Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Munno mu Bufumbo bw’Aba ng’Alaba Ebifaananyi eby’Obuseegu

Munno mu Bufumbo bw’Aba ng’Alaba Ebifaananyi eby’Obuseegu
  • “Nnawulira ng’eyali akwatidde omwami wange mu bwenzi enfunda n’efunda.”

  • “Nnawulira obuswavu, nnawulira nti sisikiriza, era nti sirina mugaso.”

  • “Nnali sirina gwe nnyinza kukibuulirako. Kyannumira mu kimugunyu.”

  • “Muli nnawulira nti Yakuwa tanfaako.”

Ebigambo ebyo biraga obulumi omukyala bw’afuna singa omwami we aba alaba ebifaananyi eby’obuseegu. Era bwe kiba nti omwami abadde abirabira mu kyama, oboolyawo okumala emyezi oba emyaka, mukyala we ayinza okuwulira nga takyasobola kumwesiga. Omukyala omu yagamba nti: “Muli nneebuuza nti, ‘Omusajja ono muntu wa ngeri ki? Kyandiba nti waliwo ebintu ebirala by’ankweka?’”

Ekitundu kino kyategekebwa okuyamba omukyala alina omwami alaba ebifaananyi eby’obuseegu. a Kirimu emisingi gya Bayibuli egisobola okumubudaabuda, okumuyamba okuba omukakafu nti Yakuwa amwagala era nti mwetegefu okumuyamba, era egisobola okumuyamba okufuna emirembe ku mutima n’okusigala ng’alina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. b

KIKI KY’OSAANIDDE OKUKOLA SINGA MUNNO ABA ALABA EBIFAANANYI EBY’OBUSEEGU?

Wadde nga tolina ky’oyinza kukolawo ku bintu ebitali bimu omwami wo by’akola, osobola okubaako ky’okolawo okukendeeza ku bulumi bw’olina n’okufuna emirembe ku mutima. Lowooza ku bino wammanga.

Weewale okwesalira omusango. Omukyala ayinza okuwulira nti y’aviiriddeko omwami we okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Alice yali awulira nti waaliwo ekyali kimubulako. Yeebuuza, ‘Lwaki omwami wange asinga kwagala kutunuulira bakyala balala?’ Abakazi abamu beesalira omusango olw’engeri gye baba bakwaddwako ga balowooza be bongedde okusajjula embeera. Danielle c agamba nti, “Nnawulira obusungu bungi, era ekyo kyanviirako okulowooza nti nnali mukazi mubi eyali aviiriddeko obufumbo bwaffe okwonooneka.”

Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’owulira, kijjukire nti Yakuwa takitwala nti ggwe ovunaanyizibwa ku ebyo omwami wo by’akola. Yakobo 1:14 wagamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe.” (Bar. 14:12; Baf. 2:12) Mu kifo ky’okukusalira omusango, Yakuwa akusiima nnyo olw’okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali.​—2 Byom. 16:9.

Ate era kikulu okukimanya nti okuba nti omwami alaba ebifaananyi eby’obuseegu, tekitegeeza nti mukyala we alina ekimubulako ng’omukazi. Abanoonyereza ku nsonga eno bagamba nti okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kuleetera omusajja okufuna okwegomba okw’amaanyi okw’okwegatta, omukazi yenna kw’atasobola kukkusa.

Weewale okweraliikirira ekisukkiridde. Catherine agamba nti buli kiseera yalinga alowooza nti omwami we ali mu kulaba bifaananyi bya buseegu. Frances agamba nti: “Buli lwe mba nga simanyi mwami wange gy’ali, mba nneeraliikirira. Olunaku lwonna ndumala nneeraliikirira.” Abakyala abalala bagamba nti bawulira obuswavu bwe baba nga bali wamu ne Bakristaayo bannaabwe abayinza okuba nga bamanyi ku kizibu omwami waabwe ky’alina. Ate abalala bagamba nti bawulira ekiwuubaalo olw’okuba baba balowooza nti tewali n’omu ategeera mbeera yaabwe.

Kya bulijjo okuwulira bw’otyo. Naye bw’oba nga buli kiseera olowooza ku bintu ebyo, kikwongera kweraliikirira. Mu kifo ky’okubirowoozaako, fuba okussa ebirowoozo byo ku nkolagana yo ne Yakuwa. Ekyo kijja kukuyamba okugumira ekizibu ekyo.​—Zab. 62:2; Bef. 6:10.

Okusoma n’okufumiitiriza ku bakazi aboogerwako mu Bayibuli abaayolekagana n’ebizibu ne beeyabiza Yakuwa, kisobola okukuyamba. Mu mbeera ezimu Yakuwa teyaggyawo bizibu byabwe, naye yabayamba okufuna emirembe ku mutima. Ng’ekyokulabirako, Kaana yali “munakuwavu nnyo” olw’embeera gye yali ayitamu. Naye oluvannyuma ‘lw’okusaba okumala ekiseera kiwanvu,’ yafuna emirembe ku mutima wadde nga yali tamanyi byandivuddemu.​—1 Sam. 1:10, 12, 18; 2 Kol. 1:3, 4.

Omwami n’omukyala bombi kiyinza okubeetaagisa okusaba abakadde okubayamba

Saba abakadde mu kibiina bakuyambe. Basobola okuba “ng’ekifo eky’okuddukiramu okuwona embuyaga, ng’ekifo eky’okweggamamu enkuba ey’amaanyi.” (Is. 32:2, obugambo obuli wansi.) Bayinza n’okukubuulirayo mwannyinaffe gw’osobola okweyabiza n’asobola okukubudaabuda.​—Nge. 17:17.

OSOBOLA OKUMUYAMBA?

Kyandiba nti oyinza okuyamba omwami wo okuvvuunuka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu? Oboolyawo. Bayibuli egamba nti “ababiri basinga omu,” bwe kituuka ku kugonjoola ekizibu oba okulwanyisa omulabe ow’amaanyi. (Mub. 4:9-12) Okunoonyereza kulaga nti abafumbo bwe bakolera awamu okuyamba oyo alaba ebifaananyi eby’obuseegu okuvvuunuka omuze ogwo, emirundi mingi ebivaamu biba birungi, era mukyala we asobola okuddamu okumwesiga.

Kya lwatu, okusobola okuvvuunuka omuze ogwo kisinziira nnyo ku kuba nti munno mumalirivu okuguvvuunuka era akola kyonna ky’asobola okuguleka. Asabye Yakuwa okumuwa amaanyi okuguvvuunuka, era atuukiridde abakadde okumuyamba? (2 Kol. 4:7; Yak. 5:14, 15) Alinawo by’akoze okwewala okukemebwa okulaba ebifaananyi eby’obuseegu? Ng’ekyokulabirako, yeefuga mu ngeri gy’akozesaamu essimu ye oba kompyuta ye, era yeewala embeera eziyinza okumuviirako okulaba ebifaananyi eby’obuseegu? (Nge. 27:12) Mwetegefu okukkiriza obuyambi bwo era mwesimbu gy’oli? Bwe kiba kityo, osobola okumuyamba.

Oyinza kumuyamba otya? Lowooza ku kyokulabirako kino. Felicia yafumbirwa Ethan, eyali yatandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ng’akyali muto. Felicia akifuula kyangu eri Ethan okwogera naye ku kizibu ky’afuna eky’okuddamu okwegomba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ethan agamba nti: “Mbuulira mukyala wange engeri gye mba nneewuliramu era sirina kye mmukweka. Annyamba okwewala ebintu ebiyinza okundeetera okukemebwa okuddamu okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, era buli luvannyuma lwa kiseera ambuuza we mba ntuuse mu kulwanyisa ekizibu ekyo. Ate era annyamba okussa ekkomo ku ngeri gye nkozesaamu Intaneeti.” Kya lwatu nti Felicia kimuluma okuba nti Ethan yeegomba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Agamba nti: “Naye obusungu bwe mba nnina n’obulumi bwe mba mpulira tebimuyamba kwekutula ku muze ogwo. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku kwegomba okubi kw’aba nakwo, ate naye aba mwetegefu okumbudaabuda olw’obulumi bwe mba nnina.”

Abafumbo bwe boogera ku kizibu ekyo mu ngeri eyo, kiyamba omwami okulekayo omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, era kiyamba ne mukyala we okuddamu okumwesiga. Omwami bw’aba omwetegefu okubuulira mukyala we ku kwegomba okubi kw’aba nakwo, ebintu by’akola mu lunaku, ne wa gy’aba alaze, kiyamba mukyala we okumwesiga, kubanga aba talina ky’amukweka.

Okikkiriza nti naawe osobola kuyamba omwami wo mu ngeri y’emu? Bwe kiba kityo, lwaki temusomera wamu ekitundu kino era ne mukikubaganyaako ebirowoozo? Ekigendererwa ky’omwami wo kya kulekera awo kulaba bifaananyi eby’obuseegu n’okuba nti osobola okuddamu okumwesiga. Mu kifo ky’omwami wo okunyiiga olw’okuba oyagala mwogere ku kizibu ekyo, asaanidde okufuba okutegeera engeri ekizibu ekyo gye kikuleetera okwewuliramu. Osaanidde okumuyamba ng’afuba okulwanyisa omuze ogwo, era muwe akakisa okuddamu okumwesiga. Mmwembi kijja kubeetaagisa okumanya ensonga ereetera abantu okutandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu era n’engeri omuntu gy’ayinza okuvvuunukamu omuze ogwo. d

Bwe muba nga mutya nti bwe munaaba mukubaganya ebirowoozo muyinza okutandika okuyomba, mu kusooka muyinza okusaba omukadde abanguyira abeerewo nga mukubaganya ebirowoozo era abayambeko okubawa obulagirizi. Kimanye nti oluvannyuma lwa munno mu bufumbo okuvvuunuka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, kiyinza okutwala ekiseera okuddamu okumwesiga. Toggwaamu maanyi. Fumiitiriza ne ku buntu obutonotono bwe musobodde okukola okulongoosa enkolagana yammwe. Ba n’essuubi nti oluvannyuma lw’ekiseera, mmwembi bwe mugumiikiriza, mpolampola obufumbo bwammwe bujja kuddamu okunywera.​—Mub. 7:8; 1 Kol. 13:4.

WATYA SINGA TALEKAAYO MUZE OGWO?

Watya singa omwami wo addamuko okulaba ebifaananyi eby’obuseegu oluvannyuma lw’okulekera awo okubiraba? Ekyo kitegeeza nti teyeenenya oba nti tasobola kulekera awo kubiraba? Si bwe kiri. Nnaddala singa okulaba ebifaananyi ebyo kwali kwamufuukira muze, ayinza okuba ng’alina okulwanyisa ekizibu ekyo obulamu bwe bwonna. Ayinza okuddamuko okubiraba n’oluvannyuma lw’emyaka mingi nga yalekayo okubiraba. Okusobola okuziyiza ekyo okuddamu okubaawo, alina okubaako ebintu by’akola ebimutangira okuddamu okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ekyo alina okukikola ne bw’aba ng’awulira nti ekizibu ekyo yakivvuunuka. (Nge. 28:14; Mat. 5:29; 1 Kol. 10:12) Kiba kimwetaagisa okufuna ‘endowooza’ empya n’okuyiga ‘okukyawa ekibi,’ nga mwe muli okulaba ebifaananyi eby’obuseegu n’emize emirala emibi, gamba ng’ogw’okwemazisa. (Bef. 4:23; Zab. 97:10; Bar. 12:9) Mwetegefu okukola ebintu ebyo? Bwe kiba kityo, ayinza okuvvuunuka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. e

Ebirowoozo bisse ku nkolagana yo ne Yakuwa

Naye watya singa munno akiraga nti si mwetegefu kulwanyisa muze ogwo? Kya lwatu ekyo kiyinza okukuleetera okuwulira obusungu, okuwulira ng’oliiriddwamu olukwe, n’okuwulira ng’oweddemu amaanyi. Ensonga eyo gireke mu mikono gya Yakuwa, era ekyo kijja kukuyamba okufuna emirembe ku mutima. (1 Peet. 5:7) Weeyongere okusemberera Yakuwa nga weesomesa, ng’omusaba, era ng’ofumiitiriza. Bw’onookola bw’otyo, naye ajja kukusemberera. Nga Isaaya 57:15 bwe walaga, abeera wamu n’abo “abanyigirizibwa era abeetoowaze,” n’abazzaamu amaanyi. Fuba okuba Omukristaayo omulungi. Saba abakadde bakuyambe. Era sigala ng’olina essuubi nti mu biseera eby’omu maaso omwami wo ayinza okwekuba mu kufuba n’akyusaamu.​—Bar. 2:4; 2 Peet. 3:9.

a Wadde ng’ekitundu kino kyogera ku musajja alaba ebifaananyi eby’obuseegu, emisingi egikirimu giyamba n’omwami alina mukyala we alaba ebifaananyi eby’obuseegu.

b Okusinziira Byawandiikibwa, okulaba ebifaananyi eby’obuseegu si nsonga eviirako abafumbo okugattululwa.​—Mat. 19:9.

c Amannya agamu gakyusiddwa.

d Ebisobola okukuyamba bisange ku jw.org ne mu bitabo byaffe. Ng’ekyokulabirako, laba ekitundu “Ebifaananyi eby’Obuseegu Bisobola Okusaanyaawo Obufumbo,” ku jw.org; “Osobola Okuziyiza Ebikemo!,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 1, 2014, lup. 10-12; ne “Akabi Akali mu Kulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu?,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 1, 2013, lup. 3-7.

e Olw’okuba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu muze omuzibu ennyo okwekutulako, ng’oggyeeko okunoonya obuyambi okuva eri abakadde, abafumbo abamu basazeewo n’okunoonya obuyambi okuva eri abakugu mu nsonga eyo.