EKITUNDU EKY’OKUSOMA 31
Olindirira “Ekibuga Ekirina Emisingi Gyennyini”?
“Yali alindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini, era ng’eyakuba pulaani yaakyo era eyakizimba ye Katonda.”—BEB. 11:10.
OLUYIMBA 22 Obwakabaka Bwassibwawo—Ka Bujje!
OMULAMWA *
1. Biki bangi bye beefiirizza, era lwaki babyefiiriza?
ABANTU ba Katonda bangi leero balina ebintu ebitali bimu bye beefiirizza. Baganda baffe ne bannyinaffe bangi basazeewo okusigala nga si bafumbo. Abafumbo bangi basazeewo obutazaala baana mu kiseera kino. Ab’omu maka agatali gamu basazeewo obutaba na bintu bingi. Bonna bakoze ebintu ebyo olw’okuba baagala okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Bamativu era beesiga Yakuwa nti ajja kubawa byonna bye beetaaga. Banejjusa olw’ebyo bye basazeewo okukola? Nedda! Lwaki tugamba bwe tutyo? Ensonga emu eri nti Yakuwa yawa emikisa Ibulayimu, “kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza.”—Bar. 4:11.
2. (a) Okusinziira ku Abebbulaniya 11:8-10, 16, lwaki Ibulayimu yali mwetegefu okuva mu kibuga Uli? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Ibulayimu yaleka obulamu obulungi bwe yalimu mu kibuga Uli. Lwaki? Kubanga yali alindirira “ekibuga ekirina emisingi gyennyini.” (Soma Abebbulaniya 11:8-10, 16.) ‘Kibuga’ ki ekyo? Bizibu ki Ibulayimu bye yayolekagana nabyo ng’alindirira ekibuga ekyo okuzimbibwa? Era tuyinza tutya okuba nga Ibulayimu n’abaweereza ba Yakuwa abalala mu kiseera kyaffe abamukoppye?
“EKIBUGA EKIRINA EMISINGI GYENNYINI” KYE KI?
3. Ekibuga Ibulayimu kye yali alindirira kye ki?
3 Ekibuga Ibulayimu kye yali alindirira bwe Bwakabaka bwa Katonda. Abafuzi mu Bwakabaka obwo ye Yesu Kristo n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000. Obwakabaka obwo Pawulo yabuyita “ekibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky’omu ggulu.” (Beb. 12:22; Kub. 5:8-10; 14:1) Yesu yagamba abayigirizwa be okusaba Obwakabaka obwo bujje, Katonda by’ayagala bisobole okukolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.—Mat. 6:10.
4. Okusinziira ku Olubereberye 17:1, 2, 6, bintu byenkana wa Ibulayimu bye yali amanyi ku kibuga, oba Obwakabaka, Katonda bwe yasuubiza?
4 Ibulayimu yali amanyi engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bwandibadde butegekeddwamu? Nedda. Okumala ebyasa bingi ebyo ebikwata ku ngeri Obwakabaka obwo gye bwandibadde butegekeddwamu kyali ‘kyama ekitukuvu.’ (Bef. 1:8-10; Bak. 1:26, 27) Naye Ibulayimu yali akimanyi nti abamu ku bantu abandivudde mu lunyiriri lwe bandibadde bakabaka. Ekyo Yakuwa yali akimusuubizza. (Soma Olubereberye 17:1, 2, 6.) Ibulayimu yalina okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Yakuwa ne kiba nti yali ng’alaba Oyo Eyafukibwako Amafuta, oba Masiya, eyandibadde Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kye nti: “Ibulayimu kitammwe yasanyuka nnyo olw’essuubi ery’okulaba olunaku lwange era yalulaba n’asanyuka.” (Yok. 8:56) Kyeyoleka lwatu nti Ibulayimu yali akimanyi nti abamu ku bantu abandivudde mu lunyiriri lwe bandibadde bafuzi mu Bwakabaka Yakuwa bwe yandissizzaawo, era yali mwetegefu okulindirira Yakuwa okutuukiriza ekisuubizo ekyo.
5. Kiki ekiraga nti Ibulayimu yali alindirira ekibuga Katonda kye yali asuubizza?
5 Ibulayimu yakiraga atya nti yali alindirira ekibuga, oba Obwakabaka, Katonda bwe yali asuubizza? Ekisooka, Ibulayimu teyafuuka mutuuze wa bwakabaka bwonna ku nsi. Teyafuuka mutuuze wa nkalakkalira mu kifo kyonna, era tewali kabaka yenna ku nsi gwe yawagira. Ate era Ibulayimu teyagezaako kutandikawo bwakabaka bwe. Mu kifo ky’ekyo, yagonderanga Yakuwa era yamulindirira okutuukiriza ekyo kye yasuubiza. Mu kukola bw’atyo, Ibulayimu yayoleka okukkiriza okw’amaanyi. Ka tulabe ebimu ku bizibu bye yayolekagana nabyo n’engeri gye tusobola okumukoppa.
BIZIBU KI IBULAYIMU BYE YAYOLEKAGANA NABYO?
6. Ekibuga Uli kyali kitya?
6 Ekibuga Ibulayimu kye yaleka kyalina obukuumi era ng’abantu baamu bali mu bulamu obweyagaza. Kyali kyetooloddwa bbugwe omunene n’omukutu gw’amazzi omugazi.
Abantu b’omu Uli baali bayivu era nga bagagga. Ate era ekibuga ekyo abantu bangi baali bakikoleramu bizineesi kubanga abanoonyereza ku bintu eby’edda bazudde ebiwandiiko bingi ebikwata ku bizineesi mu kifo ekibuga ekyo we kyali. Amayumba gaamu gaali gaazimbibwa na matoffaali era ng’ebisenge byago bikubiddwa pulasita era ne bisiigibwa langi enjeru. Agamu ku mayumba ago gaalimu ebisenge nga 13 oba 14 era nga galiko oluggya olwayalirirwa amayinja.7. Lwaki Ibulayimu yalina okwesiga Yakuwa nti yandimukuumye awamu n’ab’omu maka ge?
7 Ibulayimu yalina okwesiga Yakuwa nti yandimukuumye awamu n’ab’omu maka ge. Lwaki? Kubanga ye ne Saala baaleka ennyumba yaabwe ennungi eyali mu kibuga ekyalina obukuumi ne bagenda okubeera ku ttale mu nsi ya Kanani. Ye n’ab’omu maka ge baali tebakyalina bukuumi bwa bbugwe omunene n’omukutu gw’amazzi omugazi. Kati kyali kyangu okulumbibwa abalabe.
8. Bizibu ki Ibulayimu bye yayolekagana nabyo?
8 Ibulayimu yakola Katonda by’ayagala, naye waliwo lwe yali nga talina mmere emala kuliisa ba mu maka ge. Enjala yagwa mu nsi Yakuwa gye yamugamba okugendamu. Enjala eyo yali ya maanyi nnyo ne kiba nti Ibulayimu yalina okutwala ab’omu maka ge e Misiri okumala ekiseera. Kyokka bwe yali mu Misiri, Falaawo eyali omufuzi waayo, yamuggyako mukyala we. Lowooza ku kweraliikirira Ibulayimu kwe yalina nga Yakuwa tannaleetera Falaawo kukomyawo Saala gy’ali.—Lub. 12:10-19.
9. Bizibu ki Ibulayimu bye yafuna mu maka ge?
9 Waliwo n’ebizibu Ibulayimu bye yayolekagana nabyo mu maka ge. Saala, mukazi we gwe yali ayagala ennyo, yali tazaala. Baalina okugumira ekizibu ekyo okumala emyaka mingi. Saala yawa Ibulayimu omuzaana we Agali, asobole okuzaalira Ibulayimu ne Saala abaana. Naye Agali bwe yafuna olubuto yatandika okunyooma Saala. Embeera yeeyongera okwonooneka Saala n’atuuka n’okugoba Agali awaka.—Lub. 16:1-6.
10. Bintu ki ebyaliwo ku Isimayiri ne Isaaka ebyagezesa okukkiriza kwa Ibulayimu?
10 Oluvannyuma Saala yafuna olubuto era n’azaalira Ibulayimu omwana ow’obulenzi, Ibulayimu n’amutuuma Isaaka. Ibulayimu yali ayagala nnyo batabani be bombi, Isimayiri ne Isaaka. Naye olw’okuba Isimayiri yali ayisa bubi Isaaka, Ibulayimu yawalirizibwa okugoba Isimayiri ne Agali. (Lub. 21:9-14) Nga wayise emyaka, Yakuwa yagamba Ibulayimu okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka. (Lub. 22:1, 2; Beb. 11:17-19) Mu mbeera ezo zombi, Ibulayimu yalina okwesiga Yakuwa nti yali ajja kutuukiriza ebyo bye yali asuubizza ku batabani be abo bombi.
11. Lwaki Ibulayimu yalina okulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza?
11 Mu kiseera ekyo kyonna, Ibulayimu yalina okulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza. Ayinza okuba yali asussa emyaka 70 ye n’ab’omu maka ge we baaviira mu Uli. (Lub. 11:31–12:4) Era yamala emyaka nga kikumi ng’abeera mu weema era ng’atambulatambula mu nsi ya Kanani. Ibulayimu yafa ng’alina emyaka 175. (Lub. 25:7) Naye teyalaba kutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Yakuwa eky’okuwa bazzukulu be ensi ya Kanani. Era yafa nga tannalaba kibuga oba Obwakabaka bwa Katonda, nga bussibwawo. Wadde kiri kityo, Bayibuli egamba nti Ibulayimu yafa “ng’akaddiye bulungi era nga mumativu.” (Lub. 25:8) Wadde nga yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu, Ibulayimu yasigala ng’alina okukkiriza okw’amaanyi era yali mwetegefu okulindirira Yakuwa. Lwaki Ibulayimu yasobola okugumiikiriza? Kubanga mu bulamu bwe bwonna, Yakuwa yamukuuma era yamutwala nga mukwano gwe.—Lub. 15:1; Is. 41:8; Yak. 2:22, 23.
12. Kiki kye tulindirira, era kiki kye tugenda okulaba?
Kub. 12:7-10) Naye tubulindirira butandike okufuga ensi mu bujjuvu. Nga bwe tulindirira ekyo okubaawo, waliwo embeera nnyingi ze twolekagana nazo ezifaananako n’ezo Ibulayimu ne Saala ze baayolekagana nazo. Abaweereza ba Yakuwa leero basobodde okukoppa Ibulayimu? Ebyo ebikwata ku bantu ba Katonda ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi biraga nti okufaananako Ibulayimu ne Saala, bangi leero balina okukkiriza okw’amaanyi era bagumiikiriza. Ka tulabeyo abamu ku baweereza ba Katonda abo ne bye tubayigirako.
12 Okufaananako Ibulayimu, naffe tulindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini. Naye ffe tetulindirira kibuga ekyo kuzimbibwa. Obwakabaka bwa Katonda bwassibwawo mu 1914 era kati bufuga mu bujjuvu mu ggulu. (ABAMU KU ABO ABAAKOPPA IBULAYIMU
13. Kiki ky’oyigira ku w’Oluganda Walden?
13 Ba mwetegefu okwefiiriza. Bwe tuba ba kukulembeza ekibuga kya Katonda oba Obwakabaka mu bulamu bwaffe, okufaananako Ibulayimu, naffe tulina okuba abeetegefu okubaako bye twefiiriza okusobola okusanyusa Katonda. (Mat. 6:33; Mak. 10:28-30) Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Bill Walden. * Mu 1942, Bill we yatandikira okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, yali asoma mu yunivasite emu mu Amerika ng’anaatera okutikkirwa diguli mu kukuba pulaani. Profesa omu eyali asomesa Bill yali afunidde Bill omulimu gwe yandikoze oluvannyuma lw’okutikkirwa, naye Bill n’agugaana. Yagamba profesa oyo nti yali asazeewo okuweereza Katonda mu bujjuvu mu kifo ky’okukola omulimu ogwandimusasudde ssente ennyingi. Waayita ekiseera kitono, gavumenti n’eragira Bill okuyingira amagye. Ekyo Bill yakigaana era n’atanzibwa ddoola 10,000, ne bamusalira n’ekibonerezo kya kusibwa emyaka etaano. Yasumululwa mu kkomera oluvannyuma lw’okumalayo emyaka esatu. Oluvannyuma yayitibwa mu ssomero lya Gireyaadi era n’asindikibwa okuweereza ng’omuminsani mu Afirika. Bill yawasa Eva, era baaweerereza wamu mu Afirika, ekintu ekyali kibeetaagisa okwefiiriza. Oluvannyuma lw’emyaka, baddayo mu Amerika okulabirira maama wa Bill. Ng’ayogera ku bulamu bwe, Bill agamba nti: “Mpulira essanyu lingi nnyo bwe ndowooza ku nkizo ey’ekitalo Yakuwa gy’ampadde ey’okumuweereza emyaka egisukka mu 70. Bulijjo mmwebaza olw’okunsobozesa okukozesa obulamu bwange okumuweereza.” Naawe osobola okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna?
14-15. Kiki ky’oyigira ku w’oluganda ne mwannyinaffe Apostolidis?
14 Tosuubira nti tojja kufuna bizibu mu bulamu. Okusinziira ku ebyo bye tusoma ku Ibulayimu, tukiraba nti omuntu ne bwe yeemalira ku kuweereza Yakuwa, ayolekagana n’ebizibu. (Yak. 1:2; 1 Peet. 5:9) Lowooza ku w’Oluganda Aristotelis Apostolidis. * Yabatizibwa mu 1946 mu Buyonaani, era mu 1952 yatandika okwogereza mwannyinaffe ayitibwa Eleni, eyalina ebiruubirirwa bye bimu ng’ebibye. Kyokka Eleni yalwala era bwe baamukebera baakizuula nti yalina ekizimba ku bwongo. Ekizimba ekyo baakiggyamu, naye nga wayise emyaka mitono nga bamaze okufumbiriganwa Eleni yaddamu n’afuna ekizimba ekirala ku bwongo. Abasawo baddamu ne bamulongoosa, naye yasigala asannyaladde oludda olumu era nga tasobola kwogera bulungi. Eleni yaweereza Yakuwa n’obunyiikivu wadde nga yali mulwadde era nga ne gavumenti yali eyigganya Abajulirwa ba Yakuwa mu kiseera ekyo.
15 Aristotelis yajjanjaba mukyala we okumala emyaka 30. Mu kiseera ekyo yaweereza ng’omukadde, yali ku bukiiko obutegeka enkuŋŋaana ennene, era yayambako mu kuzimba ekizimbe ekimu ekituuza enkuŋŋaana ennene. Mu 1987, Eleni yafuna obuvune obw’amaanyi bwe yagwa ku kabenje ng’abuulira. Yamala emyaka esatu nga tazze ngulu, era oluvannyuma yafa. Aristotelis agamba nti: “Emyaka bwe gizze giyitawo, nfunye ebizibu eby’amaanyi era ebimu byajja sibisuubira. N’olwekyo, kibadde kinneetaagisa okuba omugumiikiriza n’obutakkiriza kintu kyonna kummalamu maanyi. Kyokka Yakuwa bulijjo abadde ampa amaanyi ge nneetaaga okusobola okwaŋŋanga ebizibu ebyo.” (Zab. 94:18, 19) Mazima ddala Yakuwa ayagala nnyo abo bonna abafuba okumuweereza wadde nga boolekagana n’ebizibu!
16. Magezi ki amalungi Ow’oluganda Knorr ge yawa mukyala we?
16 Ebirowoozo byo bisse ku biseera eby’omu maaso. Ibulayimu yassa ebirowoozo ku bintu ebirungi Yakuwa bye yandimukoledde mu biseera eby’omu maaso, era ekyo kyamuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye yayolekagana nabyo. Mwannyinaffe Audrey Hyde yasobola okusigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu wadde ng’Omwami we eyasooka, Nathan H. Knorr, yafa kookolo ate omwami we ow’okubiri, Glenn Hyde, yalwala obulwadde bw’okuwutta. * Agamba nti ebigambo Ow’oluganda Knorr bye yamugamba ng’ebula wiiki ntono afe byamuyamba nnyo. Audrey agamba nti: “Nathan yaŋŋamba nti: ‘Oluvannyuma lw’okufa, essuubi lyaffe liba kkakafu, era tuba tetujja kuddamu kwolekagana na bulumi.’ Era yaŋŋamba nti: ‘Ebirowoozo bisse ku biseera eby’omu maaso, kubanga eyo y’eri empeera yo.’ . . . Yagattako nti: ‘Ba n’eby’okukola bingi—fuba okukozesa obulamu bwo okukolera abalala ebirungi. Ekyo kijja kukuyamba okufuna essanyu.’” Kituganyula nnyo bwe tufuba okukolera abalala ebirungi ‘n’okusanyukanga olw’essuubi lye tulina’!—Bar. 12:12.
17. (a) Lwaki tulina ensonga nnyingi okussa ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso? (b) Okukolera ku bigambo ebiri mu Mikka 7:7 kinaatuyamba kitya okufuna emikisa egigenda okujja?
17 Leero tulina ensonga nnyingi ezandituleetedde okussa ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso. Ebiriwo mu nsi biraga nti tuli mu nnaku ezisembayo ez’ennaku ez’enkomerero. Mu kiseera ekitali kya wala, kijja kuba tekikyatwetaagisa kulindirira kibuga ekirina emisingi gyennyini kufuga nsi yonna mu bujjuvu. Egimu ku mikisa emingi gye tugenda okufuna kwe kulaba abantu baffe abaafa nga bazuukidde. Mu kiseera ekyo, Yakuwa ajja kuwa Ibulayimu empeera olw’okukkiriza n’obugumiikiriza bye yayoleka bw’anaamuzuukiza awamu n’ab’omu maka ge. Onoobaayo okubaaniriza? Ojja kusobola okubaayo singa okufaananako Ibulayimu naawe oba mwetegefu okubaako bye weefiiriza ku lw’Obwakabaka bwa Katonda, singa osigala ng’olina okukkiriza okunywevu wadde ng’oyolekagana n‘ebizibu, era singa olindirira Yakuwa n’obugumiikiriza.—Soma Mikka 7:7.
OLUYIMBA 74 Yimba Oluyimba lw’Obwakabaka!
^ lup. 5 Okulindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Katonda kiyinza okugezesa obugumiikiriza bwaffe, era oboolyawo n’okukkiriza kwaffe. Biki bye tuyigira ku Ibulayimu ebisobola okutuyamba okuba abamalirivu okulindirira n’obugumiikiriza okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa? Era kyakulabirako ki ekirungi abamu ku baweereza ba Yakuwa leero kye bataddewo?
^ lup. 13 Ebikwata ku w’Oluganda Walden biri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 1, 2013, lup. 8-10.
^ lup. 14 Ebikwata ku w’Oluganda Apostolidis bisangibwa mu Watchtower eya Febwali 1, 2002, lup. 24-28.
^ lup. 16 Ebikwata ku Mwannyinaffe Hyde biri mu Watchtower eya Jjulaayi 1, 2004, lup. 23-29.
^ lup. 56 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we abakaddiye nga beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga boolekaganye n’ebizibu ebitali bimu. Bakuuma okukkiriza kwabwe nga kunywevu nga bassa ebirowoozo byabwe ku biseera eby’omu maaso.