Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 32

Nyweza Okukkiriza kw’Olina mu Mutonzi

Nyweza Okukkiriza kw’Olina mu Mutonzi

“Okukkiriza . . . bwe bukakafu obulaga nti ky’okkiriza ddala gye kiri wadde nga tekirabika.”​—BEB. 11:1.

OLUYIMBA 11 Obutonde Butendereza Katonda

OMULAMWA *

1. Biki bye wayigirizibwa ku Mutonzi waffe?

BW’OBA nga wakuzibwa Bajulirwa ba Yakuwa, oteekwa okuba nga wayigirizibwa ebikwata ku Yakuwa okuviira ddala ng’okyali muto. Wayigirizibwa nti Yakuwa ye yatonda ebintu byonna, nti alina engeri ennungi, era nti agenda kufuula ensi olusuku lwe abantu bagibeeremu emirembe gyonna.​—Lub. 1:1; Bik. 17:24-27.

2. Abantu abamu batwala batya abo abakkiririza mu Mutonzi?

2 Kyokka abantu bangi tebakkiriza nti Katonda gyali, oba nti ye yatonda ebintu byonna. Bagamba nti obulamu bwajjawo mu butanwa era nti ebintu ebiramu byagenda bikyuka mpolampola, ng’ekintu ekimu kifuuka ekirala. Abamu ku bantu abagamba bwe batyo bayivu nnyo. Bagamba nti ssaayansi akiraze nti Bayibuli si ntuufu, era nti abakkiriza nti eriyo Omutonzi tebaasoma, tebalina magezi, oba nti bamala gakkiriza buli kimu.

3. Lwaki kikulu okuzimba okukkiriza kwaffe?

3 Endowooza z’abantu ng’abo zinaatuleetera okubuusabuusa nti Yakuwa ye Mutonzi waffe atwagala? Ekyo kijja kusinziira nnyo ku nsonga gye tusinziirako okukkiriza nti Yakuwa ye Mutonzi. Tukkiriza nti Yakuwa ye Mutonzi lwa kuba nti ekyo waliwo eyakitugamba, oba ffe ffennyini tufubye okwekenneenya obukakafu obulaga nti ye Mutonzi? (1 Kol. 3:12-15) Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, ffenna tulina okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe. Bwe tukola tutyo, tetujja kubuzaabuzibwa ‘bufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu’ ebiyigirizibwa abantu abawakanya Ekigambo kya Katonda. (Bak. 2:8; Beb. 11:6) Ekitundu kino kigenda kulaga ensonga (1) lwaki abantu bangi tebakkiririza mu Mutonzi, (2) engeri gy’oyinza okuzimba okukkiriza kwo mu Yakuwa, Omutonzi wo, ne (3) engeri gy’oyinza okunyweza okukkiriza okwo.

ENSONGA LWAKI ABANTU BANGI TEBAKKIRIRIZA MU MUTONZI

4. Okusinziira ku Abebbulaniya 11:1 n’obugambo obuli wansi, okukkiriza okwa nnamaddala kwesigamiziddwa ku ki?

4 Abantu abamu balowooza nti okuba n’okukkiriza kitegeeza okumala gakkiririza mu kintu awatali bukakafu. Naye okusinziira ku Bayibuli, okwo si kwe kukkiriza okwa nnamaddala. (Soma Abebbulaniya 11:1 n’obugambo obuli wansi.) Weetegereze nti okukkiririza mu ebyo bye tutalaba gamba ng’okukkiririza mu Yakuwa, mu Yesu, ne mu Bwakabaka obw’omu ggulu, kwesigamiziddwa ku bukakafu obumatiza. (Beb. 11:3) Munnassaayansi omu eyafuuka Omujulirwa wa Yakuwa agamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa balina bye basinziirako okukkiririza mu ebyo bye bakkiriza. Tebabuusa maaso bukakafu obwesigamiziddwa ku ssaayansi.”

5. Lwaki abantu bangi bakkiriza nti Katonda si ye yatonda ebintu?

5 Tuyinza okwebuuza nti, ‘Bwe kiba nti waliwo obukakafu obumatiza obulaga nti eriyo Omutonzi, lwaki abantu bangi tebakkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna?’ Abamu tebafangayo kwekenneenya bukakafu bulaga nti ddala eriyo Omutonzi. Ow’oluganda ayitibwa Robert agamba nti: “Olw’okuba ku ssomero tebaatuyigirizaako nti ebintu byatondebwa, nnali ndowooza nti ddala kituufu tebyatondebwa. Naye oluvannyuma bwe nnayogerako n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnakiraba nti Bayibuli erimu ensonga ezitegeerekeka obulungi ezikakasa nti ddala eriyo Omutonzi.” *​—Laba akasanduuko, “ Eri Abazadde.”

6. Lwaki abantu abamu tebakkiriza nti Katonda gyali?

6 Abamu tebakkiririza mu Mutonzi olw’okuba bagamba nti tebayinza kukkiririza mu kintu ekitalabika. Kyokka ate waliwo ebintu ebitalabika bye bakkiriza nti gye biri, gamba ng’amaanyi ga gravity. Okukkiriza Bayibuli kw’eyogerako, kwesigamiziddwa ku ‘bukakafu obutalabika.’ (Beb. 11:1) Kyetaagisa okuwaayo ebiseera n’okufuba okwekenneenya obukakafu obwo, naye abantu bangi ekyo tebaagala kukikola. Omuntu atafaayo kwekenneenya bukakafu obulaga nti Katonda gyali, ayinza okugamba nti taliiyo.

7. Abantu bonna abayivu tebakkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna? Nnyonnyola.

7 Bannassaayansi abamu edda abaali batakkiriza nti Katonda gyali, oluvannyuma lw’okwekenneenya obukakafu, kati bakkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. * Okufaananako Robert ayogeddwako waggulu, abamu baali balowooza bulowooza nti Katonda taliiyo olw’okuba mu yunivasite tebaayigako nti Katonda ye yatonda ebintu. Kyokka waliwo bannassaayansi bangi abayize ebikwata ku Yakuwa era abamwagala. Okufaananako bannassaayansi abo, ffenna tulina okuzimba okukkiriza kwe tulina mu Katonda, ka tube nga tulina buyigirize ki. Ekyo tewali ayinza kukitukolera.

ENGERI GY’OYINZA OKUZIMBA OKUKKIRIZA KWO MU MUTONZI

8-9. (a) Kibuuzo ki ekigenda okuddibwamu? (b) Okwekenneenya ebitonde kinaakuganyula kitya?

8 Oyinza otya okuzimba okukkiriza kwo mu Mutonzi? Ka tulabe ebintu bina.

9 Weekenneenye obutonde. Osobola okuzimba okukkiriza kwo mu Mutonzi nga weekenneenya ensolo, ebimera, n’emmunyeenye. (Zab. 19:1; Is. 40:26) Gy’okoma okwekenneenya ebintu ng’ebyo, gy’okoma okuba omukakafu nti Yakuwa ye Mutonzi. Ebitabo byaffe bitera okubaamu ebitundu ebyogera ku ngeri ebintu gye byatondebwamu. Fuba okusoma ebitundu ebyo ka kibe nti si byangu kutegeera. Fuba okubaako by’oyigamu. Ate era osobola okuddamu okulaba vidiyo eziri ku jw.org, ezoogera ku bitonde ebitali bimu ezaalagibwa ku nkuŋŋaana ez’ennaku essatu emyaka egiyise.

10. Waayo ekyokulabirako ekiraga ngeri ebitonde gye biragamu nti ddala eriyo Omutonzi. (Abaruumi 1:20)

10 Bw’oba nga weekenneenya ebitonde, weetegereze ekyo kye biraga ku Mutonzi waffe. (Soma Abaruumi 1:20.) Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’okimanyi nti ng’oggyeeko okuba nti enjuba evaako ebbugumu n’ekitangaala ebisobozesa ebintu ebiramu okubaawo ku nsi, era evaako n’amayengo ag’obulabe. Ffe abantu twetaaga okusiikirizibwa tuleme kutuukibwako mayengo ago. Era tusiikirizibwa! Tutya? Waliwo olububi lw’omukka oguyitibwa ozone olusiikiriza ensi ne lulemesa amayengo ago okututuukako. Amayengo ago bwe geeyongera okuba ag’amaanyi, olububi olwo nalwo lweyongera okuba olukwafu. Ekyo tekikulaga nti waliwo eyassaawo olububi olwo, era nti ateekwa okuba nti atwagala nnyo era alina amagezi mangi!

11. Wa w’oyinza okusanga ebintu ebisobola okukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti ebintu byatondebwa? (Laba akasanduuko, “ Ebimu ku Bintu Ebituyamba Okuzimba Okukkiriza Kwaffe.”)

11 Osobola okufuna ebintu bingi ebisobola okukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti ebintu byatondebwa ng’onoonyereza mu Watch Tower Publications Index oba ku jw.org. Oyinza okutandika ng’osoma ebitundu oba ng’olaba vidiyo eziri wansi w’omutwe, “Kyajjawo Kyokka?” Ebitundu ebyo biraga ebintu ebyewuunyisa ebikwata ku nsolo ne ku bimera, era biri mu bumpimpi. Ate era biraga n’engeri bannassaayansi gye bagezezzaako okukoppa ebitonde.

12. Bw’oba nga weesomesa Bayibuli, ebimu ku bintu by’osaanidde okwekenneenya bye biruwa?

12 Weesomese Bayibuli. Munnassaayansi ayogeddwako waggulu, mu kusooka yali takkiriza nti eriyo Omutonzi. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, yatandika okukkiriza nti eriyo Omutonzi. Agamba nti: “Okukkiriza kwange tekwesigamye ku ebyo bye nneekenneenya mu ssaayansi byokka, kwesigamye ne ku ebyo bye nnasoma mu Bayibuli.” Oboolyawo omanyi bulungi ebyo ebiri mu Bayibuli. Wadde kiri kityo, okusobola okwongera okunyweza okukkiriza kw’olina mu Mutonzi wo, osaanidde okweyongera okwesomesa Ekigambo kye. (Yos. 1:8; Zab. 119:97) Weetegereze ebyo Bayibuli by’eyogera ku bintu ebyaliwo mu byafaayo. Ate era weetegereze obunnabbi obugirimu n’engeri gy’ekwataganamu. Bw’okola bw’otyo, kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti Omutonzi atwagala era ow’amagezi, ye yatutonda era nti ye yawandiisa Bayibuli. *​—2 Tim. 3:14; 2 Peet. 1:21.

13. Waayo ekyokulabirako ekiraga amagezi agali mu Kigambo kya Katonda?

13 Bw’oba weesomesa Ekigambo kya Katonda, weetegereze amagezi ag’omuganyulo agakirimu. Ng’ekyokulabirako, dda nnyo Bayibuli yalaga nti okwagala ennyo ssente kya kabi era nti kireeta “obulumi bungi.” (1 Tim. 6:9, 10; Nge. 28:20; Mat. 6:24) Okulabula okwo kukyakola ne leero? Ekitabo ekiyitibwa The Narcissism Epidemic kigamba nti: “Okutwalira awamu, abantu abaagala ennyo eby’obugagga si basanyufu nnyo ng’abalala, era batera okufuna obulwadde bw’okwennyamira. N’abantu abaagala obwagazi okufuna essente ennyingi batera okufuna obulwadde bw’obwongo n’endwadde endala.” Mazima ddala okulabula Bayibuli kw’etuwa okukwata ku kwagala ennyo ssente kwa muganyulo nnyo! Waliwo amagezi amalala mu Bayibuli g’olabye nga ga muganyulo nnyo? Bwe tulowooza ku magezi gonna amalungi agali mu Bayibuli tukiraba nti Omutonzi waffe amanyi ebyo ebituganyula, era twongera okwesiga obulagirizi bw’atuwa. (Yak. 1:5) N’ekivaamu, tweyongera okufuna essanyu.​—Is. 48:17, 18.

14. Bw’oneesomesa Bayibuli biki by’onooyiga ku Yakuwa?

14 Weesomese Bayibuli ng’olina ekigendererwa eky’okweyongera okumanya obulungi Yakuwa. (Yok. 17:3) Bw’oba osoma Ebyawandiikibwa ojja kulaba engeri za Yakuwa era ojja kukiraba nti engeri ezo ze zimu z’olaba bw’ofumiitiriza ku bitonde. Bwe tumanya engeri za Yakuwa, kituyamba okuba abakakafu nti ddala gyali. (Kuv. 34:6, 7; Zab. 145:8, 9) Bwe weeyongera okumanya Yakuwa, weeyongera okumukkiririzaamu, okumwagala, n’okuba mukwano gwe.

15. Onooganyulwa otya bw’onoobuulirako abalala ebikwata ku Mutonzi?

15 Ebyo by’oyize ku Katonda bibuulireko abalala. Ekyo bw’onookikola okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera. Naye watya singa omuntu gw’obuulira akubuuza obanga ddala Katonda gyali naye nga tomanyi ngeri gy’oyinza kumuddamu? Noonyereza mu bitabo byaffe osobole okufuna eby’okuddamu ebyesigamiziddwa ku Bayibuli obikozese okunnyonnyola omuntu oyo. (1 Peet. 3:15) Osobola n’okusaba omubuulizi omulala alina obumanyirivu okukuyambako. Ka kibe nti oyo gw’onnyonnyola anakkiriza ebyo by’omugamba oba nedda, ggwe ojja kuganyulwa mu ebyo by’onooba onoonyerezza. Okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera. N’ekinaavaamu, tojja kutwalirizibwa ebyo ebyogerwa abo abatwalibwa okuba abagezi era abayivu abagamba nti teri Mutonzi.

KUUMA OKUKKIRIZA KWO NGA KUNYWEVU!

16. Kiki ekiyinza okubaawo singa tetweyongera kunyweza na kukuuma kukkiriza kwaffe?

16 Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tuweereza Yakuwa, tulina okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe n’okukukuuma. Kubanga bwe tuba tetwegenderezza, okukkiriza kwaffe kusobola okunafuwa. Kijjukire nti okukkiriza kwesigamiziddwa ku bukakafu obw’ebintu ebitalabika. Kyangu nnyo okwerabira ebyo bye tutasobola kulaba. Eyo ye nsonga lwaki obutaba na kukkiriza Pawulo yakuyita “ekibi ekyanguwa okutwezingako.” (Beb. 12:1) Kati olwo tuyinza tutya okwewala ekyo okututuukako?​—2 Bas. 1:3.

17. Kiki ekisobola okutuyamba okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu?

17 Okusookera ddala, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu, era ekyo tulina okukikola enfunda n’enfunda. Lwaki? Kubanga okukkiriza kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo. (Bag. 5:22, 23) Tetusobola kuzimba kukkiriza na kukukuuma nga tetulina buyambi bwa mwoyo mutukuvu. Bwe tusaba Yakuwa okutuwa omwoyo gwe omutukuvu ajja kugutuwa. (Luk. 11:13) Tusobola n’okumusaba nti: “Twongere okukkiriza.”​—Luk. 17:5.

18. Okusinziira ku Zabbuli 1:2, 3, nkizo ki gye tulina?

18 Ate era, ssaawo enteekateeka y’okwesomesa Ekigambo kya Katonda era oginywerereko. (Soma Zabbuli 1:2, 3.) Zabbuli eyo we yawandiikirwa, Abayisirayiri batono nnyo abaalina kopi z’Amateeka ga Katonda. Kyokka kabaka ne bakabona baabanga ne kopi ezo, era buli luvannyuma lwa myaka musanvu ‘abasajja, abakazi, abaana,’ n’abagwira abaali mu Isirayiri baalina okukuŋŋaananga awamu okuwuliriza ng’Amateeka ga Katonda gasomebwa. (Ma. 31:10-12) Mu kiseera kya Yesu abantu batono nnyo abaalina emizingo gy’Ebyawandiikibwa, ate emirala gyabanga mu makuŋŋaaniro. Kyokka leero abantu bangi balina Ekigambo kya Katonda mu bulambalamba oba mu bitundutundu. Mazima ddala eyo nkizo ya kitalo. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima enkizo eyo?

19. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu?

19 Tusobola okukiraga nti tusiima enkizo ey’okubeera n’Ekigambo kya Katonda nga tukisoma obutayosa. Tusaanidde okussaawo ekiseera eky’okwesomesa Bayibuli. Tetusaanidde kugisoma olwo lwokka lwe tuwulira nti tulina obudde. Bwe tunywerera ku nteekateeka yaffe ey’okwesomesa Ekigambo kya Katonda, kituyamba okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu.

20. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

20 Obutafaananako “abagezi n’abayivu” ab’omu nsi eno, ffe tulina okukkiriza okunywevu okwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda. (Mat. 11:25, 26) Olw’okuba twesomesa Ekigambo kya Katonda, tumanyi lwaki embeera yeeyongedde okwonooneka mu nsi, era n’ekyo Katonda ky’agenda okukolawo. N’olwekyo ka tube bamalirivu okunyweza okukkiriza kwaffe n’okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okukkiririza mu Mutonzi. (1 Tim. 2:3, 4) Ate era ka tweyongere okwesunga ekiseera abantu bonna mu nsi lwe balitendereza Yakuwa nga boogera ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 4:11, awagamba nti: ‘Yakuwa Katonda waffe, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna.’

OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa

^ lup. 5 Ebyawandiikibwa bikyoleka bulungi nti Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna. Naye abantu bangi ekyo tebakikkiriza. Bagamba nti obulamu bwajjawo bwokka. Ebyo bye boogera tebijja kunafuya kukkiriza kwaffe singa tufuba okunyweza okukkiriza kwe tulina mu Katonda ne mu Bayibuli. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.

^ lup. 5 Amasomero mangi tegayigiriza bikwata ku kutondebwa kw’ebintu. Abasomesa abamu bagamba nti, okuyigiriza abaana ku nsonga eyo kuba kubawaliriza kukkiriza nti eriyo Omutonzi.

^ lup. 7 Ebyo ebyayogerwa abayivu abasukka mu 60 nga mwe muli ne bannassaayansi abakkiriza nti ebintu byatondebwa, bisangibwa mu Watch Tower Publications Index. Wansi w’omutwe, “Ssaayansi,” wansi w’omutwe omutono, “Bannassaayansi Balaga Ensonga Lwaki Bakkiririza mu Kutondebwa kw’Ebintu.” Ebimu ku ebyo bye baayogera bisangibwa ne mu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Wansi w’omutwe, “Ssaayansi ne Tekinologiya,” wansi wa, “‘Okubuuza Ebibuuzo’ (Ebitundu Ebitera Okufulumira mu Zuukuka!)”

^ lup. 12 Ng’ekyokulabirako, laba ekitundu “Ssaayansi Akwatagana ne Bayibuli?” mu Awake! eya Febwali 2011, n’ekitundu “Yakuwa by’Ayogera ku Biseera eby’Omu Maaso Bituukirira” mu Watchtower eya Jjanwali 1, 2008.