Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ETTEREKERO LYAFFE

Engeri Ensigo z’Obwakabaka Ezaasooka Gye Zaasigibwa mu Portugal

Engeri Ensigo z’Obwakabaka Ezaasooka Gye Zaasigibwa mu Portugal

BWE yali ku mmeeri eyali ku Guyanja Atalantika eyali eyolekedde Bulaaya, George Young, yalowooza ku ebyo bye yali akoze mu mulimu gw’Obwakabaka mu Brazil. * Naye bwe yeeyongerayo ku lugendo lwe, ebirowoozo yabissa ku mulimu gwe yali agenda okukola mu Sipeyini ne mu Portugal, ensi ezaali zitabuulirwangamuko. Bwe yatuukayo yalowooza ku ky’okukola enteekegeka Ow’oluganda J. F. Rutherford ejje aweeyo emboozi ezeesigamiziddwa ku Bayibuli era bagabire n’abantu tulakiti 300,000!

George Young yatambula eŋŋendo nnyingi ng’ayita ku nnyanja ng’akola omulimu gw’okubuulira

We yatuukira mu Lisbon, ekibuga ekikulu ekya Portugal, mu 1925, Ow’oluganda Young yasanga waliwo obutabanguko. Enkyukakyuka mu by’obufuzi eyali abaddewo mu 1910 yali ereetedde obuyinza eddiini y’Ekitakuliki bwe yalina mu nsi eyo okukendeera. Abantu baafuna eddembe erisingawo naye obutabanguko bweyongera mu nsi eyo.

Mu kiseera Ow’oluganda Young we yali akolera enteekateeka Ow’oluganda Rutherford okujja okuwa emboozi, gavumenti yatandika okuddukanyizibwa bannamagye olw’okuba waaliwo abaali bagezezzaako okumaamulako gavumenti. Omuwandiisi w’ekitongole ekiyitibwa British and Foreign Bible Society yalabula Ow’oluganda Young nti yali agenda kusanga obuzibu bungi. Wadde kyali kityo, Ow’oluganda Young yasaba ab’obuyinza aweebwe olukusa okukozesa ekimu ku bizimbe by’essomero eriyitibwa Camões, era ne bamukkiriza!

Maayi 13, olunaku Ow’oluganda Rutherford lwe yali agenda okuweerako emboozi, lwatuuka. Abantu bangi baali beesunga nnyo olunaku olwo! Ebipande byali bitimbiddwa ku bizimbe era ebirango byali bifulumidde mu mpapula z’amawulire nga biranga emboozi eyo eyalina omutwe “Engeri y’Okubeera ku Nsi Emirembe Gonna.” Amangu ddala abakulu b’eddiini nabo baafulumya ekitundu mu lupapula lwabwe olw’amawulire nga balabula abantu nti beegendereze “bannabbi ab’obulimba” abaali bazze. Okugatta ku ekyo, abo abaali batuyigganya baayimirira ku mulyango gw’ekizimbe emboozi eyo mwe yali egenda okuweebwa ne bawa abantu obutabo bungi obwali buvumirira ebyo Ow’oluganda Rutherford bye yali ayigiriza.

Wadde kyali kityo, abantu nga 2,000 baayingira mu kizimbe ekyo ne kikubako, era abalala nga 2,000 tebakkirizibwa kuyingira olw’okuba ekizimbe kyali kijjudde. Abantu abamu baayimirira ku madaala ku mabbali g’ekizimbe ekyo; ate abalala ne batuula ku byuma.

Naye ebintu ebimu tebyatambula bulungi. Abo abaali batuwakanya baaleekanira waggulu nga bwe bakuba entebe. Naye Ow’oluganda Rutherford yasigala mukkakkamu era yalinnya waggulu ku mmeeza abantu basobole okumuwulira obulungi. Bwe yamala okuwa emboozi ye, eyo nga mu matumbi budde, abantu abasukka mu 1,200 baaleka amannya gaabwe n’endagiriro zaabwe basobole okuweebwa ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli. Ku lunaku olwaddako, olupapula lw’amawulire oluyitibwa O Século lwafulumiramu ekitundu ekyali kikwata ku mboozi Ow’oluganda Rutherford gye yali awadde.

Mu Ssebutemba 1925, magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ey’Olupotugo yatandika okufulumizibwa mu Portugal. (Emabegako, magazini y’Olupotugo yali yatandika okufulumizibwa mu Brazil.) Mu kiseera ekyo, Virgílio Ferguson, Omuyizi wa Bayibuli eyali abeera mu Brazil, yatandika okukola enteekateeka okugenda mu Portugal okuyambako mu mulimu gw’Obwakabaka. Emabegako yali akozeeko n’Olw’oluganda Young ku ofiisi y’ettabi ey’Abayizi ba Bayibuli eyali mu Brazil. Mu kiseera kitono, Ferguson ne mukyala we Lizzie, baayolekera Portugal ne bagenda okwegatta ku w’Oluganda Young. Ow’oluganda Ferguson yatuukira mu kiseera kituufu kubanga mu kaseera katono Ow’oluganda Young yali agenda kuvaawo agende okubuulira mu bitundu ebirala, omwali ne Soviet Union.

Kaadi y’obutuuze eya Lizzie ne Virgílio Ferguson, 1928

Obufuzi bwa bannakyemalira bwe bwatandika mu Portugal, omulimu gwaffe gwatandika okuziyizibwa. Naye Ow’oluganda Ferguson yayoleka obuvumu n’asigala mu nsi eyo asobole okuyamba ekibiina ekitono eky’Abayizi ba Bayibuli ekyali kitandikiddwawo n’okwongera okukinyweza. Yasaba olukusa okukozesa ennyumba ye okufunirangamu enkuŋŋaana. Mu Okitobba 1927, okusaba kwe kwakkirizibwa.

Mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa bannakyemalira, abantu nga 450 be baasaba okuweebwanga magazini y’Omunaala gw’Omukuumi. Ate era okuyitira mu tulakiti ne brocuwa ezitali zimu amazima gaabunyisibwa ne mu matwale ga Portugal, omwali Angola, Azores, Cape Verde, East Timor, Goa, Madeira, ne Mozambique.

Emyaka gya 1920 bwe gyali ginaatera okuggwaako, Manuel da Silva Jordão eyali enzalwa ya Portugal yajja mu Lisbon. Bwe yali mu Brazil, yawulira emboozi eyaweebwa Ow’oluganda Young. Yakkiriza amazima era yali mwetegefu okuyambako Ow’oluganda Ferguson mu kubunyisa amawulire amalungi. Ekyo okusobola okukikola, Manuel yasalawo okutandika okuweereza nga kolopoota oba payoniya. Olw’okuba kati omulimu ogw’okukuba ebitabo n’okubibunyisa gwali gutegekeddwa bulungi, ekibiina ekipya ekyali mu Lisbon kyatandika okukulaakulanira ku sipiidi.

Mu 1934, Ow’oluganda Ferguson ne mukyala we baalina okuddayo mu Brazil. Naye zo ensigo z’Obwakabaka baali bazisize. Wadde nga waaliwo obutabanguko mu Bulaaya mu kiseera ky’olutalo olwali mu Sipeyini ne Ssematalo II, ab’oluganda mu Portugal baasigala banyweredde ku Yakuwa. Okumala ekiseera ab’oluganda abo baalinga amanda agaaka, naye mu 1947 baddamu okubumbujja oluvannyuma lwa John Cooke okutuuka. Cooke, ye muminsani eyava mu Gireyaadi eyasooka okugenda mu Portugal. Okuva olwo, omuwendo gw’ababuulizi gwatandika okulinnya ku sipiidi. Gavumenti ne bwe yawera omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 1962, omuwendo gwabwe gweyongera okulinnya. Mu Ddesemba 1974 omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa bwe gwakkirizibwa mu mateeka, ababuulizi mu nsi eyo baali bawerera ddala 13,000.

Leero mu Portugal mulimu ababuulizi abasukka mu 50,000 era batuusa amawulire amalungi ne ku bizinga bingi ebyogera olulimi Olupotugo, omuli Azores ne Madeira. Mu babuulizi abo mwe muli ne bazzukulu b’abamu ku abo abaaliwo ng’Ow’oluganda Rutherford awa emboozi ye mu 1925.

Twebaza nnyo Yakuwa awamu ne bakkiriza bannaffe abo abaali abasaale mu kubunyisa amawulire amalungi, ‘ng’abaweereza ba Kristo Yesu eri amawanga.’​—Bar. 15:15, 16.​—Okuva mu tterekero lyaffe mu Portugal.

^ lup. 3 Laba ekitundu “Wakyaliwo Omulimu Munene Ogulina Okukolebwa” mu Omunaala gw’Omukuumi, Maayi 15, 2014, lup. 31-32.