Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 30

Siima Ekifo ky’Olina mu Maka ga Yakuwa

Siima Ekifo ky’Olina mu Maka ga Yakuwa

“Wamukola ng’abulako katono okuba nga bamalayika, era wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo.”​—ZAB. 8:5.

OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo

OMULAMWA *

1. Bwe tufumiitiriza ku bintu byonna Yakuwa bye yatonda, bibuuzo ki ebiyinza okutujjira?

BWE tulowooza ku mmunyeenye ennyingi ennyo Yakuwa ze yatonda mu bwengula, naffe tuyinza okuwulira nga Dawudi eyasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye wakola, nneebuuza nti, omuntu kye ki, ggwe okumulowoozaako, omwana w’omuntu kye ki, ggwe okumufaako?” (Zab. 8:3, 4) Okufaananako Dawudi, bwe tulowooza ku ky’okuba nti tuli batono nnyo bwe twegeraageranya ku mmunyeenye, kitwewuunyisa nti Yakuwa afaayo ku bantu. Kyokka, nga bwe tugenda okulaba, Yakuwa yali afaayo ku bantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, era ng’abatwala nti ba mu maka ge.

2. Kiki Yakuwa kye yali ayagala Adamu ne Kaawa bakole?

2 Adamu ne Kaawa baali baana ba Yakuwa ab’oku nsi abaasooka, era Yakuwa Kitaabwe ow’omu ggulu yali abaagala nnyo. Yali abasuubira okubaako obuvunaanyizibwa bwe batuukiriza. Yabagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo.” (Lub. 1:28) Baali ba kuzaala abaana era balabirire bulungi amaka gaabwe ku nsi. Singa baali bawulize era ne bakola ekyo Katonda kye yabagamba okukola, bo n’abaana baabwe bandisigadde nga ba mu maka ga Yakuwa emirembe gyonna.

3. Lwaki tusobola okugamba nti Adamu ne Kaawa baali baweereddwa ekifo eky’ekitiibwa mu maka ga Yakuwa?

3 Adamu ne Kaawa baalina ekifo kya kitiibwa mu maka ga Yakuwa. Mu Zabbuli 8:5, Dawudi yayogera bw’ati ku muntu Yakuwa gwe yatonda: “Wamukola ng’abulako katono okuba nga bamalayika, era wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo.” Kyo kituufu nti abantu tebaaweebwa maanyi, magezi, oba busobozi ng’ebya bamalayika. (Zab. 103:20) Wadde kiri kityo, abantu baatondebwa nga ‘babulako katono’ okuba ng’ebitonde ebyo eby’omwoyo eby’amaanyi. Ekyo kyewuunyisa nnyo! Mazima ddala Yakuwa bwe yatonda bazadde baffe abaasooka, yabawa obulamu obulungi.

4. Kiki Adamu ne Kaawa kye baafiirwa olw’okujeemera Yakuwa, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

 4 Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baafiirwa ekifo kye baalina mu maka ga Yakuwa. Kino kyaleetera bazzukulu baabwe ebizibu eby’amaanyi nga bwe tugenda okulaba mu kitundu kino. Naye ekigendererwa Yakuwa kye yalina mu kutonda abantu tekikyukanga. Ayagala abantu abawulize okuba abaana be emirembe gyonna. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’akirazeemu nti atutwala nti tuli ba muwendo gy’ali. Ate era tugenda kulaba ekyo kye tusobola okukola kati okulaga nti twagala okubeera ab’omu maka ga Yakuwa. Oluvannyuma tugenda kulaba emikisa egy’olubeerera abaana ba Yakuwa ab’oku nsi gye bajja okufuna.

YAKUWA YAWA ABANTU EKITIIBWA

Yakuwa awadde atya abantu ekitiibwa? (Laba akatundu 5-11) *

5. Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima Yakuwa olw’okututonda nga tusobola okwoleka engeri ng’ezize?

5 Yakuwa yatuwa ekitiibwa bwe yatutonda mu kifaananyi kye. (Lub. 1:26, 27) Olw’okuba twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, tusobola okukulaakulanya n’okwoleka engeri ze ennungi, gamba ng’okwagala, obusaasizi, obwesigwa, n’obutuukirivu. (Zab. 86:15; 145:17) Bwe tukulaakulanya engeri ezo, tuweesa Yakuwa ekitiibwa era tuba tukiraga nti tumusiima olw’ebyo bye yatukolera. (1 Peet. 1:14-16) Bwe tweyisa mu ngeri esanyusa Kitaffe ow’omu ggulu, tuba basanyufu era tuba bamativu. Olw’okuba Yakuwa yatutonda mu kifaananyi kye, tusobola okuba abantu b’ayagala okubeera mu maka ge.

6. Yakuwa bwe yatonda ensi yawa atya abantu ekitiibwa?

6 Yakuwa yatuteekerateekera ekifo ekirungi ennyo eky’okubeeramu. Yakuwa yasooka n’ateekateeka bulungi ensi nga tannatonda muntu eyasooka. (Yob. 38:4-6; Yer. 10:12) Olw’okuba Yakuwa afaayo nnyo era mugabi, yatuwa ebintu ebirungi bingi tusobole okuba abasanyufu. (Zab. 104:14, 15, 24) Ebiseera ebimu yalowoozanga ku bintu bye yabanga akoze era n’alaba nga ‘birungi.’ (Lub. 1:10, 12, 31) Yawa abantu ekitiibwa bwe yabawa obuyinza okufuga ebintu byonna ebirungi bye yatonda ku nsi. (Zab. 8:6) Ekigendererwa kya Katonda kiri nti abantu abatuukiridde bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna nga balabirira ebintu ebirungi bye yatonda. Weebaza Yakuwa obutayosa olw’ekintu ekyo ekirungi ky’atusuubizza?

7. Yoswa 24:15 walaga watya nti abantu balina eddembe ery’okwesalirawo?

7 Yakuwa yatuwa eddembe ery’okwesalirawo. Tusobola okusalawo engeri gye twagala okutambuzaamu obulamu bwaffe. (Soma Yoswa 24:15.) Katonda waffe atwagala asanyuka nnyo bwe tusalawo okumuweereza. (Zab. 84:11; Nge. 27:11) Tusobola okukozesa obulungi eddembe lye tulina ery’okwesalirawo. Ka tulabe ekyokulabirako Yesu kye yassaawo.

8. Engeri emu Yesu gye yakozesaamu eddembe lye ery’okwesalirawo y’eruwa?

8 Bwe tukoppa Yesu, tusobola okusalawo okukulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe. Lumu Yesu n’abatume be bwe baali bakooye nnyo, baasalawo okugenda mu kifo eteri bantu nga baagala okuwummulako. Naye ekyo tekyasoboka. Abantu baabasookayo nga baagala Yesu abayigirize. Yesu teyanyiigira bantu abo. Mu kifo ky’ekyo, yabasaasira. Kiki kye yakola? Yatandika “okubayigiriza ebintu bingi.” (Mak. 6:30-34) Bwe tukoppa Yesu nga tuwaayo ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okuyamba abalala, tuweesa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa. (Mat. 5:14-16) Ate era tuba tulaga Yakuwa nti twagala okuba ab’omu maka ge.

9. Kiki abazadde kye basaanidde okujjukiranga?

9 Yakuwa yawa abantu obusobozi bw’okuzaala abaana n’obuvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana abo okumwagala n’okumuweereza. Bw’oba ng’oli muzadde, osiima ekirabo kyo eky’omuwendo? Wadde nga Yakuwa yawa bamalayika obusobozi bungi, teyabawa nkizo ya kuzaala baana. Ekyo abazadde bwe bakijjukira, basaanidde okutwala enkizo gye balina nga ya muwendo nnyo. Abazadde Katonda yabawa obuvunaanyizibwa okukuliza abaana baabwe “mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.” (Bef. 6:4; Ma. 6:5-7; Zab. 127:3) Ekibiina kya Yakuwa kifulumizza ebintu bingi ebyesigamiziddwa ku Bayibuli, gamba ng’ebitabo, vidiyo, ennyimba, n’ebintu ebirala bingi ku jw.org okusobola okuyamba abazadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Kyeyoleka lwatu nti Kitaffe ow’omu ggulu n’Omwana we batwala abaana abato nga ba muwendo. (Luk. 18:15-17) Abazadde bwe beesiga Yakuwa era ne bakola kyonna kye basobola okulabirira abaana baabwe, kisanyusa Yakuwa. Era abazadde abo bayamba abaana baabwe okuba n’essuubi ery’okuba abamu ku b’omu maka ga Yakuwa emirembe gyonna!

10-11. Kiki Yakuwa ky’asobozesezza okubaawo okuyitira mu kinunulo?

10 Yakuwa yawaayo Omwana we gw’asinga okwagala ku lwaffe tusobole okuddamu okubeera ab’omu maka ge. Nga bwe kyogeddwako mu  katundu 4, Adamu ne Kaawa baafiirwa ekifo kye baalina mu maka ga Yakuwa era ne bakifiiriza n’abaana baabwe. (Bar. 5:12) Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda mu bugenderevu era baali balina okugobebwa mu maka ge. Naye ate bo abaana baabwe? Olw’okuba Yakuwa ayagala nnyo abantu, yakola enteekateeka abaana ba Adamu ne Kaawa abawulize basobole okuba ab’omu maka ge. Ekyo yakikola ng’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo, okufiirira abantu. (Yok. 3:16; Bar. 5:19) Olwa ssaddaaka ya Yesu eyaweebwayo, abantu abeesigwa 144,000, baafuuka baana ba Katonda.​—Bar. 8:15-17; Kub. 14:1.

11 Ate era abantu abalala bukadde na bukadde abeesigwa bakola Katonda by’ayagala. Balina essuubi ery’okufuuka abaana be mu bujjuvu oluvannyuma lw’okugezesebwa okusembayo ku nkomerero y’Emyaka Olukumi. (Zab. 25:14; Bar. 8:20, 21) Olw’okuba balina essuubi eryo, ne mu kiseera kino Yakuwa Omutonzi waabwe bamutwala nga ‘Kitaabwe.’ (Mat. 6:9) Ate abo abanaazuukizibwa nabo bajja kuweebwa akakisa okuyiga ebyo Yakuwa by’abeetaagisa. Abo abanaakolera ku bulagirizi bwe nabo bajja kufuuka baana be.

12. Kibuuzo ki ekigenda okuddibwamu?

12 Nga bwe tulabye, Yakuwa alina by’akozeewo okulaga nti abantu abatwala nga ba muwendo. Abaafukibwako amafuta yabafuula baana be, ate ‘ab’ekibiina ekinene’ abawadde essuubi ery’okufuuka abaana be mu bujjuvu mu nsi empya. (Kub. 7:9) Kiki kye tusobola okukola mu kiseera kino okulaga Yakuwa nti twagala okuba ab’omu maka ge emirembe gyonna?

LAGA YAKUWA NTI OYAGALA OKUBEERA MU MAKA GE

13. Okusinziira ku Makko 12:30, kiki kye tulina okukola okusobola okuba ab’omu maka ga Yakuwa?

13 Kirage nti oyagala Yakuwa ng’omuweereza n’omutima gwo gwonna. (Soma Makko 12:30.) Mu bintu byonna ebirungi Katonda bye yatuwa, enkizo ey’okumusinza y’emu ku bisingayo obulungi. Tulaga Yakuwa nti tumwagala nga tukwata “ebiragiro bye.” (1 Yok. 5:3) Ekimu ku biragiro Yakuwa ky’ayagala tukwate ky’ekyo Yesu kye yatuwa, eky’okufuula abantu abayigirizwa nga tubabatiza. (Mat. 28:19) Ate era Yesu yatulagira okwagalana. (Yok. 13:35) Yakuwa asembeza abo abagondera ebiragiro bye mu kitundu eky’oku nsi eky’ab’omu maka ge abamusinza.​—Zab. 15:1, 2.

14. Tuyinza tutya okulaga abalala okwagala? (Matayo 9:36-38; Abaruumi 12:10)

14 Laga abalala okwagala. Okwagala ye ngeri ya Yakuwa esinga obukulu. (1 Yok. 4:8) Yakuwa yatulaga okwagala nga tetunnaba na kumumanya. (1 Yok. 4:9, 10) Bwe tulaga abalala okwagala tuba tumukoppa. (Bef. 5:1) Emu ku ngeri esingayo gye tuyinza okulagamu abalala okwagala kwe kubayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa ng’ekiseera kikyaliwo. (Soma Matayo 9:36-38.) Bwe tukola tutyo, tuba tubawa akakisa okumanya kye bateekeddwa okukola okusobola okuba ab’omu maka ga Yakuwa. Omuntu bw’amala okubatizibwa, tulina okweyongera okumwagala n’okumussaamu ekitiibwa. (1 Yok. 4:20, 21) Ekyo kizingiramu ki? Tulina okumwesiga nti alina ebiruubirirwa ebirungi. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba nga tetutegedde nsonga lwaki akoze ekintu ekimu, tetusaanidde kukitwala nti akikoze olw’ekigendererwa ekikyamu. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okuwa muganda waffe oyo ekitiibwa, nga tukitwala nti atusinga.​—Soma Abaruumi 12:10; Baf. 2:3.

15. Baani be tusaanidde okulaga ekisa n’obusaasizi?

15 Laga abantu bonna ekisa n’obusaasizi. Bwe tuba nga twagala okuba ab’omu maka ga Yakuwa emirembe gyonna, tulina okukolera ku Kigambo kye. Ng’ekyokulabirako, Yesu yatuyigiriza nti tulina okulaga abantu bonna ekisa n’obusaasizi nga mw’otwalidde n’abalabe baffe. (Luk. 6:32-36) Ekyo oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu. Bwe kiba kityo, tulina okuyiga okulowooza n’okweyisa nga Yesu. Bwe tukola kyonna kye tusobola okugondera Yakuwa n’okukoppa Yesu, tuba tulaga Kitaffe ow’omu ggulu nti twagala okubeera ab’omu maka ge emirembe gyonna.

16. Tuyinza tutya okwewala okuvumaganya amaka ga Yakuwa?

16 Weewale okuvumaganya amaka ga Yakuwa. Mu maka, kya bulijjo omwana omuto okukoppa mukulu we. Singa omwana omukulu akolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwe, aba kyakulabirako kirungi eri muto we. Omwana omukulu bw’atandika okukola ebintu ebibi, muto we ayinza okumukoppa. Bwe kityo bwe kiri ne mu maka ga Yakuwa. Omukristaayo abadde omwesigwa bw’afuuka kyewaggula oba bwatandika okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu oba ebintu ebirala ebibi, abalala bayinza okusendebwasendebwa okumwegattako. Abo abeenyigira mu bikolwa ng’ebyo bavumaganya amaka ga Yakuwa. (1 Bas. 4:3-8) Tusaanidde okwewala okukoppa empisa z’abo abeeyisa obubi, era tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuggya ku Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo.

17. Ndowooza ki gye tusaanidde okwewala, era lwaki?

17 Weesige Yakuwa mu kifo ky’okwesiga eby’obugagga. Yakuwa asuubiza nti ajja kutuwa emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula singa tusooka okunoonya Obwakabaka bwe era ne tutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu. (Zab. 55:22; Mat. 6:33) Ekyo bwe tukijjukira, tetujja kulowooza nti eby’obugagga eby’omu nsi eno bisobola okutuwa obukuumi n’essanyu ery’olubeerera. Tukimanyi nti okukola Katonda by’ayagala kye kyokka ekitusobozesa okuba n’emirembe egya nnamaddala. (Baf. 4:6, 7) Ne bwe tuba nga tulina obusobozi obw’okugula ebintu ebingi, tusaanidde okusooka okufumiitiriza obanga ddala tunaaba n’ebiseera n’amaanyi okulabirira ebintu ebyo. Kyandiba nti eby’obugagga tubitwala nga bikulu nnyo mu bulamu bwaffe? Tusaanidde okukijjukira nti Katonda yawa ab’omu maka ge omulimu ogw’okukola era atusuubira okukola omulimu ogwo. N’olwekyo tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuwugula. Tetwagala kuba ng’omusajja omugagga eyagaana enkizo ey’okuweereza Yakuwa n’okufuuka omu ku baana be, olw’okuba yali ayagala nnyo ebintu bye yalina!​—Mak. 10:17-22.

EMIKISA ABAANA BA YAKUWA GYE BAJJA OKUFUNA

18. Nkizo ki ey’ekitalo era mikisa ki abantu abawulize gye bajja okufuna?

18 Abantu abawulize bajja kufuna enkizo esinga zonna, ey’okwagala Yakuwa n’okumusinza emirembe gyonna! Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi era bajja kufuna essanyu nga balabirira ensi Yakuwa gye yabawa okubeeramu. Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzza buggya ensi ne byonna ebigiriko. Yesu ajja kuggyawo bintu byonna ebibi ebyajjawo olwa Adamu ne Kaawa okusalawo okuva mu maka ga Yakuwa. Yakuwa ajja kuzuukiza abantu bukadde na bukadde abawe akakisa okubaawo emirembe gyonna nga balamu bulungi mu nsi eneeba efuuliddwa olusuku lwe. (Luk. 23:42, 43) Abaana ba Yakuwa ab’oku nsi bwe banaafuuka abatuukiridde, buli omu ku bo ajja kwoleka “ekitiibwa n’ettendo” Dawudi bye yayogerako.​—Zab. 8:5.

19. Biki bye tusaanidde okukuumira mu birowoozo?

19 Bw’oba ng’oli omu ku ‘b’ekibiina ekinene,’ olina essuubi ery’ekitalo. Katonda akwagala era ayagala obeere mu maka ge. N’olwekyo, fuba nga bw’osobola okukola ebimusanyusa. Buli lunaku fumiitirizanga ku bisuubizo bya Yakuwa. Siima enkizo gy’olina ey’okusinza Kitaffe ow’omu ggulu atwagala, era essuubi ery’okumutendereza emirembe gyonna litwale nga lya muwendo nnyo!

OLUYIMBA 107 Ekyokulabirako kya Katonda eky’Okwagala

^ lup. 5 Amaka okusobola okubaamu essanyu, buli omu agalimu alina okumanya ekyo ekimusuubirwamu era alina okukolagana obulungi n’abalala abagalimu. Taata alina okukulembera ab’omu maka ge mu ngeri ey’okwagala, maama alina okumuyambako, ate abaana balina okuba nga bagondera bazadde baabwe. Ekyo bwe kityo bwe kiri ne mu maka ga Yakuwa. Katonda waffe yatutonda ng’alina ekigendererwa, era bwe tukola ebyo by’ayagala okusobola okutuukana n’ekigendererwa kye, tujja kuba ba mu maka ge emirembe gyonna.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: OIw’okuba baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, omwami n’omukyala balagaŋŋana okwagala n’obusaasizi era babiraga n’abaana baabwe. Ate era baagala nnyo Yakuwa. Olw’okuba basiima ekirabo eky’okuba n’abaana, bafuba okuyamba abaana baabwe okwagala Yakuwa n’okumuweereza. Abazadde abo bakozesa vidiyo okunnyonnyola abaana baabwe ensonga lwaki Yakuwa yawaayo ekinunulo. Ate era babayigiriza nti mu lusuku lwa Katonda tujja kulabirira ensi n’ebisolo emirembe gyonna.