Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 34

Yigira ku Bunnabbi Obuli mu Bayibuli

Yigira ku Bunnabbi Obuli mu Bayibuli

“Abo abalina amagezi balitegeera.”​—DAN. 12:10.

OLUYIMBA 98 Ebyawandiikibwa​—Byaluŋŋamizibwa Katonda

OMULAMWA a

1. Kiki ekiyinza okutuyamba okunyumirwa okusoma ebikwata ku bunnabbi obuli mu Bayibuli?

 OW’OLUGANDA omuvubuka ayitibwa Ben agamba nti: “Nnyumirwa nnyo okusoma ebikwata ku bunnabbi obuli mu Bayibuli.” Okkiriziganya naye? Oba muli owulira nti obunnabbi bwa Bayibuli buzibu nnyo okutegeera? Oyinza n’okuba nga tonyumirwa kusoma bikwata ku bunnabbi. Naye bw’omanya ensonga lwaki Yakuwa yawandiisa obunnabbi obwo mu Bayibuli, oyinza okukyusa endowooza yo.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okumanya ebikwata ku bunnabbi bwa Bayibuli, era n’engeri gye tusaanidde okubwekenneenyamu. Tugenda kulabayo obunnabbi bwa mirundi ebiri ku obwo obuli mu kitabo kya Danyeri, era n’ensonga lwaki okutegeera obunnabbi obwo kyamuganyulo gye tuli leero.

LWAKI TUSAANIDDE OKWEKENNEENYA OBUNNABBI OBULI MU BAYIBULI?

3. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okutegeera obunnabbi obuli mu Bayibuli?

3 Okusobola okutegeera obunnabbi obuli mu Bayibuli, tusaanidde okusaba obuyambi. Lowooza ku kyokulabirako kino. Ka tugambe nti ogenze okukyala mu kitundu ky’otomanyi naye ng’ogenze ne mukwano gwo amanyi obulungi ekitundu ekyo. Amanyi bulungi wa we muli, na wa buli luguudo gye lulaga. Kya lwatu nti osanyuka nnyo okuba nti mukwano gwo oyo yakkirizza okujja naawe! Yakuwa ayinza okugeraageranyizibwa ku mukwano gwo oyo. Amanyi bulungi ekiseera kye tulimu, n’ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, okusobola okutegeera obulungi obunnabbi obuli mu Bayibuli, tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba.​—Dan. 2:28; 2 Peet. 1:19, 20.

Okwekenneenya obunnabbi obuli mu Bayibuli kituyamba okweteekerateekera ebintu ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso (Laba akatundu 4)

4. Lwaki Yakuwa yawandiisa obunnabbi mu Kigambo kye? (Yeremiya 29:11) (Laba n’ekifaananyi.)

4 Okufaananako omuzadde omulungi, Yakuwa ayagala abaana be babe bulungi mu biseera eby’omu maaso. (Soma Yeremiya 29:11.) Naye okwawukana ku bantu, Yakuwa asobola okutubuulira ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso, era bulijjo by’atubuulira biba bituufu. Yawandiisa obunnabbi mu Kigambo kye tusobole okumanya nga bukyali ebintu ebikulu ebinaabaawo. (Is. 46:10) N’olwekyo, obunnabbi obuli mu Bayibuli kirabo kya muwendo Kitaffe ow’omu ggulu kye yatuwa. Naye oyinza otya okuba omukakafu nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku biseera eby’omu maaso ddala bijja kutuukirira?

5. Kiki omwana ky’ayinza okuyigira ku Max?

5 Ku ssomero, abaana baffe emirundi mingi baba beetooloddwa abantu abatassa kitiibwa mu Bayibuli. Ebyo abantu abo bye boogera n’engeri gye beeyisaamu biyinza okuviirako omwana Omujulirwa wa Yakuwa okutandika okubuusabuusa ebyo by’akkiririzaamu. Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Max. Agamba nti: “Bwe nnali mu myaka egy’obutiini nnatandika okubuusabuusa obanga eddiini bazadde bange gye baali banjigiriza ye y’amazima, era obanga Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda.” Kiki bazadde be kye baakola? Agamba nti, “Baasigala bakkakkamu wadde nga bateekwa okuba nga baafuna okweraliikirira.” Bazadde ba Max baddamu ebibuuzo bye nga bakozesa Bayibuli. Naye ne Max alina kye yakolawo. Agamba nti: “Nze kennyini nneekenneenya obunnabbi obuli mu Bayibuli, era ebyo bye nnayiga ne mbikubaganyako ebirowoozo n’abaana abalala.” Kiki ekyavaamu? Max agamba nti: “Oluvannyuma lw’ekyo nnali mukakafu nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda!”

6. Bw’obaamu n’okubuusabuusa, kiki ky’osaanidde okukola, era lwaki?

6 Bwe kiba nti okufaananako Max naawe otandika okubuusabuusa obanga ddala Bayibuli erimu amazima, ekyo tekisaanidde kukuleetera kulumizibwa mutima. Naye olina okubaako ky’okolawo. Okubuusabuusa kuyinza okugeraageranyizibwa ku butalagge. Bw’otobaako ky’okolawo kuggyawo butalagge, buyinza okwonoona ekintu eky’omuwendo ennyo. Okusobola okweggyamu okubuusabuusa okuyinza okusaanyaawo okukkiriza kwo, osaanidde okwebuuza, ‘Nzikiriza ekyo Bayibuli ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso?’ Bw’oba ng’okibuusabuusa, oba osaanidde okwekenneenya obunnabbi bwa Bayibuli obwamala edda okutuukirira. Ekyo oyinza kukikola otya?

ENGERI Y’OKWEKENNEENYA OBUNNABBI OBULI MU BAYIBULI

Okusobola okuyiga okwesiga Yakuwa nga Danyeri bwe yali amwesiga, tusaanidde okwekenneenya obunnabbi nga tuli beetoowaze, nga tunoonyereza n’obwegendereza, era nga tulina ekigendererwa ekirungi (Laba akatundu 7)

7. Kyakulabirako ki Danyeri kye yassaawo ku ngeri y’okwekenneenyamu obunnabbi? (Danyeri 12:10) (Laba n’ekifaananyi.)

7 Ffenna Danyeri yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri y’okwekenneenyamu obunnabbi. Yeekenneenya obunnabbi ng’alina ekigendererwa ekirungi, kwe kugamba, okumanya amazima. Ate era yali mwetoowaze. Yali akimanyi nti Yakuwa okusobola okumuyamba okutegeera obunnabbi, yalina okusigala ng’alina enkolagana ey’oku lusegere naye, era ng’amugondera. (Dan. 2:27, 28; soma Danyeri 12:10.) Danyeri yakyoleka nti yali mwetoowaze nga yeesiga Yakuwa okumuyamba. (Dan. 2:18) Ate era yali yeekenneenya obunnabbi n’obwegendereza. Yanoonyereza mu Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa ebyaliwo mu kiseera ekyo. (Yer. 25:11, 12; Dan. 9:2) Oyinza otya okumukoppa?

8. Lwaki abamu tebaagala kukkiriza nti obunnabbi bwa Bayibuli butuukirira, naye ffe kiki kye tusaanidde okukola?

8 Lowooza ku kigendererwa kyo. Okwagala ennyo okumanya amazima ye nsonga ekuleetera okwekenneenya obunnabbi? Bwe kiba kityo, Yakuwa ajja kukuyamba. (Yok. 4:23, 24; 14:16, 17) Nsonga ki endala eyinza okuleetera omuntu? Abamu babwekenneenya nga balina ekigendererwa eky’okuzuula obukakafu obulaga nti Bayibuli teyaluŋŋamizibwa Katonda. Balowooza nti bwe kiba nti Bayibuli teyaluŋŋamizibwa Katonda, baba basobola okweteerawo emitindo egyabwe ku bwabwe egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Naye ffe tusaanidde okuba n’ekigendererwa ekirungi. Ate era waliwo engeri gye tusaanidde okuba nayo okusobola okutegeera obunnabbi obuli mu Bayibuli.

9. Ngeri ki gye tusaanidde okuba nayo okusobola okutegeera amazima agali mu Bayibuli? Nnyonnyola.

9 Beera mwetoowaze. Yakuwa asuubiza okuyamba abeetoowaze. (Yak. 4:6) N’olwekyo, tusaanidde okumusaba atuyambe okutegeera obunnabbi obuli mu Bayibuli. Bwe tuba abeetoowaze, era tujja kukkiriza obuyambi okuva eri omuddu omwesigwa era ow’amagezi Yakuwa gw’akozesa okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. (Luk. 12:42) Yakuwa Katonda akola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. N’olwekyo, kikola amakulu okugamba nti akozesa omukutu gumu gwokka okutuyamba okutegeera amazima agali mu Kigambo kye.​—1 Kol. 14:33; Bef. 4:4-6.

10. Kiki ky’oyigidde ku Esther?

10 Weekenneenye n’obwegendereza. Londa obunnabbi bw’osinga okwagala, era obwo bw’oba osooka okunoonyerezaako. Ekyo mwannyinaffe ayitibwa Esther kye yakola. Yali ayagala nnyo obunnabbi obukwata ku kujja kwa Masiya. Agamba nti: “Bwe nnali wa myaka 15, nnatandika okunoonya obukakafu obulaga nti obunnabbi obwo bwawandiikibwa nga Yesu tannajja ku nsi.” Ebyo bye yayiga mu kusoma ebikwata ku Mizingo gy’Ennyanja Enfu byamuleetera okuba omukakafu nti obunnabbi obwo butuufu. Agamba nti: “Egimu ku mizingo egyo gyawandiikibwa nga Yesu tannajja ku nsi, n’olwekyo obunnabbi obugirimu buteekwa okuba nga bwava eri Katonda.” Esther agattako nti, “Oluusi nnalinanga okusoma ebintu ebimu enfunda n’enfunda okusobola okubitegeera.” Naye musanyufu nti yafuba okwekenneenya obunnabbi obwo. Oluvannyuma lw’okwekennenya n’obwegendereza obunnabbi bwa Bayibuli obutali bumu, yagamba nti, “Nze kennyini nnakiraba nti ebyo ebiri mu Bayibuli bituufu!”

11. Tuganyulwa tutya bwe twekenneenya obukakafu obulaga nti Bayibuli ntuufu?

11 Bwe tulaba engeri obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli gye butuukiriziddwamu, kituyamba okwesigira ddala Yakuwa n’okwesiga engeri gy’atuwaamu obulagirizi. Ate era okuyitira mu bunnabbi bwa Bayibuli tumanya ebintu ebirungi ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo bwe tubwekenneenya, kituyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu wadde nga twolekagana n’ebizibu. Kati ka tulabeyo obunnabbi bubiri Danyeri bwe yawandiika, era n’engeri gye butuukirizibwamu kati. Okutegeera obunnabbi obwo kijja kutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

EBIGERE EBY’EKYUMA N’EBBUMBA BIKUKWATAKO BITYA?

12. Ebigere ‘eby’ekyuma ekitabuddwamu ebbumba ebbisi’ bikiikirira ki? (Danyeri 2:41-43)

12 Soma Danyeri 2:41-43. Mu kirooto Danyeri kye yannyonnyola Kabaka Nebukadduneeza, ebigere by’ekibumbe kabaka oyo kye yalaba, byali bya ‘kyuma ekitabuddwamu ebbumba ebbisi.’ Bwe tugeraageranya obunnabbi obwo n’obulala obuli mu kitabo kya Danyeri n’eky’Okubikkulirwa, tukiraba nti ebigere bikiikirira gavumenti ya Bungereza n’Amerika, obufuzi kirimaanyi obuliwo leero. Ng’ayogera ku bufuzi kirimaanyi obwo, Danyeri yagamba nti “obwakabaka obwo ku luuyi olumu buliba bwa maanyi, ate ku luuyi olulala buliba bunafu.” Lwaki ku luuyi olumu obwakabaka obwo bwandibadde bunafu? Kubanga abantu aba bulijjo, abakiikirirwa ebbumba ebbisi, balemesa obwakabaka obwo okukozesa amaanyi gaabwo mu bujjuvu agalinga ag’ekyuma. b

13. Bintu ki ebikulu bye tuyiga mu bunnabbi obukwata ku bigere eby’ekyuma n’ebbumba?

13 Waliwo ebintu ebikulu bye tuyiga mu ebyo Danyeri bye yayogera ku kibumbe ekyalabibwa mu kirooto, naddala ebyo bye yayogera ku bigere by’akyo. Ekisooka, Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika bwolese amaanyi mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, bw’akola kinene mu kuwangula Ssematalo asooka ne Ssematalo ow’okubiri. Kyokka obufuzi obwo bunafuyiziddwa era bujja kweyongera okunafuyizibwa olw’obukuubagano obuliwo mu bantu be bufuga. Eky’okubiri, obwakabaka obwo bwe bufuzi kirimaanyi obusembayo, obujja okuba nga bwe bufuga Obwakabaka bwa Katonda we bunajjira okusaanyaawo obufuzi bw’abantu bwonna. Wadde ng’amawanga agamu oluusi gagezaako okuwakanya enfuga y’Obufuzi Kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika, tegajja kusobola kubuggyawo. Ekyo kiri bwe kityo kubanga “ejjinja” erikiikirira Obwakabaka bwa Katonda, lye lijja okubetenta ebigere, ekitundu eky’ekibumbe ekikiikirira obufuzi bwa Bungereza n’Amerika.​—Dan. 2:34, 35, 44, 45.

14. Okutegeera amakulu g’obunnabbi obukwata ku bigere eby’ekyuma n’ebbumba, kituyamba kitya okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

14 Oli mukakafu nti obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku bigere eby’ekyuma n’ebbumba butuufu? Bwe kiba kityo, ekyo kijja kukwata ku ngeri gy’otambuzaamu obulamu bwo. Tojja kugezaako kunoonya bya bugagga mu nsi eno eneetera okusaanyizibwawo. (Luk. 12:16-21; 1 Yok. 2:15-17) Ate era okutegeera obunnabbi obwo kijja kukuyamba okulaba obukulu bw’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu. (Mat. 6:33; 28:18-20) Oluvannyuma lw’okwekenneenya obunnabbi obwo, weebuuze, ‘Ebyo bye nsalawo biraga nti ndi mukakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okusaanyaawo gavumenti z’abantu zonna?’

MU NGERI KI “KABAKA OW’EBUKIIKAKKONO” ‘N’OW’EBUKIIKADDYO’ GYE BAKUKWATAKO?

15. “Kabaka ow’ebukiikaddyo” ne “kabaka ow’ebukiikakkono,” be baani leero? (Danyeri 11:40)

15 Soma Danyeri 11:40. Danyeri essuula 11 eyogera ku bakabaka babiri, oba obufuzi bwa mirundi ebiri obulwana okuba nga bwe businga amaanyi mu nsi. Bwe tugeraageranya obunnabbi obwo n’obunnabbi obulala obuli mu Bayibuli, tukiraba nti “kabaka ow’ebukiikakkono” ye Russia n’ensi ezigiwagira, ate “kabaka ow’ebukiikaddyo” bwe bufuzi kirimaanyi obwa Bungereza n’Amerika. c

Bwe tukimanya nti okuyigganyizibwa okuva eri “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo” kutuukiriza obunnabbi obuli mu Bayibuli, kituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe n’okwewala okweraliikirira ekisukkiridde (Laba akatundu 16-18)

16. Kizibu ki abantu ba Katonda ababeera mu kitundu ekifugibwa “kabaka ow’ebukiikakkono” kye boolekagana nakyo?

16 Abantu ba Katonda abali mu kitundu ekifugibwa “kabaka ow’ebukiikakkono,” bayigganyizibwa butereevu kabaka oyo. Abamu bakubiddwa era ne basibibwa makomera olw’okukkiriza kwabwe. Naye baganda baffe abo tebatidde, era ebyo “kabaka ow’ebukiikakkono” by’abakola byongedde kunyweza kukkiriza kwabwe. Lwaki? Kubanga bakimanyi nti okuyigganyizibwa abantu ba Katonda kwe boolekagana nakwo kutuukiriza obunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri. d (Dan. 11:41) Okumanya ekyo kituyamba okweyongera okuba abakakafu ku bintu Katonda by’asuubiza, era n’okuba abamalirivu okusigala nga tuli beesigwa gy’ali.

17. Kusoomooza ki abantu ba Katonda ababeera mu kitundu ekifugibwa “kabaka ow’ebukiikaddyo” kwe boolekagana nakwo?

17 Mu biseera eby’emabega, “kabaka ow’ebukiikaddyo” naye yalumba butereevu abantu ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, wakati w’omwaka gwa 1900 ne 1950, bangi baasibibwa olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, era abamu ku baana b’Abajulirwa ba Yakuwa baagobebwa mu masomero olw’ensonga y’emu. Kyokka mu myaka egiyise, obwesigwa bw’abantu ba Katonda ababeera mu kitundu ekifugibwa kabaka ow’ebukiikaddyo bugezeseddwa mu ngeri ndala. Ng’ekyokulabirako, mu biseera by’okulonda Omukristaayo kiyinza okumubeerera ekizibu obutabaako kibiina kya bya bufuzi ky’awagira, oba omuntu eyeesimbyewo gw’awagira. Ayinza obutagenda kulonda, naye mu mutima gwe ayinza okubaako oludda lw’awagira. Mazima ddala kikulu nnyo okusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, ka kibe mu bikolwa, oba mu mutima gwaffe!​—Yok. 15:18, 19; 18:36.

18. Tukwatibwako tutya bwe tulaba okusindikagana okuliwo wakati wa “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo? (Laba n’ekifaananyi.)

18 Abo abatakkiririza mu bunnabbi bwa Bayibuli bayinza okweraliikirira ennyo bwe balaba nga “kabaka ow’ebukiikaddyo” ‘asindikagana’ ne “kabaka ow’ebukiikakkono.” (Dan. 11:40) Bakabaka abo bombi balina ebyokulwanyisa eby’amaanyi ga nukiriya ebisobola okusaanyaawo ebintu byonna ebiramu ku nsi. Naye tukimanyi nti ekyo Yakuwa tasobola kukikkiriza kubaawo. (Is. 45:18) N’olwekyo, mu kifo ky’okweraliikirira, okusindikagana kwa bakabaka abo kwongera kunyweza kukkiriza kwaffe. Kutukakasa nti enkomerero eneetera okutuuka.

WEEYONGERE OKUSSAAYO OMWOYO KU BUNNABBI

19. Tuli bakakafu ku ki bwe kituuka ku bunnabbi obuli mu Bayibuli?

19 Tetumanyi ngeri obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli gye bunaatuukirizibwamu. Ne Danyeri yali tategeera makulu g’ebintu ebimu bye yawandiika. (Dan. 12:8, 9) Naye okuba nti tetutegeera mu bujjuvu ngeri obunnabbi gye bujja okutuukirizibwamu, tekitegeeza nti tebujja kutuukirira. Tuli bakakafu nti mu kiseera ekituufu Yakuwa ajja kutubikkulira ebyo bye twetaaga okumanya, nga bwe yakola mu biseera eby’emabega.​—Am. 3:7.

20. Bintu ki ebyogerwako mu bunnabbi obuli mu Bayibuli ebinaatera okubaawo, era kiki kye tusaanidde okweyongera okukola?

20 Wajja kubaawo okulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu.’ (1 Bas. 5:3) Ekinaddirira, gavumenti z’ensi zijja kusaanyaawo amadiini ag’obulimba. (Kub. 17:16, 17) Oluvannyuma zijja kulumba abantu ba Katonda. (Ezk. 38:18, 19) Era olutalo olusembayo, Amagedoni, lujja kutandika. (Kub. 16:14, 16) Tuli bakakafu nti ebintu ebyo binaatera okubaawo. Nga bwe tubirindirira, ka tweyongere okusiima Kitaffe ow’omu ggulu atwagala, nga tussaayo omwoyo ku bunnabbi obuli mu Bayibuli era nga tuyamba n’abalala okukola kye kimu.

OLUYIMBA 95 Ekitangaala Kyeyongera

a Embeera mu nsi k’ebe mbi kwenkana wa, tusobola okuba abakakafu nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi. Okwekenneenya obunnabbi obuli mu Bayibuli kye kituyamba okuba abakakafu ku ekyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okwekenneenya obunnabbi obuli mu Bayibuli. Ate era mu bumpimpi tugenda kulaba obunnabbi bwa mirundi ebiri ku obwo Danyeri bwe yawandiika, n’engeri kinnoomu gye tuganyulwa mu kutegeera obunnabbi obwo.

b Laba ekitundu “Yakuwa Abikkula ‘Ebintu Ebiteekwa Okubaawo Amangu,’” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 15, 2012, kat. 7-9.

c Laba ekitundu “Kabaka ow’Ebukiikakkono y’Ani Leero?,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 2020, kat. 3-4.

d Laba ekitundu “Kabaka ow’Ebukiikakkono y’Ani Leero?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 2020, kat. 7-9.