Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 31

OLUYIMBA 12 Yakuwa, Katonda ow’Ekitalo

Yakuwa ky’Akoze Okununula Abantu Aboonoonyi

Yakuwa ky’Akoze Okununula Abantu Aboonoonyi

“Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.”YOK. 3:16.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ekyo Yakuwa ky’akoze okuyamba abantu okulwanyisa ekibi, era n’enteekateeka gy’akoze tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo nga tetukyafugibwa kibi.

1-2. (a) Ekibi kye ki, era tuyinza tutya okukiwangula? (Laba “n’Ebigambo Ebinnyonnyolwa.”) (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino ne mu bitundu ebirala ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi guno? (Laba n’ekitundu, “Eri Abasomi” mu Omunaala gw’Omukuumi guno.)

 YAKUWA akwagala kyenkana wa? Okumanya ekyo ky’akoze okusobola okukununula mu kibi n’okufa, kisobola okukuyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Ekibi a mulabe wa maanyi nnyo gw’otosobola kuwangula ku lulwo. Ffenna twonoona buli lunaku, era ffenna tufa olw’ekibi. (Bar. 5:12) Naye eky’essanyu kiri nti olw’obuyambi Yakuwa bw’atuwa tusobola okuwangula ekibi. Mu butuufu, tewali kubuusabuusa kwonna nti tusobolera ddala okuwangula ekibi!

2 Okumala emyaka nga 6,000, Yakuwa azze ayamba abantu okulwanyisa ekibi. Lwaki? Kubanga atwagala nnyo. Akiraze nti ayagala nnyo abantu okuviira ddala lwe yabatonda, era akoze ebintu bingi okubayamba okulwanyisa ekibi. Akimanyi nti ekibi kireeta okufa, ate nga tayagala tufe. Ayagala tubeere balamu emirembe gyonna. (Bar. 6:23) Mu butuufu ekyo ky’akwagaliza. Mu kitundu kino, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino bisatu: (1) Ssuubi ki Yakuwa lye yawa abantu aboonoonyi? (2) Kiki abantu aboonoonyi mu biseera eby’edda kye baakola okusobola okusanyusa Yakuwa? (3) Kiki Yesu kye yakola okununula abantu mu kibi n’okufa?

SSUUBI KI YAKUWA LYE YAWA ABANTU ABOONOONYI?

3. Bazadde baffe abaasooka baafuuka batya aboonoonyi?

3 Yakuwa bwe yatonda omusajja n’omukazi abaasooka, yali ayagala babeere basanyufu. Yabawa ekifo ekirungi ennyo eky’okubeeramu, ekirabo eky’obufumbo, n’omulimu oguleeta essanyu. Baali ba kuzaala baale bajjuze ensi yonna, era bagifuule ekifo ekirabika obulungi ennyo ng’olusuku Edeni bwe lwali. Naye yabawa etteeka limu lyokka eritaali zzibu kugondera. Era yabalabula nti bwe bandisazeewo okumenya etteeka eryo, bandifudde. Tumanyi ekyabaawo. Malayika omu eyali tayagala Katonda era eyali tayagala bantu, yabakema okukola ekibi. Adamu ne Kaawa baawuliriza ebyo malayika oyo bye yabagamba. Baajeema, bwe kityo ne bakyoleka nti baali tebeesiga Kitaabwe eyali abaagala. Nga bwe tukimanyi obulungi, ekyo Yakuwa kye yabagamba kyali kituufu. Okuva ku olwo baayolekagana n’ebyo ebyava mu bujeemu: baatandika okukaddiwa era oluvannyuma ne bafa.—Lub. 1:​28, 29; 2:​8, 9, 16-18; 3:​1-6, 17-19, 24; 5:5.

4. Lwaki Yakuwa akyayira ddala ekibi era n’atuyamba okukirwanyisa? (Abaruumi 8:​20, 21)

4 Ebyo ebyaliwo Yakuwa yabiwandiisa mu Bayibuli tusobole okubiganyulwamu. Bituyamba okutegeera ensonga lwaki akyayira ddala ekibi. Ekibi kyonoona enkolagana yaffe ne Kitaffe, era kituviirako okufa. (Is. 59:2) Sitaani tayagalira ddala Yakuwa era tayagala bantu. Eyo ye nsonga lwaki yakema Adamu ne Kaawa okwonoona, era akyeyongera okukema abantu leero. Adamu ne Kaawa bwe baamuwuliriza, ayinza okuba nga yalowooza nti yali alemesezza ekigendererwa kya Yakuwa okutuukirira. Naye yali takimanyi nti Yakuwa alina okwagala kungi nnyo. Katonda takyusanga kigendererwa kye yalina eri bazzukulu ba Adamu ne Kaawa. Olw’okuba ayagala nnyo abantu, mangu ddala yabaako ky’akolawo okubawa essuubi. (Soma Abaruumi 8:​20, 21.) Yakuwa yali akimanyi nti abamu ku bantu bandibadde basalawo okumwagala n’okumugondera. Era olw’okuba ye Kitaabwe era Omutonzi waabwe, yandibadde abasobozesa okumusemberera basobole okununulwa okuva mu kibi n’okufa. Kiki Yakuwa kye yandikoze ekyo okusobola okubaawo?

5. Ddi Yakuwa lwe yasooka okuwa abantu aboonoonyi essuubi? Nnyonnyola. (Olubereberye 3:15)

5 Soma Olubereberye 3:15. Mangu ddala Yakuwa yagamba nti yandibadde azikiriza Sitaani era ekyo kyandiwadde abantu essuubi. Katonda yagamba nti yandissizzaawo “ezzadde” eryandibadde linunula abantu. Oluvannyuma ezzadde eryo lyandibadde libetenta Sitaani, ne limalawo ebintu byonna ebibi ebyajjawo olw’obujeemu obwali mu Edeni. (1 Yok. 3:8) Naye okusobola okukola ekyo, ezzadde eryo lyandibadde liyita mu bulumi. Okusookera ddala Sitaani yandibadde abetenta ekisinziiro ky’ezzadde eryo, kwe kugamba yandibadde aleetera ezzadde eryo okufa. Ekyo kyandibadde kireetera Yakuwa obulumi bungi nnyo. Naye Yakuwa yandibadde mwetegefu okuyita mu bulumi obwo okusobola okununula abantu okuva mu kibi n’okufa.

KIKI ABANTU ABOONOONYI ABAALIWO MU BISEERA BY’EDDA KYE BAAKOLA OKUSIIMIBWA YAKUWA?

6. Kiki abasajja abaalina okukkiriza, gamba nga Abbeeri ne Nuuwa, kye baakola okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?

6 Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yakuwa yagenda alaga engeri abantu aboonoonyi gye bandibadde basobola okufuna enkolagana ennungi naye. Abbeeri, omwana wa Adamu ne Kaawa ow’okubiri, ye muntu eyasooka okukkiririza mu Yakuwa oluvannyuma lw’obujeemu obwaliwo mu Edeni. Olw’okuba Abbeeri yali ayagala Yakuwa era ng’ayagala okumusanyusa n’okumusemberera, yawaayo ssaddaaka gy’ali. Okuva bwe kiri nti Abbeeri yali mulunzi wa ndiga, yatoola ezimu ku ndiga ze n’azitta, n’aziwaawo nga ssaddaaka eri Yakuwa. Ekyo Yakuwa yakitwala atya? ‘Yasiima Abbeeri era n’asiima n’ekiweebwayo kye.’ (Lub. 4:4) Yakuwa era yasiima ssaddaaka ezaaweebwayo abantu abalala abaali bamwagala era baali bamwesiga, gamba nga Nuuwa. (Lub. 8:​20, 21) Yakuwa bwe yasiima ssaddaaka ng’ezo, yakiraga nti abantu aboonoonyi basobola okusiimibwa mu maaso ge era nti basobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. b

7. Ibulayimu yali mwetegefu okuwaayo omwana we. Ekyo tukiyigirako ki?

7 Ibulayimu yalina okukkiriza okw’amaanyi ennyo. Yakuwa yamugamba okukola ekintu ekyali ekizibu ennyo, kwe kugamba, okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka. Ekyo kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Ibulayimu. Wadde kiri kityo, yakkiriza okukola ekyo Yakuwa kye yamugamba. Bwe yali anaatera okutta mutabani we, Yakuwa yamugaana okukikola. Ekyo kituyamba okutegeera ekyo Yakuwa kye yali agenda okukola mu biseera eby’omu maaso. Yali agenda kuwaayo Omwana we gw’ayagala ennyo nga ssaddaaka. Mazima ddala Yakuwa ayagala nnyo abantu.—Lub. 22:​1-18.

8. Ssaddaaka ennyingi Abayisirayiri ze baawangayo zaali zisonga ku ki? (Eby’Abaleevi 4:​27-29; 17:11)

8 Yakuwa bwe yawa Abayisirayiri Amateeka, yabagamba okuwangayo ssaddaaka okusobola okutangirira ebibi byabwe. (Soma Eby’Abaleevi 4:​27-29; 17:11.) Ssaddaaka ezo zaali zisonga ku ssaddaaka esingawo, eyandibadde eggirawo ddala ekibi. Katonda yaluŋŋamya bannabbi okuwandiika ku zzadde eryasuubizibwa. Ezzadde eryo yandibadde Mwana wa Katonda ow’enjawulo eyandibadde abonyaabonyezebwa, era eyandibadde attibwa ng’endiga eyaweebwangayo nga ssaddaaka. (Is. 53:​1-12) Kirowoozeeko: Yakuwa yali agenda kuwaayo Omwana we gw’ayagala ennyo nga ssaddaaka okusobola okulokola abantu okuva mu kibi n’okufa, era nga mu bantu abo naawe mw’oli!

YESU YANUNULA ATYA ABANTU?

9. Kiki Yokaana Omubatiza kye yayogera ku Yesu? (Abebbulaniya 9:22; 10:​1-4, 12)

9 Mu mwaka 29 E.E., Yokaana Omubatiza bwe yalaba Yesu ow’e Nazaaleesi, yagamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga owa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!” (Yok. 1:29) Ebigambo ebyo byalaga nti Yesu ye yali ezzadde eryali lyasuubizibwa. Yandibadde awaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Kyaddaaki ezzadde Yakuwa lye yasuubiza lyali lizze okununula abantu okuva mu kibi n’okufa.—Soma Abebbulaniya 9:22; 10:​1-4, 12.

10. Yesu yakyoleka atya nti yajja “kuyita” boonoonyi?

10 Okusingira ddala Yesu yassa essira ku kuyamba abantu abaali bawulira nga bazitoowereddwa olw’ekibi, era yabakubiriza okufuuka abagoberezi be. Yali akimanyi nti ekibi kye kyali kiviirako abantu okubonaabona. Okusingira ddala yayamba abasajja n’abakazi abaali bamanyiddwa okuba aboonoonyi. Yagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.” Era yagattako nti: “Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.” (Mat. 9:​12, 13) Ekyo kyennyini Yesu kye yakola. Ng’ekyokulabirako, omukazi omwonoonyi bwe yajja gy’ali n’atonnyesa amaziga ku bigere bye era n’abisimuula ng’akozesa enviiri ze, yamusonyiwa ebibi bye. (Luk. 7:​37-50) Yabuulira omukazi Omusamaliya amazima ag’omuwendo wadde nga yali akimanyi bulungi nti omukazi oyo yali yeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Yok. 4:​7, 17-19, 25, 26) Era Katonda yamuwa n’obuyinza okuggyawo ekintu ekisingayo obubi ekireetebwa ekibi, nga kwe kufa. Yamusobozesa okuzuukiza abantu ab’enjawulo, omwali abasajja, abakazi, n’abaana.—Mat. 11:5.

11. Lwaki abantu aboonoonyi baayagalanga nnyo Yesu?

11 Tekyewuunyisa nti n’abantu abaali aboonoonyi ennyo baayagalanga nnyo Yesu. Yabasaasiranga era yabalumirirwanga. Tebaatyanga kumutuukirira. (Luk. 15:​1, 2) Era abalinga abo Yesu yabasiima era yabawa empeera olw’okumukkiririzaamu. (Luk. 19:​1-10) Yesu yali musaasizi nga Kitaawe. (Yok. 14:9) Mu bye yayogeranga ne bye yakolanga, yakiraga nti Kitaawe omusaasizi ayagala nnyo abantu era nti buli omu ku bo ayagala okumuyamba okulwanyisa ekibi. Yesu yayamba abantu aboonoonyi okuba abeetegefu okukyusa amakubo gaabwe bamugoberere.—Luk. 5:​27, 28.

12. Kiki Yesu kye yayigiriza abagoberezi be ku kufa kwe?

12 Yesu yali amanyi bulungi bye yali agenda okuyitamu. Emirundi egisukka mu gumu, yagamba abagoberezi be nti yandiriiriddwamu olukwe era n’attibwa ku muti. (Mat. 17:22; 20:​18, 19) Yali akimanyi nti ssaddaaka ye yandibadde eggyawo ebibi by’ensi nga Yokaana ne bannabbi bwe baali bagambye. Yesu era yagamba nti oluvannyuma lw’okuwaayo obulamu bwe, yandibadde ‘asika abantu aba buli kika’ okujja gy’ali. (Yok. 12:32) Abantu aboonoonyi bandibadde basobola okusanyusa Yakuwa nga bakkiririza mu Yesu, era nga batambulira mu bigere bye. Bwe bandikoze bwe batyo oluvannyuma bandibadde ‘baggibwa mu buddu bw’ekibi.’ (Bar. 6:​14, 18, 22; Yok. 8:32) N’olwekyo, Yesu yali muvumu era yali mwetegefu okufa mu ngeri ey’obulumi ennyo.—Yok. 10:​17, 18.

13. Yesu yafa atya, era okufa kwe kutuyigiriza ki ku Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Yesu yaliibwamu olukwe, yakwatibwa, yavumibwa, yawaayirizibwa, yasalirwa ogw’okufa, era yatulugunyizibwa. Abasirikale baamutwala we yali agenda okuttirwa ne bamukomerera ku muti. Bwe yali ayita mu bulumi obwo obw’amaanyi, waliwo omulala eyali awulira obulumi obw’amaanyi n’okusingawo, ng’ono ye Yakuwa Katonda. Yakuwa yalina obuyinza n’obusobozi okuyamba Omwana we obutayita mu bulumi obwo, naye teyakikola. Yakuwa ayagala nnyo Omwana we. Lwaki yamuleka okuyita mu bulumi obw’amaanyi bwe butyo? Kubanga ayagala nnyo abantu. Yesu yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.”—Yok. 3:16.

Yakuwa bwe yaleka Omwana we okuttibwa, yayita mu bulumi obw’amaanyi ennyo okusobola okutununula mu kibi n’okufa (Laba akatundu)


14. Ssaddaaka ya Yesu ekuyamba kutegeera ki?

14 Ssaddaaka ya Yesu bwe bukakafu obusingayo okulaga nti Yakuwa ayagala nnyo bazzukulu ba Adamu ne Kaawa. Eraga nti Yakuwa akwagala nnyo. Yeefiiriza nnyo, n’ayita mu bulumi obusingayo okuba obw’amaanyi, okusobola okukununula mu kibi n’okufa. (1 Yok. 4:​9, 10) Mazima ddala, ayagala okuyamba buli omu ku ffe okulwanyisa ekibi n’okukiwangula!

15. Kiki kye tulina okukola okusobola okuganyulwa mu ssaddaaka ya Yesu?

15 Ekirabo Katonda kye yawa abantu, kwe kugamba, ssaddaaka y’Omwana we eyazaalibwa omu yekka, kitusobozesa okusonyiyibwa ebibi. Naye Katonda okusobola okutusonyiwa, tulina okubaako kye tukolawo. Kiki kye tulina okukola? Eky’okuddamu kiri mu bigambo bya Yokaana Omubatiza n’ebya Yesu. Baagamba nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” (Mat. 3:​1, 2; 4:17) N’olwekyo, kikulu okwenenya bwe tuba nga twagala okulwanyisa ekibi n’okufuna enkolagana ne Kitaffe atwagala. Naye kiki ekizingirwa mu kwenenya, era okwenenya kutuyamba kutya okuwangula ekibi? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Mu Bayibuli, ekigambo “ekibi” kiyinza okutegeeza okukola ebintu Katonda by’atayagala, oba okulemererwa okukola ebintu Katonda by’ayagala. Naye era ekigambo “ekibi” kiyinza okutegeeza obutali butuukirivu bwe twasikira okuva ku Adamu. Ekibi kye twasikira kye kituviirako ffenna okufa.

b Yakuwa yakkiriza ssaddaaka z’abaweereza be abeesigwa abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi, kubanga yali akimanyi nti mu biseera eby’omu maaso Yesu yandiwaddeyo obulamu bwe nga ssaddaaka, n’anunula abantu okuva mu kibi n’okufa.—Bar. 3:25.