Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 35

Ssa Ekitiibwa mu Kifo Abalala Kye Balina mu Kibiina kya Yakuwa

Ssa Ekitiibwa mu Kifo Abalala Kye Balina mu Kibiina kya Yakuwa

“Eriiso teriyinza kugamba mukono nti, ‘Sikwetaaga,’ oba, omutwe teguyinza kugamba bigere nti, ‘Sibeetaaga.’”​—1 KOL. 12:21.

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

OMULAMWA *

1. Kiki Yakuwa ky’awadde buli omu ku baweereza be abeesigwa?

YAKUWA awadde buli omu ku baweereza be abeesigwa ekifo mu kibiina kye. Wadde nga tulina obuvunaanyizibwa bwa njawulo, buli omu ku ffe wa mugaso era buli omu yeetaaga munne. Ekyo omutume Pawulo atuyamba okukiraba. Mu ngeri ki?

2. Okusinziira ku Abeefeso 4:16, lwaki buli omu ku ffe alina okutwala munne nga wa muwendo era lwaki tulina okukolera awamu?

2 Nga bwe kiragibwa mu kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino, Pawulo yakiraga nti tewali n’omu ku ffe ayinza kugamba mukkiriza munne nti “sikwetaaga.” (1 Kol. 12:21) Ekibiina bwe kiba kya kuba mu mirembe, buli omu ku ffe alina okutwala munne nga wa muwendo era tulina okukolera awamu. (Soma Abeefeso 4:16.) Bwe tukolera awamu nga tuli bumu, buli omu mu kibiina ajja kuwulira nti ayagalibwa era ekibiina kijja kuba kinywevu.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mbeera ki mwe tuyinza okukiraga nti tussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe mu kibiina? Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri abakadde gye bayinza okulaga nti bassa ekitiibwa mu bakadde bannaabwe. Era tugenda kulaba engeri ffenna gye tuyinza okulaga nti tussa ekitiibwa mu baganda baffe ne bannyinaffe abatali bafumbo. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulaga nti tusiima abo abatoogera bulungi lulimi lwaffe.

SSA EKITIIBWA MU BAKADDE BANNO

4. Kubuulirira ki okuli mu Abaruumi 12:10 abakadde kwe basaanidde okukolerako?

4 Abakadde bonna mu kibiina balondebwa omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu. Naye buli omu ku bo alina ebitone n’obusobozi bwa njawulo. (1 Kol. 12:17, 18) Abamu bayinza okuba nga baakalondebwa era nga tebalina nnyo bumanyirivu. Abalala bayinza okuba nga tebasobola kukola kinene olw’obukadde oba olw’obulwadde. Wadde kiri kityo, tewali mukadde asaanidde kutunuulira mukadde munne muli n’agamba nti “sikwetaaga.” Mu kifo ky’ekyo, buli mukadde asaanidde okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abaruumi 12:10.​—Soma.

Abakadde balaga nti bassa ekitiibwa mu bakadde bannaabwe nga babawuliriza bulungi (Laba akatundu 5-6)

5. Abakadde bayinza kulaga batya nti bassa ekitiibwa mu bakadde bannaabwe, era lwaki ekyo kikulu?

5 Abakadde bakiraga nti bassa ekitiibwa mu bakadde bannaabwe nga babawuliriza. Kino kikulu nnyo, naddala ng’abakadde basisinkanye okubaako ensonga enkulu ze bateesaako. Lwaki? Weetegereze ekyo Watchtower eya Okitobba 1, 1988, kye yagamba: “Abakadde basaanidde okukimanya nti Kristo asobola okukozesa omwoyo omutukuvu n’asobozesa omukadde yenna mu kibiina okulowooza ku musingi ogumu okuva mu Bayibuli ogusobola okuyamba abakadde okumanya eky’okukola mu mbeera yonna eba ezzeewo oba okusalawo ku kintu ekikulu ennyo. (Bik. 15:6-15) Omwoyo omutukuvu guyamba abakadde bonna mu kibiina, so si mukadde omu yekka.”

6. Abakadde bayinza batya okukolera awamu nga bali bumu, era ekyo kiganyula kitya ekibiina?

6 Omukadde assa ekitiibwa mu bakadde banne buli kiseera si y’asooka okwogera mu nkuŋŋaana z’abakadde. Bwe baba bakubaganya ebirowoozo, tasaanikira banne, era takitwala nti ebirowoozo bye buli kiseera bye bituufu. Mu kifo ky’ekyo, awa endowooza ye mu bwetoowaze. Awuliriza bulungi ng’abalala baliko bye boogera. N’ekisinga obukulu aba mwetegefu okukozesa Ebyawandiikibwa ng’aliko endowooza gy’awa era akolera ku bulagirizi obuva eri “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45-47) Abakadde bwe balagaŋŋana okwagala era ne bawaŋŋana ekitiibwa nga baliko bye bateesaako, Katonda abawa omwoyo gwe ne gubasobozesa okusalawo mu ngeri eneenyweza ekibiina.​—Yak. 3:17, 18.

SSA EKITIIBWA MU BAKKIRIZA BANNO ABATALI BAFUMBO

7. Yesu yali atwala atya abo abatali bafumbo?

7 Ekibiina leero kirimu abafumbo abalina abaana n’abatalina baana. Kyokka era kirimu n’ab’oluganda ne bannyinaffe bangi abatali bafumbo. Tusaanidde kutwala tutya abo abatali bafumbo? Tusaanidde kubatwala nga Yesu bwe yali abatwala. Yesu bwe yali ku nsi teyawasa. Yasigala ali bwannamunigina ne yeemalira ku mulimu Katonda gwe yali amuwadde. Yesu teyagamba nti Abakristaayo bateekeddwa okuyingira obufumbo oba okusigala nga si bafumbo. Naye yagamba nti Abakristaayo abamu bandisazeewo obutayingira bufumbo. (Mat. 19:11, 12; laba awannyonnyolerwa ebiri mu Matayo 19:12.) Yesu yali assa ekitiibwa mu abo abatali bafumbo. Teyabatwala ng’aba wansi oba abalina ekibabulako.

8. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 7:7-9, kiki Pawulo kye yakubiriza Abakristaayo okulowoozaako?

8 Okufaananako Yesu, omutume Pawulo naye yasigala si mufumbo mu kiseera kye yamala ng’aweereza. Pawulo teyayigiriza nti kikyamu Omukristaayo okuyingira obufumbo. Yali akimanyi nti ekyo buli muntu y’alina okukyesalirawo. Wadde kyali kityo, Pawulo yakubiriza Abakristaayo okulowooza ku ky’okuweereza Yakuwa nga si bafumbo. (Soma 1 Abakkolinso 7:7-9.) Kyeyoleka lwatu nti Abakristaayo abatali bafumbo Pawulo yali tabatwala nti ba wansi ku bafumbo. Mu butuufu, yalonda Timoseewo, ow’oluganda ataali mufumbo, okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina. * (Baf. 2:19-22) N’olwekyo, kiba kikyamu okulowooza nti ow’oluganda agwana okuweebwa oba obutaweebwa buvunaanyizibwa mu kibiina olw’okuba mufumbo oba si mufumbo.​—1 Kol. 7:32-35, 38.

9. Kiki kye tuyinza okwogera ku kuyingira obufumbo n’okusigala obwannamunigina?

9 Yesu ne Pawulo tebaagamba nti Abakristaayo bateekeddwa okuyingira obufumbo oba obutayingira bufumbo. Kati olwo kiki kye tuyinza okwogera ku kuyingira obufumbo n’okusigala obwannamunigina? Watchtower eya Okitobba 1, 2012 yagamba nti: “Ekituufu kiri nti [obufumbo n’okusigala obwannamunigina] byombi birabo okuva eri Katonda. . . . Yakuwa takitwala nti abo abatali bafumbo basaanidde okuswala oba okunakuwala olw’okubeera mu mbeera eyo.” N’olwekyo tusaanidde okussa ekitiibwa mu kifo baganda baffe ne bannyinaffe abatali bafumbo kye balina mu kibiina.

Bwe tuba nga tussa ekitiibwa mu abo abatali bafumbo kiki kye tulina okwewala? (Laba akatundu 10)

10. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu baganda baffe ne bannyinaffe abatali bafumbo?

10 Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku nneewulira ne ku mbeera za baganda baffe ne bannyinaffe abatali bafumbo? Tusaanidde okukijjukira nti Abakristaayo abamu baasalawo okusigala nga si bafumbo. Abalala bandyagadde okuwasa oba okufumbirwa naye nga tebannafuna muntu mutuufu. Ate abalala bayinza okuba nga baafiirwa munnaabwe mu bufumbo. K’ebe nsonga ki, tekiba kituufu abalala mu kibiina okubuuza Abakristaayo abatali bafumbo ensonga lwaki si bafumbo oba okubasaba babayambeko okubanoonyeza ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Kyo kituufu nti Abakristaayo abamu basaba abalala okubayambako okubanoonyeza ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Naye singa baba tebakusabye kubanoonyeza, olowooza kibakwatako kitya singa obagamba okubanoonyeza? (1 Bas. 4:11; 1 Tim. 5:13) Ka tulabeyo ebyayogerwa abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe abeesigwa abatali bafumbo.

11-12. Kiki ekiyinza okumalamu abatali bafumbo amaanyi?

11 Ow’oluganda omu akola ng’omulabirizi akyalira ebibiina era atuukiriza obulungi obuweereza bwe obwo agamba nti omuntu okusigala nga si mufumbo kirimu emiganyulo mingi. Kyokka era agamba nti oluusi kimalamu amaanyi ab’oluganda ne bannyinaffe abatalina bigendererwa bikyamu bwe bamubuuza nti: “Lwaki tonnawasa?” Ow’oluganda omulala atali mufumbo aweereza ku ofiisi y’ettabi agamba nti: “Oluusi ab’oluganda ne bannyinaffe balowooza nti abo abatali bafumbo embeera gye balimu ekwasa ennaku. Ekyo kiba ng’ekiraga nti omuntu okusigala nga si mufumbo mugugu so si kirabo.”

12 Mwannyinaffe omu atali mufumbo aweereza ku Beseri agamba nti: “Ababuulizi abamu balowooza nti abatali bafumbo bonna banoonya ab’okuwasa oba ab’okufumbirwa, oba nti buli lwe babeerako mu bantu abangi baba bakatwala ng’akakisa ke bayinza okukozesa okufuna ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa. Lumu bwe nnali ŋŋenzeeko mu kitundu ekirala nga ndi ku mirimu gya Beseri, nnatuuka kawungeezi ku lunaku olw’enkuŋŋaana. Muganda wange eyali agenda okunsuza yaŋŋamba nti mu kibiina ekyo mwalimu ab’oluganda babiri ab’emyaka gyange. Yaŋŋamba nti yali tagezaako kubampangira. Naye amangu ddala nga twakayingira mu Kizimbe ky’Obwakabaka yankwata ku mukono n’antwala awaali ab’oluganda abo ababiri. Ffenna abasatu twawulira obuswavu.”

13. Kiki ekyazzaamu mwannyinaffe omu ali obwannamunigina amaanyi?

13 Mwannyinaffe omulala aweereza ku Beseri yagamba nti: “Nnina bapayoniya abakulu abali obwannamunigina be mmanyi abalina endowooza ennuŋŋamu, abeemalidde ku kuweereza, abeetegefu okuyamba abalala, abasanyufu, era abayamba ennyo ekibiina. Balina endowooza ennuŋŋamu ku ky’obutaba bafumbo. Eky’okuba nti si bafumbo tekibaleetera kwetwala nti ba waggulu ku balala oba nti tebasobola kuba basanyufu.” Ekyo kye kirungi ky’okuba mu kibiina nga buli omu atwala munne okuba ow’omugaso era ng’amuwa ekitiibwa. Oba towulira nti okwasa abalala ennaku oba nti bakukwatirwa obuggya, era abalala tebakuboola oba tebakutwala nti obasukkulumyeko. Oba okimanyi nti bakwagala.

14. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe abatali bafumbo?

14 Baganda baffe ne bannyinaffe abali obwannamunigina bazzibwamu amaanyi bwe tubatwala nti ba mugaso olw’engeri zaabwe ennungi, mu kifo ky’okudda awo okubasaasira olw’obutaba bafumbo. Tusaanidde okubasiima olw’obwesigwa bwabwe. Bwe tukola tutyo, bakkiriza bannaffe abo abatali bafumbo tebajja kuwulira ng’ababagamba nti: “Sikwetaaga.” (1 Kol. 12:21) Mu kifo ky’ekyo, bajja kukimanya nti tubawa ekitiibwa era nti tubatwala nti ba mugaso mu kibiina.

SSA EKITIIBWA MU ABO ABATOOGERA BULUNGI LULIMI LWO

15. Nkyukakyuka ki abamu ze bakoze okusobola okugaziya ku buweereza bwabwe?

15 Mu myaka egiyise ababuulizi bangi bafubye okuyiga ennimi endala basobole okugaziya ku buweereza bwabwe. Ekyo kibadde kibeetaagisa okubaako enkyukakyuka ze bakola. Baganda baffe ne bannyinaffe abo bavudde mu bibiina ebyogera olulimi lwabwe ne bagenda mu bibiina ebyogera olulimi olulala awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. (Bik. 16:9) Ekyo ababuulizi abo be baakyesalirawo okusobola okwongera okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. Wadde nga kiyinza okubatwalira emyaka okusobola okuyiga obulungi olulimi olulala, bayamba ebibiina mu ngeri nnyingi. Engeri zaabwe ennungi n’obumanyirivu bwe balina binyweza ekibiina. Tusiima nnyo baganda baffe ne bannyinaffe abo olw’okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza!

16. Abakadde basinziira ku ki okusemba ow’oluganda okuba omukadde oba omuweereza?

16 Abakadde bwe baba basalawo obanga ow’oluganda asaanidde okuweereza ng’omukadde oba omuweereza, tebasaanidde kusinziira ku kya kuba nti amanyi oba tamanyi kwogera bulungi lulimi olukozesebwa mu kibiina. Abakadde basemba ow’oluganda okuweereza ng’omukadde oba omuweereza nga basinziira ku bisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa so si ku kuba nti ayogera bulungi olulimi olwogerwa mu kibiina ky’alimu.​—1 Tim. 3:1-10, 12, 13; Tit. 1:5-9.

17. Kiki abazadde kye basaanidde okusalawo bwe basenguka n’ab’omu maka gaabwe ne bagenda mu nsi endala?

17 Ab’oma maka agamu bagenze mu nsi endala okufuna obubudamo oba okunoonya emirimu. Bwe kityo, abaana baabwe bayinza okusomera mu masomero agakozesa olulimi olusinga okwogerwa mu nsi eyo gye baba bagenzeemu. Abazadde nabo kiyinza okubeetaagisa okuyiga olulimi olwo okusobola okufuna emirimu. Watya singa wabaawo ekibiina ekikozesa olulimi lwe boogera awaka? Ab’omu maka ago basaanidde kugenda mu kibiina ki? Basaanidde kugenda mu kibiina ekyogera olulimi olusinga okwogerwa mu nsi eyo oba ekyogera olulimi lwe bakozesa awaka?

18. Okusinziira ku Abaggalatiya 6:5, tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu ekyo omutwe gw’amaka ky’aba asazeewo?

18 Omutwe gw’amaka y’alina okusalawo kibiina ki ab’omu maka ge kye banaagendamu. Olw’okuba ekyo y’alina okukisalawo, alina okufuba okulaba nti asalawo ekyo ekinaasinga okuganyula ab’omu maka ge. (Soma Abaggalatiya 6:5.) Tusaanidde okussa ekitiibwa mu ekyo omutwe gw’amaka ky’aba asazeewo. Kyonna ky’aba asazeewo tusaanidde okukikkiriza era ne twaniriza ab’omu maka ge mu kibiina kyaffe era ne tubalaga okwagala.​—Bar. 15:7.

19. Kiki emitwe gy’amaka kye basaanidde okufumiitirizaako n’okusaba Yakuwa?

19 Mu mbeera ezimu ab’omu maka bayinza okuba nga bali mu kibiina ekikozesa olulimi lw’abazadde naye nga bo abaana teboogera bulungi lulimi olwo. Ekibiina ekyo bwe kiba nga kiri mu kitundu omwogerwa olulimi olusinga okukozesebwa mu nsi gye balimu, abaana baabwe kiyinza okuba nga kibazibuwalira okutegeera obulungi ebiba mu nkuŋŋaana ne batakulaakulana mu by’omwoyo. Lwaki? Kubanga abaana bayinza okuba basomera ku ssomero erikozesa olulimi olwogerwa mu nsi eyo so si olulimi lwa bazadde baabwe. Mu mbeera ng’eyo, omutwe gw’amaka aba alina okufumiitiriza ennyo n’okusaba Yakuwa amuyambe okulaba kye basaanidde okukola okuyamba abaana baabwe okwongera okusemberera Yakuwa n’abantu be. Abazadde kiyinza okubeetaagisa okuyamba abaana baabwe okuyiga obulungi olulimi lwabwe oba okusalawo okugenda mu kibiina ekikozesa olulimi abaana baabwe lwe bategeera obulungi. Ka kibe ki omutwe gw’amaka ky’aba asazeewo, ab’omu kibiina kye baba bagenzeemu basaanidde okumwaniriza awamu n’ab’omu maka ge era ne babalaga okwagala.

Tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu abo abayiga olulimi olulala? (Laba akatundu 20)

20. Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe abayiga olulimi olulala?

20 Mazima ddala nga bwe tulabye, mu bibiina bingi mulimu ab’oluganda ne bannyinaffe abafuba okuyiga ennimi endala. Kiyinza obutabanguyira kuggyayo bulungi ekyo kye baba baagala okwogera. Naye bwe tutamalira birowoozo ku ngeri gye boogeramu olulimi lwe bayiga, tujja kukiraba nti baagala nnyo Yakuwa era nti baagala okumuweereza. Bwe tulaba engeri ezo ennungi, tweyongera okukiraba nti baganda baffe abo ba mugaso era tujja kubawa ekitiibwa. Tetujja kubagamba nti “Sikwetaaga” olw’okuba teboogera bulungi lulimi lwaffe.

TULI BA MUWENDO ERI YAKUWA

21-22. Nkizo ki ey’ekitalo gye tulina?

21 Yakuwa atuwadde enkizo ey’ekitalo ey’okuba n’ekifo mu kibiina kye. Ka tube bakazi oba basajja, bafumbo oba si bafumbo, bato oba bakulu, nga twogera bulungi olulimi olumu oba nedda, ffenna tuli ba muwendo eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannaffe.​—Bar. 12:4, 5; Bak. 3:10, 11.

22 Ka tweyongere okukolera ku bye tuyigidde ku kyokulabirako Pawulo kye yakozesa eky’omubiri gw’omuntu. Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okusiima ekifo kye tulina awamu n’abalala kye balina mu kibiina kya Yakuwa.

OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi

^ lup. 5 Abantu ba Yakuwa bava mu mbeera za njawulo era balina obuvunaanyizibwa bwa njawulo mu kibiina. Ekitundu kino kigenda kulaga ensonga lwaki kikulu okussa ekitiibwa mu buli omu ku baweereza ba Yakuwa.

^ lup. 8 Tetusobola kumanyira ddala obanga Timoseewo yasigala si mufumbo.