OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Agusito 2019

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Ssebutemba 3–Okitobba 27, 2019.

“Tetulekulira”!

Essuubi lye tulina erikwata ku biseera eby’omu maaso liyinza litya okutuyamba okuba abamalirivu obutalekulira oba obutakoowa?

Okwagala Kwammwe ka Kweyongere

Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abafiripi etuyamba okumanya engeri gye tuyinza okwoleka okwagala ne bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu.

“Abo Abakuwuliriza” Bajja Kulokolebwa

Kiki kye tuyinza okukola okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okuyiga ebikwata ku Yakuwa?

Okufuna Essanyu mu Buweereza Obupya

Bangi tekibabeerera kyangu kulekayo buweereza bwabwe bwe babadde baagala ennyo. Tuyinza tutya okubayamba?

Okukkiriza—Engeri Etuyamba Okuba Abanywevu

Okukkiriza kulina amaanyi mangi. Bwe tuba n’okukkiriza, tusobola okwaŋŋanga ebizibu ebiringa ensozi

Yokaana Omubatiza​—Tumuyigirako Okusigala nga Tuli Basanyufu

Tuyinza tutya okusigala nga tuli basanyufu ebintu ne bwe biba nga tebitugendedde bulungi?