Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Okussa eriiso ku muntu okwogerwako mu 2 Abassessalonika 3:14 kulina kukolebwa kibiina oba Bakristaayo kinnoomu?

Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo b’omu Ssessalonika nti: ‘Omuntu yenna atagondera kigambo kyaffe ekiri mu bbaluwa eno, mumusseeko eriiso.’ (2 Bas. 3:14) Emabega tubaddenga tugamba nti obulagirizi obwo bwa bakadde. Singa wabaddengawo omuntu agaana okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli, abakadde babaddenga bawa emboozi erabula ekibiina. Oluvannyuma, ababuulizi kinnoomu babaddenga beewala okubeerako n’omuntu oyo mu biseera byabwe eby’eddembe.

Naye ekyo twetaaga okukikolamu enkyukakyuka. Kati tukitegeera nti okubuulirira kwa Pawulo okwo kukwata ku nsonga Omukristaayo gy’alina okwesalirawo kinnoomu ng’asinziira ku mbeera eriwo. N’olwekyo abakadde tekikyabetaagisa kuwa mboozi erabula ekibiina. Lwaki enkyukakyuka eyo yeetaagisa? Lowooza ku ekyo Pawulo kye yali ayogerako bwe yali awa okubuulirira kuno.

Pawulo yagamba nti abamu mu kibiina baali ‘tebatambula bulungi.’ Yali ababuuliridde ng’akozesa Ebyawandiikibwa naye baali bagaanye okukolera ku bye yabagamba. Lwe yasembayo okubakyalira yali abagambye nti: “Omuntu yenna atayagala kukola, n’okulya talyanga.” Kyokka waliwo abaali bagaanye okukolera ku kubuulirira okwo, wadde nga baali basobola okukola okweyimirizaawo. Ate era baali beeyingiza mu nsonga za balala. Abakristaayo baalina kuyisa batya abo abaali batatambula bulungi?—2 Bas. 3:​6, 10-12.

Pawulo yagamba nti ‘mubasseeko eriiso.’ Ekigambo ky’Oluyonaani kirina amakulu ag’okutegeera abantu abo, era n’obeewala baleme okukwonoona. Obulagirizi obwo Pawulo yabuwa ekibiina kyonna, so si bakadde bokka. (2 Bas. 1:1; 3:6) N’olwekyo Abakristaayo kinnoomu abandirabye mukkiriza munnabwe ng’ajeemera okubuulirira okuva mu Byawandiikibwa bandibadde basalawo ‘okulekere awo okukolagana naye.’

Ekyo kyali kiteegeza nti omuntu oyo yandiyisiddwa ng’omuntu aggiddwa mu kibiina? Nedda. Pawulo yagattako nti: “Mweyongere okumubuulirira ng’ow’oluganda.” N’olwekyo, Omukristaayo kinnoomu yali asobola okusalawo okukolagana n’omuntu oyo mu nkuŋŋaana ne mulimu gw’okubuulira naye ne yeewala okubeerako naye oyo mu biseera bye eby’eddembe. Lwaki? Pawulo yagamba nti: “Alyoke akwatibwe ensonyi.” Olw’okuba Abakristaayo abalala bandibadde bassa ku muntu ng’oyo eriiso, yandibadde aswala n’akyusa amakubo ge.—2 Bas. 3:​14, 15.

Abakristaayo leero bayinza batya okukolera ku kubuulirira okwo? Okusooka, tulina okukakasa nti enneeyisa y’omuntu oyo eraga nti ‘tatambula bulungi,’ nga Pawulo bwe yagamba. Yali tayogera kw’abo abaawukana ku ffe bwe kituuka ku bintu bye tusalawo nga tusinziira ku muntu waffe ow’omunda, oba ku ebyo bye twagala. Era yali tateegeza abo abaakola ebintu ebyatulumya, wabula yali ayogera kw’abo mu bugenderevu abagaana okukolera ku kuwabula okutegeerekeka obulungi okuva eri Katonda.

Leero mukkiriza munnaffe bw’asalawo mu bugenderevu obutakolera ku kubuulirira okuli mu Bayibuli, a tusobola okusalawo obutakolagana naye mu biseera byaffe eby’eddembe. Olw’okuba buli omu aba alina okwesalirawo ku nsonga eno, kye tusalawo tetusaanidde kukibuulirako abo be tutabeera nabo mu maka gaffe. Kyokka tuba tusobola okukolagana naye nga tuli mu nkuŋŋaana ne mu mulimu gw’okubuulira. Bw’akyusa endowooza ye n’enneeyisa ye, tuba tusobola okuddamu okukolagana naye mu bujjuvu.

a Mukkiriza munaffe ayinza okugaana okukola omulimu gw’okweyimirizaawo wadde ng’asobola, okwogereza omuntu atali mukkiriza, okwogera ebintu ebireetawo enjawukana mu kibiina, oba okusaasaanya olugambo. (1 Kol. 7:39; 2 Kol. 6:14; 2 Bas. 3:​11, 12; 1 Tim. 5:13) Abo abakola ebintu ebyo baba ‘tebatambula bulungi.’