’amwenya era n’atuwuubira omukono. Twasanyuka okulaba ebirungi ebiva mu ‘kuwangula ebibi nga tukola ebirungi.’​— Bar. 12:21.

Wadde nga baatwazanga tweyongera okubuulira mu Armavir. Era twayambako mu kunyweza okukkiriza kwa baganda baffe abaali mu kibinja ekyali mu kibuga Kurganinsk ekyali kituliraanye. Kindeetera essanyu lingi okukimanya nti leero mu Armavir waliyo ebibiina mukaaga ate mu Kurganinsk waliyo ebibiina bina.

Waliwo ebiseera lwe twanafuwanga mu by’omwoyo, naye twebaza Yakuwa nti yakozesanga ab’oluganda abeesigwa ne batuwabula era ne batuzzaamu amaanyi. (Zab. 130:3) Ate era okukkiriza kwaffe kwagezesebwa nnyo abamu ku ba KGB bwe baayingira mu kibiina mu nkukutu ne tuweerereza wamu nabo. Baalabika ng’ab’oluganda abeesigwa era baali banyiikivu nnyo mu kubuulira. Abamu baatuuka n’okuweebwa enkizo mu kibiina. Naye oluvannyuma lw’ekiseera twabamanya nti baali ba mbega ba KGB.

Mu 1978, Maria bwe yali nga wa myaka 45, yaddamu n’afuna olubuto. Olw’okuba yali mulwadde wa mutima, abasawo baalowooza nti olubuto olwo lwali luyinza okumuviirako okufa era baamugamba aluggyemu. Maria yagaana. Ng’ali mu ddwaliro, abasawo baatandika okumulondoola buli wamu nga balina empiso ezirimu eddagala nga baagala okuzimukuba olubuto luveemu. Okusobola okutaasa omwana, Maria yadduka mu ddwaliro.

Aba KGB baatulagira okuva mu Armavir. Twasengukira mu kyalo ekimu okumpi n’ekibuga Tallinn mu Estonia, era mu kiseera ekyo Estonia yali wansi wa Soviet Union. Eyo mu kibuga Tallinn Maria gye yazaalira omwana ow’obulenzi eyali omulamu obulungi gwe twatuuma Vitaly.

Oluvannyuma twava mu Estonia ne tugenda mu Nezlobnaya mu bukiikaddyo bwa Russia. Twabuuliranga mu bubuga obwajjangamu abantu abangi abaabanga bavudde mu bitundu bya Russia ebitali bimu, naye twabanga beegendereza. Abantu abo bajjanga mu bubuga obwo okujjanjabibwa, naye abamu baddangayo ewaabwe nga balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.

TUYAMBA ABAANA BAFFE OKWAGALA YAKUWA

Twafuba okuyamba abaana baffe okwagala Yakuwa n’okumuweereza. Twateranga okukyaza ab’oluganda mu maka gaffe era baakola kinene nnyo mu kuyamba abaana baffe mu by’omwoyo. Muganda wange Grigory eyali aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina okuva mu 1970 okutuuka mu 1995 yateranga okutukyalira. Twasanyukanga nnyo buli lwe yatukyaliranga kubanga yali musanyufu nnyo ate ng’asaagasaaga. Bwe twakyazanga abagenyi twateranga okuzannya emizannyo egyesigamiziddwa ku Bayibuli era ekyo kyaleetera abaana baffe okwagala ennyo Bayibuli.

Batabani bange ne bakyala baabwe.

Okuva ku kkono, emabega: Yaroslav, Pavel, Jr., Vitaly

Mu maaso: Alyona, Raya, Svetlana

Mu 1987, mutabani waffe Yaroslav yagenda mu kibuga Riga mu Latvia, gye yali asobola okubuulira kyere. Naye bwe yagaana okuyingira amagye, baamusalira ekibonerezo kya kusibibwa omwaka gumu n’ekitundu era baamusibira mu makomera mwenda ag’enjawulo. Nnali mmubuuliddeko bye nnayitamu nga nsibiddwa era ekyo kyamuyamba okugumira embeera eyo. Oluvannyuma yatandika okuweereza nga payoniya. Mu 1990, mutabani waffe Pavel, eyalina emyaka 19, yayagala okugenda ku kizinga Sakhali ekiri e bukiikaddyo wa Japan okuweereza nga payoniya. Mu kusooka twali tetumusemba kugenda, kubanga ku kizinga ekyo waaliyo ababuulizi 20 bokka ate nga kyali mayiro 5,500 okuva we twali tubeera. Naye oluvannyuma twamukkiriza okugenda era ekyo kye twasalawo kyali kya magezi. Abantu b’oku kizinga ekyo baayagala nnyo amawulire amalungi agaababuulirwa. Oluvannyuma lw’emyaka mitono, ebibiina munaana byatandikibwayo. Pavel yaweereza ku kizinga Sakhalin okutuusa mu 1995. Mu kiseera ekyo, mutabani waffe Vitaly asembayo obuto yekka ye yali asigadde awaka. Okuva mu buto Vitaly yali ayagala nnyo okusoma Bayibuli. Bwe yaweza emyaka 14, yatandika okuweereza nga payoniya era nnaweerezaako naye nga payoniya okumala emyaka ebiri. Mu butuufu nnanyumirwa nnyo. Bwe yaweza emyaka 19, yava awaka n’agenda okuweereza nga payoniya ow’enjawulo.

Mu 1952, omukungu wa KGB omu yagamba Maria nti: “Bw’onoosigala ng’onyweredde ku nzikiriza yo, ojja kusibibwa emyaka kkumi. W’oliviira mu kkomera oliba okaddiye era ng’osigadde omu bw’oti.” Naye ekyo si bwe kyali. Yakuwa yatulaga okwagala era n’abaana baffe awamu n’abantu be twayamba okuyiga amazima nabo baatulaga okwagala kungi. Nze ne Maria twanyumirwanga nnyo okukyala mu bitundu abaana baffe gye baali baweerereza. Twasisinkana ab’oluganda abaali abasanyufu ennyo olw’abaana baffe okubayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa.

TWEBAZA YAKUWA OLW’EBIRUNGI BYE YATUKOLERA

Mu 1991, omulimu gwaffe gwakkirizibwa mu mateeka mu Russia. Ekyo kyatwongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Ekibiina kyaffe kyagula ne bbaasi gye twali ab’okukozesanga buli wiikendi okugenda okubuulira mu bibuga ne mu byalo ebirala.

Nga ndi ne mukyala wange mu 2011

Ndi musanyufu nnyo okuba nti Yaroslav ne mukyala we Alyona, ne Pavel ne mukyala we Raya, baweereza ku Beseri, ate Vitaly ne mukyala we Svetlana bakola mulimu gwa kukyalira bibiina. Muwala waffe omukulu Irina, abeera mu Bugirimaani. Omwami we Vladimir, ne batabani baabwe abasatu bonna baweereza ng’abakadde mu kibiina. Muwala waffe Olga abeera mu Estonia era tayosa kunkubira ssimu. Eky’ennaku, mukyala wange omwagalwa, Maria, yafa mu 2014. Nneesunga nnyo okuddamu okumulaba ng’azuukidde. Kati mbeera mu kibuga Belgorod, era ab’oluganda bannyamba nnyo.

Emyaka gye mmaze nga mpeereza Yakuwa njize nti okusobola okusigala nga tuli beesigwa, tulina okwefiiriza, naye Yakuwa atuyamba ne tubeera n’emirembe mu mutima, era emirembe egyo tegigeraageranyizibwa na kintu kirala kyonna. Nze ne Maria twafuna emikisa mingi nnyo olw’okusigala nga tuli beesigwa. Mu 1991 nga Soviet Union tennavaawo, mu nsi zonna ezaali wansi wa Soviet Union mwalimu ababuulizi nga 40,000. Leero mu nsi ezo mulimu ababuulizi abasukka mu 400,000. Kati nnina emyaka 83 era nkyaweereza ng’omukadde. Yakuwa annyambye okugumira ebizibu bingi ate era ampadde emikisa mingi.​—Zab. 13:5, 6.

^ lup. 4 KGB kyali kitongole kya Soviet Union ekikessi.