Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnamalirira Obutaleka Mikono Gyange Kugwa

Nnamalirira Obutaleka Mikono Gyange Kugwa

“TAATA,” “PAPA.” Abavubuka bangi ku Beseri bwe batyo bwe bampita. Ebigambo ebyo binsanyusa, okuva bwe kiri nti nnina emyaka 89. Ebigambo ebyo mbitwala ng’ekirabo okuva eri Yakuwa olw’emyaka 72 gye mmaze nga mmuweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ate era okusinziira ku bye mpiseemu nga mpeereza Yakuwa, ntera okugamba ab’oluganda abato nti bajja kufuna ‘empeera mu ebyo bye bakola’ singa ‘tebaleka mikono gyabwe kugwa.’​—2 Byom. 15:7, obugambo obuli wansi.

BAZADDE BANGE NE BAGANDA BANGE

Bazadde bange baasenguka okuva mu Ukraine ne bagenda mu Canada. Baabeera mu kabuga akayitibwa Rossburn mu ssaza ly’e Manitoba. Maama wange yazaala abaana abalenzi 8 n’abawala 8, era temwalimu balongo. Nze nnali wa 14. Taata yali ayagala nnyo Bayibuli era yagitusomeranga buli lwa Ssande ku makya, naye amadiini yali agatwala ng’ebibiina ebiriwo okukola ssente mu bantu, era yateranga okusaaga ng’agamba nti, “Nneebuuza eyasasulanga Yesu ssente okubuulira n’okuyigiriza?”

Baganda bange bana ne bannyinaze bana baayiga amazima. Mwannyinaze Rose yaweereza nga payoniya okutuusa lwe yafa. Bwe yali anaatera okufa, yakubirizanga buli omu okussaayo omwoyo ku Kigambo kya Katonda ng’agamba nti, “Njagala okubalaba mu nsi empya.” Muganda wange omukulu Ted mu kusooka yali mubuulizi abuulira ku muliro ogutazikira. Buli lwa ssande yabuuliranga ku leediyo ng’agamba nti aboonoonyi bajja kwokebwa emirembe gyonna mu muliro ogutazikira. Naye oluvannyuma yafuuka muweereza wa Yakuwa omwesigwa era yabuuliranga n’obunyiikivu.

ENGERI GYE NNAYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA

Lumu mu Jjuuni wa 1944 bwe nnakomawo awaka nga nva ku ssomero, nnasanga akatabo The Coming World Regeneration * ku mmeeza. Bwe nnasoma omuko ogusooka n’ogw’okubiri, nnawulira nga saagala kukassa wansi. We nnamalira okusoma akatabo ako konna, nnali mumalirivu okuweereza Yakuwa nga Yesu bwe yakola.

Akatabo ako kaatuuka katya awaka? Muganda wange omukulu Steve yagamba nti abasajja babiri abaali “batunda” ebitabo baali bazze awaka waffe. Yagamba nti: “Nnaguzeeyo ako kubanga baabadde bakatunda ssente ttaano zokka.” Abasajja abo baakomawo ku Ssande eyaddako. Baatugamba nti baali Bajulirwa ba Yakuwa era nti baali bakozesa Bayibuli okuddamu ebibuuzo abantu bye beebuuza. Ekyo twakyagala nnyo kubanga bazadde baffe baali batuyigirizza okussa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda. Abasajja abo era baatugamba nti Abajulirwa ba Yakuwa baali bagenda kuba n’olukuŋŋaana olunene mu Winnipeg, ekibuga mwannyinaze Elsie mwe yali abeera. Nnasalawo okugenda ku lukuŋŋaana olwo.

Nnavuga eggaali olugendo lwa mayiro nga 200 okugenda e Winnipeg naye nnayimirirako mu kabuga k’e Kelwood, Abajulirwa ba Yakuwa abo ababiri abaatukyalira mwe baali babeera. Bwe nnali eyo, nnagenda mu lukuŋŋaana lw’ekibiina, era ekyo kyannyamba okumanya ekibiina kye ki. Era nnakimanya nti buli musajja, mukazi, oba muvubuka alina okubuulira nnyumba ku nnyumba nga Yesu bwe yakola.

Bwe nnali mu Winnipeg, nnasisinkana muganda wange omukulu eyitibwa Jack, eyali azze ku lukuŋŋaana olunene ng’avudde mu Ontario. Ku lunaku olwasooka olw’olukuŋŋaana olwo olunene, ow’oluganda yalanga nti wajja kubaawo okubatizibwa. Nze ne Jack twasalawo okubatizibwa ku lukuŋŋaana olwo. Era ffembi twali bamalirivu okutandika okuweereza nga bapayoniya amangu ddala nga tumaze okubatizibwa. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, Jack yayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Nze nnalina emyaka 16 era nnalina okuddayo ku ssomero, naye omwaka ogwaddako nange nnafuuka payoniya owa bulijjo.

NNAYIGA EBINTU BINGI

Nze ne Stan Nicolson, twatandika okuweereza nga bapayoniya mu Souris, akabuga akasangibwa mu ssaza ly’e Manitoba. Nnakimanya nti okuweereza nga payoniya tekyali kyangu. Ssente zaffe zaagenda zikendeera naye tweyongera okubuulira. Lumu bwe twali tumaze olunaku lulamba nga tubuulira twakomawo awaka ng’enjala etuluma ate nga tetulinaawo wadde ennusu. Kyatwewuunyisa nnyo bwe twaddayo eka ne tusanga ekitereke ky’emmere ku mulyango gwaffe! N’okutuusa leero tetumanyi yaleeta kitereke ekyo. Ku olwo twalya nga bakabaka. Mazima ddala Yakuwa yatuwa empeera olw’okuba tetwaleka mikono gyaffe kugwa! Era omwezi ogwo we gwaggwerako, nnali ntaddeko kiro ze sibangako nazo mu bulamu bwange.

Nga wayise emyezi mitono, baatusindika okugenda okuweereza mu kabuga akayitibwa Gilbert Plains, akali mayiro nga 150 ebukiikakkono wa Souris. Mu biseera ebyo, buli kibiina kyabanga n’ekipande ekinene ku pulatifoomu ekyalaganga engeri ekibiina gye kyabanga kikozeemu omulimu gw’okubuulira buli mwezi. Mu mwezi ogumu essaawa ab’oluganda mu kibiina kyaffe ze baamala nga babuulira bwe zakka, nnawa emboozi ne mbagamba okwongeramu amaanyi. Olukuŋŋaana bwe lwaggwa, mwannyinaffe omu payoniya eyali akuze mu myaka era eyalina omwami ataali mukkiriza yantuukirira n’aŋŋamba nga bw’akaaba nti, “Nnafuba, naye nnali sisobola kukola kisukka ku ekyo kye nnakola.” Nange nnakaaba era ne mmwetondera.

Nga bwe kyali gye ndi, ab’oluganda abato batera okukola ensobi ng’eyo gye nnakola era ne bawulira nga baweddemu amaanyi. Naye nkirabye nti mu kifo ky’okuleka emikono okugwa, kiba kirungi okuyigira ku nsobi ne tugenda mu maaso n’okuweereza. Bwe weeyongera okuweereza Yakuwa ofuna emikisa.

OKUYIGGANYIZIBWA OKWALI MU QUEBEC

Bwe nnali wa myaka 21 nnafuna enkizo okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 14 era twamaliriza okusoma mu Febwali 1950! Kimu kya kuna ku abo abaali mu ssomero eryo baasindikibwa mu ssaza ly’e Quebec mu Canada, ekitundu gye baali boogera Olufalansa. Mu ssaza eryo Abajulirwa ba Yakuwa baali bayigganyizibwa nnyo. Nnasindikibwa mu Val-d’Or, akabuga akaali mu kitundu mwe baali basima zzaabu. Lumu nze ne bannange twagenda okubuulira mu kyalo ekiyitibwa Val-Senneville ekyali okumpi n’ekitundu mwe twali tubeera. Omukulu w’eddiini ku kyalo ekyo yatutiisatiisa okutukolako ebikolwa eby’obukambwe singa tetuva ku kyalo ekyo mu bwangu. Nnamuwawaabira mu mbuga z’amateeka era n’atanzibwa. *

Tweyongera okwolekagana n’okuyigganyizibwa okutali kumu mu Quebec. Ekereziya Katolika yalina obuyinza bungi mu ssaza ly’e Quebec okumala emyaka egisukka mu 300. Abakulu b’eddiini ne bannabyabufuzi baayigganya Abajulirwa ba Yakuwa. Ekiseera ekyo tekyali kyangu era twali batono naye tetwaleka mikono gyaffe kugwa. Abantu b’omu Quebec ab’emitima emirungi baawuliriza. Waliwo abantu bangi be nnasoma nabo abakkiriza amazima. Nnina n’amaka ge nnasomesa Bayibuli agaalimu abantu kkumi. Ab’omu maka ago bonna baatandika okuweereza Yakuwa. Ekyokulabirako kyabwe ekirungi kyaleetera n’abalala bangi okuva mu ddiini y’Ekikatuliki. Tweyongera okubuulira era Yakuwa yatuyamba!

OKUTENDEKA AB’OLUGANDA MU LULIMI LWABWE

Mu 1956, nnasindikibwa okuweereza mu Haiti. Abaminsani bangi abapya tekyabanguyira kuyiga Lufalansa naye abantu baali bawuliriza. Omuminsani omu ayitibwa Stanley Boggus yagamba nti, “Kyatusanyusanga nnyo okulaba ng’abantu bafuba okukifuula ekyangu gye tuli okwogera nabo.” Mu kusooka nze saafuna buzibu kubanga nnali njize Olufalansa mu Quebec. Naye twakiraba nti ab’oluganda abasinga obungi baali boogera olulimi oluyitibwa Creole. N’olwekyo, okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe, ffe abaminsani twalina okuyiga olulimi olwo. Twaluyiga era mwavaamu ebirungi bingi.

Okusobola okwongera okuyamba ab’oluganda, Akakiiko Akafuzi kaatuwa olukusa okuvvuunula Omunaala gw’Omukuumi n’ebitabo ebirala mu Creole. Omuwendo gw’abantu abajjanga mu nkuŋŋaana gweyongera nnyo mu Haiti. Mu 1950 mu Haiti mwalimu ababuulizi 99, naye omwaka gwa 1960 we gwatuukira, ababuulizi baali basukka mu 800! Mu kiseera ekyo nnayitibwa okuweereza ku Beseri. Mu 1961, nnafuna enkizo ey’okuyigiriza mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka. Twatendeka abakadde ne bapayoniya ab’enjawulo 40. Ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu Jjanwali 1962, twakubiriza ab’oluganda mu Haiti abaalina ebisaanyizo okwongera okugaziya ku buweereza bwabwe era abamu ku bo baalondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Ekyo kyajjira mu kiseera ekituufu kubanga waayita ekiseera kitono ne wabaawo okuyigganyizibwa.

Nga Jjanwali 23, 1962, nga twakamala olukuŋŋaana olunene, ab’obuyinza bajja ku ofiisi y’ettabi ne bankwata nze n’omuminsani ayitibwa Andrew D’Amico era ne bawamba ne magazini za Awake! eza Jjanwali 8, 1962 (ezaali mu Lufalansa). Magazini ya Awake! yali ejulizza ebigambo ebyayogerwa mu mpapula z’amawulire ez’Olufalansa ebyali biraga nti eby’obusamize byali bikolebwa mu Haiti. Abantu abamu ebigambo ebyo byabanyiiza era ne bagamba nti twali tubiwandiikidde ku ofiisi y’ettabi. Waayita wiiki ntono, abaminsani bonna ne bagobebwa mu Haiti. * Naye ab’oluganda ab’omu Haiti abaali batendekeddwa baatwala mu maaso omulimu. Kinsanyusa nnyo bwe ndowooza ku bugumiikiriza bwe baayoleka n’engeri gye beeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Kati balina n’Enkyusa ey’Ensi Empya mu Creole, ekintu kye twali tetulootanganako.

OMULIMU GW’OKUZIMBA MU CENTRAL AFRICAN REPUBLIC

Bwe nnava mu Haiti, nnasindikibwa okuweereza ng’omuminsani mu Central African Republic. Oluvannyuma nnafuna enkizo ey’okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina era oluvannyuma ne mpeereza ng’omulabirizi w’ettabi.

Mu kiseera ekyo, Ebizimbe by’Obwakabaka bingi mu nsi eyo byazimbibwanga mu ngeri nnyangu. Nnayiga okusala essubi n’okuliseresa. Abantu abaabanga bayitawo beewuunyanga nnyo okundaba nga nsala essubi. Naye ekyo kyakubiriza ab’oluganda okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka. Abakulembeze b’eddiini baatujereganga olw’okuba ebizimbe byabwe byali biserekeddwa na mabaati ng’ate byo Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka byali biserekeddwa na ssubi. Naye ekyo tekyatumalaamu maanyi era tweyongera okukuŋŋaanira mu Bizimbe byaffe eby’Obwakabaka ebyaserekebwa n’essubi. Naye baalekera awo okutujerega omuyaga ogw’amaanyi bwe gwayita mu Bangui, ekibuga ky’ensi eyo ekikulu. Gwabambula amabaati ku kkanisa ne gugasuula mu luguudo. Naye lyo essubi eryali ku Kizimbe kyaffe eky’Obwakabaka lyasigalako. Okusobola okulabirira obulungi omulimu gw’Obwakabaka, twazimba ofiisi y’ettabi empya n’amaka g’abaminsani mu myezi etaano gyokka. *

MPASA OMUKYALA OMUNYIIKIVU

Ku lunaku lwe twagattibwa

Mu 1976 omulimu gw’Obwakabaka gwawerebwa mu Central African Republic, era nnasindikibwa okuweereza mu N’Djamena, ekibuga ekikulu ekya Chad. Nga ndi eyo, nnasisinkana Happy, payoniya ow’enjawulo omunyiikivu, enzaalwa ya Cameroon. Twafumbiriganwa nga Apuli 1, 1978. Mu mwezi ogwo gwe gumu, waabalukawo olutalo mu kitundu mwe twali, era okufaananako abalala twaddukira mu bukiikaddyo bwa Chad. Olutalo bwe lwaggwa twakomawo naye ne tusanga ng’ennyumba yaffe efuuliddwa ekitebe ekikulu eky’abajaasi. Ebitabo byaffe byonna baali babitutte, awamu n’ekiteeteeyi kya Happy eky’embaga n’ebirabo bye baatuwa ku mbaga. Naye tetwaleka mikono gyaffe kugwa. Twali tukyali balamu era nga tulina bingi bye twesunga okukola mu biseera eby’omu maaso.

Nga wayise emyaka ebiri omulimu gwaffe gwaddamu okukkirizibwa mu Central African Republic. Twaddayo era ne tutandika okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Ennyumba yaffe yali mmotoka eyalimu ekitanda ekiwetebwamu, eppipa y’amazzi eyali egendamu ebidomola 10, firiigi, ne sitoovu. Eby’entambula tebyali byangu. Ku lugendo olumu, abasirikale baatuyimiriza emirundi egitakka wansi wa 117.

Oluusi ebbugumu lyabanga lingi nnyo nga lituuka ku diguli nga 50°C. Ku nkuŋŋaana ennene oluusi kyabanga kizibu okufuna amazzi ag’okubatirizaamu. Bwe kityo ab’oluganda baagendanga ne basima mu bisenyi ebyali byakalira ne bakuŋŋanyiriza amazzi okutuusa bwe gaaweranga. Era abantu baateranga kubabatiriza mu ppipa.

MPEEREZA NE MU NSI ZA AFIRIKA ENDALA

Mu 1980 twasindikibwa e Nigeria. Twamala emyaka ebiri n’ekitundu nga tuyambako mu kukola entegeka ez’okuzimba ofiisi y’ettabi. Ab’oluganda baali baguze ekizimbe kya myaliiro ebiri nga tulina okusooka okukimenya tuzzeewo ekipya. Lumu ku makya nnalinnya waggulu ku kizimbe ekyo nga tukimenya. Awo nga mu ttuntu nnatandika okukka nga mpitira we nnali mpise nga nninnya. Naye olw’okuba waali waliwo ebikyuse nga tumenya ekizimbe, nnalinnya mu bbanga ne nneerindiggula wansi. Embeera yange yalabika ng’embi ennyo naye oluvannyuma lw’okunkuba ebifaananyi mu ddwaaliro, abasawo baagamba Happy nti: “Totya, ayulise buyulisi binywa ebimu, naye ajja kuba bulungi mu bbanga lya wiiki ng’emu.”

Nga tuli mu “ntambula eya lukale” nga tugenda ku lukuŋŋaana olunene

Mu 1986 twagenda mu Côte d’Ivoire, gye twakolera omulimu gw’okukyalira ebibiina. Twakyaliranga n’ebibiina ebyali mu Burkina Faso. Saakirowoozanako nti ekiseera kyandituuse ne tubeerako mu Burkina Faso.

Bwe twali tukyalira ebibiina, emmotoka ye yali ennyumba yaffe

Nnava mu Canada mu 1956, naye mu 2003, nga wayise emyaka 47 nnaddayo mu Canada okuweereza ku Beseri, kyokka ku luno nnali wamu ne Happy. Ku mpapula twali Bakanada, naye muli ffe twali tuwulira nti tuli Bafirika.

Nga njigiriza omuntu Bayibuli mu Burkina Faso (wansi)

Mu 2007, bwe nnali wa myaka 79, twaddayo mu Afirika. Twasindikibwa mu Burkina Faso, era nnalondebwa okubeera ku Kakiiko k’Ensi. Ofiisi y’e Burkina Faso yafuulibwa ofiisi awavvuunulirwa ebitabo era yali wansi wa ofiisi y’ettabi ey’e Benin. Mu Agusito 2013, twasindikibwa okuweereza ku Beseri y’e Benin.

Nga ndi ne Happy, nga tuweereza ku Beseri y’e Benin

Wadde nga kati sikyalina maanyi, nkyanyumirwa nnyo omulimu gw’okubuulira. Mu myaka esatu egiyise, nga nnyambibwako abakadde ne mukyala wange, nsobodde okuyigiriza abayizi babiri aba Bayibuli, Gédéon ne Frégis, ne batuuka ku ddala ery’okubatizibwa. Kati baweereza Yakuwa n’obunyiikivu.

Mu kiseera kino nze ne mukyala wange tuweerereza ku ofiisi y’ettabi mu South Africa, gye nfunira obujjanjabi. South Africa ye nsi ey’omusanvu mu Afirika gye mpeererezzaamu. Mu Okitobba 2017, twafuna enkizo ey’ekitalo. Twayitibwa ku mukolo ogw’okuwaayo ekitebe kyaffe ekikulu ekiri mu Warwick, New York. Ekyo kye kimu ku bintu bye tutasobola kwerabira.

Yearbook eya 1994 ku lupapula 255 yagamba nti: “Mmwe mmwenna abamaze emyaka emingi nga muweereza Yakuwa tubakubiriza nti: ‘Mubeere bavumu era temuleka mikono gyammwe kugwa, kubanga mujja kuweebwa empeera olw’ebyo bye mukola.’​—2 Byom. 15:7.” Nze ne Happy tuli bamalirivu okukolera ku kubuulirira okwo n’okukubiriza abalala okukukolerako.

^ lup. 9 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa mu 1944. Naye kati tekakyakubibwa.

^ lup. 18 Laba ekitundu ekiri ku lupapula 3-5 mu Awake! eya Noovemba 8, 1953.

^ lup. 23 Ebisingawo biri mu Yearbook eya 1994, lup. 148-150.

^ lup. 26 Laba ekitundu ekiri ku lupapula 27 mu Awake! ya Maayi 8, 1966.