Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 32

Abavubuka—Mweyongere Okukulaakulana mu by’Omwoyo Oluvannyuma lw’Okubatizibwa

Abavubuka—Mweyongere Okukulaakulana mu by’Omwoyo Oluvannyuma lw’Okubatizibwa

“Ka tukule mu bintu byonna . . . nga tuyitira mu kwagala.”​—BEF. 4:15.

OLUYIMBA 56 Nyweza Amazima

OMULAMWA *

1. Bintu ki ebirungi abavubuka bangi bye batuuseeko?

 BULI mwaka, abavubuka bikumi na bikumi babatizibwa. Naawe wabatizibwa? Bwe kiba bwe kityo, ekyo kyasanyusa nnyo bakkiriza banno, era ne Yakuwa kyamusanyusa nnyo! (Nge. 27:11) Lowooza ku bintu ebirungi by’otuuseeko! Ng’ekyokulabirako, osomye Bayibuli oboolyawo okumala emyaka egiwera. Ebyo by’osomye bikukakasizza nti Bayibuli Kigambo kya Katonda. N’ekisinga byonna, osobodde okumanya era n’okwagala oyo eyawandiisa ekitabo ekyo ekitukuvu. Okwagala kw’olina eri Yakuwa bwe kwagenda kweyongera, kyakuleetera okwewaayo gy’ali n’okubatizibwa. Ekyo kye wasalawo kirungi nnyo.

2. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

 2 Awatali kubuusabuusa, okukkiriza kwo kwagezesebwa mu ngeri ezitali zimu nga tonnabatizibwa. Ate era bw’oneeyongera okukula, ojja kufuna ebigezo ebirala. Sitaani ajja kugezaako okunafuya okukkiriza kwo ng’ayagala olekere awo okwagala Yakuwa n’okumuweereza. (Bef. 4:14) Ekyo tosaanidde kukikkiriza kubaawo. Kiki ekinaakuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa era n’okutuukiriza obweyamo bwe wakola nga weewaayo gy’ali? Osaanidde okweyongera “okukula” mu by’omwoyo. (Beb. 6:1) Ekyo oyinza kukikola otya? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu kino.

EBINAAKUYAMBA OKUBA OMUKRISTAAYO OMUKULU MU BY’OMWOYO

3. Kiki Abakristaayo bonna kye balina okukola oluvannyuma lw’okubatizibwa?

3 Oluvannyuma lw’okubatizibwa, ffenna kiba kitwetaagisa okukolera ku magezi omutume Pawulo ge yawa Abakristaayo ab’omu Efeso. Yabakubiriza okufuuka Abakristaayo ‘abakulu.’ (Bef. 4:13) Mu ngeri endala yabagamba nti, ‘Mweyongere okukulaakulana mu by’omwoyo.’ Tusobola okutegeera ekyo omutume Pawulo kye yali ategeeza bwe yageraageranya okukulaakulana mu by’omwoyo ku ngeri omwana gy’akulamu. Omwana bw’azaalibwa kisanyusa nnyo bazadde be. Naye omwana oyo tasobola kusigala nga muto obulamu bwe bwonna. Oluvannyuma lw’ekiseera, aba alina okulekayo “engeri ez’ekito.” (1 Kol. 13:11) Bwe kityo bwe kiri eri Abakristaayo. Oluvannyuma lw’okubatizibwa, tulina okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Ka tulabe engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.

4. Kiki ekisobola okukuyamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo? Nnyonnyola. (Abafiripi 1:9)

4 Weeyongere okwagala Yakuwa. Oyinza okuba ng’oyagala nnyo Yakuwa. Naye okwagala okwo kusobola okweyongera. Mu ngeri ki? Omutume Pawulo yayogera ku ngeri emu gye tuyinza okukikolamu mu Abafiripi 1:9. (Soma.) Yasaba nti ‘okwagala kw’Abafiripi kweyongere.’ N’olwekyo, okwagala kwaffe eri Yakuwa kusobola okweyongera. Ekyo tusobola okukikola nga nga tweyongera okufuna “okumanya okutuufu era n’okutegeera mu bujjuvu” ebyo Yakuwa by’ayagala. Gye tukoma okumanya Yakuwa, gye tukoma okumwagala, era n’okusiima engeri ze awamu n’engeri gy’akolamu ebintu. Tweyongera okwagala okumusanyusa, era n’okwewala okukola ekintu kyonna ekimunyiiza. Tufuba okumanya ebyo by’ayagala tukole, era n’engeri gye tuyinza okubikolamu.

5-6. Kiki ekinaatuyamba okweyongera okwagala Yakuwa? Nnyonnyola.

5 Tusobola okweyongera okukulaakulanya okwagala kwe tulina eri Yakuwa, nga tweyongera okumanya Omwana we, oyo eyayolekera ddala mu bujjuvu engeri za Kitaawe. (Beb. 1:3) Engeri esinga gye tuyinza okumanyaamu Yesu, kwe kusoma ebitabo ebina eby’Enjiri. Bw’oba ng’obadde tonneeteerawo nteekateeka ya kusoma Bayibuli buli lunaku, osobola okutandika kati, ng’otandikira ku ebyo ebikwata ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe ku nsi. Bw’oba osoma ebikwata ku Yesu, weetegereze engeri ze yayoleka. Yali atuukirikika era ng’afaayo ne ku baana abato. (Mak. 10:13-16) Abayigirizwa be bwe baabanga waali, tebaabanga ku bunkenke era tebaatyanga kumubuulira bibali ku mutima. (Mat. 16:22) Engeri ezo Yesu yazikoppa ku Kitaawe ow’omu ggulu. Yakuwa naye atuukirikika. Tusobola okumutuukirira mu kusaba, era tusobola okumubuulira byonna ebituli ku mutima. Tuli bakakafu nti tajja kugaana kutuwuliriza, kubanga atwagala nnyo era atufaako.​—1 Peet. 5:7.

6 Yesu yasaasiranga abantu. Omutume Matayo yagamba nti: “Bwe yalaba ekibiina ky’abantu n’abasaasira, kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Ate ye Yakuwa atwala atya abantu? Yesu yagamba nti: “Ne Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.” (Mat. 18:14) Ekyo nga kizzaamu nnyo amaanyi! Bwe tweyongera okumanya Yesu, n’okwagala kwe tulina eri Yakuwa kweyongera.

7. Okubeerako awamu n’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo kiyinza kukuyamba kitya?

7 Ate era osobola okweyongera okukulaakulanya okwagala era n’okukulaakulana mu by’omwoyo nga weeyongera okumanya bakkiriza banno abakulu mu by’omwoyo abali mu kibiina kyo. Weetegereze engeri gye bali abasanyufu. Baasalawo okuweereza Yakuwa, era tebejjusa. Basabe bakubuulire ebimu ku ebyo bye bayiseemu mu buweereza bwabwe eri Yakuwa. Bw’oba olina ekintu ekikulu ky’oyagala okusalawo, basabe bakuwe ku magezi. Bayibuli egamba nti: “Awali abawi b’amagezi abangi ebintu bitambula bulungi.”​—Nge. 11:14.

Oyinza otya okweteekateeka okuwa obujulirwa ku ssomero nga bayigirizza nti ebintu byajja bifuukafuuka? (Laba akatundu 8-9)

8. Kiki ky’osobola okukola bw’oba ng’obuusabuusa ebyo Bayibuli by’eyigiriza?

8 Weggyeemu okubuusabuusa. Nga bwe tulabye mu  katundu ak’okubiri, Sitaani ajja kugezaako okukulemesa okukulaakulana mu by’omwoyo. Engeri emu gy’ayinza okukikolamu, kwe kukuleetera okubuusabuusa ezimu ku njigiriza za Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu bayinza okugezaako okukuleetera okukkiriza nti ebintu tebyatondebwa, wabula nti byajjawo byokka. Bwe wali okyali muto oyinza okuba nga tewalowooza nnyo ku nsonga eyo, naye kati ku ssomero oyinza okuba ng’oyigirizibwa nti ebintu tebyatondebwa. Ebyo abasomesa bo bye boogera ku njigiriza eyo biyinza okulabika ng’ebikola amakulu. Kyokka bayinza okuba nga tebawangayo budde kwekenneenya bukakafu obulaga nti eriyo Omutonzi. Lowooza ku musingi oguli mu Engero 18:17, awagamba nti: “Asooka okwanja ensonga ze alabika ng’omutuufu, okutuusa omulala lw’ajja n’amusoya ebibuuzo awe obukakafu.” Mu kifo ky’okumala gakkiriza ebyo by’oyigirizibwa ku ssomero, era n’okubitwala nti bituufu, weekenneenye amazima agali mu Kigambo kya Katonda. Noonyereza mu bitabo byaffe. Yogerako n’ab’oluganda abaali bakkiririza mu njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa. Babuuze ekyabakakasa nti eriyo Omutonzi atwagala. Ekyo kisobola okukuyamba okuba omukakafu nti eriyo Omutonzi.

9. Kiki ky’oyigidde ku Melissa?

9 Mwannyinaffe ayitibwa Melissa yaganyulwa nnyo bwe yanoonyereza ebikwata ku kutondebwa kw’ebintu. * Agamba nti: “Ku ssomero, enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa ennyonnyolwa mu ngeri erabika ng’entuufu. Mu kusooka nnali saagala kunoonyereza ku njigiriza eyo kubanga nnali ntya nti nnyinza okukizuula nti ntuufu. Naye nnakijjukira nti Yakuwa tayagala tumale gamukkiririzaamu, wabula ayagala tube n’ensonga entuufu lwaki tumukkiririzaamu. Bwe kityo nnasalawo okunoonyereza ku njigiriza eyo. Nnasoma obutabo Is There a Creator Who Cares About You?, Was Life Created?, ne The Origin of Life​—Five Questions Worth Asking. Bye nnazuula mu butabo obwo bye nnali nneetaagira ddala.”

10-11. Kiki ekinaakuyamba okwewala okwenyigira mu bikolwa ebibi? (1 Abassessalonika 4:3, 4)

10 Weewale ebikolwa ebibi. Mu kiseera ekya kaabuvubuka, okwegomba okw’okwegatta kuyinza okuba okw’amaanyi ennyo, era oyinza okupikirizibwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Sitaani ayagala weenyigire mu bikolwa ebyo. Kiki ekinaakuyamba okubyewala? (Soma 1 Abassessalonika 4:3, 4.) Bw’oba osaba Yakuwa, mubuulire engeri yennyini gy’owuliramu era omusabe akuyambe okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali. (Mat. 6:13) Kijjukire nti Yakuwa ayagala kukuyamba, so si kukusalira musango. (Zab. 103:13, 14) Ate era bw’onoosoma Ekigambo kya Katonda, kijja kukuyamba. Melissa, ayogeddwako waggulu naye yafuba nnyo okulwanyisa ebirowoozo ebibi. Agamba nti: “Okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku kyannyamba nnyo. Kyanzijukizanga nti ndi muweereza wa Yakuwa, era nti nnina okusigala nga ndi mwesigwa gy’ali.”​—Zab. 119:9.

11 Bw’oba olina okusoomooza kw’oyolekagana nakwo togezaako kukugonjoola wekka. Yogerako ne bazadde bo bakuyambe. Kyo kituufu nti si kyangu kwogera na balala ku nsonga ez’omunda ezikukwatako, naye kikulu nnyo okukikola. Melissa agamba nti: “Nnasaba Yakuwa ampe obuvumu era oluvannyuma nnayogera ne taata wange ku kizibu kye nnalina. Oluvannyuma lw’okwogerako naye, nnawulira obuweerero obw’amaanyi. Nnali nkimanyi nti ekyo kye nnakola kyasanyusa nnyo Yakuwa.”

12. Kiki ekinaakuyamba okusalawo obulungi?

12 Kolera ku misingi egiri mu Bayibuli. Bw’oneeyongera okukula, bazadde bo bajja kukukkiriza okwesalirawo ku nsonga ezitali zimu. Naye mu kiseera kino oyinza okuba nga tonnaba kufuna bumanyirivu okusobola okwesalirawo. Oyinza otya okwewala okukola ensobi eyinza okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa? (Nge. 22:3) Mwannyinaffe ayitibwa Kari alaga ekyamuyamba okusalawo obulungi. Yayiga nti Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo tebeetaaga tteeka ku buli nsonga yonna. Agamba nti: “Nnali nneetaaga okutegeera emisingi gya Bayibuli, mu kifo ky’okugoberera obugoberezi amateeka.” Bw’oba osoma Bayibuli weebuuze nti: ‘Bino bye nsoma biraga bitya endowooza ya Yakuwa ku nsonga eno? Birimu emisingi egisobola okunnyamba okukola ekituufu? Bwe kiba bwe kityo nnaaganyulwa ntya bwe nnaakolera ku misingi egyo?’ (Zab. 19:7; Is. 48:17, 18) Bw’onoosoma Bayibuli era n’ofumiitiriza ku misingi egirimu, kijja kukuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. Bw’oneeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, ojja kukizuula nti teweetaaga tteeka okusobola okusalawo ku buli nsonga. Ojja kuba otegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga ezitali zimu.

Mikwano gya ngeri ki mwannyinaffe omuvubuka gye yalonda? (Laba akatundu 13)

13. Bw’oba n’emikwano emirungi kikuganyula kitya? (Engero 13:20)

13 Abo abaagala Yakuwa b’oba ofuula mikwano gyo. Nga bwe tulabye, bw’oba ow’okukulaakulana mu by’omwoyo, mikwano gyo girina kinene nnyo kye gikola. (Soma Engero 13:20.) Mwannyinaffe ayitibwa Sara yali atandise okuwulira nga si musanyufu. Naye waliwo ekyabaawo ekyamuyamba ennyo. Agamba nti: “Nnafuna emikwano emirungi mu kiseera ekituufu. Waliwo mukwano gwange gwe nnasisinkananga naye buli wiiki ne tusoma Omunaala gw’Omukuumi. Mukwano gwange omulala yannyamba okutandika okubaako bye nziramu mu nkuŋŋaana. Mikwano gyange abo bannyamba okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa era n’okusabanga. Nnaddamu okuwulira nga nnina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era nnafuna essanyu.”

14. Julien yafuna atya emikwano emirungi?

14 Oyinza otya okufuna emikwano emirungi? Julien, kati aweereza ng’omukadde mu kibiina agamba nti: “Bwe nnali omuto, nnafuna emikwano emirungi mu abo be nnabuuliranga nabo. Mikwano gyange abo baali banyiikivu, era bannyamba okunyumirwa obuweereza. Bannyamba okuba n’ekiruubirirwa eky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Ate era nnakiraba nti okuba n’emikwano nga ba myaka gyange bokka, kyali kinnemesa okufuna emikwano emirala emirungi. Oluvannyuma bwe nnagenda ku Beseri, nayo nnafunayo emikwano emirungi. Ekyokulabirako kyabwe kyannyamba okulonda eby’okwesanyusaamu ebisaana, era n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.”

15. Kulabula ki okukwata ku mikwano Pawulo kwe yawa Timoseewo? (2 Timoseewo 2:20-22)

15 Watya singa okiraba nti omu ku mikwano gyo mu kibiina ayinza okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa? Pawulo yali akimanyi nti abamu mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka baali tebeeyisa bulungi. N’olwekyo yakubiriza Timoseewo obutabafuula mikwano gye. (Soma 2 Timoseewo 2:20-22.) Enkolagana yaffe ne Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, ya muwendo nnyo. Tetwagala muntu yenna kwonoona nkolagana eyo.​—Zab. 26:4.

OKWETEERAWO EBIRUUBIRIRWA KIYINZA KITYA OKUKUYAMBA OKUKULAAKULANA MU BY’OMWOYO?

16. Biruubirirwa ki eby’omwoyo by’oyinza okweteerawo?

16 Weeteerewo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Weeteerewo ebiruubirirwa ebinaakuyamba okunyweza okukkiriza kwo era n’okukula mu by’omwoyo. (Bef. 3:16) Ng’ekyokulabirako, oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okwesomesa, n’okusoma Bayibuli obutayosa. (Zab. 1:2, 3) Oba oyinza okwongera ku mirundi gy’osaba, n’okulongoosa mu ngeri gy’osabamu. Oboolyawo kiyinza okukwetaagisa okwongera okwegendereza ng’olonda eby’okwesanyusaamu, era n’okukozesa obulungi ebiseera byo. (Bef. 5:15, 16) Yakuwa bw’anaalaba ng’ofuba okukulaakulana mu by’omwoyo, kijja kumusanyusa nnyo.

Kiruubirirwa ki mwannyinaffe ono omuvubuka kye yeeteerawo? (Laba akatundu 17)

17. Onooganyulwa otya bw’onooyamba abalala?

17 Okuyamba abalala nakyo kisobola okukuyamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Ojja kuganyulwa nnyo bw’onookozesa amaanyi go n’ebiseera byo okuyamba abalala. Ng’ekyokulabirako, osobola okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuyamba bannamukadde n’abo abaliko obulemu abali mu kibiina kyo. Oboolyawo osobola okubayambako okugula ebintu, oba okuyiga okukozesa essimu zaabwe oba tabbuleeti. Bw’oba ng’oli wa luganda, oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okufuuka omuweereza mu kibiina, osobole okuweereza bakkiriza bano. (Baf. 2:4) Ate era osobola okulaga abantu abalala okwagala ng’obabuulirako amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Mat. 9:36, 37) Bwe kiba kisoboka, weeteerewo ekiruubirirwa eky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.

18. Obuweereza obw’ekiseera kyonna buyinza butya okukuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo?

18 Obuweereza obw’ekiseera kyonna busobola okukuyamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Bw’oweereza nga payoniya owa bulijjo osobola okufuna akakisa okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Ate era osobola okugenda okuweereza ku Beseri oba okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Mwannyinaffe omuvubuka ayitibwa Kaitlyn aweereza nga payoniya agamba nti: “Okubuuliranga n’ab’oluganda ne bannyinaffe abalina obumanyirivu kyannyamba nnyo okukulaakulana mu by’omwoyo oluvannyuma lw’okubatizibwa. Ekyokulabirako kyabwe kyannyamba okweyongera okwesomesa, n’okulongoosa mu ngeri gye njigirizaamu.”

19. Mikisa ki gy’onoofuna bw’oneeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo?

19 Bw’oneeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, ojja kufuna emikisa mingi. Ojja kwewala okuba ng’abo aboonoona emyaka gyabwe egy’obuvubuka nga baluubirira ebintu ebitaliimu. (1 Yok. 2:17) Ojja kwewala ebizibu ebiva mu kusalawo obubi. Mu kifo ky’ekyo, ojja kufuna essanyu erya nnamaddala. (Nge. 16:3) Ekyokulabirako kyo ekirungi kijja kuzzaamu bakkiriza banno abato n’abakulu amaanyi. (1 Tim. 4:12) N’ekisinga obukulu, ojja kufuna emirembe egiva mu ku kukola Yakuwa by’ayagala n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye.​—Nge. 23:15, 16.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

^ Abavubuka bwe babatizibwa kisanyusa nnyo abaweereza ba Yakuwa bonna. Kyokka oluvannyuma lw’okubatizibwa, baba balina okufuba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Ekitundu kino kigenda kulaga engeri abavubuka abaakabatizibwa gye bayinza okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, era ffenna mu kibiina tujja kukiganyulwamu.

^ Amannya agamu gakyusiddwa.