EKITUNDU EKY’OKUSOMA 33
Yakuwa Afaayo ku Bantu Be
“Eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya.”—ZAB. 33:18.
OLUYIMBA 4 “Yakuwa Ye Musumba Wange”
OMULAMWA *
1. Lwaki Yesu yasaba Yakuwa okukuuma abagoberezi be?
MU KIRO ekyasembayo nga tannafa, Yesu yasaba Kitaawe ow’omu ggulu ekintu eky’enjawulo. Yamusaba akuume abagoberezi be. (Yok. 17:15, 20) Kyo kituufu nti bulijjo Yakuwa afaayo ku bagoberezi be, era abakuuma. Kyokka Yesu yali akimanyi nti Sitaani yandiyigganyizza nnyo abagoberezi be. Ate era Yesu yali akimanyi nti abagoberezi be bandibadde beetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusobola okuziyiza Sitaani.
2. Okusinziira ku Zabbuli 33:18-20, lwaki tetusaanidde kutya bizibu bye twolekagana nabyo?
2 Ensi ya Sitaani erimu ebizibu bingi nnyo ebinyigiriza Abakristaayo ab’amazima leero. Twolekagana n’ebizibu ebiyinza okutumalamu amaanyi, era n’okutuleetera obutaba beesigwa eri Yakuwa. Naye nga bwe tugenda okulaba mu kitundu kino, tetusaanidde kutya. Yakuwa atukuuma, alaba ebizibu bye twolekagana nabyo, era mwetegefu okutuyamba okubyaŋŋanga. Ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri okuva mu Bayibuli ebiraga nti “eriiso lya Yakuwa liri ku abo abamutya.”—Soma Zabbuli 33:18-20.
BWE TUBA TUWULIRA NTI TULI FFEKKA
3. Ddi lwe tuyinza okuwulira ng’abali ffekka?
3 Wadde nga tulina baganda baffe ne bannyinaffe bangi mu kibiina, oluusi tuyinza okuwulira ng’abali ffekka. Ng’ekyokulabirako, abato bayinza okuwulira ng’abali bokka bwe baba nga bannyonnyola bayizi bannaabwe ku ssomero ebyo bye bakkiririzaamu oba bwe baba basengukidde mu kibiina ekirala. Ate abalala tuyinza okuba nga tuwulira ekiwuubaalo, oba nga tuli bennyamivu era nga tuwulira nti tewali ayinza kutuyamba. Tuyinza obutabuulirako balala ngeri gye tuwuliramu nga tutya nti bayinza obutategeera mbeera gye tuyitamu. Ate era tuyinza okwebuuza obanga ddala waliwo omuntu yenna atufaako. K’ebe nsonga ki eyinza okuba ng’etuleetera okuwulira bwe tutyo, enneewulira eyo eyinza okutumalamu amaanyi. Yakuwa tayagala tuwulire bwe tutyo. Lwaki tugamba bwe tutyo?
4. Lwaki nnabbi Eriya yagamba nti: “Nze nzekka asigaddewo”?
4 Lowooza ku nnabbi Eriya. Yali amaze ennaku ezisukka mu 40 ng’adduka okutaasa obulamu bwe, olw’okuba Yezebeeri yali yeerayiridde okumutta. (1 Bassek. 19:1-9) Oluvannyuma, bwe yali asaba Yakuwa ng’ali yekka mu mpuku, yagamba nti: “Nze [nnabbi] nzekka asigaddewo.” (1 Bassek. 19:10) Waaliwo bannabbi ba Yakuwa abalala 100, Obadiya be yali akwese n’abawonya okuttibwa Yezebeeri. (1 Bassek. 18:7, 13) Kati olwo lwaki Eriya yawulira ng’ali yekka? Yali alowooza nti bannabbi bonna Obadiya be yali awonyezzaawo nabo oluvannyuma battibwa? Kyandiba nti yawulira ng’ali yekka olw’okuba abalala tebaamwegattako kuweereza Yakuwa n’oluvannyuma lwa Yakuwa okubakakasa nti ye Katonda ow’amazima ku Lusozi Kalumeeri? Kyandiba nti yali alowooza nti tewaaliwo n’omu eyali amanyi embeera gye yali ayitamu, era nti tewaaliwo eyali amufaako? Bayibuli tetubuulira ngeri yennyini Eriya gye yali awuliramu. Naye tuli bakakafu nti Yakuwa yali amanyi engeri Eriya gye yali awuliramu, era n’engeri y’okumuyambamu.
5. Yakuwa yakakasa atya Eriya nti teyali yekka?
5 Yakuwa yayamba Eriya mu ngeri ezitali zimu. Yawuliriza bulungi Eriya ng’ayogera. Yabuuza Eriya emirundi ebiri nti: “Okola ki wano Eriya?” (1 Bassek. 19:9, 13) Ku buli mulundi, Yakuwa yawuliriza Eriya ng’amubuulira ebyamuli ku mutima. Yakuwa yalaga Eriya nti yali kumpi naye, era n’amulaga n’amaanyi ge amangi. Ate era yakakasa Eriya nti waaliwo Abayisirayiri bangi abaali bakyamuweereza. (1 Bassek. 19:11, 12, 18) Awatali kubuusabuusa, Eriya yawulira obuweerero bwa maanyi oluvannyuma lw’okutegeeza Yakuwa ebyamuli ku mutima, era n’okuwulira nga Yakuwa amuddamu. Yakuwa yawa Eriya obuvunaanyizibwa obutali bumu. Yamugamba afuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka wa Busuuli, ku Yeeku, okuba kabaka wa Isirayiri, ne ku Erisa okuba nnabbi. (1 Bassek. 19:15, 16) Yakuwa bwe yawa Eriya obuvunaanyizibwa obwo, yamuyamba okussa ebirowoozo bye ku bintu ebizzaamu amaanyi. Ate era Yakuwa yamuwa Erisa okumuyambako mu buweereza bwe. Yakuwa ayinza atya okukuyamba bw’oba owulira ng’ali wekka?
6. Bw’oba olina ebikweraliikiriza, biki by’osobola okutegeeza Yakuwa mu kusaba? (Zabbuli 62:8)
6 Yakuwa ayagala omusabe. Alaba byonna by’oyitamu, era akukakasa nti ajja kuwuliriza okusaba kwo ekiseera kyonna w’onoomusabira. (1 Bas. 5:17) Ayagala nnyo okuwuliriza essaala z’abaweereza be. (Nge. 15:8) Kiki ky’oyinza okutegeeza Yakuwa mu kusaba bw’oba owulira ng’ali wekka? Buulira Yakuwa byonna ebikuli ku mutima nga Eriya bwe yakola. (Soma Zabbuli 62:8.) Mubuulire byonna ebikweraliikiriza era n’engeri gy’owuliramu. Musabe akuyambe okwaŋŋanga ebikweraliikiriza. Ng’ekyokulabirako, bw’owulira ng’otidde okubuulira ku ssomero, musabe akuwe obuvumu osobole okubuulira. Osobola n’okumusaba akuwe amagezi osobole okunnyonnyola obulungi ebyo by’okkiririzaamu. (Luk. 21:14, 15) Bw’oba ng’olina ekintu ekikweraliikiriza, saba Yakuwa akuyambe osobole okukyogerako n’Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo. Osobola okusaba Yakuwa ayambe oyo gw’ogenda okubuulirako ekizibu kyo asobole okutegeera engeri gy’owuliramu. Bw’obuulira Yakuwa byonna ebikuli ku mutima, ne weetegereza engeri gy’addamu okusaba kwo, era n’okkiriza obuyambi abalala bwe bakuwa, tojja kuwulira ng’ali wekka.
7. Kiki ky’oyigidde ku Mauricio?
7 Yakuwa yatuwa ffenna omulimu omulungi ennyo ogw’okukola. Beera mukakafu nti alaba byonna by’ofuba okukola mu kibiina ne mu mulimu gw’okubuulira, era abisiima nnyo. (Zab. 110:3) Bwe tuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, tuganyulwa tutya? Lowooza ku w’oluganda omuvubuka ayitibwa Mauricio. * Nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lwa Mauricio okubatizibwa, omu ku mikwano gye egy’oku lusegere yagenda addirira mpolampola mu by’omwoyo. Mauricio agamba nti: “Okulaba mukwano gwange oyo ng’addiridde mu by’omwoyo kyammalamu nnyo amaanyi. Nneebuuza obanga nnandisobodde okutuukiriza obweyamo bwange eri Yakuwa era n’okusigala mu kibiina kye. Nnawulira ng’ali nzekka, era nnalowoozanga nti tewali yali ayinza kutegeera ngeri gye nnali mpuliramu.” Kiki ekyayamba Mauricio? Agamba nti: “Nnayongera ku biseera bye nnali mmala mu mulimu gw’okubuulira. Ekyo kyannyamba obutamalira birowoozo byange ku ngeri gye nnali mpuliramu. Bwe nnakolanga n’abalala mu buweereza, nnawuliranga essanyu, era saawuliranga ng’ali nzekka.” Ne bwe tuba nga tetusobola kubuulira na balala butereevu, kituzzaamu amaanyi bwe tubuulira nabo nga tukozesa enkola endala, gamba ng’okuwandiika amabaluwa oba okukuba amasimu. Kiki ekirala ekyayamba Mauricio? Agamba nti: “Nnayongera okwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’ekibiina. Nneeyongera n’okutegeka obulungi ebitundu bye nnaweebwanga okukolako mu nkuŋŋaana. Ebyo bye nnakolanga mu kibiina byandeetera okuwulira nti Yakuwa awamu n’ab’oluganda, bantwala nti ndi wa muwendo.”
YAKUWA ATUYAMBA BWE TUWULIRA NGA TUWEDDEMU AMAANYI
8. Bwe tufuna ebizibu eby’amaanyi tuyinza kuwulira tutya?
8 Mu nnaku zino ez’enkomerero, tusuubira okufuna ebizibu. (2 Tim. 3:1) Wadde kiri kityo, ebizibu ebimu tuyinza okuba nga tetubisuubira kututuukako, era bwe bitutuukako bitumalamu nnyo amaanyi. Eby’enfuna byaffe biyinza okugootaana mu kaseera katono, tuyinza okufuna obulwadde obw’amaanyi, oba tuyinza okufiirwa omuntu waffe. Mu mbeera ng’ezo tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi, naddala singa ebizibu tubifunira kumukumu. Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa ategeera embeera gye tulimu era asobola okutuyamba okugumira ebizibu bye tufuna.
9. Nnyonnyola ebimu ku bizibu Yobu bye yafuna.
9 Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yayambamu Yobu. Yobu yafuna ebizibu bingi eby’amaanyi mu kiseera kitono. Mu lunaku lumu, Yobu yafuna amawulire amabi, nti ebisolo bye baali babibbye, era nti n’abaweereza be awamu n’abaana be bonna, baali bafudde. (Yob. 1:13-19) Oluvannyuma lw’ekiseera kitono ng’akyali mu nnaku ey’amaanyi, Yobu yafuna obulwadde obw’amaanyi. (Yob. 2:7) Obulumi bwe yali awulira bwali bwa maanyi nnyo era yatuuka n’okugamba nti: “Nneetamiddwa obulamu; sikyayagala kweyongera kuba mulamu.”—Yob. 7:16.
10. Yakuwa yayamba atya Yobu okugumira ebizibu bye yalina? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
10 Yakuwa yali alaba byonna ebyatuuka ku Yobu. Olw’okuba Yakuwa yali ayagala nnyo Yobu, yamuyamba okugumira ebizibu ebyo. Yakuwa yayogera ne Yobu n’amujjukiza amagezi amangi ennyo g’alina era n’engeri gy’alabiriramu ebitonde bye. Yakuwa yayogera ku bisolo bingi ebyewuunyisa bye yatonda. (Yob. 38:1, 2; 39:9, 13, 19, 27; 40:15; 41:1, 2) Ate era, Yakuwa yakozesa omuvubuka eyali ayitibwa Eriku okuzzaamu Yobu amaanyi n’okumubudaabuda. Eriku yakakasa Yobu nti bulijjo Yakuwa awa omukisa abaweereza be abagumiikiriza nga boolekagana n’ebizibu. Naye era Yakuwa yakozesa Eriku okuwabula Yobu mu ngeri ey’okwagala. Eriku yayamba Yobu okulekera awo okwerowoozaako ennyo, era n’amujjukiza nti teyalina bw’ali bw’omugeraageranya ne Yakuwa Omutonzi w’ebintu byonna. (Yob. 37:14) Yakuwa era yawa Yobu eky’okukola; yamugamba okusabira mikwano gye abasatu abaali boonoonye mu maaso ga Yakuwa. (Yob. 42:8-10) Yakuwa atuyamba atya leero nga tufunye ebizibu eby’amaanyi?
11. Bayibuli etuzzaamu etya amaanyi nga tufunye ebizibu?
11 Yakuwa tayogera naffe butereevu nga bwe yayogera ne Yobu, naye ayogera naffe ng’ayitira mu Kigambo kye Bayibuli. (Bar. 15:4) Atuzzaamu amaanyi ng’atuwa essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Lowooza ku byawandiikibwa ebisobola okutuzzaamu amaanyi nga twolekagana n’ebizibu. Okuyitira mu byawandiikibwa, Yakuwa atukakasa nti tewali kintu kyonna nga mw’otwalidde n’ebizibu eby’amaanyi, ‘kiyinza kutwawukanya ku kwagala kwe.’ (Bar. 8:38, 39) Ate era atukakasa nti “ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola” mu kusaba. (Zab. 145:18) Yakuwa atugamba nti bwe tumwesiga, tusobola okugumira ekizibu kyonna era ne tuba basanyufu wadde nga tulina ebizibu. (1 Kol. 10:13; Yak. 1:2, 12) Ate era Ekigambo kya Katonda kitujjukiza nti ebizibu bye twolekagana nabyo kati bya kaseera buseera era bitono, bw’obigeraageranya ku bulamu obutaggwaawo Yakuwa bwe yatusuubiza. (2 Kol. 4:16-18) Yakuwa atuwa essuubi nti ajja kuggirawo ddala ensibuko y’ebizibu bye tufuna, kwe kugamba, Sitaani Omulyolyomi, n’abo abamuwagira. (Zab. 37:10) Olinayo ebyawandiikibwa bye wakwata mu mutwe ebisobola okukuyamba okugumira ebizibu by’oyinza okufuna mu biseera eby’omu maaso?
12. Kiki Yakuwa ky’ayagala tukole bwe tuba ab’okuganyulwa mu bujjuvu mu Kigambo kye?
12 Yakuwa ayagala tusome Bayibuli obutayosa era tufumiitirize ku ebyo bye tusoma. Bwe tukolera ku ebyo bye tuyiga, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera era tweyongera okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu. N’ekivaamu, tufuna amaanyi agatuyamba okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo. Ate era abo abafuba okusoma Bayibuli, Yakuwa abawa omwoyo gwe omutukuvu. Omwoyo omutukuvu gutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” ne tusobola okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo.—2 Kol. 4:7-10.
13. Emmere ey’eby’omwoyo “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” gy’atuwa etuyamba etya okugumira ebizibu?
13 Yakuwa akozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okufulumya ebitabo, vidiyo, n’ennyimba, ebituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe n’okusigala nga tutunula mu by’omwoyo. (Mat. 24:45) Tusaanidde okukozesa mu bujjuvu ebyo byonna Yakuwa by’atuwa. Gye buvuddeko awo, mwannyinaffe omu abeera mu Amerika yayogera ku ngeri gy’asiimamu emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa. Yagamba nti: “Mu myaka 40 gye mmaze nga mpeereza Yakuwa, okukkiriza kwange kugezeseddwa mu ngeri nnyingi.” Mwannyinaffe oyo yayolekagana n’ebizibu bingi. Omuvuzi w’emmotoka eyali avuga ng’atamidde yatomera jjajjaawe n’afa, bazadde be bombi baafuna obulwadde obw’amaanyi era ne bafa, era naye yalwala obulwadde bwa kookolo emirundi ebiri. Kiki ekimuyambye okugumira ebizibu ebyo byonna? Agamba nti: “Bulijjo Yakuwa andabirira. Emmere ey’eby’omwoyo gy’atuwa okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi, ennyambye okugumiikiriza. Olw’emmere eyo ey’eby’omwoyo, nange nsobola okwogera nga Yobu eyagamba nti: ‘Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!’”—Yob. 27:5.
14. Yakuwa akozesa atya bakkiriza bannaffe okutuyamba mu biseera ebizibu? (1 Abassessalonika 4:9)
14 Yakuwa atendese abantu be okusobola okulagaŋŋana okwagala n’okuzziŋŋanamu amaanyi nga boolekagana n’ebizibu. (2 Kol. 1:3, 4; soma 1 Abassessalonika 4:9.) Okufaananako Eriku, bakkiriza bannaffe baagala nnyo okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu. (Bik. 14:22) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina kya Diane gye baamuyambamu okusigala nga munywevu mu by’omwoyo oluvannyuma lw’omwami we okufuna obulwadde obw’amaanyi. Diane agamba nti: “Ekiseera ekyo kyali kizibu nnyo gye ndi. Naye twalaba engeri Yakuwa gye yatuyambamu mu myezi egyo egyali emizibu ennyo. Ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina kyaffe baatuyamba mu ngeri ezitali zimu. Baatukyaliranga, baatukubiranga essimu, era baatubudaabudanga. Ebintu ebyo bye baakola byatuyamba okugumiikiriza. Olw’okuba sisobola kuvuga mmotoka, baganda bange ne bannyinaze bantwalanga mu nkuŋŋaana, era bantwalanga okubuulira ekiseera kyonna kye nnabanga nsobodde.” Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okuba ne bakkiriza bannaffe abatwagala ennyo!
TUSIIMA NNYO ENGERI YAKUWA GY’ATUFAAKO
15. Lwaki tuli bakakafu nti tusobola okugumira ebizibu?
15 Ffenna tujja kwolekagana n’ebizibu mu bulamu. Naye nga bwe tulabye, Yakuwa tatulekerera. Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo era atufaako. Aba mwetegefu okutuwuliriza bwe tumusaba atuyambe. (Is. 43:2) Tuli bakakafu nti tusobola okugumira ebizibu kubanga Yakuwa atuwadde byonna bye twetaaga okusobola okubigumira. Atuwadde enkizo ey’okusaba, Ekigambo kye Bayibuli, emmere ey’eby’omwoyo mu bungi, era ne bakkiriza bannaffe abatuyamba mu biseera ebizibu.
16. Kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okusobola okweyongera okutulabirira?
16 Tuli basanyufu nnyo okuba nti tulina Kitaffe ow’omu ggulu atufaako! Awatali kubuusabuusa, “emitima gyaffe gisanyukira mu ye.” (Zab. 33:21) Tusobola okukiraga nti tusiima engeri Yakuwa gy’atulabiriramu, nga tufuba okukozesa ebyo byonna by’atuwa. Tulina okubaako kye tukolawo Yakuwa okusobola okweyongera okutulabirira. Bwe tuneeyongera okugondera Yakuwa nga tufuba okukola ebyo by’ayagala, ajja kutulabirira emirembe gyonna!—1 Peet. 3:12.
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange