Eri Abasomi
Omusomi Waffe Omwagalwa
Mu Omunaala gw’Omukuumi guno tugenda kulaba ebitundu bitaano ebiddamu ebibuuzo bino wammanga:
Ekisooka, nteekateeka ki Yakuwa gy’akoze okuyamba abantu okulwanyisa ekibi n’okukiwangula?
Eky’okubiri, Yakuwa atuyigirizza atya kye kitegeeza okwenenya mu bwesimbu, era ayamba atya aboonoonyi okwenenya?
Eky’okusatu, ekibiina ky’e Kkolinso kyalagirwa kukwata kitya omuntu eyali akoze ekibi mu bugenderevu ate n’agaana okwenenya?
Eky’okuna, abakadde bayamba batya omuntu akoze ekibi eky’amaanyi?
Eky’okutaano, omuntu akoze ekibi eky’amaanyi n’ateenenya bw’aggibwa mu kibiina, ekibiina kiyinza kitya okweyongera okulaga omuntu oyo okwagala era n’obusaasizi?