Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 33

Okuzuukira Kwoleka Okwagala kwa Katonda, Amagezi Ge, n’Obugumiikiriza Bwe

Okuzuukira Kwoleka Okwagala kwa Katonda, Amagezi Ge, n’Obugumiikiriza Bwe

“Wajja kubaawo okuzuukira.”​—BIK. 24:15.

OLUYIMBA 151 Alibayita

OMULAMWA *

1. Lwaki Yakuwa yatonda ebintu ebitali bimu n’abiwa obulamu?

WALIWO ekiseera Yakuwa lwe yali ng’ali yekka. Naye yali talina kiwuubaalo. Yali yeemalirira mu buli kimu. Wadde kyali kityo, Yakuwa yali ayagala n’abalala banyumirwe obulamu. Okwagala kwamuleetera okutandika okutonda ebintu.​—Zab. 36:9; 1 Yok. 4:19.

2. Yesu ne bamalayika baawulira batya nga Yakuwa atonze ebintu ebirala?

2 Okusookera ddala, Yakuwa yatonda oyo eyali agenda okukolera awamu naye. Oluvannyuma, okuyitira mu Mwana we oyo omubereberye, “ebintu ebirala byonna byatondebwa,” nga mwe muli n’obukadde n’obukadde bwa bamalayika. (Bak. 1:16) Yesu yasanyukira nnyo enkizo ey’okukolera awamu ne Kitaawe. (Nge. 8:30) Bamalayika nabo balina bingi ebyabaleetera essanyu. Baalaba nga Yakuwa n’Omukozi we Omukugu, Yesu, batonda eggulu n’ensi. Ekyo kyabakwatako kitya? Ensi bwe yatondebwa, ‘baaleekaana olw’essanyu’ era tewali kubuusabuusa nti n’ebintu ebirala Katonda bye yazzaako okutonda byabaleetera essanyu, naddala abantu. (Yob. 38:7; Nge. 8:31) Buli kimu ku bitonde ebyo kyayoleka okwagala kwa Yakuwa n’amagezi ge.​—Zab. 104:24; Bar. 1:20.

3. Nga bwe kiragibwa mu 1 Abakkolinso 15:21, 22, kiki ssaddaaka ya Yesu kye yasobozesa?

3 Yakuwa yali ayagala abantu babeerewo emirembe gyonna ku nsi erabika obulungi gye yali atonze. Naye Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Kitaabwe, ekibi n’okufa byayingira mu nsi. (Bar. 5:12) Kiki Yakuwa kye yakolawo? Amangu ddala yalaga ekyo kye yandikoze okununula abantu. (Lub. 3:15) Yakuwa yasuubiza okuwaayo ekinunulo, ekyandisobozesezza abaana ba Adamu okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. Ekyo kyandisobozesezza abantu kinnoomu okwesalirawo okumuweereza asobole okubawa obulamu obutaggwaawo.​—Yok. 3:16; Bar. 6:23; soma 1 Abakkolinso 15:21, 22.

4. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

4 Ekisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abantu kireetawo ebibuuzo bingi. Ng’ekyokulabirako, okuzuukira kuyinza kuba kutya? Abantu baffe abaafa bwe banaazuukizibwa, tunaasobola okubategeera? Okuzuukira kunaatuleetera kutya essanyu? Era okuzuukira kutuyigiriza ki ku kwagala kwa Yakuwa, ku magezi ge, ne ku bugumiikiriza bwe? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

OKUZUUKIRA KUYINZA KUBAAWO KUTYA?

5. Lwaki tuyinza okugamba nti abantu bonna tebajja kuzuukizibwa mu kiseera kye kimu?

5 Yakuwa bw’anaaba azuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu okuyitira mu Mwana we, tuyinza okusuubira nti bonna tagenda kubazuukiza mu kiseera kye kimu. Lwaki tuyinza okugamba bwe tutyo? Kubanga singa abantu bangi bajja mu nsi omulundi gumu, wayinza okubaawo akavuyo. Yakuwa takola bintu mu ngeri ya kavuyo. Akimanyi nti emirembe okusobola okubaawo walina okubaawo entegeka ennungi. (1 Kol. 14:33) Yakuwa yayoleka amagezi n’obugumiikiriza bwe yali akolera wamu ne Yesu okuteekateeka ensi. Baateekateeka ensi mu mitendera egy’enjawulo nga tebannatonda bantu kugibeerako. Yesu ajja kwoleka engeri ezo ze zimu mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, bw’anaaba akolera wamu n’abantu abanaaba bawonyeewo ku Amagedoni okuteekateeka ensi, abanaazuukizibwa basobole okwanirizibwa obulungi.

Abo abanaawonawo ku Amagedoni bajja kuyigiriza abantu abanaazuukira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda ne Yakuwa by’atwetaagisa (Laba akatundu 6) *

6. Okusinziira ku Ebikolwa 24:15, mu abo Yakuwa b’anaazuukiza muzingiramu baani?

6 N’ekisinga obukulu, abo abanaawonawo ku Amagedoni bajja okuba n’omulimu ogw’okuyigiriza abanaaba bazuukiziddwa ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ebyo Yakuwa bye yeetaagisa abantu. Lwaki? Kubanga abasinga obungi ku abo abanaazuukizibwa bajja kuba bagwa mu kiti ‘ky’abatali batuukirivu.’ (Soma Ebikolwa 24:15.) Abantu abo kijja kuba kibeetaagisa okukola enkyukakyuka nnyingi okusobola okuganyulwa mu kinunulo kya Kristo. Lowooza ku mulimu omunene ogunaakolebwa okuyigiriza obukadde n’obukadde bw’abantu abatamanyi bikwata ku Yakuwa. Buli muntu anaayigirizibwa kinnoomu nga bwe tuyigiriza abayizi ba Bayibuli leero? Abapya abo banaaweebwa ebibiina mwe banaakuŋŋaaniranga batendekebwe okusobola okuyigiriza abo abanaddako okuzuukizibwa? Ekyo tetukimanyi. Naye kye tumanyi kiri nti Emyaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo we ginnaggwerako, ‘ensi ejja kuba ejjudde okumanya Yakuwa.’ (Is. 11:9) Mazima ddala tujja kuba na bingi eby’okukola mu Myaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Yesu!

7. Lwaki abantu ba Katonda bajja kuba balumirirwa abo abanaazuukizibwa bwe banaaba babayigiriza?

7 Mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, abaana ba Yakuwa bonna ab’oku nsi bajja kweyongera okukola enkyukakyuka okusobola okumusanyusa. N’olwekyo abantu ba Katonda bajja kuba balumirirwa abo abanaazuukizibwa bwe banaaba babayamba okweggyamu okwegomba okubi basobole okutambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Yakuwa. (1 Peet. 3:8) Kya lwatu nti abo abanaazuukizibwa bajja kukiraba nti abantu ba Yakuwa beetoowaze era nti nabo bafuba ‘okukolerera obulokozi bwabwe. ‘ Bajja kwagala okusinziza awamu nabo Yakuwa.​—Baf. 2:12.

ABANTU BAFFE ABAAFA BWE BANAAZUUKIZIBWA, TUNAASOBOLA OKUBATEGEERA?

8. Lwaki tusobola okugamba nti tujja kutegeera abantu baffe abanaaba bazuukiziddwa?

8 Waliwo ensonga eziwerako lwaki tuyinza okugamba nti abo abanaayaniriza abo abanaaba bazuukiziddwa bajja kuba basobola okutegeera abantu baabwe. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku kuzuukira okwabaawo, kirabika Yakuwa ajja kuzuukiza abantu nga bafaanana nga bwe baali bafaanana, nga boogera nga bwe baali boogera, era nga balowooza mu ngeri y’emu nga bwe baali balowooza mu kiseera we baafiira. Kijjukire nti okufa Yesu yakugeraageranya ku kwebaka ate okuzuukira n’akugeraageranya ku kuzuukuka mu tulo. (Mat. 9:18, 24; Yok. 11:11-13) Abantu bwe bazuukuka mu tulo, baba bafaanana era nga boogera mu ngeri y’emu nga bwe baabadde nga tebanneebaka era baba balina ebintu bye bimu mu birowoozo bye baba baabadde nabyo nga tebanneebaka. Lowooza ku Laazaalo. Yali amaze ennaku nnya ng’afudde era nga n’omubiri gwe gutandise okuvunda. Naye Yesu bwe yamuzuukiza, bannyina baamutegeererawo era ne Laazaalo naye yali abajjukira.​—Yok. 11:38-44; 12:1, 2.

9. Lwaki abanaazuukizibwa tebajja kuzuukizira nga batuukiridde?

9 Yakuwa yasuubiza nti tewali n‘omu aliba afugibwa obufuzi bwa Kristo aligamba nti: “Ndi mulwadde.” (Is. 33:24; Bar. 6:7) N’olwekyo, abo abanaazuukizibwa bajja kuba n’emibiri emiramu obulungi. Naye tebajja kufuukirawo batuukiridde. Singa bafuukirawo abatuukiridde abantu baabwe ne mikwano gyabwe bayinza obutabategeera. Kirabika mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi abantu bajja kugenda bafuuka mpolampola abatuukiridde. Ku nkomerero y’emyaka olukumi Yesu ajja kuwaayo Obwakabaka eri Kitaawe. Mu kiseera ekyo Obwakabaka bujja kuba bumaze okukola ebintu byonna Yakuwa by’ayagala bukole, nga mwe muli n’okufuula abantu abatuukiridde.​—1 Kol. 15:24-28; Kub. 20:1-3.

OKUZUUKIRA KUNAATULEETERA KUTYA ESSANYU?

10. Okuzuukira kunaakukwatako kutya?

10 Lowooza ku mbeera eneebaawo ng’ozzeemu okulaba abantu bo nga bazuukidde. Essanyu ly’onoofuna linaakuleetera kuseka oba kukaaba? Onooba musanyufu nnyo ne kikuleetera okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa? Ka kibe ki ky’onookola, tuli bakakafu nti ojja kweyongera okwagala ennyo Kitaffe n’Omwana we olw’ekirabo amatendo eky’okuzuukira.

11. Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 5:28, 29, mikisa ki abo abanaagondera Katonda gye banaafuna?

11 Lowooza ku ssanyu abo abanaaba bazuukiziddwa lye bajja okufuna nga beeyambulako omuntu ow’edda ne batandika okutambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Abo abanaakola enkyukakyuka eyo bajja kukkirizibwa okubeera mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna. Ku luuyi olulala abo abanaajeemera Katonda bajja kuggibwawo baleme kutabangula mirembe eginaaba mu Lusuku lwa Katonda.​—Is. 65:20; soma Yokaana 5:28, 29.

12. Yakuwa anaawa atya omukisa abantu bonna abanaaba ku nsi?

12 Mu Bwakabaka bwa Katonda, abantu ba Katonda bonna bajja kulaba obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Engero 10:22 awagamba nti: “Omukisa gwa Yakuwa gwe gugaggawaza, era tagugattako bulumi.” Omwoyo gwa Yakuwa gujja kuyamba abantu be okugenda nga beeyongera okufuuka nga Kristo era bajja kufuuka abatuukiridde. (Yok. 13:15-17; Bef. 4:23, 24) Buli lukya emibiri gyabwe gijja kweyongera okuba emiramu obulungi, era bajja kweyongera okuba abantu abalungi. Ekyo nga kijja kuba kiseera kya ssanyu! (Yob. 33:25) Naye okufumiitiriza ku kuzuukira kiyinza kitya okukuyamba kati?

OKWAGALA KWA YAKUWA

13. Okusinziira ku Zabbuli 139:1-4, okuzuukira kunaalaga kutya nti ddala Yakuwa atumanyi bulungi?

13 Nga bwe kiragiddwa waggulu, Yakuwa bw’anaazuukiza abantu, ajja kubazzaamu ebintu bye baali balowooza n’engeri zaabwe, ebyali bibafuula kye bali. Lowooza ku kye kitegeeza. Yakuwa akwagala nnyo ne kiba nti amanyi era ajjukira by’olowooza, by’oyogera, by’okola, n’engeri gye weewuliramu. N’olwekyo bw’aba ow’okukuzuukiza aba asobola okukuzzaawo nga bwe wali. Kabaka Dawudi yali akimanyi nti Yakuwa afaayo nnyo ku buli muntu kinnoomu. (Soma Zabbuli 139:1-4.) Okukimanya nti Yakuwa atumanyi bulungi kitukwatako kitya leero?

14. Okulowooza ku ky’okuba nti Yakuwa atumanyi bulungi kyanditukutteko kitya?

14 Okuba nti Yakuwa atumanyi bulungi tekisaanidde kutweraliikiriza. Lwaki? Kijjukire nti Yakuwa atufaako nnyo. Buli omu ku ffe amutwala nga wa muwendo gy’ali. Ajjukira ebintu byonna bye tuyiseemu ebitufuula kye tuli. Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi! Tetusaanidde mulundi na gumu kulowooza nti tuli ffekka. Buli lunaku era buli kiseera Yakuwa aba naffe era aba mwetegefu okutuyamba.​—2 Byom. 16:9.

AMAGEZI GA YAKUWA

15. Okuzuukira kulaga kutya nti Yakuwa alina amagezi mangi nnyo?

15 Okutya okufa kya kulwanyisa kya maanyi. Abo abafugibwa Sitaani bakozesa eky’okulwanyisa ekyo okuwaliriza abantu okulyamu bannaabwe olukwe oba okukola ebintu bye bamanyi nti bikyamu. Naye eky’okulwanyisa ekyo si kya maanyi gye tuli. Tukimanyi nti abalabe baffe ne bwe batutta, Yakuwa ajja kutuzuukiza. (Kub. 2:10) Tukimanyi nti tewali kye bayinza kukola kisobola kutuggya ku Yakuwa. (Bar. 8:35-39) Yakuwa okutuwa essuubi ery’okuzuukira kiraga nti alina amagezi mangi nnyo! Okuyitira mu ssuubi eryo, Yakuwa aggyako Sitaani ekimu ku by’okulwanyisa bye ebisinga okumukolera ate ffe n’atuwa eky’okulwanyisa eky’amaanyi ennyo, nga buno bwe buvumu.

Bye tusalawo biraga nti twesiga Yakuwa nti ajja kutuwa bye twetaaga nga bwe yasuubiza? (Laba akatundu 16) *

16. Bibuuzo ki by’osaanidde okwebuuza, era engeri gy’oddamu ebibuuzo ebyo eyinza etya okukuyamba okumanya obanga ddala weesiga Yakuwa?

16 Singa abalabe ba Yakuwa bakugamba nti bagenda kukutta, oneesiga Yakuwa nti ajja kukuzuukiza? Oyinza otya okumanya obanga oneesiga Yakuwa mu mbeera ng’eyo? Ekimu ku biyinza okukuyamba kwe kwebuuza, ‘Ebintu ebitonotono bye nsalawo buli lunaku biraga nti nneesiga Yakuwa?’ (Luk. 16:10) Era oyinza okwebuuza, ‘Engeri gye ntambuzaamu obulamu bwange eraga nti nneesiga Yakuwa nti ajja kumpa bye nneetaaga singa nsooka okunoonya Obwakabaka?’ (Mat. 6:31-33) Bwe kiba nti ebibuuzo ebyo byombi obiddamu nti yee, kiba kiraga nti weesiga Yakuwa era nti ojja kusobola okwaŋŋanga ekigezo kyonna ky’oyinza okwolekagana nakyo.​—Nge. 3:5, 6.

OBUGUMIIKIRIZA BWA YAKUWA

17. (a) Okuzuukira kulaga kutya nti Yakuwa mugumiikiriza? (b) Tuyinza tutya okulaga nti tusiima obugumiikiriza bwa Yakuwa?

17 Yakuwa yamala ddala okusalawo ddi lw’agenda okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno. (Mat. 24:36) Ajja kweyongera okuba omugumiikiriza okutuusa ekiseera ekyo lwe kinaatuuka. Yeesunga nnyo okuzuukiza abaafa, naye akyagumiikiriza. (Yob. 14:14, 15) Alindirira ekiseera ekituufu lwe kinaatuuka abazuukize. (Yok. 5:28) Mazima ddala tusaanidde okusiima ennyo Yakuwa olw’obugumiikiriza bwe. Kirowoozeeko: Olw’okuba Yakuwa mugumiikiriza, abantu bangi, nga mwe muli naffe, basobodde ‘okwenenya.’ (2 Peet. 3:9) Yakuwa ayagala abantu bangi nga bwe kisoboka okufuna obulamu obutaggwaawo. N’olwekyo, ka tukirage nti tusiima obugumiikiriza bwe. Tukiraga tutya? Nga tufuba okunoonya abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’ era nga tubayamba okumanya Yakuwa n’okumuweereza. (Bik. 13:48) Nabo bajja kuganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yakuwa nga ffe.

18. Lwaki tusaanidde okugumiikiriza abalala?

18 Yakuwa ajja kweyongera okutugumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’emyaka olukumi lwe tunaaba nga tufuuse abantu abatuukiridde. Ajja kweyongera okutusonyiwa ebibi byaffe okutuusa ekiseera ekyo lwe kinaatuuka. N’olwekyo naffe tusaanidde okumukoppa nga tunoonya ebirungi mu balala era nga tubagumiikiriza. Lowooza ku mwannyinaffe omu alina omwami we eyalwala obulwadde obw’okweraliikirira n’alekera awo okugenda mu nkuŋŋaana. Mwannyinaffe oyo agamba nti: “Ekyo kyandeetera obulumi bungi ku mutima. Enteekateeka zonna ze twali tukoze zaagootaana.” Naye mwannyinaffe oyo yeeyongera okuba omugumiikiriza eri omwami we. Yeesiga Yakuwa era teyaggwaamu maanyi. Okufaananako Yakuwa, naye yanoonya ebirungi mu mwami we. Agamba nti, “Omwami wange alina engeri ennungi, era akola ekisoboka okuvvuunuka okweraliikirira kw’alina.” Nga kikulu nnyo okuba abagumiikiriza eri abo be tubeera nabo mu maka n’eri bakkiriza bannaffe mu kibiina abafuba okuvvuunuka embeera enzibu ze boolekagana nazo!

19. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

19 Yesu ne bamalayika baasanyuka nnyo ensi bwe yatondebwa. Naye lowooza ku ssanyu lye banaaba nalyo bwe banaalaba ensi ng’ejjudde abantu abatuukiridde, abaagala Yakuwa, era abamuweereza. Era lowooza ku ssanyu abo abagenda mu ggulu okufugira awamu ne Yesu lye banaafuna nga balaba abantu baganyulwa mu mulimu gwabwe. (Kub. 4:4, 9-11; 5:9, 10) Ate era lowooza ku kiseera ekyo ng’amaziga ag’essanyu ge gazze mu kifo ky’amaziga ag’obulumi, ng’obulwadde, ennaku, n’okufa biggwereddewo ddala. (Kub. 21:4) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, weeyongere okukoppa Kitaffe alina okwagala, amagezi, n’obugumiikiriza. Bw’okola bw’otyo, ojja kusigala ng’oli musanyufu k’obe ng’oyolekagana na bizibu ki. (Yak. 1:2-4) Nga tuli basanyufu nnyo olw’okuba Yakuwa yatusuubiza nti “wajja kubaawo okuzuukira”!​—Bik. 24:15.

OLUYIMBA 141 Obulamu Kyamagero

^ lup. 5 Yakuwa Kitaffe alina okwagala, wa magezi, era mugumiikiriza. Engeri ezo tuzirabira mu bintu byonna bye yatonda ne mu kigendererwa kye eky’okuzuukiza abantu baddemu okuba abalamu. Ekitundu kino kigenda kuddamu ebimu ku bibuuzo bye tuyinza okwebuuza ku kuzuukira era kigenda kulaga ekyo okuzuukira kye kutuyigiriza ku kwagala kwa Yakuwa, amagezi ge, n’obugumiikiriza bwe, n’engeri ekyo gye kisaanidde okutukwatako.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Omusajja, omu ku Bamerika bannansangwa, eyafa emyaka bikumi na bikumi emabega ng’azuukidde mu kiseera eky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Ow’oluganda eyawonawo ku Amagedoni ng’ayigiriza omusajja oyo by’alina okukola okuganyulwa mu kinunulo kya Kristo.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Ow’oluganda omu ng’ategeeza mukama we ku mulimu nti waliwo ennaku mu wiiki z’atasobola kusukka mu budde bw’alina kunnyukirako. Amugamba nti mu nnaku ezo akawungeezi aba yeenyigira mu bintu ebikwatagana n’okusinza Yakuwa, kyokka nti mu nnaku endala bw’aba yeetaagibwa nnyo mwetegefu okukola essaawa ezisukkamu.