EKITUNDU EKY’OKUSOMA 35
OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo
Engeri Abakadde Gye Bayinza Okuyamba Abo Ababa Baggiddwa mu Kibiina
“Mu ggulu ebaayo essanyu lingi olw’omwonoonyi omu eyeenenya okusinga olw’abatuukirivu 99 abateetaaga kwenenya.”—LUK. 15:7.
EKIGENDERERWA
Okumanya ensonga lwaki abantu abamu balina okuggibwa mu kibiina, era n’engeri abakadde gye bayinza okuyamba abantu ng’abo okwenenya n’okuddamu okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.
1-2. (a) Yakuwa atwala atya abo abakola ekibi eky’amaanyi naye ne bagaana okwenenya? (b) Kiki Yakuwa ky’asuubira aboonoonyi okukola?
YAKUWA akyayira ddala ekibi, era tekiri nti buli ngeri yonna abantu gye beeyisaamu ekkirizibwa mu maaso ge. (Zab. 5:4-6) Ayagala tukolere ku mitindo gye egy’obutuukirivu gye yatuwa mu Kigambo kye. Kya lwatu nti Yakuwa tasuubira bantu abatatuukiridde kukwata mateeka ge mu ngeri etuukiridde. (Zab. 130:3, 4) Kyokka era tagumiikiriza ‘bantu abatatya Katonda, abafuula ekisa kye eky’ensusso okuba ekyekwaso eky’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwagwa.’ (Yud. 4) Mu butuufu, Bayibuli eraga nti “abantu abatatya Katonda” bajja kuzikirizibwa ku lutalo Amagedoni.—2 Peet. 3:7; Kub. 16:16.
2 Naye Yakuwa tayagala muntu yenna kuzikirira. Nga bwe tuzze tulaba mu Omunaala gw’Omukuumi guno, Bayibuli ekyoleka bulungi nti Yakuwa ayagala abantu “bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Okufaananako Yakuwa, abakadde baba bagumiikiriza nga bagezaako okuyamba omwonoonyi okwenenya n’okuddamu okuba n’enkolagana ne Yakuwa. Naye oluusi omwonoonyi ayinza okugaana okwenenya. (Is. 6:9) Abamu beeyongera n’okukola ebintu ebibi wadde ng’abakadde bagezaako enfunda n’enfunda okubayamba okwenenya. Mu mbeera ng’eyo kiki ekisaanidde okukolebwa?
“OMUNTU OMUBI MUMUGGYE MU MMWE”
3. (a) Okusinziira ku bulagirizi obuli mu Bayibuli, kiki ekisaanidde okukolerwa aboonoonyi abateenenya? (b) Lwaki tugamba nti omwonoonyi y’aba yeesaliddewo okuggibwa mu kibiina?
3 Omwonoonyi bw’agaana okwenenya, abakadde baba balina okukolera ku bulagirizi obuli mu 1 Abakkolinso 5:13, awagamba nti: “Omuntu omubi mumuggye mu mmwe.” Tuyinza okugamba nti ekyo omwonoonyi y’aba akyesaliddewo. Aba akungula ekyo kye yasiga. (Bag. 6:7) Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga aba agaanyi okukyusaamu wadde ng’abakadde bagezezzaako enfunda n’enfunda okumuyamba okwenenya. (2 Bassek. 17:12-15) Ebikolwa bye biba biraga nti asazeewo obutagoberera mitindo gya Yakuwa.—Ma. 30:19, 20.
4. Lwaki ekirango kiyisibwa ng’omwonoonyi aggiddwa mu kibiina?
4 Omwonoonyi ateenenya bw’aggibwa mu kibiina, ekirango kiyisibwa nti takyali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. a Ekigendererwa ky’okuyisa ekirango ekyo tekiba kya kuswaza mwonoonyi. Ekirango ekyo kiyisibwa ekibiina kisobole okukolera ku bulagirizi buno: “Mulekere awo okukolagana” n’omuntu oyo era “n’okulya temulyanga na muntu ng’oyo.” (1 Kol. 5:9-11) Waliwo ensonga ennungi lwaki Yakuwa yatuwa ekiragiro ekyo. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.” (1 Kol. 5:6) Abantu abateenenya bibi byabwe bwe bataggibwa mu kibiina, kiyinza okuviirako abalala okulowooza nti tebeetaaga kunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.—Nge. 13:20; 1 Kol. 15:33.
5. Tusaanidde kutwala tutya omuntu aba aggiddwa mu kibiina, era lwaki?
5 Kati olwo tusaanidde kutwala tutya mukkiriza munnaffe aba aggiddwa mu kibiina? Wadde nga tuba tetukyakolagana naye, tusaanidde okumutwala ng’endiga eyabula so si ng’omuntu atakyasobola kukyusaamu. Endiga eba ebuze okuva ku kisibo esobola okudda. Tusaanidde okukijjukira nti omuntu oyo aba yeewaayo eri Yakuwa. Eky’ennaku, mu kiseera ng’aggiddwa mu kibiina aba takyatuukiriza bweyamo obwo, era ekyo kiba kya kabi nnyo gy’ali. (Ezk. 18:31) Naye nga wakyaliwo ekiseera, era nga Yakuwa mwetegefu okusaasira omuntu oyo, wabaawo essuubi nti luliba olwo n’akyusaamu. Kati olwo abakadde bayinza batya okuyamba omwonoonyi aba aggiddwa mu kibiina?
ENGERI ABAKADDE GYA BAYAMBA ABO ABABA BAGGIDDWA MU KIBIINA
6. Biki abakadde bye bakola okuyamba omuntu aba aggiddwa mu kibiina?
6 Omuntu bw’aggibwa mu kibiina, abakadde balekera awo okugezaako okumuyamba okudda eri Yakuwa? Nedda! Abakadde bwe baba bategeeza omwonoonyi ateenenya nti aggiddwa mu kibiina, bamubuulira by’asaanidde okukola ebinaamusobozesa okukomezebwawo. Naye bakola n’ekisingako awo. Mu mbeera ezisinga, bategeeza omwonoonyi oyo nti bandyagadde okuddamu okwogerako naye nga wayiseewo emyezi balabe obanga akyusizza endowooza ye. Omwonoonyi bw’aba omwetegefu okuddamu okwogerako n’abakadde, ekiseera bwe kituuka ne baddamu okwogerako naye, bamukubiriza okwenenya akomewo eri Yakuwa. Naye ne bw’aba nga mu kiseera ekyo tannakyusa ndowooza ye, abakadde bakola enteekateeka okuddamu okwogerako naye emirundi emirala.
7. Abakadde booleka batya obusaasizi ng’obwa Yakuwa nga bagezaako okuyamba omuntu aba aggiddwa mu kibiina? (Yeremiya 3:12)
7 Abakadde bafuba okwoleka obusaasizi ng’obwa Yakuwa nga bagezaako okuyamba omuntu aba aggiddwa mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa teyalinda bantu be abajeemu ab’omu Isirayiri ey’edda okusooka okubaako kye bakolawo. Mu kifo ky’ekyo, ye yasooka okubaako ky’akolawo okubayamba nga tewannabaawo na kabonero konna kalaga nti baali beetegefu okwenenya. Nga bwe twalaba mu kitundu eky’okubiri mu Omunaala gw’Omukuumi guno, Yakuwa yagamba nnabbi Koseya okukomyawo ewuwe mukyala we eyali akyenyigira mu bwenzi. Okuyitira mu kyokulabirako ekyo, Yakuwa yayamba abantu be okukiraba nti musaasizi nnyo. (Kos. 3:1; Mal. 3:7) Olw’okuba abakadde bakoppa Yakuwa, baba baagala omwonoonyi okudda eri Yakuwa era bafuba okulaba nti bakifuula kyangu gy’ali okukola ekyo.—Soma Yeremiya 3:12.
8. Olugero lwa Yesu olukwata ku mwana eyali azaaye, lutuyamba lutya okweyongera okutegeera engeri Yakuwa gy’atwalamu abo ababa bavudde mu kibiina? (Lukka 15:7)
8 Lowooza nate ku lugero lwa Yesu olukwata ku mwana eyali azaaye olwayogerwako mu kitundu eky’okubiri ekya magazini eno. Taata bwe yalengera mutabani we oyo ng’akomawo eka, ‘yadduka n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.’ (Luk. 15:20) Weetegereze nti taata teyalinda mutabani we kusooka kumusaba kisonyiwo. Mu kifo ky’ekyo, yadduka okumwaniriza olw’okuba yali amwagala. Abakadde bafuba okwoleka endowooza y’emu eri abo ababa bavudde mu kibiina. Baba baagala endiga ezo ezaabula ‘okukomawo eka.’ (Luk. 15:22-24, 32) Wabaawo essanyu lingi nnyo mu ggulu omwonoonyi bwe yeenenya, era bwe kityo bwe kiba ne ku nsi!—Soma Lukka 15:7.
9. Kiki Yakuwa ky’akubiriza aboonoonyi okukola?
9 Okusinziira ku ebyo bye twakalaba, kyeyoleka bulungi nti Yakuwa tayagala boonoonyi abateenenya okusigala mu kibiina. Naye asigala akyabayamba. Ayagala bakomewo gy’ali. Ate endowooza Yakuwa gy’alina ku boonoonyi abeenenya yeeyolekera mu bigambo bino ebiri mu Koseya 14:4, awagamba nti: “Ndibawonya obutali bwesigwa bwabwe. Ndibaagala okuviira ddala ku mutima, kubanga obusungu bwange bubavuddeko.” Abakadde bwe bamanya endowooza Yakuwa gy’alina, bafuba okwetegereza okulaba obanga waliwo akabonero konna akalaga nti omwonoonyi atandise okwenenya. Ate era ebigambo ebyo bisaanidde okuleetera abo ababa bavudde ku Yakuwa okukiraba nti abaagala era ayagala bakomewo gy’ali awatali kulwa.
10-11. Abakadde bagezaako batya okuyamba abo abaggibwa mu kibiina emyaka mingi emabega?
10 Ate kiri kitya eri abo abaggibwa mu kibiina oboolyawo emyaka mingi emabega? Abantu ng’abo bayinza okuba nga tebakyakola kibi ekyabaviirako okuggibwa mu kibiina. Mu mbeera ezimu bayinza n’okuba nga tebakyajjukira nsonga lwaki baggibwa mu kibiina. Ka wabe nga wayise bbanga ki ng’omuntu aggiddwa mu kibiina, abakadde basaanidde okugezaako okunoonya omuntu oyo n’okumukyalira. Bwe baba bamukyalidde, bayinza okusabirako awamu naye era ne bamukubiriza okukomawo mu kibiina. Kya lwatu, bwe waba nga wayise emyaka mingi bukyanga aggibwa mu kibiina, aba anafuye nnyo mu by’omwoyo. N’olwekyo, bw’akyoleka nti ayagala okukomawo mu kibiina, abakadde bayinza okukola enteekateeka ne wabaawo ayiga naye Bayibuli ne bw’aba nga tannakomezebwawo mu kibiina. Mu mbeera zonna abakadde be balina okukola enteekateeka omuntu oyo okuyigirizibwa Bayibuli.
11 Olw’okuba abakadde booleka obusaasizi ng’obwa Yakuwa, bafuba okunoonya abo bonna abaava ku Yakuwa era n’okubakubiriza okukomawo gy’ali. Omwonoonyi bwe yeenenya n’alekayo ebikolwa bye ebibi, akomezebwawo mu kibiina awatali kulwa.—2 Kol. 2:6-8.
12. (a) Mbeera ki ezeetaagisa abakadde okuba abeegendereza ennyo? (b) Lwaki tetusaanidde kukitwala nti aboonoonyi abamu Yakuwa tasobola kubasonyiwa? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
12 Mu mbeera ezimu abakadde balina okwegendereza ennyo nga tebannakomyawo muntu mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’aba nga yakabasanya omwana, oba nga yali kyewaggula, oba nga yakola olukujjukujju n’agattululwa ne munne mu bufumbo, abakadde balina okuba abakakafu nti ddala yeenenyezza. (Mal. 2:14; 2 Tim. 3:6) Balina okukuuma ekisibo. Kyokka era basaanidde okukijjukira nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa omwonoonyi eyeenenya mu bwesimbu n’alekera awo okwenyigira mu bintu ebibi. N’olwekyo, wadde ng’abakadde balina okukakasa nti omuntu eyakola ekibi eky’amaanyi ekyayisa obubi ennyo abalala ddala yeenenyezza, tebasaanidde kukitwala nti omuntu oyo Yakuwa tasobola kumusonyiwa. b—1 Peet. 2:10.
AB’OLUGANDA MU KIBIINA KYE BASOBOLA OKUKOLA
13. Njawulo ki eriwo wakati w’engeri gye tuyisaamu omuntu aba akangavvuddwa n’oyo aba aggiddwa mu kibiina?
13 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, oluusi ekirango kiyisibwa nti omuntu akangavvuddwa. Mu mbeera ng’eyo tusobola okweyongera okukolagana naye nga tukimanyi nti yeenenya n’alekayo ebikolwa bye ebibi. (1 Tim. 5:20) Aba akyali wa mu kibiina, era aba yeetaaga bakkiriza banne okubeeranga awamu naye bamuzzeemu amaanyi. (Beb. 10:24, 25) Naye si bwe kityo bwe kiri eri omuntu aba aggiddwa mu kibiina. Tulina okulekera awo ‘okukolagana’ n’omuntu oyo era ‘n’okulya tetulya naye.’—1 Kol. 5:11.
14. Abakristaayo bayinza batya okukozesa omuntu waabwe ow’omunda bwe kituuka ku ngeri gye bayisaamu abo ababa gaggiddwa mu kibiina? (Laba n’ekifaananyi.)
14 Ekyo kitegeeza nti tulina okwewalira ddala omuntu aba aggiddwa mu kibiina? Kiyinza obutaba kityo. Kya lwatu, tetulina kukolagana naye. Naye Abakristaayo basobola okukozesa omuntu waabwe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli okusalawo obanga banaamuyita okujja mu nkuŋŋaana. Oboolyawo omuntu oyo ayinza okuba omu ku b’eŋŋanda zaabwe oba nga yali mukwano gwabwe ow’oku lusegere. Kiki kye tusaanidde okukola ng’azze? Emabega, omuntu ng’oyo tubaddenga tetulina kumubuuza. Naye ne mu nsonga eno, buli Mukristaayo asaanidde okukozesa omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. Abamu bayinza okusalawo okubuuza ku muntu oyo oba okumwaniriza. Naye tetusaanidde kunyumya naye kumala kiseera ekiwera oba okukolera awamu naye ebintu ebirala.
15. Boonoonyi ba ngeri ki aboogerwako mu 2 Yokaana 9-11? (Laba n’akasanduuko “ Yokaana ne Pawulo Baali Boogera ku Kibi Kye Kimu?”)
15 Naye abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Bayibuli tegamba nti ‘Omukristaayo alamusa omuntu ng’oyo aba assa kimu naye mu bikolwa bye ebibi?’ (Soma 2 Yokaana 9-11.) Ebyo ebiri mu nnyiriri ezo biraga nti obulagirizi obwo bwali bukwata ku bakyewaggula n’abalala abatumbula ebikolwa ebivumirirwa mu Bayibuli. (Kub. 2:20) N’olwekyo, omuntu bw’aba ng’asaasaanya enjigiriza za bakyewaggula, oba ng’akubiriza abalala okukola ebikolwa ebibi, abakadde tebakola nteekateeka kumukyalira. Wadde kiri kityo, omuntu oyo ayinza okutuusa ekiseera ne yeenenya. Naye ng’ekyo tannakikola, tetumulamusa era tetumuyita kujja mu nkuŋŋaana.
OKUKOPPA OBUSAASIZI BWA YAKUWA
16-17. (a) Kiki Yakuwa ky’ayagala aboonoonyi okukola? (Ezeekyeri 18:32) (b) Abakadde bakiraga batya nti bakolera wamu ne Yakuwa nga bagezaako okuyamba aboonoonyi okwenenya?
16 Biki bye tuyize mu Omunaala gw’Omukuumi guno? Yakuwa tayagala muntu yenna kuzikirira! (Soma Ezeekyeri 18:32.) Ayagala aboonoonyi badde gy’ali. (2 Kol. 5:20) Eyo ye nsonga lwaki mu byafaayo byonna, enfunda n’enfunda azze akubiriza abantu be abajeemu, omuli abantu kinnoomu, okwenenya badde gy’ali. Abakadde mu kibiina balina enkizo ey’okukolera awamu ne Yakuwa nga bafuba okuyamba aboonoonyi okwenenya.—Bar. 2:4; 1 Kol. 3:9.
17 Lowooza ku ssanyu eriba mu ggulu ng’aboonoonyi beenenyezza! Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu afuna essanyu eryo buli endiga ye eba yabula lw’ekomawo mu kibiina. Buli lwe tufumiitiriza ku busaasizi bwa Yakuwa ne ku kisa ky’alaga, tweyongera okumwagala.—Luk. 1:78.
OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu
a Abantu ng’abo tetukyabayita abagobeddwa mu kibiina. Nga bwe kiragibwa mu bigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 5:13, kati abantu ng’abo tujja kubayitanga abaggiddwa mu kibiina.
b Bayibuli eraga nti abantu abamu tebayinza kusonyiyibwa bibi byabwe. Abantu ng’abo baba baasalawo okuwakanya Katonda. Yakuwa ne Yesu bokka be bayinza okusalawo obanga omuntu akoze ekibi ekitayinza kusonyiyibwa.—Mak. 3:29; Beb. 10:26, 27.