Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 35

“Muzimbaganenga”

“Muzimbaganenga”

“Muzziŋŋanengamu amaanyi era muzimbaganenga.”​—1 BAS. 5:11.

OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi

OMULAMWA *

1. Okusinziira ku 1 Abassessalonika 5:11, mulimu ki ffenna gwe twenyigiramu?

 EKIBIINA kyo kyali kizimbyeko oba kyali kiddaabirizzaako Ekizimbe ky’Obwakabaka? Bwe kiba kityo, oyinza okuba ng’okyajjukira olunaku lwe mwasooka okukuŋŋaanira mu kizimbe ekyo. Wasiima nnyo Yakuwa. Oyinza okuba ng’essanyu lyakuyitirirako ne kiba nti kaabula kata olemererwe okuyimba oluyimba olusooka. Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka bireetera Yakuwa ettendo. Kyokka tuleetera Yakuwa ettendo erisingawo bwe twenyigira mu mulimu omulala ogw’okuzimba. Omulimu ogwo gukwata ku kintu eky’omuwendo ennyo okusinga ebizimbe. Gukwata ku kuzimba abantu abajja mu bifo bye tusinzizaamu. Omutume Pawulo yalina mu birowoozo okuzimba okwo okw’akabonero bwe yawandiika ebigambo ebiri mu 1 Abassessalonika 5:11, era nga kye kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino.​—Soma.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Omutume Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kuzimba bakkiriza banne. Yali abalumirirwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye yayambamu bakkiriza banne (1) okugumira ebizibu, (2) buli omu okuba mu mirembe ne munne, ne (3) okweyongera okunyweza okukkiriza kwabwe. Ka tulabe engeri gye tuyinza okumukoppamu, naffe tusobole okuzimba bakkiriza bannaffe leero.​—1 Kol. 11:1.

PAWULO YAYAMBA BAKKIRIZA BANNE OKUGUMIRA EBIZIBU

3. Ndowooza ki etagudde lubege Pawulo gye yalina?

3 Pawulo yali ayagala nnyo bakkiriza banne. Olw’okuba yayita mu bizibu eby’amaanyi, yali asobola okwessa mu bigere byabwe n’okubasaasira nga boolekagana n’ebizibu. Lumu ssente zaamuggwaako ne kiba nti yalina okufuna omulimu ogwandimuyambye okweyimirizaawo ne banne be yatambulanga nabo. (Bik. 20:34) Omulimu gwe yafuna gwali gwa kukola weema. Bwe yatuuka mu Kkolinso, mu kusooka yakolera wamu ne Akula ne Pulisikira omulimu ogwo. Naye ku “buli ssabbiiti” yabuuliranga Abayudaaya n’Abayonaani. Siira ne Timoseewo bwe bajja, “yeemalira ku kubuulira ekigambo.” (Bik. 18:2-5) Pawulo teyeerabira mulimu ogusinga obukulu gwe yalina okukola, ogw’okuweereza Yakuwa. Olw’okuba Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kukola n’obunyiikivu mu buweereza era n’okukola ku byetaago bye, yali asobola okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi. Yabajjukiza nti baali tebasaanidde kukkiriza bizibu bye baali boolekagana nabyo n’obuvunaanyizibwa bwe baalina obw’okweyimirizaawo, okubaleetera okulagajjalira “ebintu ebisinga obukulu,” kwe kugamba, ebintu ebikwata ku kusinza Yakuwa.​—Baf. 1:10.

4. Pawulo ne Timoseewo baayamba batya bakkiriza bannaabwe okugumira okuyigganyizibwa?

4 Ekibiina ky’e Ssessalonika bwe kyali kyakatandikibwawo, Abakristaayo abo abaali bakyali abapya baayolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Ekibinja ky’abantu abaali abasunguwavu ennyo bwe baanoonya Pawulo ne Siira ne batabalaba, baawalaawala ‘abamu ku b’oluganda ne babatwala eri abafuzi b’ekibuga,’ ne babagamba nti: “Abasajja bano bonna bawakanya amateeka ga Kayisaali.” (Bik. 17:6, 7) Nga kiteekwa okuba nga kyatiisa nnyo Abakristaayo abo abaali bakyali abapya okulumbibwa abantu b’omu kibuga? Ekyo kyali kisobola okubaleetera okuddirira mu buweereza bwabwe eri Yakuwa, naye Pawulo yali tayagala ekyo kibeewo. Wadde nga ye ne Siira baalina okuva mu kibuga ekyo, baakakasa nti ekibiina ekyo ekyali kikyali ekipya kirabirirwa bulungi. Pawulo yajjukiza Abakristaayo ab’omu Ssessalonika nti: “Twatuma Timoseewo muganda waffe . . . , abanyweze era ababudeebude, okukkiriza kwammwe kusobole okweyongera okunywera, waleme kubaawo n’omu ayuuzibwayuuzibwa olw’okubonaabona kuno.” (1 Bas. 3:2, 3) Timoseewo ateekwa okuba nga naye yayolekaganako n’okuyigganyizibwa mu kibuga ky’ewaabwe eky’e Lusitula. Yali alabye engeri Pawulo gye yazzaamu amaanyi ab’oluganda mu kibuga ekyo. Olw’okuba Timoseewo yali alabye engeri Yakuwa gye yayambamu ab’oluganda mu Lusitula, yali asobola okugumya bakkiriza banne nti nabo Yakuwa yali ajja kubayamba.​—Bik. 14:8, 19-22; Beb. 12:2.

5. Ow’oluganda ayitibwa Bryant yaganyulwa atya mu buyambi obwamuweebwa omukadde omu?

5 Ngeri ki endala Pawulo gye yazzaamu bakkiriza banne amaanyi? Ye ne Balunabba bwe baddamu okukyalira ekibiina ky’e Lusitula, eky’e Ikoniyo, n’eky’e Antiyokiya, “mu buli kibiina baalonderamu abakadde.” (Bik. 14:21-23) Awatali kubuusabuusa, abakadde abo abaalondebwa bazzaamu amaanyi ab’oluganda mu bibiina ebyo, ng’abakadde leero bwe bakola. Lowooza ku bigambo bino ebyayogerwa ow’oluganda ayitibwa Bryant: “Bwe nnaweza emyaka 15, taata yatulekawo ate maama n’agobebwa mu kibiina. Nnawulira nga njabuliddwa era kyammalamu nnyo amaanyi.” Kiki ekyayamba Bryant okugumiikiriza mu kiseera ekyo ekizibu? Agamba nti: “Omukadde omu ayitibwa Tony yayogeranga nange nga nzize mu nkuŋŋaana ne mu biseera ebirala. Yambuulira ku bantu abaayolekagana n’ebizibu kyokka ne basigala nga basanyufu. Yakubaganya nange ebirowoozo ku Zabbuli 27:10 era yambuuliranga ebikwata ku Keezeekiya eyaweereza Yakuwa n’obwesigwa wadde nga kitaawe teyassaawo kyakulabirako kirungi.” Ekyo kyayamba kitya Bryant? Agamba nti: “Olw’okuba ow’Oluganda Tony yanzizaamu amaanyi, oluvannyuma nnayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.” Abakadde, mube beetegefu okuyamba bakkiriza bannammwe abalinga Bryant, abeetaaga “ebigambo ebirungi” okusobola okuzzibwamu amaanyi.​—Nge. 12:25.

6. Pawulo yakozesa atya ebyo ebikwata ku baweereza ba Yakuwa ab’omu biseera eby’emabega okuzzaamu bakkiriza banne amaanyi?

6 Pawulo yajjukiza bakkiriza banne nti Yakuwa yali awadde ‘ekibinja ekinene eky’abajulirwa’ amaanyi ne basobola okugumira ebizibu. (Beb. 12:1) Pawulo yali akimanyi nti ebyo ebikwata ku baweereza ba Yakuwa abaaliwo mu biseera eby’emabega abaali bagumidde ebizibu ebitali bimu, byali bisobola okuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okubayamba okussa ebirowoozo byabwe ku ‘kibuga kya Katonda omulamu.’ (Beb. 12:22) Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ffenna tuzzibwamu amaanyi bwe tusoma ku ngeri Yakuwa gye yayambamu Gidiyoni, Balaka, Dawudi, Samwiri, n’abalala bangi. (Beb. 11:32-35) N’ebyokulabirako bya bakkiriza bannaffe ab’omu kiseera kino bituzzaamu nnyo amaanyi. Ab’oluganda batera okuweereza amabaluwa ku kitebe kyaffe ekikulu nga balaga engeri gye bazzibwamu ennyo amaanyi oluvannyuma lw’okusoma ebikwata ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa ab’omu kiseera kino.

PAWULO YALAGA BAKKIRIZA BANNE ENGERI Y’OKUBA MU MIREMBE N’ABALALA

7. Kiki ky’oyigira ku kubuulirira kwa Pawulo okuli mu Abaruumi 14:19-21?

7 Bwe tubaako kye tukolawo okuleetawo emirembe mu kibiina, tuzimba bakkiriza bannaffe. Wadde ng’oluusi tuba n’endowooza ez’enjawulo ki kintu, ekyo tetukikkiriza kutuleetera kuba na njawukana. Ate era tetukalambira ku kintu kasita waba nga tewaliiwo musingi gwa mu Byawandiikibwa gumenyeddwa. Lowooza ku kyokulabirako kino. Ekibiina ky’omu Rooma kyalimu Abakristaayo Abayudaaya n’ab’amawanga. Amateeka ga Musa bwe gaggibwawo, kyali tekikyetaagisa baweereza ba Yakuwa kugondera tteeka erikwata ku kulya oba obutalya eby’okulya ebimu. (Mak. 7:19) Okuva mu kiseera ekyo, Abakristaayo abamu Abayudaaya baali bakitwala nti tekyalimu buzibu kulya mmere eya buli kika. Kyokka Abakristaayo abalala Abayudaaya baali bakitwala nti tekyali kituufu kulya eby’okulya ebimu. Ekyo kyaleetawo enjawukana mu kibiina. Pawulo yakkaatiriza obukulu bw’okuba mu mirembe bwe yagamba nti: “Kiba kirungi obutalya nnyama, oba obutanywa mwenge, oba obutakola kintu kyonna ekyesittaza muganda wo.” (Soma Abaruumi 14:19-21.) Pawulo yayamba bakkiriza banne okukiraba nti enjawukana ezo zaali zikosa abantu kinnoomu n’ekibiina kyonna. Yali mwetegefu okukola oba obutakola bintu ebimu okusobola okwewala okubaako be yeesittaza. (1 Kol. 9:19-22) Naffe tusobola okuzimba bakkiriza bannaffe era ne tukuuma emirembe mu kibiina, bwe twewala okukalambira ku bintu ffe bye twagala.

8. Pawulo yakwata atya ensonga eyali eyinza okumalawo emirembe mu kibiina?

8 Pawulo yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kuba mu mirembe n’abo abaalina endowooza ey’enjawulo ku yiye ku bintu ebimu ebikulu. Ng’ekyokulabirako, abamu ku Bakristaayo mu kyasa ekyasooka baali bagamba nti Abakristaayo ab’amawanga baalina okukomolebwa, oboolyawo okusobola okwewala okuvumirirwa abantu abataali Bakristaayo. (Bag. 6:12) Pawulo yali takkiriziganya na ndowooza eyo, naye mu kifo ky’okukalambira ku ndowooza ye, yasalawo nti ensonga eyo etwalibwe eri abatume n’abakadde mu Yerusaalemi. (Bik. 15:1, 2) Engeri Pawulo gye yakwatamu ensonga eyo yasobozesa Abakristaayo abo okusigala nga basanyufu era nga bali mu mirembe.​—Bik. 15:30, 31.

9. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako Pawulo kye yassaawo?

9 Bwe tuba n’endowooza ez’enjawulo ku nsonga emu, tusaanidde okukuuma emirembe nga tunoonya obulagirizi okuva eri abo Yakuwa be yalonda okulabirira ekibiina. Emirundi mingi ebitabo byaffe bibaamu obulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli, oba wabaawo obulagirizi obuba bwaweebwa ekibiina. Bwe tugoberera obulagirizi obwo mu kifo ky’okukalambira ku ndowooza yaffe, tuleetawo emirembe mu kibiina.

10. Kiki ekirala omutume Pawulo kye yakola okusobola okukuuma emirembe mu kibiina?

10 Pawulo yaleetawo emirembe ng’ayogera ku ngeri za bakkiriza banne ennungi so si ku bintu bye baali batakola bulungi. Ng’ekyokulabirako, bwe yali afundikira ebbaluwa gye yawandiikira Abaruumi, Pawulo yayogera ku mannya g’ab’oluganda bangi, era bangi ku bo yaboogerako ebintu ebirungi bye yali abamanyiiko. Tusobola okukoppa Pawulo nga twogera ku ngeri ennungi bakkiriza bannaffe ze balina. Bwe tukola tutyo, kiyamba bakkiriza bannaffe okweyongera okukolagana obulungi, era kizimba ekibiina.

11. Tuyinza tutya okuzzaawo emirembe nga tufunye obutakkaanya?

11 Oluusi n’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bayinza okufuna obutakkaanya obw’amaanyi. Bwe kityo bwe kyali eri Pawulo ne mukwano gwe Balunabba. Abasajja abo baafuna obutakkaanya obw’amaanyi ku ky’okugenda ne Makko ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwali luddako. Bayibuli egamba nti waabalukawo “oluyombo olw’amaanyi,” era buli omu n’akwata lirye. (Bik. 15:37-39) Kyokka Pawulo, Balunabba, ne Makko, baddamu okukolagana obulungi, ekyalaga nti baali bakitwala nti kikulu nnyo okukuuma emirembe n’obumu mu kibiina. Oluvannyuma Pawulo yayogera bulungi ku Balunabba ne Makko. (1 Kol. 9:6; Bak. 4:10) Naffe tusaanidde okugonjoola obutakkaanya obujjawo wakati waffe ne Bakristaayo bannaffe, ne tweyongera okussa ebirowoozo byaffe ku ngeri zaabwe ennungi. Bwe tukola bwe tutyo, tuleetawo emirembe n’obumu.​—Bef. 4:3.

PAWULO YANYWEZA OKUKKIRIZA KWA BAKKIRIZA BANNE

12. Bintu ki ebigezesa okukkiriza kwa bakkiriza bannaffe leero?

12 Tuzimba bakkiriza bannaffe bwe tubayamba okunyweza okukkiriza kwabwe. Abamu bajeregebwa ab’eŋŋanda zaabwe abatali baweereza ba Yakuwa, bakozi bannaabwe, oba bayizi bannaabwe. Abalala balina obulwadde obw’amaanyi oba balina obulumi ku mutima. Ate abalala baabatizibwa emyaka mingi emabega era nga bamaze ekiseera kiwanvu nga balindirira enkomerero y’enteekateeka eno okujja. Embeera ng’ezo zisobola okugezesa okukkiriza kw’Abakristaayo leero. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nabo baayolekagana n’embeera ng’ezo. Kiki Pawulo kye yakola okusobola okunyweza okukkiriza kwa baganda be ne bannyina?

Tuyinza tutya okuzimba abalala, ng’omutume Pawulo bwe yakola? (Laba akatundu 13) *

13. Pawulo yayamba atya Abakristaayo abaali basekererwa olw’ebyo bye baali bakkiririzaamu?

13 Pawulo yakozesa Ebyawandiikibwa okunyweza okukkiriza kwa baganda be ne bannyina. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abamu Abayudaaya bayinza okuba nga baali tebamanyi kya kugamba ba ŋŋanda zaabwe abaali babagamba nti eddiini y’Ekiyudaaya esinga Obukristaayo. Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya eteekwa okuba nga yanyweza nnyo Abakristaayo abo. (Beb. 1:5, 6; 2:2, 3; 9:24, 25) Engeri etegeerekeka obulungi gye yannyonnyolamu ebintu yabayamba okumanya kye baali bayinza okugamba abo abaali babawakanya. Leero bakkiriza bannaffe abajeregebwa olw’ebyo bye tukkiririzaamu, tusobola okubalaga engeri gye bayinza okukozesaamu ebitabo byaffe okunnyonnyola abo ababajerega. Ate abaana baffe bwe baba nga basekererwa olw’okuba bakkiriza nti ebintu byatondebwa, tusobola okubayamba nga tukozesa brocuwa Was Life Created? ne The Origin of Life—Five Questions Worth Asking, ne basobola okunnyonnyola ensonga lwaki bakkiriza nti ebintu byatondebwa.

Tuyinza tutya okuzimba abalala, ng’omutume Pawulo bwe yakola? (Laba akatundu 14) *

14. Wadde nga Pawulo yabuuliranga era yayigirizanga n’obunyiikivu, kiki ekirala kye yakolanga?

14 Pawulo yakubiriza bakkiriza banne okulaga okwagala okuyitira mu ‘bikolwa ebirungi.’ (Beb. 10:24) Yayamba bakkiriza banne mu bigambo ne mu bikolwa. Ng’ekyokulabirako, enjala ey’amaanyi bwe yagwa mu Buyudaaya, Pawulo yatwalira bakkiriza banne ab’omu kitundu ekyo ebimu ku bintu bye baali beetaaga. (Bik. 11:27-30) Mu butuufu, wadde nga yabuuliranga era yayigirizanga n’obunyiikivu, bulijjo yanoonyanga engeri gye yali ayinza okuyambamu abo abaali beetaaga obuyambi mu by’omubiri. (Bag. 2:10) Mu kukola bw’atyo, yayamba bakkiriza banne okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa yandibalabiridde. Leero bwe tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’obukugu bwe tulina okuyamba abo ababa bakoseddwa akatyabaga, kibayamba okunyweza okukkiriza kwabwe. Era bwe kityo bwe kiri bwe tubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna. Mu ngeri ezo awamu n’endala, tuyamba bakkiriza bannaffe okwesiga Yakuwa nti talibaabulira.

Tuyinza tutya okuzimba abalala, ng’omutume Pawulo bwe yakola? (Laba akatundu 15-16) *

15-16. Tusaanidde kuyisa tutya abo ababa banafuye mu kukkiriza?

15 Pawulo teyalekayo kuyamba abo abaali banafuye mu kukkiriza. Yabasaasiranga era yayogeranga nabo mu ngeri ennungi era ezzaamu amaanyi. (Beb. 6:9; 10:39) Ng’ekyokulabirako, mu bigambo bye yakozesa mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya, yakiraga nti naye kennyini yali yeetaaga okukolera ku kubuulirira kwe yabawa. (Beb. 2:1, 3) Okufaananako Pawulo, tetusaanidde kulekayo kuyamba abo ababa banafuye mu kukkiriza. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okunyweza okukkiriza kwabwe nga tukiraga nti tubafaako. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tukiraga nti ddala tubaagala. Ate era engeri gye twogeramu nabo, nayo ekola kinene mu kubazzaamu amaanyi.

16 Pawulo yakakasa bakkiriza banne nti Yakuwa yali alaba ebintu ebirungi bye baali bakola. (Beb. 10:32-34) Naffe tusobola okukola kye kimu bwe tuba nga tuyamba mukkiriza munnaffe aba anafuye mu kukkiriza. Tuyinza okumuyamba okujjukira engeri gye yayigamu amazima, oba okufumiitiriza ku kiseera lwe yakiraba nti Yakuwa yali amuyamba. Tusobola okukozesa akakisa ako okumuyamba okukiraba nti Yakuwa teyeerabira bintu ebirungi bye yakola mu biseera eby’emabega, era nti tasobola kumwabulira. (Beb. 6:10; 13:5, 6) Bwe twogerako ne mukkiriza munnaffe mu ngeri eyo, kiyinza okumuyamba okuddamu okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.

“MUZZIŊŊANENGAMU AMAANYI”

17. Kiki kye tusobola okweyongera okukugukamu?

17 Ng’omuzimbi bwe yeeyongera okukuguka nga wayiseewo ekiseera, naffe tusobola okweyongera okukuguka mu kuzimba bakkiriza bannaffe. Tusobola okuyamba abalala okuddamu amaanyi ne bagumira ebizibu bye boolekagana nabyo nga tubabuulira ku byokulabirako by’abo abaagumira ebizibu. Tusobola okuleetawo emirembe nga twogera ku bintu ebirungi bye tulaba mu balala. Ate bwe wabaawo ebintu ebiyinza okumalawo emirembe, tusobola okubaako kye tukola okukuuma emirembe, era bwe wajjawo enjawukana ezimalawo emirembe tusobola okubaako kye tukola okuzzaawo emirembe. Ate era tusobola okuzimba okukkiriza kwa baganda baffe nga tubabuulira ku bintu ebirungi bye tuba tuzudde mu Bayibuli, nga tubaako bye tukola okubayamba, era nga tunyweza okukkiriza kw’abo ababa banafuye mu by’omwoyo.

18. Kiki ky’omaliridde okukola?

18 Abo abeenyigira mu mulimu gw’okuzimba ebizimbe ebikozesebwa ekibiina, bafuna essanyu lingi. Tusobola okufuna essanyu ng’eryo bwe tuyambako mu kuzimba okukkiriza kwa bakkiriza bannaffe. Ebizimbe ebizimbibwa, ekiseera kituuka ne bisaanawo. Naye ebyo ebiva mu mulimu gwe tukola ogw’okuzimba okukkiriza kwa baganda baffe bisobola okubaawo emirembe gyonna! Ka tubeera bamalirivu ‘okuzziŋŋanangamu amaanyi n’okuzimbagananga.’​—1 Bas. 5:11.

OLUYIMBA 100 Basembeze

^ Obulamu mu nsi eno si bwangu. Bakkiriza bannaffe boolekagana n’ebizibu bingi. Tusobola okubayamba nga tunoonya engeri y’okubazzaamu amaanyi. Okwekenneenya ekyokulabirako omutume Pawulo kye yassaawo kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okubazzaamu amaanyi.

^ EBIFAANANYI: Taata annyonnyola muwala we engeri gy’ayinza okukozesa ebyo ebiri mu bitabo byaffe okunnyonnyola abo abamupikiriza okukuza Ssekukkulu.

^ EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we bagenze mu kitundu ekirala okuyambako abo abakoseddwa akatyabaga.

^ EBIFAANANYI: Omukadde akyaliddeko ow’oluganda eyaddirira mu by’omwoyo. Amulaga ebimu ku bifaananyi bye beekubya emyaka mingi emabega nga bombi bali mu Ssomero lya Bapayoniya. Ebifaananyi ebyo biyamba ow’oluganda oyo okujjukira essanyu lye yalina mu kiseera ekyo. Ow’oluganda oyo awulira ng’ayagala okuddamu okufuna essanyu lye yalina ng’aweereza Yakuwa. Oluvannyuma lw’ekiseera, akomawo mu kibiina.