Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 31

“Tetulekulira”!

“Tetulekulira”!

“Tetulekulira.”​—2 KOL. 4:16.

OLUYIMBA 128 Okugumiikiriza Okutuusa ku Nkomerero

OMULAMWA *

1. Kiki Abakristaayo kye basaanidde okukola okusobola okumalako embiro ez’obulamu?

ABAKRISTAAYO bali mu mbiro ez’obulamu. Ka tube nga twakatandika okuzidduka oba nga tumaze emyaka mingi nga tuzidduka, tulina okweyongera okudduka okutuusa lwe tunaazimalako. Amagezi omutume Pawulo ge yawa Abakristaayo mu Firipi gasobola okutuyamba okuba abamalirivu okumalako embiro ezo. Pawulo we yawandiikira ebbaluwa eri Abafiripi, abamu ku Bakristaayo abaali mu kibiina ekyo baali bamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa. Baali badduka bulungi embiro ez’obulamu, naye Pawulo yabakubiriza okweyongera okuzidduka n’obugumiikiriza. Yali ayagala bamukoppe, ‘bafube okutuuka ku kiruubirirwa.’​—Baf. 3:14.

2. Lwaki okubuulirira Pawulo kwe yawa Abafiripi kwali kutuukirawo?

2 Okubuulirira Pawulo kwe yawa Abafiripi kwali kutuukirawo. Abantu b’omu Firipi baayigganya ab’oluganda okuviira ddala ekibiina ky’omu Firipi lwe kyatandikibwawo. Mu mwaka gwa 50 E.E, Pawulo ne Siira baagondera ekiragiro kya Katonda bwe yabagamba okugenda e Masedoniya. Bwe kityo baagenda mu Firipi okubuulira amawulire amalungi. (Bik. 16:9) Eyo gye baasanga omukazi eyali ayitibwa Lidiya, eyabawuliriza era Yakuwa ‘n’aggula omutima gwe’ n’akkiriza amawulire amalungi. (Bik. 16:14) Lidiya n’ab’ennyumba ye baabatizibwa. Naye Omulyolyomi teyasanyuka. Abasajja ab’omu kibuga baawalawala Pawulo ne Siira ne babatwala eri ab’obuyinza ne babasibako omusango ogw’okukyankalanya ekibuga. N’ekyavaamu, Pawulo ne Siira baakubibwa, ne basibibwa mu kkomera, era oluvannyuma ne babalagira okuva mu kibuga. (Bik. 16:16-40) Ekyo kyabamalamu amaanyi? Nedda! Ate bo Abakristaayo abaali mu kibiina ky’e Firipi ekyali kyakatandikibwawo? Bassaawo ekyokulabirako ekirungi, kubanga nabo baagumiikiriza! Kya lwatu nti ekyokulabirako ekirungi Pawulo ne Siira kye bassaawo kyabakwatako nnyo.

3. Kiki Pawulo kye yali amanyi, era bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Pawulo yali mumalirivu obutalekulira. (2 Kol. 4:16) Yali akimanyi nti okusobola okudduka embiro ez’obulamu n’azimalako, yalina okusigala ng’akuumidde ebirowoozo bye ku kiruubirirwa kye. Biki bye tuyigira ku Pawulo? Byakulabirako ki eby’omu kiseera kyaffe ebiraga nti tusobola okugumiikiriza ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu? Era essuubi lye tulina erikwata ku biseera eby’omu maaso liyinza litya okutuyamba okuba abamalirivu obutaggwaamu maanyi?

BYE TUYIGIRA KU PAWULO

4. Pawulo yasobola atya okusigala ng’aweereza Yakuwa n’obunyiikivu wadde ng’embeera gye yalimu teyali nnyangu?

4 Lowooza ku mbeera Pawulo gye yalimu we yawandiikira ab’oluganda mu Firipi ebbaluwa. Yali asibiddwa mu nnyumba e Rooma. Yali tasobola kufuluma mu nnyumba kugenda kubuulira. Wadde kyali kityo, yabuuliranga abo abaamukyaliranga era yawandiikira ebibiina ebitali bimu amabaluwa. Ne leero Abakristaayo abatasobola kuva waka babuulira abo abagenda okubakyalira. Ate era babuulira nga bawandiikira abantu amabaluwa abatali bangu kutuukako.

5. Okusinziira ku bigambo ebiri mu Abafiripi 3:12-14, kiki ekyayamba Pawulo okukuumira amaaso ge ku kiruubirirwa?

5 Pawulo teyakkiriza bintu bye yali atuuseeko mu biseera eby’emabega oba ensobi ze yali akoze okumuwugula. Mu butuufu, yagamba nti kyali kimwetaagisa ‘okwerabira ebintu eby’emabega’ asobole ‘okuluubirira eby’omu maaso,’ kwe kugamba, asobole okumalako embiro. (Soma Abafiripi 3:12-14.) Ebimu ku bintu ebyali bisobola okuwugula Pawulo bye biruwa? Ekisooka, Pawulo yalina bingi bye yali atuuseeko mu ddiini y’Ekiyudaaya. Naye ebintu ebyo yabitwala “ng’ebisasiro.” (Baf. 3:3-8) Eky’okubiri, wadde ng’omutima gwe guyinza okuba nga gwamulumirizanga olw’okuba yayigganya Abakristaayo, ekyo teyakikkiriza kumumalamu maanyi. N’eky’okusatu, teyagamba nti ebyo bye yali akoledde Yakuwa byali bimala ne kiba nti kati kyali tekimwetaagisa kuweereza na bunyiikivu. Pawulo yeeyongera okuweereza n’obunyiikivu wadde nga yasibibwa mu kkomera, yakubibwa embooko, yakubibwa amayinja, emirundi egiwerako amaato mwe yali gaamenyekamenyeka, n’okuba nti emirundi egimu yabulwanga emmere n’eby’okwambala. (2 Kol. 11:23-27) Wadde nga Pawulo yalina bingi bye yali akoze era ng’ayise ne mu kubonaabona kungi, yali akimanyi nti yalina okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Naffe ekyo kye tusaanidde okukola.

6. Ebimu ku ‘bintu eby’emabega’ bye tulina okwerabira bye biruwa?

6 Tuyinza tutya okukoppa Pawulo ne ‘twerabira ebintu eby’emabega’? Abamu ku ffe omutima gwaffe guyinza okuba nga gutulumiriza olw’ebibi bye twakola emabega. Bwe kiba kityo, kiba kirungi okusoma ebikwata ku kinunulo. Bwe tusoma ku kinunulo, ne tukifumiitirizaako, era ne tusaba Yakuwa, kisobola okutuyamba okulekera awo okulumirizibwa omutima ekiteetaagisa. Era kisobola n’okutuyamba okulekera awo okulumirizibwa omutima ku bintu Yakuwa bye yatusonyiwa edda. Lowooza ku kintu ekirala kye tuyinza okuyigira ku Pawulo. Abamu ku ffe tuyinza okuba nga twalekayo emirimu egyali gisasula ssente ennyingi tusobole okwemalira ku mulimu gw’Obwakabaka. Bwe kiba kityo, tusaanidde okwerabira ebintu bye twaleka emabega, tuleme kubyegomba nate. (Kubal. 11:4-6; Mub. 7:10) “Ebintu eby’emabega” era bisobola okutwaliramu ebyo bye twakola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa oba ebizibu bye twayitamu emabega. Kyo kituufu nti bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atuyambyemu era gy’atuwaddemu emikisa emyaka bwe gizze giyitawo, kisobola okutuyamba okumusemberera. Naye tetusaanidde kuba bamativu n’ebyo bye twakola emabega nga tulowooza nti bimala.​—1 Kol. 15:58.

Mu mbiro ez’obulamu, tulina okwewala ebiwugula, era tulina okukuumira amaaso gaffe ku kiruubirirwa kyaffe (Laba akatundu 7)

7. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 9:24-27, kiki ekyetaagisa okusobola okumalako embiro ez’obulamu? Waayo ekyokulabirako.

7 Pawulo yategeera bulungi ebigambo bya Yesu bino: “Mufube nnyo.” (Luk. 13:23, 24) Okufaananako Kristo, ne Pawulo yali akimanyi nti yalina okufuba ennyo okutuukira ddala ku nkomerero. N’olwekyo yageraageranya obulamu bw’Ekikristaayo ku mbiro. (Soma 1 Abakkolinso 9:24-27.) Omuddusi ebirowoozo bye abikuumira ku kaguwa awamalirwa era yeewala ebintu ebiwugula. Ng’ekyokulabirako, abaddusi bwe baba badduka bayinza okuyita mu nguudo eziriko amaduuka n’ebintu ebirala ebiyinza okubawugula. Olowooza omuddusi ayinza okuyimirira ne yeetegereza ebintu ebiba bitundibwa mu maduuka ago? Ekyo tasobola kukikola bw’aba ayagala okuwangula! Mu mbiro zaffe ez’obulamu, naffe tulina okwewala ebintu ebiwugula. Bwe tukuumira ebirowoozo byaffe ku kiruubirirwa kyaffe, ne tufuba nnyo okuweereza Yakuwa nga Pawulo bwe yakola, tujja kufuna empeera!

TUYINZA TUTYA OKWEYONGERA OKUWEEREZA YAKUWA WADDE NGA TULINA EBIZIBU

8. Bintu ki ebisatu bye tugenda okwekenneenya?

8 Kati ka tulabe ebintu bisatu ebiyinza okutuleetera okuggwaamu amaanyi. Ebisuubirwa bwe birwawo okutuukirira, amaanyi gaffe bwe gagenda gakendeera, n’ebizibu ebitavaawo. Okulaba engeri abalala gye basobodde okugumiikiriza ebintu ebyo kisobola okutuyamba.​—Baf. 3:17.

9. Kiki ekiyinza okututuukako nga bye tusuubira biruddewo okutuukirira?

9 Ebisuubirwa bwe birwawo okutuukirira. Ffenna twesunga okulaba ebintu ebirungi Yakuwa bye yasuubiza nga bituukirira. Nnabbi Kaabakuuku bwe yakyoleka nti yali ayagala nnyo okulaba nga Yakuwa akomya ebikolwa ebibi ebyali mu Yuda, Yakuwa yamugamba ‘alindirire.’ (Kaab. 2:3) Kyokka bye tusuubira bwe birabika ng’ebiruddewo okutuukirira, kiyinza okutuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Tuyinza n’okuggwaamu amaanyi. (Nge. 13:12) Ekyo kye kyaliwo ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20. Mu kiseera ekyo, Abakristaayo bangi abaafukibwako amafuta baali balowooza nti baali ba kugenda mu ggulu mu 1914. Naye ekyo bwe kitaabaawo, kibi Abakristaayo abeesigwa kye baakola?

Royal ne Pearl Spatz tebaagenda mu ggulu mu 1914 nga bwe baali basuubira, naye beeyongera okuweereza Yakuwa okumala emyaka mingi (Laba akatundu 10)

10. Ow’oluganda omu ne mukyala we beeyisa batya ng’ekintu kye baali basuubira tekituukiridde mu kiseera kye baali bakisuubiriramu?

10 Lowooza ku baganda baffe babiri abaayolekagana n’embeera eyo. Ow’oluganda Royal Spatz yabatizibwa mu 1908 ng’alina emyaka 20. Yali mukakafu nti mu kiseera ekitali kya wala yali ajja kugenda mu ggulu. Mu butuufu, mu 1911 bwe yali ayogereza mwannyinaffe Pearl yamugamba nti: “Omanyi ekigenda okubaawo mu 1914. Bwe tuba ab’okufumbiriganwa, tukikole mu bwangu!” Ow’oluganda oyo ne mukyala we baalekera awo okuweereza Yakuwa olw’okuba baali tebagenze mu ggulu mu 1914? Nedda, kubanga ekigendererwa kyabwe ekikulu kyali kya kukola Katonda by’ayagala so si kugenda mu ggulu. Baali bamalirivu okudduka embiro ez’obulamu n’obugumiikiriza. Era mu butuufu, Royal ne Pearl baasigala baweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka mingi okutuusa bwe baamaliriza obuweereza bwabwe obw’oku nsi. Kya lwatu weesunga ekiseera Yakuwa lw’anaggya ekivume ku linnya lye era atuukirize byonna bye yasuubiza. Ba mukakafu nti ebintu ebyo bijja kubaawo mu kiseera kya Yakuwa ekituufu. Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, ka tweyongere okuweereza Katonda waffe n’obunyiikivu, nga tetukkiriza bintu bye tusuubira ebirabika ng’ebiruddewo okutuukirira kutuleetera kuggwaamu maanyi.

Ne bwe yali akaddiye, Arthur Secord yali akyayagala okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu (Laba akatundu 11)

11-12. Lwaki tusobola okusigala nga tuweereza Yakuwa n’obwesigwa amaanyi gaffe ne bwe gaba nga gakendedde? Waayo ekyokulabirako.

11 Amaanyi gaffe bwe gagenda gakendeera. Omuddusi kimwetaagisa okuba n’amaanyi mu mubiri okusobola okudduka embiro, naye tekikwetaagisa kuba na maanyi ago okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu n’okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Mu butuufu, waliwo ab’oluganda bangi abatakyalina maanyi mu mubiri naye nga bamalirivu okuweereza Yakuwa. (2 Kol. 4:16) Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda Arthur Secord * we yawereza emyaka 88 yali amaze emyaka 55 ng’aweereza ku Beseri. Kati yali anafuye, era ng’alwalalwala. Lumu mwannyinaffe akola ng’omusawo bwe yagenda okumujjanjaba, yamutunuulira n’amugamba nti: “Ow’oluganda Secord, omubiri gwo guno ogukozesezza ebintu bingi mu buweereza bwo eri Yakuwa.” Naye Ow’oluganda Secord ebirowoozo bye yali tabimalira ku ebyo bye yali akoze. Yatunuulira mwannyinaffe oyo, n’amwenya, n’amuddamu nti: “Ekyo kituufu. Naye bye twakola emabega si bye bikulu. Ekikulu kwe kweyongera okusigala nga tuli beesigwa.”

12 Oyinza okuba ng’omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa naye nga kati obulwadde tebukyakusobozesa kukola nga bwe wakolanga edda. Bwe kiba kityo, toggwaamu maanyi. Ba mukakafu nti Yakuwa asiima ebyo byonna bye wakola ng’omuweereza mu myaka egiyise. (Beb. 6:10) Kijjukire nti okwagala kwe tulina eri Yakuwa tekupimirwa ku bintu byenkana wa bye tukola mu buweereza bwaffe gy’ali. Wabula tukiraga nti twagala Yakuwa nga tuba n’endowooza ennuŋŋamu era nga tukola kyonna ekiri mu busobozi bwaffe okumuweereza. (Bak. 3:23) Yakuwa ategeera obusobozi bwaffe we bukoma era tatusuubiramu kisukka ku busobozi bwaffe.​—Mak. 12:43, 44.

Anatoly ne Lidiya Melnik baasigala baweereza Yakuwa n’obugumiikiriza wadde nga baayolekagana n’ebizibu bingi (Laba akatundu 13)

13. Ekyokulabirako kya Anatoly ne Lidiya kitukubiriza kitya okweyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu ne bwe tuba nga twolekaganye n’ebizibu bingi?

13 Ebizibu ebitavaawo. Abamu ku baweereza ba Yakuwa boolekaganye n’okugezesebwa awamu n’okuyigganyizibwa okumala emyaka mingi. Ng’ekyokulabirako, Anatoly Melnik * yalina emyaka 12 gyokka kitaawe we yakwatibwa, n’asibibwa, era n’awaŋŋangusibwa e Siberia, ekitundu ekyali kyesudde mayiro ezisukka 4,000 okuva ewaabwe mu Moldova. Nga wayise omwaka gumu, Anatoly, maama we, ne bazadde ba maama we, nabo bawaŋŋangusibwa e Siberia. Oluvannyuma lw’ekiseera, baasobola okugendanga mu nkuŋŋaana ku kyalo ekirala naye kyali kibeetaagisa okutambula mayiro 20 okusobola okutuukayo ate ng’obudde bwabanga bunnyogovu nnyo. Nga wayise ekiseera, ow’oluganda Melnik yasibibwa mu kkomera okumala emyaka esatu era ekiseera ekyo yakimala tali na mukyala we Lidiya ne muwala we eyalina omwaka ogumu. Wadde nga baamala emyaka mingi nga boolekagana n’ebizibu, Anatoly n’ab’omu maka ge beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Kati Anatoly alina emyaka 82 era aweereza ku Kakiiko k’Ettabi mu Asiya. Okufaananako Anatoly ne Lidiya, naffe tusaanidde okweyongera okuweereza Yakuwa n’obugumiikiriza nga bwe tuzze tukola emabega.​—Bag. 6:9.

KUUMIRA EBIROWOOZO BYO KU SSUUBI ERIKWATA KU BISEERA EBY’OMU MAASO

14. Kiki Pawulo kye yalina okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kye?

14 Pawulo yali mukakafu nti yandimazeeko embiro era n’atuuka ku kiruubirirwa kye. Olw’okuba yali Mukristaayo eyafukibwako amafuta, yalina essuubi ery’okufuna “empeera ey’okuyitibwa okw’omu ggulu.” Naye yali akimanyi nti okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, yalina ‘okufuba ennyo.’ (Baf. 3:14) Pawulo alina ekyokulabirako kye yakozesa okuyamba ab’oluganda mu Firipi obutawugulibwa kuva ku kiruubirirwa kyabwe.

15. Pawulo yakozesa atya ekyokulabirako ky’obutuuze okuyamba Abakristaayo mu Firipi ‘okufuba’ okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe?

15 Pawulo yajjukiza ab’oluganda mu Firipi ku butuuze obw’omu ggulu bwe baali bajja okufuna. (Baf. 3:20) Lwaki ekyo baali basaanidde okukikuumira mu birowoozo? Mu kiseera ekyo omuntu okuba n’obutuuze bwa Rooma kyali kitwalibwa nga kikulu nnyo. * Naye Abakristaayo abaafukibwako amafuta baali ba kufuna obutuuze obusingira ewala obwa Rooma era obwandibaganyudde ennyo. Obutuuze bwa Rooma tebwalina bwe buli bw’obugeraageranya ku kuba omutuuze mu Bwakabaka obw’omu ggulu! Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yakubiriza ab’oluganda mu Firipi ‘okweyisa ng’abatuuze mu ngeri egwanira amawulire amalungi agakwata ku Kristo.’ (Baf. 1:27, obugambo obuli wansi) Abakristaayo abaafukibwako amafuta bassaawo ekyokulabirako ekirungi nga bafuba okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe eky’okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu.

16. Okusinziira ku Abafiripi 4:6, 7, kiki kye tulina okweyongera okukola ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi?

16 Ka tube nga tulina ssuubi lya kufunira obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba ku nsi, tulina okweyongera okufuba okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe. Ka tube nga tuli mu mbeera ki, tetulina kutunuulira bintu eby’emabega era tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuleetera kulekera awo kuweereza Yakuwa. (Baf. 3:16) Ebintu bye tusuubira biyinza okulabika ng’ebiruddewo okutuukirira oba amaanyi gaffe gayinza okuba nga gakendedde. Tuyinza okuba nga tugumidde ebizibu n’okuyigganyizibwa okumala emyaka mingi. K’ebe mbeera ki gy’oyolekagana nayo, ‘teweeraliikiriranga kintu kyonna.’ Mu kifo ky’ekyo, sabanga Katonda omutegeeze byonna ebikweraliikiriza, era ajja kukuwa emirembe egisingira ewala okutegeera kwonna.​—Soma Abafiripi 4:6, 7.

17. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Ng’omuddusi aba anaatera okumalako embiro bw’assa ebirowoozo bye ku kaguwa awamalirwa, naffe tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku kiruubirirwa eky’okumalako embiro ez’obulamu. Tusaanidde okukola kyonna ekisoboka kati okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. tuyinza tutya okweyongera okugumiikiriza? Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okumanya ebyo bye tulina okukulembeza mu bulamu n’engeri gye tuyinza “okumanya ebintu ebisinga obukulu.”​—Baf. 1:9, 10.

OLUYIMBA 79 Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu

^ lup. 5 Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, twagala okweyongera okukula mu by’omwoyo n’okweyongera okumuweereza. Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne obutalekulira oba obutakoowa! Ebbaluwa gye yawandiikira Abafiripi erimu amagezi amalungi agasobola okutuyamba okweyongera okudduka embiro ez’obulamu. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri gye tusobola okukolera ku magezi Pawulo ge yawa.

^ lup. 11 Soma ebikwata ku w’Oluganda Secord mu Watchtower, eya Jjuuni 15, 1965.

^ lup. 13 Soma ebikwata ku w’Oluganda Melnik mu Awake!, eya Okitobba 22, 2004.

^ lup. 15 Olw’okuba Firipi lyali ttwale lya Rooma, abantu b’omu kibuga ekyo baalina obutuuze bwa Rooma. N’olwekyo ab’oluganda mu Firipi baali bategeera bulungi ekyokulabirako Pawulo kye yakozesa.