Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ekitundu “Erinnya Lyo Litukuzibwe” ekyali mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 2020, kyalambulula kitya ebyo bye tukkiriza ebikwata ku linnya lya Yakuwa ne ku bufuzi bwe?
Mu kitundu ekyo twalaba nti waliwo ensonga emu enkulu ekwata ku bitonde byonna ebitegeera. Era ensonga eyo ekwata ku kutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa ekkulu. Ensonga ekwata ku bufuzi, kwe kugamba, nti engeri Yakuwa gy’afugamu y’esingayo obulungi, nayo ezingirwa mu nsonga eyo enkulu. N’ensonga ekwata ku bugolokofu bw’abantu, nayo ezingirwa mu nsonga eyo enkulu.
Kati olwo lwaki tukikkaatiriza nti ensonga esingayo obukulu ekwata ku linnya lya Katonda ne ku kulitukuza? Ka tulabeyo ensonga ssatu.
Esooka, Sitaani yaleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa, mu lusuku Edeni. Ekibuuzo Sitaani kye yabuuza Kaawa kyali kiraga nti Yakuwa Katonda si mugabi, era nti ebiragiro bye yawa Adamu ne Kaawa tebyali bya bwenkanya. Oluvannyuma Sitaani yawakanya ekyo Katonda kye yayogera, era bw’atyo n’akiraga nti Katonda mulimba. Bwe kityo, Sitaani yaleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa. Yafuuka “Omulyolyomi,” ekitegeeza “oyo awaayiriza abalala.” (Yok. 8:44) Olw’okuba Kaawa yawuliriza obulimba bwa Sitaani, yajeemera Yakuwa n’agaana okugondera obufuzi bwe. (Lub. 3:1-6) Ne leero Sitaani akyaleeta ekivume ku linnya lya Katonda, ng’asaasaanya eby’obulimba ku Yakuwa. Emirundi mingi abo abakkiriza obulimba obwo bajeemera Yakuwa. N’olwekyo, abantu ba Katonda bakitwala nti okuvumaganya erinnya lya Katonda ekkulu, kye kintu ekikyasinzeeyo okuba ekitali kya bwenkanya. Kye kiviiriddeko okubonaabona n’ebintu byonna ebibi ebiri mu nsi.
Ey’okubiri, okusobola okuganyula ebitonde byonna, Yakuwa amaliridde okutukuza erinnya lye aliggyeko ekivume. Ekyo kye kintu ekisinga obukulu eri Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki agamba nti: “Nja kutukuza erinnya lyange ekkulu.” (Ezk. 36:23) Ne Yesu yalaga ensonga erina okusinga obukulu mu ssaala z’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bwe yagamba basabenga Yakuwa nti: “Erinnya lyo litukuzibwe.” (Mat. 6:9) Enfunda n’enfunda Bayibuli ekkaatiriza obukulu bw’okugulumiza erinnya lya Yakuwa. Lowooza ku byokulabirako bino: “Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.” (1 Byom. 16:29; Zab. 96:8) “Yimba ennyimba ezitendereza erinnya lye ery’ekitiibwa.” (Zab. 66:2) “Nja kugulumizanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.” (Zab. 86:12) Ogumu ku mirundi Yakuwa kennyini gye yayogera ng’asinziira mu ggulu, gwegwo Yesu bwe yali ku yeekaalu mu Yerusaalemi, n’asaba nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Yakuwa yaddamu essaala eyo ng’agamba nti: “Ndigulumizza era nja kuligulumiza nate.”—Yok. 12:28. a
Ey’okusatu, Ekigendererwa kya Yakuwa kikwatagana n’erinnya lye. Lowooza ku kino: Oluvannyuma lw’okugezesebwa okusembayo ng’Emyaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo gimaze okuggwaako, kiki ekinaddirira? Ebitonde ebitegeera bineeyongera okuba n’endowooza ez’enjawulo ku nsonga enkulu ekwata ku kutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa ekkulu? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka
twekenneenye ensonga bbiri ezirina akakwate, ezizingirwa mu nsonga eyo enkulu. Ensonga ezo ze zino; obugolokofu bw’abantu, ne ani agwanidde okufuga obutonde bwonna. Abantu kinaabeetaagisa okweyongera okukikakasa nti beesigwa eri Yakuwa? Nedda. Mu kiseera ekyo bajja kuba nga batuukiridde era nga bamaze okugezesebwa mu bujjuvu. Bajja kuba bafunye obulamu obutaggwaawo. Ebitonde ebitegeera kinaabyetaagisa okweyongera okuba n’endowooza ez’enjawulo ku ani agwanidde okufuga? Nedda. Kijja kuba kimaze okweyoleka bulungi nti Yakuwa y’agwanidde okufuga, era nti obufuzi bwe bwe busingayo okuba obulungi. Ate kiri kitya bwe kituuka ku linnya lya Yakuwa?Mu kiseera ekyo erinnya lya Yakuwa lijja kuba litukuziddwa, nga liggiddwako ddala ekivume. Naye lijja kweyongera okuba nga kye kintu ekisingayo obukulu eri abaweereza ba Yakuwa abeesigwa mu ggulu ne ku nsi. Lwaki? Kubanga bajja kulaba Yakuwa nga yeeyongera okukola ebintu ebyewuunyisa. Lowooza ku kino: Olw’okuba Yesu ajja kuzzaayo obufuzi eri Yakuwa, Katonda ajja ‘kubeera byonna eri buli omu.’ (1 Kol. 15:28) Oluvannyuma lw’ekyo, abantu ku nsi bajja kweyagalira mu ddembe “ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:21) Era Yakuwa ajja kutuukiriza mu bujjuvu ekigendererwa kye eky’okubeera n’amaka agali obumu, omuli ebitonde bye ebitegeera eby’omu ggulu n’eby’oku nsi.—Bef. 1:10.
Ebintu ebyo binaakwata bitya ku b’omu maka ga Yakuwa ab’omu ggulu n’ab’oku nsi? Kya lwatu nti tujja kuba twagala nnyo okweyongera okutendereza erinnya lya Yakuwa ekkulu. Dawudi yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Yakuwa Katonda atenderezebwe . . . Erinnya lye ery’ekitiibwa ka litenderezebwenga emirembe n’emirembe.” (Zab. 72:18, 19) Tujja kweyongera okufuna ensonga ezituleetera okutendereza erinnya lya Yakuwa emirembe n’emirembe.
Erinnya lya Yakuwa likiikirira buli kimu ekimukwatako. Okusingira ddala erinnya lye litujjukiza okwagala kw’alina. (1 Yok. 4:8) Bulijjo tujja kukijjukiranga nti Yakuwa yatutonda olw’okuba atwagala, yawaayo ekinunulo ku lwaffe olw’okuba atwagala, era nti engeri gy’afugamu ya butuukirivu era ya kwagala. Naye tujja kweyongera okulaba engeri Yakuwa gy’alagamu ebitonde bye okwagala. Emirembe n’emirembe tujja kweyongera okumusemberera, n’okuyimba ennyimba ezitendereza erinnya lye ekkulu.—Zab. 73:28.