Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 34

Olina Ekifo mu Kibiina kya Yakuwa!

Olina Ekifo mu Kibiina kya Yakuwa!

“Ng’omubiri bwe guli ogumu naye nga gulina ebitundu bingi, era n’ebitundu by’omubiri ogwo byonna wadde nga bingi, biri omubiri gumu, ne Kristo bw’atyo bw’ali.”​—1 KOL. 12:12.

OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu

OMULAMWA *

1. Nkizo ki gye tulina?

TULINA enkizo ey’ekitalo okuba mu kibiina kya Yakuwa! Tuli mu lusuku olw’eby’omwoyo olulimu abantu ab’emirembe era abasanyufu. Olina kifo ki mu kibiina?

2. Kyakulabirako ki omutume Pawulo kye yakozesa mu bbaluwa ze ezitali zimu?

2 Tulina bingi bye tusobola okuyiga ku kifo kye tulina mu kibiina bwe twekenneenya ekyokulabirako Pawulo kye yakozesa mu bbaluwa ze ezitali zimu ezaaluŋŋamizibwa. Mu buli emu ku bbaluwa ezo, Pawulo yageraageranya ekibiina ku mubiri gw’omuntu. Ate era yageraageranya abantu kinnoomu mu kibiina ku bitundu by’omubiri.​—Bar. 12:4-8; 1 Kol. 12:12-27; Bef. 4:16.

3. Byakuyiga ki ebisatu bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu ebikulu bisatu bye tuyiga mu kyokulabirako Pawulo kye yakozesa. Ekisooka, tugenda kulaba nti buli omu ku ffe alina ekifo * mu kibiina kya Yakuwa. Eky’okubiri, tugenda kulaba bye tusobola okukola bwe kiba nti kitukaluubirira okulaba ekifo kye tulina mu kibiina. N’eky’okusatu, tugenda kulaba lwaki kitwetaagisa okweyongera okukola n’obunyiikivu okutuukiriza obuvunaanyizibwa Yakuwa bw’atuwadde mu kibiina.

BULI OMU KU FFE WA MUGASO MU KIBIINA KYA YAKUWA

4. Abaruumi 12:4, 5 watuyigiriza ki?

4 Ekintu ekisooka kye tuyiga mu kyokulabirako Pawulo kye yakozesa kiri nti buli omu ku ffe alina ekifo ekikulu mu kibiina kya Yakuwa. Pawulo yagamba nti: “Nga bwe tulina ebitundu ebingi ku mubiri ogumu, naye nga tebikola mulimu gwe gumu, era naffe wadde tuli bangi, tuli omubiri gumu mu Kristo, naye kinnoomu tuli bitundu bya mubiri, nga buli kimu kyetaaga kinnaakyo.” (Bar. 12:4, 5) Kiki Pawulo kye yali ategeeza? Wadde nga buli omu ku ffe alina obuvunaanyizibwa bwa njawulo mu kibiina, ffenna tuli ba mugaso.

Wadde nga tulina obuvunaanyizibwa bwa njawulo mu kibiina, ffenna tuli ba mugaso (Laba akatundu 5-12) *

5. ‘Birabo’ ki Yakuwa by’awadde ekibiina?

5 Bw’olowooza ku bantu abalina ekifo mu kibiina, kiyinzika okuba nti abasooka okukujjira mu birowoozo b’ebo abatwala obukulembeze mu kibiina. (1 Bas. 5:12; Beb. 13:17) Ekituufu kiri nti okuyitira mu Kristo, Yakuwa awadde ekibiina kye ‘ebirabo mu bantu.’ (Bef. 4:8) “Ebirabo” ebyo bizingiramu abali ku Kakiiko Akafuzi, abo abayambako Akakiiko Akafuzi, abali ku Bukiiko bw’Amatabi, abalabirizi abakyalira ebibiina, abo abayigiriza mu masomero g’ekibiina, abakadde mu kibiina, n’abaweereza. Ab’oluganda abo bonna balondebwa omwoyo omutukuvu okulabirira endiga za Yakuwa ez’omuwendo n’okunyweza ekibiina.​—1 Peet. 5:2, 3.

6. Okusinziira ku 1 Abassessalonika 2:6-8, kiki ab’oluganda abalondebwa omwoyo omutukuvu kye bafuba okukola?

6 Ab’oluganda balondebwa omwoyo omutukuvu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu. Ng’ebitundu by’omubiri eby’enjawulo, gamba ng’emikono n’ebigere, bwe bikola okuganyula omubiri gwonna, ab’oluganda abalondebwa omwoyo omutukuvu bakola n’obunyiikivu okuganyula ekibiina kyonna. Tebeenoonyeza bitiibwa, wabula bafuba okuzimba bakkiriza bannaabwe n’okubanyweza. (Soma 1 Abassessalonika 2:6-8.) Twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuwa abasajja ng’abo abakulembeza eby’abalala!

7. Mikisa ki abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna gye bafuna?

7 Abamu mu kibiina bayinza okulondebwa okuweereza ng’abaminsani, nga bapayoniya ab’enjawulo, oba nga bapayoniya aba bulijjo. Mu butuufu, baganda baffe ne bannyinaffe bangi okwetooloola ensi basazeewo okukola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa ekiseera kyonna. Mu kukola batyo, bayambye abantu bangi okufuuka abayigirizwa ba Kristo Yesu. Wadde ng’ababuulizi abo ab’ekiseera kyonna tebatera kuba na bintu bingi, Yakuwa abawa emikisa mingi. (Mak. 10:29, 30) Bakkiriza bannaffe abo tubaagala nnyo era kitusanyusa nnyo okuba nti tubalina mu kibiina!

8. Lwaki buli mubuulizi w’amawulire amalungi wa muwendo eri Yakuwa?

8 Ab’oluganda abatwala obukulembeze n’abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna be bokka abalina ekifo mu kibiina? Nedda! Buli mubuulizi w’amawulire amalungi wa mugaso eri Yakuwa n’eri ekibiina. (Bar. 10:15; 1 Kol. 3:6-9) Mu butuufu, ekimu ku biruubirirwa ebisinga obukulu eby’ekibiina kwe kufuula abantu abayigirizwa ba Mukama waffe Yesu Kristo. (Mat. 28:19, 20; 1 Tim. 2:4) Abo bonna abali mu kibiina, ababuulizi ababatize n’abatali babatize, bafuba okukulembeza omulimu ogwo.​—Mat. 24:14.

9. Lwaki abakazi Abakristaayo tubatwala nga ba muwendo?

9 Yakuwa awa abakazi Abakristaayo ekifo eky’ekitiibwa mu kibiina. Abakyala mu maka, bamaama, bannamwandu, ne bannyinaffe abali obwannamunigina abamuweereza n’obwesigwa bonna abatwala nga ba muwendo. Ebyawandiikibwa byogera ku bakazi bangi abaasanyusa Katonda. Biraga nti baali kyakulabirako kirungi mu kwoleka amagezi, okukkiriza, obunyiikivu, obuvumu, omwoyo omugabi, n’ebikolwa ebirungi. (Luk. 8:2, 3; Bik. 16:14, 15; Bar. 16:3, 6; Baf. 4:3; Beb. 11:11, 31, 35) Nga tusiima nnyo Yakuwa okuba nti mu bibiina byaffe tulina abakazi abooleka engeri ng’ezo ennungi!

10. Lwaki bakkiriza bannaffe abakaddiye tubatwala nga ba muwendo?

10 Ate era kitusanyusa nnyo okuba nti tulina bannamukadde mu kibiina. Ebibiina ebimu birimu baganda baffe ne bannyinaffe abakaddiye abamaze obulamu bwabwe bwonna nga baweereza Yakuwa. Baganda baffe ne bannyinaffe abamu abakaddiye tewayise kiseera kiwanvu bukya bayiga amazima. Ka babe nga bamaze mu mazima ekiseera kiwanvu oba kitono, bonna boolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’obukadde. Ebizibu ebyo biyinza okubalemesa okukola ebintu ebimu bye bandyagadde okukola mu kibiina ne mu mulimu gw’okubuulira. Wadde kiri kityo, bakkiriza bannaffe abo abakaddiye bakola kyonna kye basobola okubuulira, okuzzaamu abalala amaanyi, n’okubatendeka! Ate era tuganyulwa nnyo mu bumanyirivu bwe balina. Ba muwendo nnyo gye tuli n’eri Yakuwa.​—Nge. 16:31.

11-12. Abato mu kibiina ky’olimu bakuzzaamu batya amaanyi?

11 Ate lowooza ku baana abali mu kibiina. Boolekagana n’okusoomooza kungi nga bakulira mu nsi eno efugibwa Sitaani era ejjudde endowooza ze embi. (1 Yok. 5:19) Ffenna tuzzibwamu nnyo amaanyi bwe tulaba abato nga babaako bye baddamu mu nkuŋŋaana, nga beenyigira mu kubuulira, era nga balwanirira okukkiriza kwabwe. Mazima ddala, abato balina ekifo kikulu mu kibiina kya Yakuwa!​—Zab. 8:2.

12 Kyokka abamu ku bakkiriza bannaffe kibazibuwalira okukikkiriza nti ba mugaso mu kibiina. Kiki ekiyinza okuyamba buli omu ku ffe okuwulira nti alina ekifo mu kibiina? Ka tulabe.

MANYA EKIFO KY’OLINA MU KIBIINA

13-14. Lwaki abamu bayinza okuwulira nti si ba mugaso mu kibiina?

13 Weetegereze ekintu eky’okubiri kye tuyigira ku kyokulabirako Pawulo kye yakozesa. Pawulo yalaga ekizibu bangi kye balina leero. Bangi kibazibuwalira okukikkiriza nti ba mugaso mu kibiina. Pawulo yagamba nti: “Singa ekigere kigamba nti: ‘Olw’okuba siri mukono siri kitundu kya mubiri,’ ekyo tekikifuula butaba kitundu kya mubiri. Era singa okutu kugamba nti, ‘Olw’okuba siri liiso, siri kitundu kya mubiri,’ ekyo tekikufuula butaba kitundu kya mubiri.” (1 Kol. 12:15, 16) Kiki Pawulo kye yali ayagala tuyige?

14 Bwe weegeraageranya n’abalala mu kibiina, kiyinza okukulemesa okukiraba nti oli wa mugaso. Abamu mu kibiina bayinza okuba nga bakugu mu kuyigiriza, nga bantu abamanyi okuteekateeka obulungi ebintu, oba nga balungi nnyo mu kuzzaamu abalala amaanyi. Oboolyawo owulira nti ggwe tosobola kukola bintu bulungi nga bo. Ekyo kiraga nti oli mwetoowaze. (Baf. 2:3) Naye weegendereze. Bw’oba nga buli kiseera weegeraageranya n’abo abalina obusobozi obw’enjawulo, ojja kuggwaamu amaanyi. Nga Pawulo bwe yagamba, oyinza n’okutandika okuwulira nti tolina kifo mu kibiina. Kiki ekiyinza okukuyamba okuvvuunuka enneewulira ng’eyo?

15. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 12:4-11, kiki kye tusaanidde okumanya ku birabo bye tulina?

15 Lowooza ku kino: Yakuwa yawa Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ebirabo eby’omwoyo omutukuvu mu ngeri ey’ekyamagero, naye bonna teyabawa birabo bye bimu. (Soma 1 Abakkolinso 12:4-11.) Wadde nga Yakuwa yabawa ebirabo bya njawulo n’obusobozi bwa njawulo, buli omu ku Bakristaayo abo yali wa mugaso. Leero tetukyaweebwa birabo ng’ebyo mu ngeri ey’ekyamagero. Naye nga bwe kyali ku Bakristaayo abaasooka, bwe kiri ne leero. Wadde nga tulina ebitone bya njawulo, ffenna tuli ba muwendo eri Yakuwa.

16. Kubuulirira ki omutume Pawulo kwe yawa kwe tusaanidde okukolerako?

16 Mu kifo ky’okwegeraageranya ku bakkiriza bannaffe, tusaanidde okukolera ku kubuulirira kw’omutume Pawulo kuno: “Buli omu akebere ebyo by’akola, awo ajja kuba ne ky’asinziirako okwenyumiriza ku lulwe, nga teyeegeraageranyizza na muntu mulala.”​—Bag. 6:4.

17. Okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo kinaatuganyula kitya?

17 Bwe tukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okwo ne tukebera ebyo bye tukola, tujja kukiraba nti tulina ebirabo n’obusobozi eby’enjawulo ku by’abalala. Ng’ekyokulabirako, omukadde omu ayinza okuba nga tawa bulungi mboozi, naye nga mulungi nnyo mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa. Oba ayinza okuba nga tamanyi nnyo kuteekateeka bintu ng’abakadde abalala mu kibiina, naye nga mulungi nnyo mu kuzzaamu abalala amaanyi era ng’ababuulizi banguyirwa okumutuukirira okubawa amagezi amalungi agava mu Byawandiikibwa. Oba ayinza okuba ng’amanyiddwa okuba n’omwoyo ogw’okusembeza abalala. (Beb. 13:2, 16) Bwe tumanya ebintu bye tukola obulungi n’ebirabo bye tulina, kijja kutuleetera okuwulira obulungi olw’ebyo bye tusobola okukukola okunyweza ekibiina. Ate era tetujja kukwatirwa buggya abo abalina ebirabo eby’enjawulo ku byaffe.

18. Tuyinza tutya okweyongera okulongoosa mu buweereza bwaffe?

18 Ka tube nga tulina kifo ki mu kibiina, buli omu ku ffe asaanidde okulaba engeri gy’ayinza okwongera okulongoosa mu buweereza bwe n’okukozesa mu bujjuvu obusobozi bwe. Okusobola okutuyamba okwongera okulongoosaamu, Yakuwa atutendeka okuyitira mu kibiina kye. Ng’ekyokulabirako, mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki, tufuna obulagirizi ku ngeri y’okutuukirizaamu obuweereza bwaffe. Ofuba okukolera ku kutendekebwa kw’ofuna mu lukuŋŋaana olwo?

19. Oyinza otya okutuuka ku kiruubirirwa eky’okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka?

19 Ate era Yakuwa atendeka abantu be okuyitira mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Ab’oluganda ne bannyinaffe abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna era nga bali wakati w’emyaka 23 ne 65 basobola okugenda mu ssomero eryo. Oyinza okuba nga muli olowooza nti tosobola kugenda mu ssomero eryo. Naye mu kifo ky’okulowooza ku nsonga lwaki tosobola kuligendamu, lowooza ku nsonga lwaki wandyagadde okuligendamu. Oluvannyuma lowooza ku bintu ebitali bimu by’oyinza okukola okutuukiriza ebisaanyizo okuligendamu. Bw’ofuba, Yakuwa asobola okukuyamba okutuuka ku kintu kye wali olowooza nti tosobola kukituukako.

KOZESA EBIRABO BY’OLINA OKUZIMBA EKIBIINA

20. Kiki kye tuyigira mu ebyo ebiri mu Abaruumi 12:6-8?

20 Ekintu eky’okusatu kye tuyiga mu kyokulabirako Pawulo kye yakozesa kiri mu Abaruumi 12:6-8. (Soma.) Ne mu kyawandiikibwa kino Pawulo akiraga nti abo abali mu kibiina balina ebirabo bya njawulo. Naye ku luno alaga nti tulina okukozesa ebirabo bye tulina okuzimba n’okunyweza ekibiina.

21-22. Kiki kye tuyigira ku Robert ne Felice?

21 Lowooza ku w’oluganda gwe tujja okuyita Robert. Oluvannyuma lw’okuweereza mu nsi endala, yayitibwa okuweereza ku Beseri mu nsi ye. Wadde nga baamukakasa nti okumukyusa tekyava ku kuba nti yali tatuukiriza bulungi buweereza bwe, yagamba nti: “Nnamala emyezi mingi nga siri musanyufu olw’okuba nnali ndowooza nti nnalemererwa okutuukiriza obulungi obuweereza bwange. Oluusi nnawulira nga njagala kuva ku Beseri.” Yasobola atya okuddamu okuba omusanyufu? Mukadde munne yamujjukiza nti Yakuwa yatutendeka mu mirimu gye twakola emabega tusobole okutuukiriza obulungi emirimu gye tukola kati. Robert yakiraba nti yalina okulekera awo okumalira ebirowoozo bye ku bintu eby’emabega, yeemalire ku by’asobola okukola kati.

22 Ow’oluganda Felice Episcopo naye yayolekagana n’okusoomooza okufaananako ng’okwo. Ye ne mukyala we bwe baava mu Ssomero lya Gireyaadi mu 1956, baakola omulimu ogw’okukyalira ebibiina mu Bolivia. Mu 1964 baazaala omwana. Felice agamba nti: “Tekyatwanguyira n’akatono kuleka buweereza bwaffe bwe twali twagala ennyo. Amazima gali nti nnayonoona omwaka mulamba nga ndi mu kwekubagiza. Naye Yakuwa yannyamba ne nkyusa endowooza yange ne nzikiriza obuvunaanyizibwa obupya bwe nnali nfunye obw’okuba omuzadde.” Naawe owulira nga Robert oba Felice? Owulira ng’oweddemu amaanyi olw’okuba mu kiseera kino tolina nkizo ze walina emabega? Bwe kiba kityo, ojja kuddamu okufuna essanyu singa okyusa ebirowoozo byo n’obissa ku ebyo by’osobola okukola kati okuweereza Yakuwa ne bakkiriza banno. Weeyongere okukozesa ebirabo by’olina n’obusobozi bwo okuyamba abalala, era ojja kufuna essanyu mu kuzimba ekibiina.

23. Kiki kye tusaanidde okufumiitirizaako, era bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?

23 Buli omu ku ffe wa muwendo eri Yakuwa. Yakuwa ayagala tuwulire nti tuli ba mugaso gy’ali. Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tusobola okukola okuzimba bakkiriza bannaffe era ne tufuba okubikola, tetujja kuwulira nti tetulina kifo mu kibiina! Naye ate kiri kitya ku ngeri gye tutunuuliramu abalala mu kibiina? Tuyinza tutya okukiraga nti tubatwala nga ba muwendo? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.

OLUYIMBA 24 Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa

^ lup. 5 Ffenna twagala okuwulira nti tuli ba mugaso eri Yakuwa. Naye oluusi tuyinza okwebuuza obanga tuli ba mugaso gy’ali. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okukiraba nti buli omu ku ffe alina ekifo mu kibiina kya Yakuwa.

^ lup. 3 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekifo kye tulina mu kibiina kitegeeza omugaso gwe tulina mu kuzimba ekibiina n’okukinyweza. Ekifo ekyo tekisinziira ku langi yaffe, eggwanga lyaffe, embeera yaffe ey’eby’enfuna, obuwangwa bwaffe, oba obuyigirize bwaffe.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Ebifaananyi biraga ekibaawo ng’olukuŋŋaana terunnatandika, nga lugenda mu maaso, era nga luwedde. Ekifaananyi 1: Omukadde ng’ayaniriza n’essanyu omuntu azze mu lukuŋŋaana, ow’oluganda omuvubuka ng’ategeka eby’amaloboozi, ate mwannyinaffe ng’ayogerako ne mwannyinaffe omulala akaddiye. Ekifaananyi 2: Abato n’abakulu nga bawanise emikono okubaako kye baddamu mu kitundu ky’okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Ekifaananyi 3: Ow’oluganda ne mukyala we nga beenyigira mu kulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka. Maama ayambako omwana we okussa ssente mu kasanduuko. Ow’oluganda omuvubuka ng’akola ku bitabo, era ow’oluganda ng’ayogerako ne mwannyinaffe akaddiye ebigambo ebizzaamu amaanyi.