EKITUNDU EKY’OKUSOMA 34
“Weeyongere Okutambulira mu Mazima”
‘Tambulira mu mazima.’—3 YOK. 4.
OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu
OMULAMWA *
1. Okunyumya ku ngeri gye twafuukamu Abajulirwa ba Yakuwa kituganyula kitya?
“WAYIGA otya amazima?” Oyinza okuba ng’obuuziddwa ekibuuzo ekyo emirundi mingi. Kye kimu ku bibuuzo bakkiriza bannaffe bye basooka okutubuuza bwe baba baagala okweyongera okutumanya. Twagala nnyo okumanya engeri bakkiriza bannaffe gye baatandikamu okumanya Yakuwa n’okumwagala, era naffe twagala okubabuulira ensonga lwaki twenyumiririza mu kubeera Abajulirwa ba Yakuwa. (Bar. 1:11) Emboozi ng’ezo zituyamba okukuumira mu birowoozo byaffe ku nkizo ey’ekitalo gye tulina ey’okubeera Abajulirwa ba Yakuwa. Ate era zituyamba okweyongera okuba abamalirivu ‘okutambulira mu mazima,’ kwe kugamba, okweyongera okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri etuleetera okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa.—3 Yok. 4.
2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Mu kitundu kino tugenda kulaba ezimu ku nsonga lwaki twagala nnyo amazima. Oluvannyuma tujja kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okukiraga nti twagala nnyo ekirabo kino eky’omuwendo. Kino kijja kutuyamba okweyongera okusiima Yakuwa olw’okutuleeta mu mazima. (Yok. 6:44) Ate era kijja kutuyamba okweyongera okwagala okubuulirako abalala amazima.
ENSONGA LWAKI TWAGALA NNYO ‘AMAZIMA’
3. Ensonga esinga obukulu etuleetera okwagala amazima y’eruwa?
3 Waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okwagala amazima. Esinga obukulu eri nti twagala Yakuwa Katonda, ensibuko y’amazima. Okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli, tukirabye nti ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa ye Mutonzi w’eggulu n’ensi asingayo okuba ow’amaanyi, era ye Kitaffe ow’omu ggulu atwagala era atufaako ennyo. (1 Peet. 5:7) Tukimanyi nti Katonda waffe ‘musaasizi era wa kisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima mangi.’ (Kuv. 34:6) Yakuwa ayagala obwenkanya. (Is. 61:8) Awulira bubi bw’alaba nga tubonaabona, era yeesunga ekiseera lw’aliggyawo ebintu byonna ebituleetera okubonaabona. (Yer. 29:11) Naffe twesunga nnyo ekiseera ekyo! Tekyewuunyisa nti twagala nnyo Yakuwa!
4-5. Lwaki omutume Pawulo yageraageranya essuubi lye tulina ku nnanga?
4 Nsonga ki endala etuleetera okwagala amazima? Waliwo emiganyulo mingi egiri mu kumanya amazima. Ng’ekyokulabirako, amazima agali mu Bayibuli gazingiramu essuubi lye tulina erikwata ku biseera eby’omu maaso. Ng’alaga omuganyulo oguli mu kuba n’essuubi, omutume Pawulo yagamba nti: “Essuubi lye tulina liringa ennanga ey’obulamu, kkakafu era linywevu.” (Beb. 6:19) Ng’ennanga bw’ekuumira eryato mu kifo ne litatwalibwa mbuyaga, essuubi lye tulina erikwata ku biseera eby’omu maaso lituyamba okuguma nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu.
5 Pawulo bwe yawandiika ebigambo ebyo, yali ayogera ku ssuubi ery’okugenda mu ggulu Abakristaayo abaafukibwako amafuta lye balina. Naye ebigambo ebyo bikwata ne Bakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. (Yok. 3:16) Mazima ddala okuba n’essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna kifudde obulamu bwaffe okuba obw’amakulu.
6-7. Yvonne aganyuddwa atya mu kumanya amazima agakwata ku biseera eby’omu maaso?
6 Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Yvonne. Teyakulira mu amazima, era bwe yali akyali muto yali atya nnyo okufa. Ajjukira lwe yasoma ebigambo bino ebyamusigala ku mutima: ‘Lujja kukya lumu tube nga tetukyaliwo.’ Agamba nti: “Ebigambo ebyo byandeetera okubulwanga otulo ekiro nga ndowooza ku biseera eby’omu maaso. Muli nneebuuzanga nti, ‘Lwaki tubeerawo okumala ekiseera kitono ne tufa?’ Wadde nga nnali simanyi nsonga lwaki weetuli, nnali saagala kufa!”
7 Oluvannyuma Yvonne bwe yavubuka, yasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa. Agamba nti: “Nnayigirizibwa nti tujja kubeera balamu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna.” Okumanya amazima ago kyamuyamba kitya? Agamba nti: “Kati sikyabulwa tulo kiro nga nneeraliikirira ebikwata ku biseera eby’omu maaso oba okufa.” Mazima ddala amazima ga muwendo nnyo eri Yvonne, era ayagala nnyo okubuulirako abalala essuubi ly’alina erikwata ku biseera eby’omu maaso.—1 Tim. 4:16.
8-9. (a) Mu lumu ku ngero za Yesu, omuntu omu yakiraga atya nti eky’obugagga kye yazuula yali akitwala nti kya muwendo nnyo? (b) Amazima ogatwala otya?
8 Ate era amazima agali mu Bayibuli gazingiramu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Yesu yageraageranya amazima agakwata ku Bwakabaka ku ky’obugagga ekyakwekebwa. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 13:44, Yesu yagamba nti: “Obwakabaka obw’omu ggulu bulinga eky’obugagga ekyakwekebwa mu kibanja, omuntu kye yazuula n’addamu n’akikweka; era olw’essanyu lye yalina yagenda n’atunda ebintu bye byonna n’agula ekibanja ekyo.” Weetegereze nti omuntu oyo yali tanoonya kya bugagga ekyo. Naye bwe yakizuula, yeefiiriza ebintu bingi okusobola okukifuna. Mu butuufu, yatunda buli kimu kye yalina. Lwaki? Yali akimanyi nti eky’obugagga ekyo kya muwendo nnyo. Kyali kisingira wala ebintu byonna bye yalina.
9 Naawe bw’otyo bw’otwala amazima? Oteekwa okuba nga bw’otyo bw’ogatwala! Tukimanyi nti tewali kintu kyonna mu nsi kiyinza kugeraageranyizibwa ku ssanyu lye tufuna mu kuweereza Yakuwa kati, nga tulina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Enkizo gye tulina ey’okuba n’enkokagana ey’oku lusegere ne Yakuwa esinga ekintu kyonna kye tuyinza okwefiiriza. Ekintu ekisingira ddala okutuleetera essanyu kwe ‘kusanyusiza ddala’ Yakuwa.—Bak. 1:10.
10-11. Kiki ekyaleetera Michael okukola enkyukakyuka ey’amaanyi mu bulamu bwe?
10 Bangi ku ffe tulina ebintu bye twefiiriza okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Abamu baaleka emirimu egy’ebbeeyi gye baalina. Abalala baalekera awo okunoonya eby’obugagga. Ate abalala bwe baayiga ebikwata ku Yakuwa, baakyusiza ddala enneeyisa yaabwe. Ekyo kyennyini Michael kye yakola. Teyakulira mu mazima. Bwe yali omuvubuka, yatendekebwa omuzannyo gw’ensambaggere, era agamba nti: “Nneenyumiririzanga nnyo mu kuba ow’amaanyi. Oluusi nnawuliranga nti nze nsingayo okuba ow’amaanyi.” Naye Michael bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yategeera engeri Yakuwa gy’atwalamu ebikolwa eby’obukambwe. (Zab. 11:5) Ng’ayogera ku w’oluganda ne mukyala we abaamuyigiriza Bayibuli, Michael agamba nti: “Tebaŋŋambako kulekera awo kuzannya muzannyo gwa nsambaggere, wabula beeyongera okunjigiriza mazima agali mu Bayibuli.”
11 Michael gye yakoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gye yakoma okumwagala. Ekintu ekyasinga okumukwatako bwe busaasizi Yakuwa bw’alaga abaweereza be. Oluvannyuma lw’ekiseera Michael yakiraba nti yali yeetaaga okukola enkyukakyuka ey’amaanyi mu bulamu bwe. Agamba nti: “Nnali nkimanyi nti kyandimbeeredde kizibu nnyo okulekayo omuzannyo gw’ensambaggere. Naye era nnali nkimanyi nti bwe nnandisazeewo okugulekayo kyandisanyusizza Yakuwa. Era nnali mukakafu nti okusalawo okuweereza Yakuwa kisinga ekintu ekirala kyonna kye nnandyefiirizza.” Michael yali akimanyi nti amazima ge yali azudde gaali ga muwendo nnyo, era eyo ye nsonga lwaki yali mwetegefu okukola enkyukakyuka ez’amaanyi.—Yak. 1:25.
12-13. Amazima agali mu Bayibuli gaayamba gatya Mayli?
12 Bayibuli eraga nti amazima ga muwendo nnyo, era egageraageranya ku ttaala eyaka mu kizikiza. (Zab. 119:105; Bef. 5:8) Mayli, enzaalwa y’omu Azerbaijan, yasiima nnyo amazima ge yayiga mu Kigambo kya Katonda. Bazadde be baali mu ddiini za njawulo. Taata we yali Musiraamu, ate maama we yali Muyudaaya. Agamba nti: “Wadde nga nnali sibuusabuusa nti Katonda gy’ali, waliwo ebibuuzo ebyali bimbobbya omutwe. Nneebuuzanga nti, ‘Lwaki Katonda yatonda abantu, era kigasa ki omuntu okumala obulamu bwe bwonna ng’abonaabona ate oluvannyuma n’ayokebwa mu muliro ogutazikira?’ Okuva bwe kiri nti abantu bagamba nti buli ekibaawo Katonda y’aba ayagadde kibeewo, nneebuuzanga nti, ‘Katonda anyumirwa bunyumirwa okulaba abantu nga babonaabona?’”
13 Mayli yeeyongera okunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo bye yali yeebuuza. Oluvannyuma lw’ekiseera, yakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli era n’afuuka omuweereza wa Yakuwa. Agamba nti: “Engeri etegeerekeka obulungi Bayibuli gy’ennyonnyolamu ebintu yakyusiza ddala obulamu bwange. Eby’okuddamu ebitegeerekeka obulungi bye nnafuna okuva mu Kigambo kya Katonda bindeetedde okuba n’emirembe ku mutima.” Okufaananako Mayli, ffenna twebaza Yakuwa, ‘Oyo eyatuyita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky’ekitalo.’—1 Peet. 2:9.
14. Tuyinza tutya okweyongera okwagala amazima? (Laba n’akasanduuko “ Ebirala Amazima Bye Gageraageranyizibwako.”)
14 Ebyo bye bimu ku byokulabirako ebiraga ensonga lwaki amazima ga muwendo nnyo. Tewali kubuusabuusa nti waliwo n’ebirala bingi by’oyinza okulowoozaako. Lwaki tufuba okwesomesa n’ozuula ensonga endala ezituleetera okwagala ennyo amazima? Gye tukoma okwagala amazima, gye tukoma okukyoleka mu bulamu bwaffe nti tugaagala.
ENGERI GYE TUKIRAGAMU NTI TWAGALA AMAZIMA
15. Engeri emu gye tulagamu nti twagala amazima y’eruwa?
15 Tusobola okukiraga nti twagala amazima nga twesomesa Bayibuli obutayosa awamu n’ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Ka tube nga tumaze kiseera kyenkana wa mu mazima, bulijjo wabaawo ebintu ebipya bye tusobola okuyiga. Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi eyasookera ddala yagamba nti: “Ensi ejjudde obulimba ne kiba nti si kyangu okwawulawo amazima. Bw’oba wa kugazuula, olina okuganoonya. Bw’ogazuula, olina okufuba okuganywererako. Bulijjo fubanga okuzuula amazima amalala agali mu Bayibuli.” Kyo kituufu nti si kyangu okwesomesa, naye bw’ofuba, ebivaamu biba birungi.
16. Nkola ki gy’okozesa okwesomesa? (Engero 2:4-6)
16 Abamu ku ffe tetunyumirwa kusoma na kwesomesa. Naye Yakuwa atukubiriza ‘okweyongera okunoonya n’okuwenja’ okusobola okutegeerera ddala amazima. (Soma Engero 2:4-6.) Bwe tufuba okunoonya amazima, tuganyulwa nnyo. Ng’ayogera ku ngeri gy’asomamu Bayibuli, ow’oluganda Corey agamba nti bw’aba asoma, agenda yeekenneenya olunyiriri lumu ku lumu. Agamba nti: “Nsoma obugambo obuli wansi obukwata ku lunyiriri olwo, nsoma ebyawandiikibwa ebiri mu miwaatwa, era nnoonyereza n’ebintu ebirala ebirukwatako. . . . Enkola eyo ennyamba okuyiga ebintu bingi okuva mu Kigambo kya Katonda!” Ka tube nga tukozesa nkola eyo oba nkola ndala, tukiraga nti tusiima amazima bwe tufissaawo ebiseera ne tufuba okwesomesa.—Zab. 1:1-3.
17. Kitegeeza ki okutambulira mu mazima? (Yakobo 1:25)
17 Kya lwatu, tukimanyi nti okwesomesa kyokka tekimala. Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu, tulina okutambulira mu mazima, kwe kugamba, tulina okukolera ku bye tuyiga. Bwe tukola tutyo, tufuna essanyu erya nnamaddala. (Soma Yakobo 1:25.) Tuyinza tutya okukakasa nti tutambulira mu mazima? Ow’oluganda omu agamba nti kikulu okwekebera tulabe wa we tukola obulungi na wa we twetaaga okulongoosaamu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.”—Baf. 3:16.
18. Lwaki tufuba okweyongera ‘okutambulira mu mazima’?
18 Lowooza ku miganyulo emingi gye tufuna bwe tufuba okweyongera ‘okutambulira mu mazima’! Ng’oggyeeko okuba nti obulamu bwaffe bweyongera okulongooka, era kireetera Yakuwa ne bakkiriza bannaffe essanyu. (Nge. 27:11; 3 Yok. 4) Ezo ze nsonga ezisingayo obukulu lwaki twagala amazima era tugatambuliramu.
OLUYIMBA 144 Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
^ Emirundi mingi bwe tugamba nti tuli mu “mazima,” tuba tutegeeza ebyo bye tukkiririzaamu n’engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. Ka tube nga tuli bapya mu mazima oba nga tugabaddemu obulamu bwaffe bwonna, tujja kuganyulwa nnyo mu kwekenneenya ensonga lwaki twenyumiririza mu kubeera Abajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okuba abamalirivu okukola ebintu ebituleetera okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa.