Omanyi Byonna Ebizingirwamu?
“Omuntu yenna bw’addamu nga tannawuliriza nsonga, aba akoze kya busirusiru era kimuswaza.”—NGE. 18:13.
1, 2. (a) Kintu ki ekikulu kye tusaanidde okuyiga, era lwaki? (b) Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
ABAKRISTAAYO ab’amazima tulina okuyiga okwetegereza ensonga okusobola okumanya ekituufu. (Nge. 3:21-23; 8:4, 5) Ekyo bwe tutakiyiga kiba kyangu Sitaani n’ensi ye okwonoona endowooza yaffe. (Bef. 5:6; Bak. 2:8) Kya lwatu nti okusobola okumanya ekituufu, tulina okumanya ebizingirwamu. Engero 18:13 wagamba nti: “Omuntu yenna bw’addamu nga tannawuliriza nsonga, aba akoze kya busirusiru era kimuswaza.”
2 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okumanya ebizingirwa mu nsonga. Ate era tugenda kulabayo emisingi gya Bayibuli n’ebyokulabirako ebisobola okutuyamba okwekenneenya ensonga n’obwegendereza okusobola okumanya ekituufu.
TOKKIRIZA BULI KIGAMBO
3. Lwaki tulina okukolera ku musingi oguli mu Engero 14:15? (Laba ekifaananyi waggulu.)
3 Leero abantu bafuna obubaka bungi mu ngeri ezitali zimu. Babufuna ku Intaneeti, ttivi, ne ku mikutu gy’empuliziganya emirala. Ate era abantu bangi bafuna obubaka okuva eri mikwano gyabwe okuyitira ku masimu. Okuva bwe kiri nti leero abantu bangi babunyisa Engero 14:15 wagamba nti: “Atalina bumanyirivu akkiriza buli kye bamugamba, naye omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.”
ebintu ebitali bituufu mu bugenderevu, tusaanidde okwegendereza ebyo bye tusoma ne bye tuwulira. Musingi ki ogwa Bayibuli ogusobola okutuyamba mu nsonga eno?4. Ebyo ebiri mu Abafiripi 4:8, 9 bituyamba bitya nga tulondawo ebyo bye tunaasoma, era lwaki kikulu okusoma ebintu ebyesigika? (Laba n’akasanduuko “ Ebintu Ebisobola Okutuyamba Okufuna Obubaka Obwesigika.”)
4 Okusobola okusalawo mu ngeri entuufu, ebyo bye tusinziirako okusalawo birina okuba nga byesigika. N’olwekyo, tulina okwegendereza ennyo ebintu bye tusoma. (Soma Abafiripi 4:8, 9.) Tetusaanidde kumala biseera byaffe nga tuwuliriza oba nga tusoma amawulire ku mikutu gya Intaneeti egiteesigika oba nga tusoma obubaka obusaasaanyizibwa naye nga tebuliiko bukakafu bulaga nti butuufu. Tulina okwewalira ddala emikutu gya Intaneeti egya bakyewaggula. Ekigendererwa kya bakyewaggula kwe kunafuya okukkiriza kw’abantu ba Katonda n’okunyoolanyoola amazima. Bwe tusoma oba bwe tuwuliriza ebintu ebiteesigika, kituviirako okusalawo mu ngeri etali ya magezi. Teweerimbalimbanga nti ebintu ebiteesigika tebirina kye bisobola kukukolako.—1 Tim. 6:20, 21.
5. Bintu ki eby’obulimba Abayisirayiri bye baawuliriza era ekyo kyabakwatako kitya?
5 Bwe tukkiriza ebintu ebitali bituufu kisobola okuvaamu emitawaana egy’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kiseera kya Musa, abakessi 10 ku abo 12 abaasindikibwa okuketta Ensi Ensuubize bwe baaleeta amawulire amakyamu. (Kubal. 13:25-33) Ebintu bye baayogera nga basavuwaza byaterebula abantu ba Yakuwa. (Kubal. 14:1-4) Lwaki abantu baaterebuka? Oboolyawo baalowooza nti okuva bwe kiri nti abasinga obungi ku bakessi baaleeta amawulire amabi, ebyo bye baayogera byali bituufu. Baagaana okuwuliriza ebintu ebituufu ebyayogerwa Yoswa ne Kalebu, abasajja abaali beesigika. (Kubal. 14:6-10) Mu kifo ky’okufaayo okumanya ekituufu n’okwesiga Yakuwa, abantu baasalawo okuwuliriza ebintu eby’obulimba. Ekyo nga kyali kya busirusiru!
6. Lwaki tekyanditwewuunyisizza singa tuwulira ebintu ebibi ebyogeddwa ku bantu ba Yakuwa?
6 Tulina okwegendereza ennyo, naddala nga waliwo ebintu ebyogeddwa oba ebiwandiikiddwa ku Bajulirwa ba Yakuwa. Tusaanidde okukijjukira nti Sitaani awaayiriza abantu ba Katonda abeesigwa. (Kub. 12:10) Eyo ye nsonga lwaki Yesu yatulabula nti abantu abatuziyiza bandibadde ‘batuwaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika.’ (Mat. 5:11) Bwe tukuumira ebigambo ebyo mu birowoozo byaffe, tekijja kutwewuunyisa singa tuwulira ebintu ebibi ebyogeddwa ku bantu ba Yakuwa.
7. Nga tonnasindikira balala bubaka, kiki ky’osaanidde okusooka okulowoozaako?
7 Onyumirwa nnyo okuweereza mikwano gyo oba abantu abalala obubaka ku ssimu oba ku kompyuta? Bwe wabaawo amawulire g’oba owulidde ku mukutu gw’empuliziganya ogumu oba bwe wabaawo ekintu eky’enjawulo ky’owulidde, oba nga munnamawulire ayagala okuba nga y’asooka okutuusa ku bantu amawulire ago? Nga tonnasindikira bantu bubaka bwonna, weebuuze: ‘Ndi mukakafu nti ebintu bye njagala okusindika bituufu? Ddala mmanyi ebizingirwamu?’ Bw’oba nga teweekakasa bubaka obwo, oyinza okwesanga ng’osaasaanya ebintu eby’obulimba mu b’oluganda. Bw’oba obuusabuusa obubaka obwo tobusindika era busangule.
8. Kiki abantu abatuziyiza mu nsi ezimu kye bakoze, era tuyinza tutya okwesanga nga tukolera wamu nabo?
8 Waliwo akabi akalala akali mu kwanguyiriza okusindikira abalala obubaka ku ssimu oba ku kompyuta. Mu nsi ezimu omulimu gwaffe gukugirwa oba guwereddwa. Mu nsi ng’ezo, abantu abatuziyiza bayinza okusaasaanya obubaka obugendereddwa okutuleetera okutya oba okulekera * Bangi bakkiriza ebintu ebyo eby’obulimba era ne beekutula ku kibiina kya Yakuwa. Ekyo nga kyali kya nnaku nnyo! Naye eky’essanyu kiri nti bangi oluvannyuma baakomawo mu kibiina, naye abamu tebaakomawo. Okukkiriza kwabwe kwasaanawo. (1 Tim. 1:19) Tuyinza tutya okwewala ekyo okututuukako? Weewalire ddala okusaasaanya ebintu ebibi oba ebiteesigika. Tomala gakkiriza buli ky’owulira. Kakasa nti omanyi byonna ebizingirwamu.
awo okwesigaŋŋana. Lowooza ku ekyo ekyali mu Soviet Union. Abakessi b’ekitongole kya poliisi ekiyitibwa KGB baasaasaanya olugambo nti ab’oluganda abatali bamu abaali batwala obukulembeze mu kibiina baali baliddemu abantu ba Yakuwa olukwe.OKUMANYAAKO EKITUNDU
9. Ki ekirala ekiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okumanyira ddala ekituufu?
9 Emirundi egimu tuwulira ebintu naye ng’ababitutegezezza batubuuliddeko kitundu. Ekyo kikifuula kizibu gye tuli okumanyira ddala ekituufu. Bwe kiba nti ebimu ku bintu bye tuwulidde si bituufu, ebintu ebyo biba tebyesigika. Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa ebintu eby’obulimba ne bwe biba nga birimuko amazima?—Bef. 4:14.
10. Abayisirayiri baabulako batya katono okutta baganda baabwe, naye ekyo kyewalibwa kitya?
10 Lowooza ku Bayisirayiri abaaliwo mu kiseera kya Yoswa abaali babeera ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’Omugga Yoludaani. (Yos. 22:9-34) Abayisirayiri abo baakimanyaako nti Abayisirayiri abaali babeera ebuvanjuba wa Yoludaani (ab’ekika kya Lewubeeni, ekya Gaadi, n’ekitundu kimu kya kubiri eky’ekika kya Manase) baali bazimbye ekyoto ekinene okumpi ne Yoludaani. Ekyo kyali kituufu. Naye olw’okuba baali tebamanyi byonna bizingirwamu, Abayisirayiri ab’oku luuyi olw’ebugwanjuba baalowooza nti baganda baabwe ab’oku luuyi olw’ebuvanjuba baali bajeemedde Yakuwa, era bwe batyo beeteekateeka okugenda okubalwanyisa. (Soma Yoswa 22:9-12.) Naye bwe baali tebannabalumba baasooka kusindikayo babaka abeesigika basobole okumanya byonna ebyali bizingirwamu. Kiki kye baazuula? Abayisirayiri ab’ekika kya Lewubeeni, ekya Gaadi, n’ekitundu kimu kya kubiri eky’ekika kya Manase ekyoto baali tebakizimbye kukiweerako biweebwayo, wabula baali bakizimbye okuba ekijjukizo. Baali bakizimbye, kisobozese abantu ab’emirembe egyandizzeewo okukimanya nti nabo baali baweereza ba Yakuwa abeesigwa. Nga kyali kya magezi okuba nti Abayisirayiri abo tebaayanguyiriza kutta baganda baabwe nga basinziira ku mazima ag’ekitundu ge baali bawulidde, wabula ne basooka okumanya byonna ebizingirwamu!
11. (a) Mefibosesi yayisibwa atya mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Kiki ekyandiyambye Dawudi okwewala okulamula mu ngeri enkyamu?
11 Ate era naffe kinnoomu tuyinza okwogerwako ebintu naye ng’ebimu ku byo si bituufu. Lowooza ku ekyo ekyaliwo wakati wa Kabaka Dawudi ne Mefibosesi. Dawudi yalaga Mefibosesi ekisa n’amuddiza ettaka lyonna eryali erya Sawulo, jjajjaawe. (2 Sam. 9:6, 7) Kyokka oluvannyuma Dawudi yawuliriza ebintu ebibi ebyayogerwa ku Mefibosesi. Nga tasoose kumanya byonna ebyali bizingirwamu, Dawudi yaggyako Mefibosesi ebintu byonna bye yali amuwadde. (2 Sam. 16:1-4) Oluvannyuma Dawudi bwe yayogerako ne Mefibosesi, yakiraba nti yali akoze nsobi era n’addiza Mefibosesi ebimu ku bintu ebyo. (2 Sam. 19:24-29) Naye obutali bwenkanya obwo bwandibadde bwewalibwa singa Dawudi yali asoose kumanya byonna ebyali bizingirwamu nga tannasalawo ku nsonga eyo.
12, 13. (a) Yesu yeeyisa atya nga bamwogeddeko eby’obulimba? (b) Kiki kye tuyinza okukola singa batwogerako ebintu eby’obulimba?
12 Watya singa bakwogerako ebintu eby’obulimba? Yesu ne Yokaana Omubatiza baayogerwako ebintu eby’obulimba. (Soma Matayo 11:18, 19.) Yesu yakola ki ng’ayogeddwako ebintu eby’obulimba? Teyamala biseera bye na maanyi ge ng’agezaako okumatiza abantu nti bye baali bamwogerako byali bya bulimba. Mu kifo ky’ekyo, yakubiriza abantu okwezuulira ekituufu nga basinziira ku ebyo bye yali akola ne bye yali ayigiriza. Nga Yesu bwe yakiraga, “ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.”—Mat. 11:19.
13 Waliwo ekintu ekikulu kye tuyigira ku Yesu. Oluusi abantu bayinza okutwogerako ebintu ebibi oba eby’obulimba. Tuyinza okuwulira nga twagala okulagibwa obwenkanya oba okubaako kye tukolawo okuggya enziro ku linnya lyaffe. Naye waliwo kye tuyinza okukola. Omuntu bw’atwogerako eby’obulimba, tusobola okweyisa mu ngeri ereetera abalala obutakkiriza bulimba obwo. Ng’ekyokulabirako kya Yesu bwe kiraga, enneeyisa yaffe ennungi esobola okuyamba abalala okukimanya nti ebintu eby’obulimba ebitwogeddwako si bituufu.
WEEKAKASA EKISUKKIRIDDE?
14, 15. Tuyinza tutya okugwa mu katego ak’okwesigama ku kutegeera kwaffe?
14 Nga bwe tulabye, oluusi tekiba kyangu kumanyira ddala biba bizingirwa mu nsonga. Kyokka n’obutali butuukirivu bwaffe bukifuula kizibu gye tuli okumanyira ddala ekituufu. Watya singa tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa? Tuyinza okuba nga tukulaakulanyizza obusobozi obw’okulowooza n’okutegeera. Bangi bayinza okuba nga bakiraba nti tusalawo mu ngeri ey’amagezi. Naye ekyo nakyo kiyinza okutufuukira akatego?
15 Yee kiyinza, singa tutandika okwekakasa ekisukkiridde. Tuyinza okutandika okusalawo nga tusinziira ku nneewulira zaffe oba endowooza ezaffe ku bwaffe. Tuyinza okulowooza nti tusobola okutegeera obulungi embeera oba ekintu ne bwe kiba nti tetumanyi byonna bizingirwamu. Ekyo nga kiba kya kabi! Bayibuli etukubiriza obuteesigama ku kutegeera kwaffe.—Nge. 3:5, 6; 28:26.
16. Kiki ekibaawo mu wooteeri emu, era kiki Tom ky’ayanguyiriza okulowooza?
16 Lowooza ku mbeera ng’eno. Lumu akawungeezi
ow’oluganda ayitibwa Tom, amaze emyaka mingi ng’aweereza ng’omukadde, bw’aba ali mu wooteeri, alengera mukadde munne ayitibwa John ng’atudde n’omukazi atali mukyala we. Tom abalaba nga baseka, nga banyumirwa emboozi, era oluvannyuma nga beegwa mu kifuba. Ekyo ky’alaba kimubobbya omutwe. Muli yeebuuza: Kino kyandiviirako John okugattululwa ne mukyala we? Kiki mukyala wa John ky’anaakola? Ate abaana be? Embeera efaananako ng’eyo Tom yali agirabyeko. Wandirowoozezza ki singa ggwe obadde Tom?17. Kiki Tom kye yategeera oluvannyuma, era ekyo kituyigiriza ki?
17 Naye lowooza ku kino. Wadde nga Tom yayanguwa okulowooza nti John teyali mwesigwa eri mukyala we, yali amanyi byonna ebizingirwamu? Ku olwo akawungeezi, Tom yakubira John essimu. Lowooza ku ngeri Tom gye yawuliramu bwe yakimanya nti omukyala oli gwe yali alabye yali mwannyina wa John eyali avudde ewala ng’ayitiddeko mu kibuga naye n’asalawo okubuuza ku John. John ne mwannyina baali bamaze emyaka egiwerako nga tebalabagana. Naye olw’okuba mwannyina yali mu bwangu, John teyasobola kumutwala waka wabula yamutwala mu wooteeri abeeko ky’amugulirayo. Mukyala wa John teyasobola kubeegattako. Naye ekirungi kiri nti ebintu ebikyamu Tom bye yali alowoozezza yali talina gwe yali abibuuliddeko. Ekyo kituyigiriza ki? Ka tube nga tumaze bbanga lyenkana wa nga tuweereza Yakuwa, bulijjo tulina okusooka okumanya byonna ebizingirwamu nga tetunnasalawo.
18. Obutakkaanya buyinza butya okutuleetera okuba n’endowooza enkyamu?
18 Ekintu ekirala ekiyinza okutuleetera okuba n’endowooza enkyamu bwe butakkaanya bwe tuyinza okuba nabwo ne mukkiriza munnaffe. Bwe tumalira ebirowoozo ku butakkaanya obwo, tuyinza okutandika okwekengera muganda waffe oyo. N’ekivaamu, bwe tuwulira ebintu ebibi ebimwogerwako, kiyinza okutwanguyira okubikkiriza. Ekyo kituyigiriza ki? Okusibira bakkiriza bannaffe ekiruyi kiyinza okutuleetera okubalowooleza ebintu ebikyamu bye tutalinaako bukakafu. (1 Tim. 6:4, 5) Ekyo tusobola okukyewala singa twewala okubasibira ekiruyi. Tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ayagala twagale bakkiriza bannaffe era tubasonyiwe okuviira ddala ku mutima.—Soma Abakkolosaayi 3:12-14.
EMISINGI GYA BAYIBULI GIJJA KUTUYAMBA
19, 20. (a) Misingi ki egya Bayibuli egisobola okutuyamba okumanyira ddala ekituufu ku nsonga? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
19 Leero si kyangu kufuna bubaka bwesigika obusobola okutuyamba okumanyira ddala ekituufu. Lwaki? Kubanga bungi ku bubaka obusaasaanyizibwa leero si butuufu, bubaamu ebintu ebimu ebitali bituufu, ate naffe tetutuukiridde. Kiki ekisobola okutuyamba? Tulina okumanya emisingi gya Bayibuli era ne tugikolerako. Ogumu ku misingi egyo gwegwo ogugamba nti kiba kya busirusiru era kiswaza okuddamu nga tetusoose kuwuliriza nsonga. (Nge. 18:13) Omusingi omulala gwegwo ogutukubiriza obutamala gakkiriza buli kimu kye tuwulira. (Nge. 14:15) N’ogw’okusatu gwegwo ogutukubiriza obuteesigama ku ndowooza yaffe ka tube nga tumaze bbanga lyenkana wa nga tuweereza Yakuwa. (Nge. 3:5, 6) Emisingi gya Bayibuli gijja kutuyamba singa tufuba okufuna obukakafu okuva mu nsonda ezeesigika ne kituyamba okumanya ekituufu n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
20 Naye waliwo n’ekintu ekirala ekiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okusalawo obulungi. Tutera okusalawo nga tusinziira ku ndabika ey’okungulu. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ebintu bisatu ebikwatagana n’ensonga eno era tulabe n’engeri gye tuyinza okubyewalamu.
^ lup. 8 Laba Yearbook eya 2004, lup. 111-112, n’eya 2008, lup. 133-135.