Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okugumiikiriza​—Nga Tulina Essuubi

Okugumiikiriza​—Nga Tulina Essuubi

OLW’OKUBA ‘ennaku ez’enkomerero’ zeeyongera okuba enzibu buli lukya, abantu ba Yakuwa kibeetaagisa nnyo okuba abagumiikiriza. (2 Tim. 3:1-5) Twetooloddwa abantu abeeyagala bokka, abatakkiriza kukkaanya, era abateefuga. Abantu abooleka engeri ng’ezo tebatera kuba bagumiikiriza. N’olwekyo buli Mukristaayo asaanidde okwebuuza nti: ‘Okuba nti abantu abasinga obungi mu nsi si bagumiikiriza kirina kye kinkozeeko? Kitegeeza ki okuba omugumiikiriza? Nnyinza ntya okwongera okukulaakulanya engeri eno ey’Ekikristaayo mu bulamu bwange?’

KYE KITEGEEZA OKUBA OMUGUMIIKIRIZA

Mu Bayibuli, ekigambo obugumiikiriza kirina amakulu agasingawo ku kugumira obugumizi embeera enzibu. Omuntu ayoleka obugumiikiriza obwogerwako mu Bayibuli, agumiikiriza ng’alina essuubi. Omuntu agumiikiriza aba teyeefaako yekka, wabula afaayo ne ku balala, nga mw’otwalidde n’abo abamuyisa obubi. N’olwekyo omuntu omugumiikiriza bwe bamukola ebintu ebimuyisa obubi asigala alina essuubi nti embeera ejja kutereera. Tekyewuunyisa nti Bayibuli bw’eba eyogera ku bintu ebizingirwa mu kwagala esooka kwogera ku ‘bugumiikiriza’. * (1 Kol. 13:4) Ate era Bayibuli eraga nti obugumiikiriza kye kimu ku “ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo.” (Bag. 5:22, 23) Naye kiki kye tulina okukola okusobola okukulaakulanya engeri eyo?

ENGERI Y’OKUKULAAKULANYAMU OBUGUMIIKIRIZA

Okusobola okukulaakulanya obugumiikiriza, tulina okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gw’awa abo abamwesiga. (Luk. 11:13) Kyokka wadde ng’omwoyo gwa Katonda gwa maanyi, naffe tulina okubaako kye tukolawo. (Zab. 86:10, 11) Kino kitegeeza nti tulina okufuba ennyo okwoleka obugumiikiriza buli lunaku, engeri eyo esobole okuba ekitundu ky’obulamu bwaffe. Naye waliwo n’ebirala bye tusaanidde okukola okusobola okukulaakulanya engeri eno ey’obugumiikiriza. Kiki ekirala kye tusaanidde okukola?

Tusobola okwoleka obugumiikiriza singa twetegereza engeri Yesu gye yabwolekamu era ne tufuba okumukoppa. Omutume Pawulo bwe yali ayogera ku ky’okwambala “omuntu omuggya,” ekizingiramu okwoleka “obugumiikiriza,” yatukubiriza okuleka ‘emirembe gya Kristo okufuga emitima gyaffe.’ (Bak. 3:10, 12, 15) Tusobola okuleka emirembe egyo okufuga emitima gyaffe nga tukoppa Yesu. Ensonga tuzireka mu mikono gya Katonda nga tuli bakakafu nti ajja kubaako ky’akolawo ku bintu ebitunyiga mu kiseera kye ekituufu. Bwe tukoppa Yesu, tujja kusigala nga tuli bagumiikiriza embeera k’ebe nzibu etya.​—Yok. 14:27; 16:33.

Wadde nga twesunga nnyo ensi empya, tusobola okuyiga okuba abagumiikiriza singa tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’atulazeemu obugumiikiriza. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa talwisa kye yasuubiza ng’abamu bwe balowooza, naye abagumiikiriza mmwe, kubanga tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’atugumiikirizaamu, naffe tekitukubiriza okugumiikiriza abalala? (Bar. 2:4) Nga tulina ekyo mu birowoozo, ka tulabeyo ezimu ku mbeera ezitwetaagisa okwoleka obugumiikiriza.

EMBEERA EZITWETAAGISA OKWOLEKA OBUGUMIIKIRIZA

Buli lunaku wabaawo embeera nnyingi ze tuyitamu ezitwetaagisa okuba abagumiikiriza. Ng’ekyokulabirako, bw’owulira ng’olina ekintu ekikulu ky’oyagala okwogera, kiyinza okukwetaagisa okugumiikirizako oleme kusala balala kirimi. (Yak. 1:19) Ate era kiyinza okukwetaagisa okwoleka obugumiikiriza ng’okolagana ne mukkiriza munno alina obugerigeri obutakusanyusa. Mu kifo ky’okuva mu mbeera, kiba kya magezi okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa ne Yesu gye bagumiikirizaamu obunafu bwaffe. Essira tebalissa ku bunafu obutonotono bwe tulina wabula balissa ku ngeri ennungi ze tulina era batugumiikiriza nga tufuba okulongoosa mu ngeri zaffe.​—1 Tim. 1:16; 1 Peet. 3:12.

Ate era kitwetaagisa okwoleka obugumiikiriza singa wabaawo atulumiriza nti twogedde oba nti tukoze ekintu ekikyamu. Emirundi mingi mu mbeera ng’eyo tuyinza okwanguwa okwewolereza oba okwewozaako. Naye Bayibuli tetulagira kukola bwe tutyo. Egamba nti: “Okuba omugumiikiriza kisinga okuba ow’amalala. Toyanguyirizanga kusunguwala, kubanga abasirusiru be baba ab’obusungu.” (Mub. 7:8, 9) N’olwekyo, bwe kiba nti bye batulumiriza si bituufu n’akatono, tusaanidde okuba abagumiikiriza ne tulowooza n’obwegendereza ku bye tusaanidde okuddamu. Ekyo Yesu kye yakola bwe baamwogerako ebintu eby’obulimba.​—Mat. 11:19.

Okusingira ddala abazadde kibeetaagisa okuba abagumiikiriza nga bayamba abaana baabwe okutereeza endowooza enkyamu n’okweggyamu okwegomba okubi kwe baba nakwo. Lowooza ku Mattias aweereza ku Beseri y’omu Scandinavia. Bwe yali mu myaka gy’obutiini, banne ku ssomero baamujereganga olw’ebyo by’akkiririzaamu. Mu kusooka ekyo bazadde be baali tebakimanyiiko. Naye oluvannyuma baakiraba nti Mattias yali atandise okubuusabuusa ebyo bye yali akkiririzaamu. Gillis, taata wa Mattias, agamba nti: “Embeera eyo yali etwetaagisa nnyo okuba abagumiikiriza. Mattias yabuuzanga ebibuuzo nga bino: ‘Katonda y’ani? Watya singa Bayibuli si Kigambo kya Katonda? Tumanya tutya nti Katonda y’ayagala tukole ekintu kino oba kiri?’” Ate era oluusi Mattias yagambanga taata we nti: “Ddala nsaanidde okusalirwa omusango bwe mba nga sikkiririza mu ebyo by’okkiririzaamu?”

Gillis era agamba nti: “Oluusi mutabani waffe yabuuzanga ebibuuzo nga musunguwavu, nga tasunguwalidde nze na maama we wabula ng’amazima ge gamunyiiza kubanga yali awulira nti gamumalako emirembe.” Embeera eyo Gillis yagikwata atya? Agamba nti: “Nnatuulanga ne njogera ne mutabani wange oluusi okumala essaawa eziwera. Emirundi egimu nnawulirizanga buwuliriza naye nga mbaako ebibuuzo ebitonotono bye mmubuuza okusobola okumutegeera obulungi. Oluusi nnabangako bye mmunnyonnyola era ne mmugamba abirowoozeeko okumala olunaku lumu oba okusingawo nga tetunnaddamu kukubaganya birowoozo. Ate emirundi egimu nnamugambanga ampeeyo ennaku ntonotono ndowooze ku ebyo bye yabanga aŋŋambye. Okuyitira mu kukubaganya ebirowoozo bwe tutyo, Mattias yeeyongera okutegeera n’okukkiriza enjigiriza za Bayibuli gamba ng’ekinunulo, obufuzi bwa Katonda, n’okwagala Katonda kw’alina gye tuli. Kyatwala ekiseera, era tekyali kyangu, naye mpolampola okwagala kwe yalina eri Yakuwa kweyongera okukula. Nze ne mukyala wange tuli basanyufu okuba nti obugumiikiriza bwe twayoleka nga tuyamba mutabani waffe mu myaka gye egy’obutiini bwavaamu ebirungi.”

Gillis ne mukyala we beesiga Yakuwa era ne booleka obugumiikiriza nga bayamba mutabani waabwe. Gillis agamba nti: “Nnateranga okugamba Mattias nti olw’okuba nze ne maama we twali tumwagala nnyo, twasabanga nnyo Yakuwa amuyambe okutegeera amazima.” Abazadde abo baayoleka obugumiikiriza era baafuna emikisa.

Ng’oggyeeko okuyamba abalala mu by’omwoyo, Abakristaayo era balina okwoleka obugumiikiriza nga balabirira omu ku b’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe alina obulwadde obutawona. Lowooza ku Ellen, * naye abeera mu Scandinavia.

Emyaka nga munaana emabega, omwami wa Ellen yakubwa puleesa emirundi ebiri era ekyo kyakosa obwongo bwe. Kati takyasobola kwoleka nneewulira, gamba ng’obusaasizi, essanyu, oba ennaku. Embeera eyo sinnyangu n’akamu eri Ellen. Agamba nti: “Kinneetaagisa okuba omugumiikiriza n’okusaba ennyo Yakuwa.” Era agamba nti: “Ebigambo ebisinga okumbudaabuda by’ebyo ebiri mu Abafiripi 4:13, awagamba nti: ‘Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.’” Ellen asobodde okugumira embeera eyo kubanga Yakuwa amuyamba.​—Zab. 62:5, 6.

BA MUGUMIIKIRIZA NGA YAKUWA

Kya lwatu nti Yakuwa y’asingayo okwoleka obugumiikiriza. (2 Peet. 3:15) Waliwo embeera nnyingi ezoogerwako mu Bayibuli Yakuwa mwe yayolekera obugumiikiriza. (Nek. 9:30; Is. 30:18) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakwatamu embeera Ibulayimu bwe yamubuuza ebibuuzo ebitali bimu bwe yali asazeewo okuzikiriza Sodomu. Yakuwa yawuliriza n’obugumiikiriza nga Ibulayimu amubuuza ebibuuzo era ng’amubuulira ebyali bimweraliikiriza. Ate era Yakuwa yaddamu ebibuuzo bya Ibulayimu era n’amukakasa nti ekibuga Sodomu ne bwe kyandibaddemu abantu abatuukirivu kkumi bokka teyandikizikirizza. (Lub. 18:22-33) Mazima ddala Yakuwa yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obugumiikiriza n’obukkakkamu.

Obugumiikiriza y’emu ku ngeri ezizingirwa mu kwambala omuntu omuggya Abakristaayo bonna gye basaanidde okwoleka. Bwe tufuba okwoleka engeri eyo, tuweesa Katonda waffe omugumiikiriza ekitiibwa, era tujja kuba bamu ku “abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.”​—Beb. 6:10-12.

^ lup. 4 Okwagala kwe kwasooka okwogerwako mu kitundu kino ekyogera ku ngeri omwenda eziri mu kibala ky’omwoyo.

^ lup. 15 Erinnya likyusiddwa.