Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 32

Okwagala Kwammwe ka Kweyongere

Okwagala Kwammwe ka Kweyongere

“Kino kye nneeyongera okusaba, nti okwagala kwammwe kweyongere.”​—BAF. 1:9.

OLUYIMBA 106 Okukulaakulanya Okwagala

OMULAMWA *

1. Baani abaatandikawo ekibiina ky’omu Firipi?

OMUTUME Pawulo, Siira, Lukka, ne Timoseewo bwe batuuka mu Firipi, baasangayo abantu bangi abaali baagala okuwulira obubaka bw’Obwakabaka. Ab’oluganda abo abana abaali abanyiikivu baatandikawo ekibiina mu kibuga ekyo, era abayigirizwa bonna baatandika okukuŋŋaananga awamu, oboolyawo mu maka ga Lidiya, eyali asembeza ennyo abagenyi.​—Bik. 16:40.

2. Kusoomooza ki ekibiina ky’omu Firipi kwe kyayolekagana nakwo?

2 Mu kiseera kitono, ekibiina ekyo ekyali kyakatandikibwawo kyayolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi. Sitaani yaleetera abalabe b’amazima okulwanyisa omulimu Pawulo ne banne gwe baali bakola. Pawulo ne Siira baakwatibwa, baakubibwa emiggo, era ne basibibwa. Bwe baamala okusumululwa mu kkomera, baakyalira abayigirizwa abo abapya ne babazzaamu amaanyi. Oluvannyuma Pawulo, Siira, ne Timoseewo baava mu kibuga ekyo, naye kirabika ne balekayo Lukka. Kiki ab’oluganda abaali mu kibiina ekyo ekyali ekipya kye bandikoze? Yakuwa yabawa omwoyo gwe omutukuvu ne beeyongera okumuweereza n’obunyiikivu. (Baf. 2:12) Tewali kubuusabuusa nti ekyo kyasanyusa nnyo Pawulo!

3. Nga bwe kiragibwa mu Abafiripi 1:9-11, biki Pawulo bye yasaba?

3 Nga wayise emyaka nga kkumi, Pawulo yawandiikira ab’omu kibiina ky’e Firipi ebbaluwa. Bw’osoma ebbaluwa eyo, okiraba nti Pawulo yali ayagala nnyo baganda be abo. Yawandiika nti: “Njagala nnyo okubeera nammwe mmwenna mu kwagala okulinga okwa Kristo Yesu.” (Baf. 1:8) Yabagamba nti yali abasabira. Yasaba Yakuwa abayambe okwagala kwabwe kweyongere, bamanye ebintu ebisinga obukulu, baleme kubaako kya kunenyezebwa, beewale okwesittaza abalala, era beeyongere okubala ebibala eby’obutuukirivu. Naffe leero tulina bingi bye tusobola okuyigira ku bigambo bya Pawulo. Kati ka tusome ebyo Pawulo bye yawandiikira Abafiripi. (Soma Abafiripi 1:9-11.) Oluvannyuma tujja kulaba ensonga ze yayogerako era tulabe engeri gye tuyinza okuzikolerako.

OKWAGALA KWAMMWE KA KWEYONGERE

4. (a) Okusinziira ku 1 Yokaana 4:9, 10, Yakuwa yatulaga atya okwagala? (b) Katonda tusaanidde kumwagala kyenkana wa?

4 Yakuwa yatulaga okwagala kungi nnyo bwe yasindika Omwana we ku nsi okutufiirira olw’ebibi byaffe. (Soma 1 Yokaana 4:9, 10.) Okwagala Katonda kwe yatulaga kutuleetera naffe okumwagala. (Bar. 5:8) Katonda tusaanidde kumwagala kyenkana wa? Yesu yaddamu ekibuuzo ekyo bwe yagamba Omufalisaayo omu nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Mat. 22:36, 37) Tusaanidde okwagala Katonda n’omutima gwaffe gwonna. Era twagala okwagala kwe tulina gy’ali kweyongere buli lunaku. Pawulo yagamba Abafiripi nti okwagala kwabwe kwali kusaanidde ‘okweyongera.’ Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okwagala Katonda?

5. Okwagala kwaffe kuyinza kutya okweyongera?

5 Okusobola okwagala Katonda twetaaga okumumanya. Bayibuli egamba nti: “Oyo atalina kwagala tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) Omutume Pawulo yakiraga nti gye tukoma okufuna ‘okumanya okutuufu n’okutegeera Katonda mu bujjuvu,’ okwagala kwe tulina gy’ali gye kukoma okweyongera. (Baf. 1:9) Bwe twatandika okuyiga Bayibuli, twatandika okwagala Katonda wadde nga twali tumumanyiiko bitono. Naye bwe tweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, okwagala kwe tulina gy’ali kweyongera. Eyo ye nsonga lwaki kikulu nnyo okusoma Bayibuli obutayosa n’okufumiitiriza ku bye tusoma!​—Baf. 2:16.

6. Okusinziira ku 1 Yokaana 4:11, 20, 21, tuyinza tutya okukiraga nti tulina okwagala?

6 Okwagala okungi Katonda kwe yatulaga kutuleetera okwagala bakkiriza bannaffe. (Soma 1 Yokaana 4:11, 20, 21.) Tuyinza okulowooza nti okwagala kwe tulina eri bakkiriza bannaffe kujja kwokka. Ggwe ate oba ffenna tusinza Yakuwa era tufuba okukoppa engeri ze ennungi. Ate era tufuba okukoppa Yesu eyatwagala ennyo n’atuuka n’okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe. Wadde kiri kityo, oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu okugondera ekiragiro eky’okwagala bannaffe. Lowooza ku mbeera emu eyali mu kibiina ky’e Firipi.

7. Kiki kye tuyigira ku kubuulirira Pawulo kwe yawa Ewudiya ne Suntuke?

7 Ewudiya ne Suntuke baali bannyinaffe abanyiikivu ennyo abaaweerereza awamu n’omutume Pawulo. Naye kirabika baali bakkiriza obutategeeragana bwe baalina okubaleetera okuba n’enjawukana. Mu bbaluwa gye yawandiikira ekibiina bannyinnaffe abo mwe baali, Pawulo yakubiriza Ewudiya ne Suntuke “okuba n’endowooza emu.” (Baf. 4:2, 3) Ate era Pawulo yakiraba nti kyali kyetaagisa okugamba ekibiina kyonna nti: “Mukolenga ebintu byonna awatali kwemulugunya wadde okuyomba.” (Baf. 2:14) Tewali kubuusabuusa nti okubuulirira okwo tekwayamba bannyinaffe abo ababiri bokka naye kwayamba ab’omu kibiina bonna okwongera okwagalana.

Lwaki tulina okutunuulira ebirungi ebiri mu baganda baffe? (Laba akatundu 8) *

8. Kiki ekiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okwagala baganda baffe, era tuyinza tutya okukivvuunuka?

8 Okufaananako Ewudiya ne Suntuke, naffe bwe tussa essira ku butali butuukirivu bwa baganda baffe, kiyinza okutubeerera ekizibu okubaagala. Ffenna tukola ensobi buli lunaku. Bwe tusigala nga tulowooza ku nsobi z’abalala, okwagala kwe tulina gye bali kukendeera. Ng’ekyokulabirako, singa mukkiriza munnaffe yeerabira okutuyambako okulongoosa ekizimbe ky’Obwakabaka, ekyo kiyinza okutunyiiza. Bwe tutandika okulowooza ku nsobi endala muganda waffe oyo z’azze akola, tujja kweyongera okumunyiigira era okwagala kwe tulina gy’ali kujja kukendeerera ddala. Singa weesanga mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi okulowooza ku kintu kino ekikulu: Yakuwa alaba obutali butuukirivu bwaffe n’obwa muganda waffe oyo. Wadde kiri kityo, ayagala muganda waffe oyo era naffe atwagala. N’olwekyo, tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tutunuulira ebirungi mu baganda baffe. Bwe tufuba okwagala baganda baffe tweyongera okuba obumu.​—Baf. 2:1, 2.

“EBINTU EBISINGA OBUKULU”

9. “Ebintu ebisinga obukulu” Pawulo bye yayogerako mu bbaluwa ye eri Abafiripi bizingiramu ki?

9 Omwoyo omutukuvu gwaluŋŋamya Pawulo okukubiriza ab’omu kibiina ky’e Firipi n’Abakristaayo abalala bonna “okumanya ebintu ebisinga obukulu.” (Baf. 1:10) Ebintu ebyo ebisinga obukulu bizingiramu okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa, okutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye, n’emirembe n’obumu eby’ekibiina. (Mat. 6:9, 10; Yok. 13:35) Ebintu ebyo bwe biba nga bye bisinga obukulu mu bulamu bwaffe, kiba kiraga nti twagala Yakuwa.

10. Kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okututwala ng’abataliiko kya kunenyezebwa?

10 Pawulo era yagamba nti tusaanidde ‘obutabaako kya kunenyezebwa.’ Ekyo tekitegeeza nti tulina okuba nga tutuukiridde. Tetusobola butabaako kya kunenyezebwa nga Yakuwa Katonda bw’ali. Naye Yakuwa ajja kututwala ng’abataliiko kya kunenyezebwa singa tukola kyonna ekisoboka okwongera ku kwagala kwaffe n’okukulembeza ebintu ebisinga obukulu. Engeri emu gye tulagamu okwagala kwe kufuba okwewala okwesitazza abalala.

11. Lwaki tulina okwewala okwesittaza abalala?

11 Okubuulirira okukwata ku kwewala okwesittaza abalala kulabula kwa maanyi gye tuli. Tuyinza tutya okwesittaza omuntu? Eby’okwesanyusaamu bye tulondawo, engeri gye twambalamu, oba omulimu gwe tusalawo okukola bisobola okwesittaza omuntu. Kiyinzika okuba nti ebyo bye tukola si bikyamu. Naye singa ebyo bye tukola bikosa omuntu ow’omunda ow’omulala ne kimuviirako okwesittala, kiba kya kabi nnyo. Yesu yagamba nti bwe twesittaza emu ku ndiga ze, kyandisinzeeko singa tusibibwa mu bulago olubengo ne tusuulibwa mu nnyanja!​—Mat. 18:6.

12. Kiki kye tuyigira ku w’oluganda omu ne mwannyinaffe abaweereza nga bapayoniya?

12 Weetegereze engeri ow’oluganda omu ne mukyala we abaweereza nga bapayoniya gye baakolera ku kulabula kwa Yesu okwo. Baali baweerereza mu kibiina omwali ow’oluganda ne mwannyinaffe abaali baakabatizibwa abaakulira mu maka agaali gabakugira mu bintu bingi. Ow’oluganda oyo ne mwannyinaffe abo abaali abapya baali balowooza nti Abakristaayo tebasaanidde kulaba firimu yonna, ne bw’eba nga si mbi. Kyabakuba wala nnyo bwe baakitegeera nti ow’oluganda ne mukyala we abaali baweereza nga bapayoniya baaliko firimu gye baali balabye. Oluvannyuma lw’ekyo, bapayoniya abo beewala okuddamu okugenda okulaba firimu okutuusa ow’oluganda oyo ne mukyala we abaali abapya bwe beeyongera okutendeka omuntu waabwe ow’omunda okwawulawo ekisaanidde n’ekitasaanidde. (Beb. 5:14) Mu ngeri eyo, bapayoniya abo baakiraga nti baali baagala baganda baabwe abo abaali abapya, si mu bigambo mwokka wabula ne mu bikolwa.​—Bar. 14:19-21; 1 Yok. 3:18.

13. Tuyinza tutya okuleetera omuntu okukola ekibi?

13 Engeri endala gye tuyinza okwesittazaamu omuntu kwe kumuleetera okukola ekibi. Ekyo kiyinza kitya okubaawo? Lowooza ku mbeera eno. Oluvannyuma lw’okufuba okumala ebbanga eddene, omuyizi wa Bayibuli avvuunuka omuze ogw’okwekatankira omwenge. Era akiraba nti alina okwewalira ddala okukomba ku mwenge. Akulaakulana era n’abatizibwa. Oluvannyuma nga bali ku kabaga akamu, ow’oluganda abakyazizza amusendasenda okunywa omwenge ng’amugamba nti: “Kati oli Mukristaayo, era olina omwoyo gwa Yakuwa. Emu ku ngeri eziri mu kibala ky’omwoyo kwe kwefuga. Bw’oba nga ddala weefuga, tojja kunywa kisukkiridde.” Kiba kya nnaku singa ow’oluganda oyo omupya akolera ku magezi ago agatali malungi n’addamu okufuuka omuddu w’omwenge!

14. Enkuŋŋaana zituyamba zitya okukolera ku bulagirizi obuli mu Abafiripi 1:10?

14 Enkuŋŋaana zaffe zituyamba okukolera ku bulagirizi obuli mu Abafiripi 1:10 mu ngeri ezitali zimu. Esooka, emmere ey’eby’omwoyo gye tufuna mu nkuŋŋaana etujjukiza ebyo Yakuwa by’atwala okuba nti bye bisinga obukulu. Ey’okubiri, tumanya engeri y’okukolera ku ebyo bye tuyiga tusobole okuba nga tetuliiko kya kunenyezebwa. Ey’okusatu, tukubirizibwa “okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi.” (Beb. 10:24, 25) Baganda baffe gye bakoma okutuzzaamu amaanyi, okwagala kwe tulina eri Yakuwa ne baganda baffe gye kukoma okweyongera. Bwe twagala ennyo Yakuwa ne baganda baffe, tujja kukola kyonna ekisoboka obuteesittaza baganda baffe.

MWEYONGERE OKUBALA “EBIBALA BINGI EBY’OBUTUUKIRIVU”

15. Kitegeeza ki okubala ‘ebibala eby’obutuukirivu’?

15 Pawulo yasabira Abakristaayo ab’omu Firipi babale “ebibala bingi eby’obutuukirivu.” (Baf. 1:11) Kya lwatu nti ebibala eby’obutuukirivu bizingiramu okwagala Yakuwa n’abantu be. Ate era bizingiramu okubuulirako abalala ebikwata ku Yesu n’essuubi ery’ekitalo lye tulina. Abafiripi 2:15 wakozesa n’ebigambo bino ebirala: ‘Okwaka ng’ettaala mu nsi.’ Ekyo kituukirawo kubanga Yesu abayigirizwa be yabayita “kitangaala kya nsi.” (Mat. 5:14-16) Era yalagira abagoberezi be ‘okufuula abantu abayigirizwa,’ era n’agamba nti bandibadde ‘bajulirwa be okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.’ (Mat. 28:18-20; Bik. 1:8) Tubala ‘ebibala eby’obutuukirivu’ nga twenyigira mu mulimu ogwo ogusingayo obukulu.

Nga Pawulo asibiddwa mu nnyumba e Rooma, awandiikira ekibiina ky’e Firipi ebbaluwa. Era Pawulo akozesa buli kakisa k’afuna okubuulira abasirikale abamukuuma awamu n’abantu abajja okumulaba (Laba akatundu 16)

16. Abafiripi 1:12-14 walaga watya nti tusobola okwaka ng’ettaala ne bwe tuba mu mbeera enzibu? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

16 Ka tube mu mbeera ki, tusobola okwaka ng’ettaala. Oluusi embeera ezirabika ng’ezanditulemesezza okubuulira amawulire amalungi, zituwa akakisa okubuulira. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yali mu kkomera mu Rooma we yawandiikira Abafiripi ebbaluwa. Naye okuba nti yali musibe tekyamulemesa kubuulira basirikale abaali bamukuuma awamu n’abo abajjanga okumulaba. Pawulo yabuulira n’obunyiikivu ng’ali mu mbeera eyo, era ekyo kyazzaamu nnyo ab’oluganda amaanyi ne basobola ‘okubuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya.’​—Soma Abafiripi 1:12-14; 4:22.

Bulijjo noonyanga engeri gy’oyinza okubuuliramu abalala (Laba akatundu 17) *

17. Baganda baffe ne bannyinaffe abamu beeyongedde batya okubala ebibala mu mbeera enzibu?

17 Leero baganda baffe ne bannyinaffe booleka obuvumu ng’obwo Pawulo bwe yayoleka. Bali mu nsi mwe batasobola kubuulira kyere oba kubuulira nnyumba ku nnyumba. Bwe kityo, banoonya engeri endala ey’okubuuliramu amawulire amalungi. (Mat. 10:16-20) Mu emu ku nsi ng’ezo, omulabirizi akyalira ebibiina yakubiriza ababuulizi okubuulira ab’eŋŋanda zaabwe, baliraanwa baabwe, bayizi bannaabwe, bakozi bannaabwe ne mikwano gyabwe. Mu myaka ebiri gyokka, omuwendo gw’ebibiina mu kitundu kye yali alabirira gweyongera nnyo. Tuyinza okuba ng’ensi mwe tuli tebatugaana kubuulira kyere. Naye waliwo ekintu kino kye tuyigira ku baganda baffe ne bannyinaffe abo: Bulijjo noonyanga engeri ey’okubuulira abalala amawulire amalungi ng’oli mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okwaŋŋanga okusoomooza kwonna kw’oba oyolekagana nakwo.​—Baf. 2:13.

18. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

18 Leero okusinga bwe kyali edda, tulina okuba abamalirivu okukolera ku kubuulira kwa Pawulo okuli mu bbaluwa gye yawandiikira Abafiripi. Tulina okukulembeza ebintu ebisinga obukulu, obutabaako kya kunenyezebwa, okwewala okwesittaza balala, n’okubala ebibala eby’obutuukirivu. Bwe tukola tutyo okwagala kwaffe kujja kweyongera era ekyo kijja kuweesa Yakuwa Kitaffe ow’okwagala ekitiibwa.

OLUYIMBA 17 “Njagala”

^ lup. 5 Leero okusinga bwe kyali kibadde, twetaaga okwongera okwagala ennyo baganda baffe. Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abafiripi etuyamba okulaba engeri gye tuyinza okwongera ku kwagala kwaffe ne bwe kiba nga si kyangu kukikola.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Bwe baba balongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka, ow’oluganda omu ayitibwa Joe ayimirira n’anyumyako n’ow’oluganda omulala ali ne mutabani we. Ekyo kinyiiza ow’oluganda Mike naye ali mu kulongoosa. Muli Mike agamba, ‘Joe alina kuba ng’akola mu kifo ky’okudda mu kunyumya.’ Oluvannyuma, Mike alaba engeri Joe gy’ayambamu mwannyinaffe nnamukadde. Ekyo kijjukiza Mike engeri ennungi muganda we oyo z’alina.

^ lup. 58 EBIFAANANYI: Mu nsi emu Abajulirwa ba Yakuwa gye batasobola kubuulira kyere, ow’oluganda abuulira omuntu gw’amanyi, naye akikola mu ngeri ey’amagezi. Oluvannyuma mu kiseera ky’okuwummulamu ku mulimu, ow’oluganda oyo abuulirako mukozi munne.