Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 33

“Abo Abakuwuliriza” Bajja Kulokolebwa

“Abo Abakuwuliriza” Bajja Kulokolebwa

“Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo. Ebintu bino binywerereko, kubanga bw’onookola bw’otyo ojja kwerokola era olokole n’abo abakuwuliriza.”​—1 TIM. 4:16.

OLUYIMBA 67 “Buulira Ekigambo”

OMULAMWA *

1. Kiki ffenna kye twagaliza ab’eŋŋanda zaffe?

MWANNYINAFFE ayitibwa Pauline * agamba nti: “Okuva lwe nnayiga amazima, mbaddenga njagala mbe n’ab’eŋŋanda zange mu nsi empya egenda okujja. Okusingira ddala, nnali njagala nnyo omwami wange, Wayne, ne mutabani waffe banneegatteko mu kuweereza Yakuwa.” Olina ab’eŋŋanda zo abatannayiga bikwata ku Yakuwa oba abatannatandika kumuweereza? Awatali kubuusabuusa, okufaananako Pauline naawe oyagala ab’eŋŋanda zo bakwegatteko mu kuweereza Yakuwa.

2. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

2 Tetusobola kukaka ba ŋŋanda zaffe kukkiriza mawulire malungi, naye tusobola okubayamba okufumiitiriza ku bubaka obuli mu Bayibuli n’okubukolerako. (2 Tim. 3:14, 15) Lwaki tusaanidde okubuulira ab’eŋŋanda zaffe? Lwaki tusaanidde okubalumirirwa? Biki bye tuyinza okukola okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okwagala Yakuwa nga naffe bwe tumwagala? Era bonna mu kibiina bayinza batya okutuyamba?

LWAKI TUSAANIDDE OKUBUULIRA AB’EŊŊANDA ZAFFE?

3. Okusinziira ku 2 Peetero 3:9, lwaki tusaanidde okubuulira ab’eŋŋanda zaffe?

3 Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa agenda kuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi. Abo bokka abalina “endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo” be bajja okuwonawo. (Bik. 13:48) Okuva bwe kiri nti tumala ebiseera bingi n’amaanyi mangi nga tubuulira abantu be tutamanyi ababeera mu kitundu kyaffe, tusaanidde n’okufuba okubuulira ab’eŋŋanda zaffe nabo basobole okuweereza Yakuwa. Yakuwa, Kitaffe ow’okwagala, “tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.”​—Soma 2 Peetero 3:9.

4. Nsobi ki gye tuyinza okukola nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe?

4 Tusaanidde okukimanya nti waliwo engeri entuufu n’engeri enkyamu ez’okubuulira abantu obubaka obw’obulokozi. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwogera mu ngeri ey’ekisa nga tubuulira abantu be tutamanyi naye ne tutayogera mu ngeri ya kisa nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe.

5. Kiki kye tusaanidde okukuumira mu birowoozo nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe?

5 Bangi ku ffe bwe tulowooza ku ngeri gye twasooka okubuulira ab’eŋŋanda zaffe tukiraba nti tetwabakwata bulungi. Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo nti: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo, musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.” (Bak. 4:5, 6) Tusaanidde okujjukira amagezi ago nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe. Bwe tutakola tutyo, tuyinza okwesanga nga tubanyiizizza mu kifo ky’okubayamba.

BIKI BYE TUSAANIDDE OKUKOLA OKUSOBOLA OKUYAMBA AB’EŊŊANDA ZAFFE?

Bw’ofaayo ku balala era ne weeyisa bulungi, kiwa obujulirwa bwa maanyi (Laba akatundu 6-8) *

6-7. Waayo ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okufaayo ku b’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza.

6 Kirage nti obafaako. Pauline, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Mu kusooka, ebintu byokka bye nnayagalanga okwogera n’omwami wange by’ebyo ebikwata ku Katonda ne ku Bayibuli. Tetwayogeranga ku bintu birala.” Naye Wayne, omwami wa Pauline, yali amanyi bitono nnyo ku Bayibuli era Pauline bye yayogerangako yali tabitegeera. Yali akitwala nti ekintu kyokka Pauline kye yali atwala ng’ekikulu ye ddiini ye. Yatya nti Pauline yali abuzaabuziddwa akadiinidiini.

7 Pauline agamba nti okumala ekiseera, yamalanga ebiseera bingi akawungeezi ne ku wiikendi ng’ali ne bakkiriza banne, mu nkuŋŋaana, mu mulimu gw’okubuulira, ne ku bubaga. Era agamba nti: “Ebiseera ebimu Wayne yakomangawo awaka nga tewali muntu n’omu era nti yawuubaalanga.” Awatali kubuusabuusa, Wayne yali ayagala okubeerangako awamu ne mukyala we ne mutabani we. Yali tamanyi bantu ba ngeri Pauline ne mutabani waabwe be baabeeranga nabo, era yali akitwala nti emikwano egyo emipya Pauline gye yali afunye yali agitwala nga gya muwendo okusinga ye. Ekyo kyaleetera Wayne okugamba Pauline nti baali bajja kugattululwa. Olowooza Pauline yandikiraze atya nti alumirirwa omwami we?

8. Okusinziira ku 1 Peetero 3:1, 2, kiki ekiyinza okukwata ennyo ku b’eŋŋanda zaffe?

8 Ssaawo ekyokulabirako ekirungi. Emirundi mingi, ebyo bye tukola bikwata nnyo ku b’eŋŋanda zaffe okusinga bye twogera. (Soma 1 Peetero 3:1, 2.) Ekyo Pauline yamala n’akitegeera. Agamba nti: “Nnali nkimanyi nti Wayne atwagala era nti yali tayagala tugattululwe. Naye bwe yayogera ku ky’okugattululwa, kyandeetera okukiraba nti nnalina okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala. Mu kifo ky’okumubuulira buli kiseera, nnakiraba nti nnalina okuteekawo ekyokulabirako ekirungi nga nneeyisa bulungi.” Pauline yalekera awo okukaka Wayne okwogera ku bya Bayibuli, era n’atandika okwogeranga naye ku bintu ebirala. Wayne yakiraba nti Pauline yali yeeyongedde okuba ow’emirembe, era nti ne mutabani waabwe yali yeeyongedde okweyisa obulungi. (Nge. 31:18, 27, 28) Wayne bwe yalaba engeri Bayibuli gye yali eyambyemu ab’omu maka ge, yatandika okulowooza ku bubaka obuli mu Kigambo kya Katonda n’okubwagala.​—1 Kol. 7:12-14, 16.

9. Lwaki tetulina kukoowa kugezaako kuyamba ba ŋŋanda zaffe?

9 Tokoowa kugezaako kuyamba ba ŋŋanda zo. Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. “Enfunda n’enfunda” awa abantu akakisa okuwuliriza amawulire amalungi basobole okufuna obulamu. (Yer. 44:4) Omutume Pawulo yagamba Timoseewo obutakoowa kuyamba balala. Lwaki? Kubanga mu kukola bw’atyo, yandyerokodde era n’alokola n’abo abamuwuliriza. (1 Tim. 4:16) Twagala ab’eŋŋanda zaffe, era ye nsonga lwaki twagala bamanye amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Oluvannyuma lw’ekiseera, ebigambo bya Pauline n’ebikolwa bye byakwata ku mwami we. Kati Pauline musanyufu okuba nti omwami we naye aweereza Yakuwa. Bombi baweereza nga bapayoniya era Wayne mukadde mu kibiina.

10. Lwaki twetaaga okuba abagumiikiriza?

10 Ba mugumiikiriza. Bwe tutuukanya obulamu bwaffe n’emitindo egiri mu Kigambo kya Katonda, kiyinza okuzibuwalira ab’eŋŋanda zaffe okututegeera. Ezimu ku nkyukakyuka ze basooka okulaba kwe kuba nti tetukyabeegattako mu kukuza emikolo gy’eddiini era nti tetukyenyigira mu bya bufuzi. Mu kusooka abamu ku b’eŋŋanda zaffe bayinza okutunyiigira. (Mat. 10:35, 36) Naye tetusaanidde kulowooza nti tebasobola kukyuka. Bwe tulekera awo okubayamba okutegeera enzikiriza zaffe, tuba ng’ababasalidde omusango nti tebasaana kufuna bulamu butaggwaawo. Yakuwa teyatuwa buyinza bwa kusalira balala musango. Obuyinza obwo yabuwa Yesu. (Yok. 5:22) Bwe tuba abagumiikiriza, oluvannyuma lw’ekiseera, ab’eŋŋanda zaffe bayinza okuwuliriza obubaka bwaffe.​—Laba akasanduuko “ Kozesa Omukutu Gwaffe Okuyigiriza.”

11-13. Kiki kye tuyigira ku ngeri Alice gye yakwatamu bazadde be?

11 Ba wa kisa, naye nywerera ku kituufu. (Nge. 15:2) Lowooza ku Alice. We yayigira amazima, yali tabeera na bazadde be. Bazadde be baali tebakkiririza mu Katonda era nga beenyigira nnyo mu by’obufuzi. Alice yakiraba nti amangu ddala yalina okutegeeza bazadde be ku bintu ebirungi bye yali ayiga. Alice agamba nti: “Bw’olwawo okubuulira ab’eŋŋanda zo ebintu ebipya by’okkiririzaamu ne by’okola, kibakanga nnyo bw’obibabuulira oluvannyuma.” Yalowooza ku bintu bazadde be bye bayinza okunyumirwa okwogerako, gamba ng’okwagala, era n’abawandiikira amabaluwa ng’alaga ebyo Bayibuli by’eyogera ku bintu ebyo, era n’ababuuza kye balowooza ku ebyo Bayibuli by’egamba. (1 Kol. 13:1-13) Yeebaza bazadde be olw’okumukuza n’okumulabirira, era yabaweereza n’ebirabo. Bwe yagendanga okukyalira bazadde be, yayambangako maama we ku mirimu gy’awaka. Mu kusooka bazadde ba Alice tebaasanyuka bwe yabagamba ebintu ebipya bye yali akkiririzaamu.

12 Alice bwe yabanga akyaliddeko bazadde be, yanywereranga ku nteekateeka ye ey’okusoma Bayibuli. Alice agamba nti: “Ekyo kyayamba maama okukiraba nti Bayibuli nkulu nnyo gye ndi.” Taata wa Alice yasalawo okubaako ebintu by’asoma mu Bayibuli amanye ensonga lwaki muwala we yali akyuse, era yali ayagala anoonye ensobi mu Bayibuli. Alice agamba nti: “Nnamuwa Bayibuli era ne mbaako n’akabawula ke mmuteeramu.” Biki ebyavaamu? Mu kifo ky’okusanga ensobi mu Bayibuli, taata wa Alice yakwatibwako nnyo ebyo bye yasoma mu Kigambo kya Katonda.

13 Twetaaga okuba ab’ekisa n’okunywerera ku kituufu, ne bwe tuba nga tugezesebwa. (1 Kol. 4:12b) Ng’ekyokulabirako, maama wa Alice yamuyigganya. Alice agamba nti: “Bwe nnabatizibwa, Maama yaŋŋamba nti: ‘Oli muwala mubi.’” Kiki Alice kye yakola? Agamba nti: “Mu kifo ky’okwewala okwogera ku ddiini yange empya, mu bukkakkamu nnamugamba nti nnali nsazeewo okuba Omujulirwa wa Yakuwa era nti kye nnali nsazeewo nnali ŋŋenda kukinywererako. Nnafuba okukakasa maama wange nti nnali mwagala nnyo. Ffembi twakaaba, era oluvannyuma nnamufumbira ekijjulo ekirungi. Okuva olwo, maama yatandika okukiraba nti Bayibuli yali ennyamba okuba omuntu omulungi.”

14. Lwaki tetusaanidde kwekkiriranya?

14 Ab’eŋŋanda zaffe kiyinza okubatwalira ekiseera okukitegeera nti tumaliridde okuweereza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Alice bwe yasalawo okuweereza nga payoniya mu kifo ky’okukola omulimu bazadde be gwe baali baagala akole, maama we yaddamu n’akaaba. Naye Alice yanywerera ku kye yali asazeewo. Alice agamba nti: “Bwe wekkiriranya mu nsonga emu, ab’eŋŋanda zo bayinza n’okugezaako okukuleetera okwekkiriranya ne ku nsonga endala. Naye bw’oba ow’ekisa era n’onywerera ku kituufu, abamu ku bo bayinza okukuwuliriza.” Ekyo kye kyatuuka ku Alice. Bazadde be bombi kati baweereza nga bapayoniya, era taata we mukadde mu kibiina.

BONNA MU KIBIINA BAYINZA BATYA OKUYAMBA?

Ab’oluganda mu kibiina bayinza batya okuyamba ab’eŋŋanda zaffe abatali Bajulirwa ba Yakuwa? (Laba akatundu 15-16) *

15. Okusinziira ku Matayo 5:14-16 ne 1 Peetero 2:12, ‘ebikolwa ebirungi’ eby’ab’oluganda abalala biyinza bitya okuyamba ab’eŋŋanda zaffe?

15 Yakuwa akozesa ‘ebikolwa ebirungi’ eby’abaweereza be okusembeza abantu gy’ali. (Soma Matayo 5:14-16; 1 Peetero 2:12.) Munno mu bufumbo bw’aba nga si Mujulirwa wa Yakuwa, yali asisinkanyeeko ab’oluganda mu kibiina kyo? Pauline, eyayogeddwako waggulu yayita ab’oluganda ne bannyinaffe ewaabwe, omwami we, Wayne, asobole okubamanya. Wayne ajjukira engeri ow’oluganda omu gye yamuyambamu okumanya ekyo ddala Abajulirwa ba Yakuwa kye bali. Agamba nti: “Ow’oluganda oyo yafunayo olunaku n’atagenda ku mulimu n’ajja ne tulabira wamu omupiira. Ekyo kyannyamba okukiraba nti naye muntu wa bulijjo.”

16. Lwaki tusaanidde okuyita ab’eŋŋanda zaffe okujja mu nkuŋŋaana?

16 Engeri endala gye tuyinza okuyambamu ab’eŋŋanda zaffe, kwe kubayita okujja mu nkuŋŋaana zaffe. (1 Kol. 14:24, 25) Olukuŋŋaana Wayne lwe yasooka okugendamu lwali lukuŋŋaana olw’Ekijjukizo, kubanga lwaliwo mu kiseera ng’annyuse ku mulimu ate nga terulwawo. Agamba nti: “Saategeera bulungi byali mu mboozi eyaweebwa, naye nnakwatibwako nnyo engeri abantu gye beeyisaamu. Bajja gye ndi ne bannyaniriza n’essanyu era ne bambuuza. Nnakiraba nti bantu balungi.” Ow’oluganda omu ne mukyala we baali bafuba nnyo okuyamba Pauline, nga bamuyambako ku mwana we mu nkuŋŋaana ne mu mulimu gw’okubuulira. N’olwekyo, Wayne bwe yasalawo okumanya ebisingawo ebikwata ku nzikiriza ya Pauline, yasaba ow’oluganda oyo y’aba amuyigiriza Bayibuli.

17. Musango ki gwe tutasaanidde kwesalira, era lwaki tetusaanidde kukoowa kugezaako kuyamba ba ŋŋanda zaffe?

17 Twandyagadde ab’eŋŋanda zaffe bonna batwegatteko mu kusinza Yakuwa. Naye ne bwe tufuba tutya okubayamba, bayinza obutayiga mazima. Ekyo bwe kiba kityo, tetusaanidde kwesalira musango olw’ekyo kye baba basazeewo. Ekyo kiri kityo kubanga tetusobola kukaka muntu yenna kuweereza Yakuwa. Naye ab’eŋŋanda zo bwe bakulaba ng’oli musanyufu okuweereza Yakuwa, kiyinza okubakwatako ennyo. Basabire. Yogera nabo mu ngeri ey’ekisa. Tokoowa kugezaako kubayamba! (Bik. 20:20) Ba mukakafu nti Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwo. Ab’eŋŋanda zo bwe banaakuwuliriza, bajja kulokolebwa!

OLUYIMBA 57 Okubuulira Abantu aba Buli Ngeri

^ lup. 5 Twandyagadde ab’eŋŋanda zaffe bayige ebikwata ku Yakuwa, naye be balina okwesalirawo okuweereza Yakuwa oba obutamuweereza. Mu kitundu kino tugenda kulaba bye tuyinza okukola okukifuula ekyangu eri ab’eŋŋanda zaffe okutuwuliriza.

^ lup. 1 Amannya agamu gakyusiddwa. Mu kitundu kino, ekigambo “ab’eŋŋanda” kikozeseddwa okutegeeza ab’eŋŋanda abatannatandika kuweereza Yakuwa.

^ lup. 53 EBIFAANANYI: Ow’oluganda akyali omuvubuka ayambako taata we atali Mujulirwa wa Yakuwa okukanika emmotoka. Mu kiseera ekituufu, amulaga vidiyo ku jw.org®.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe ng’awuliriza bulungi omwami we atali Mujulirwa wa Yakuwa ng’amunyumiza by’ayiseemu mu lunaku. Oluvannyuma anyumirwa okubeerako awamu n’omwami we awamu n’omwana waabwe nga beesanyusaamu.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe ng’akyazizza awaka ab’oluganda mu kibiina kye. Ab’oluganda bafaayo ku mwami wa mwannyinaffe era bafuba okumumanya. Oluvannyuma omwami wa mwannyinaffe oyo ajja naye ku mukolo gw’Ekijjukizo.