Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa

Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa

Weeyongere Okuyiga Ebikwata ku Ngeri za Yakuwa

Bwe tuba tusoma Bayibuli, tusobola okweyambisa ebintu eby’enjawulo bye tukozesa mu kunoonyereza okusobola okumanya ebisingawo ku ekyo kye tusoma. Naye bwe tuba tunoonyereza tetwagala kukoma ku kumanya bulungi ebyo ebiri mu Bayibuli kyokka. Twagala n’okweyongera okuyiga ebikwata ku ngeri za Yakuwa, kituyambe okwongera okumwagala. Ekyo okusobola okukikola tusaanidde okwebuuza, ‘Kino kye nsomye mu Bayibuli kinjigiriza ku Yakuwa?’

Ng’ekyokulabirako, tuyinza okunoonyereza ebisingawo ku ngeri Yakuwa gy’alagamu okwagala, amagezi, obwenkanya, n’amaanyi. Naye ezo si ze ngeri zokka Yakuwa z’alina. Alina n’engeri endala ennungi nnyingi. Wa w’oyinza okusoma ebisingawo ebikwata ku ngeri ze?

Laba olukalala olulaga engeri za Yakuwa endala ezisukka mu 50 mu Watch Tower Publications Index wansi w’omutwe, “Yakuwa,” wansi w’omutwe omutono, “Engeri Ze.” Noonyereza ku ngeri ezikwatagana n’ekyo ky’oba osomako mu Bayibuli. (Bw’oba ng’okozesa Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, laba wansi w’omutwe, “Yakuwa Katonda,” wansi w’omutwe omutono, “Engeri za Yakuwa.”)