EKITUNDU EKY’OKUSOMA 16
Amazima Agakwata ku Kufa, n’Okusigala nga Tuli Beesigwa
‘Tumanya ekigambo ekiruŋŋamiziddwa eky’amazima n’ekigambo ekiruŋŋamiziddwa eky’obulimba.’—1 YOK. 4:6.
OLUYIMBA 73 Tuwe Obuvumu
OMULAMWA *
1-2. (a) Sitaani alimbyelimbye atya abantu? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
OKUVIIRA ddala mu kiseera kya Adamu ne Kaawa, Sitaani, “kitaawe w’obulimba,” azze alimbalimba abantu. (Yok. 8:44) Obumu ku bulimba Sitaani bw’abunyisa bwebwo obukwata ku kufa n’ekyo ekibaawo oluvannyuma lw’omuntu okufa. Emikolo mingi n’obulombolombo abantu bye bakola byesigamiziddwa ku bulimba bwa Sitaani obwo. N’olwekyo bangi ku baganda baffe ne bannyinaffe kibeetaagisa “okulwanirira ennyo okukkiriza” kwabwe nga bafiiriddwa omu ku b’eŋŋanda zaabwe, oba nga waliwo afudde mu kitundu mwe babeera.—Yud. 3.
2 Bwe weesanga mu mbeera ng’abalala baagala weenyigire mu bulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa, kiki ekisobola okukuyamba okunywerera ku mazima agali mu Bayibuli? (Bef. 6:11) Oyinza otya okubudaabuda n’okugumya Mukristaayo munno apikirizibwa okwenyigira mu bulombolombo obutasanyusa Katonda? Mu kitundu kino tugenda kulaba obulagirizi Yakuwa bw’atuwa ku nsonga eno. Ka tusooke tulabe Bayibuli ky’eyogera ku kufa.
AMAZIMA AGAKWATA KU MBEERA Y’ABAFU
3. Kiki ekyava mu bulimba obwasooka?
3 Tekyali kigendererwa kya Katonda abantu okufa. Naye Adamu ne Kaawa okusobola okubeerawo emirembe gyonna, baalina okugondera Yakuwa eyali abawadde ekiragiro kino ekyangu ennyo: “Omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi togulyangako, kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.” (Lub. 2:16, 17) Naye Sitaani yabalimbalimba ne bagwa mu mitawaana. Ng’ayitira mu musota, Sitaani yayogera ne Kaawa n’amugamba nti: “Okufa temujja kufa.” Eky’ennaku, Kaawa yakkiriza obulimba obwo n’alya ekibala. Oluvannyuma n’omwami we naye yalya ekibala. (Lub. 3:4, 6) Bwe kityo ekibi n’okufa byayingira mu nsi.—Bar. 5:12.
4-5. Sitaani yeeyongedde atya okulimbalimba abantu?
4 Nga Katonda bwe yali agambye, Adamu ne Kaawa baafa. Naye Sitaani teyakoma ku bo kulimbalimba bantu ku bikwata ku kufa. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo Sitaani yatandika okubunyisa obulimba obulala obukwata ku kufa. Obumu ku bulimba obwo bwebwo obugamba nti omubiri gwe gufa, naye nti wabaawo ekiwonawo ne kyeyongera okuba ekiramu mu ttwale ery’emyoyo. Obulimba obwo buviiriddeko abantu bangi okubuzaabuzibwa.—1 Tim. 4:1.
5 Lwaki abantu bangi bakkiriza obulimba bwa Sitaani? Sitaani amanyi engeri okufa gye kukwata ku bantu. Olw’okuba Katonda yali atutonze nga tuli ba kubeerawo emirembe gyonna, tetwagala kufa. (Mub. 3:11) Okufa tukutwala ng’omulabe.—1 Kol. 15:26.
6-7. (a) Sitaani asobodde okukweka amazima agakwata ku kufa? Nnyonnyola. (b) Amazima agali mu Bayibuli gatuyamba gatya obuteeraliikirira kiteetaagisa?
6 Wadde nga Sitaani afubye okulimbalimba abantu, tasobodde kukweka mazima agakwata ku kufa. Mu butuufu, leero abantu bangi bamanyi amazima agali mu Bayibuli agakwata ku mbeera y’abafu n’ekyo Katonda ky’agenda okukolera abaafa, era bagabuulira abalala. (Mub. 9:5, 10; Bik. 24:15) Amazima ago gatubudaabuda nnyo era gatuyamba obutaba mu kutya nga tuteebereza ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde. Ng’ekyokulabirako, tetutya bafu, era tetweraliikirira nti abantu baffe abaafa bali eyo babonaabona. Tukimanyi nti si balamu era nti tebasobola kulumya muntu yenna. Bali ng’abali mu tulo otungi. (Yok. 11:11-14) Ate era tukimanyi nti abafu tebamanyi kiseera kiyiseewo bukya bafa. N’olwekyo, mu kuzuukira, n’abo abanaaba bamaze emyaka n’emyaka nga bafudde, bajja kuwulira ng’awabadde waakayita akaseera katono bukya bafa.
7 Mu butuufu, amazima agakwata ku mbeera y’abafu mangu okutegeera era gakola amakulu. Amazima ago gaawukana nnyo ku bulimba bwa Sitaani obubuzaabuza! Ng’oggyeeko okubuzaabuza abantu, obulimba bwa Sitaani buleeta ekivume ku Mutonzi waffe. Okusobola okutegeera obulungi obuzibu Sitaani bw’aleseewo, tugenda kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Obulimba bwa Sitaani buleese butya ekivume ku Yakuwa? Buleetedde butya abantu okulowooza nti tekyetaagisa kukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu? Bwongedde butya ku nnaku n’okubonaabona abantu bye balina?
OBULIMBA BWA SITAANI BUVUDDEMU EMITAWAANA MINGI
8. Nga bwe kiragibwa mu Yeremiya 19:5, obulimba bwa Sitaani obukwata ku bafu buleeta butya ekivume ku Yakuwa?
8 Obulimba bwa Sitaani obukwata ku bafu buleeta ekivume ku Yakuwa. Obumu ku bwo bwebwo obugamba nti Katonda abonyaabonya abafu mu muliro ogutazikira. Enjigiriza ng’ezo zireeta ekivume ku Katonda! Mu ngeri ki? Enjigiriza ezo ziraga nti Katonda ow’okwagala alina engeri ze zimu ng’eza Sitaani Omulyolyomi. (1 Yok. 4:8) Ekyo kikuleetera kuwulira otya? Ate okuva bwe kiri nti Yakuwa akyawa ebikolwa eby’obukambwe, olowooza ye ekyo kimuleetera kuwulira atya?—Soma Yeremiya 19:5.
9. Obulimba bwa Sitaani buleetedde butya abantu okulowooza nti tekyetaagisa kukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo eyogerwako mu Yokaana 3:16 ne 15:13?
9 Obulimba bwa Sitaani obukwata ku kufa buleetera abantu okulowooza nti tekyetaagisa kukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. (Mat. 20:28) Obulimba bwa Sitaani obulala bw’ebwo bugamba nti abantu bwe bafa waliwo ekintu ekibavaamu ne kisigala nga kiramu. Singa ekyo kyali kituufu, kyandibadde kitegeeza nti buli muntu abeerawo emirembe gyonna nga mulamu. Kyandibadde tekyetaagisa Yesu kuwaayo bulamu bwe ng’ekinunulo abantu basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Kijjukire nti ssaddaaka ya Yesu kye kintu ekisingayo okulaga okwagala okungi Yakuwa ne Yesu kwe balina eri abantu. (Soma Yokaana 3:16; 15:13.) Lowooza ku ngeri Yakuwa ne Yesu gye batwalamu enjigiriza ezireetera ekirabo ekyo eky’omuwendo ennyo kye baatuwa okulabika ng’ekyali kiteetaagisa!
10. Obulimba bwa Sitaani obukwata ku kufa bwongedde butya okuleetera abantu ennaku n’okubonaabona?
10 Obulimba bwa Sitaani bwongedde kuleetera bantu nnaku na kubonaabona. Abazadde bwe bafiirwa omwana waabwe, abantu abamu bayinza okubagamba nti Katonda y’atutte omwana waabwe, oboolyawo amufuule malayika mu ggulu. Kya lwatu nti obulimba bwa Sitaani obwo tebukendeeza ku bulumi abazadde abo bwe baba balina, wabula bubwongerako bwongezi. Ate enjigiriza ey’obulimba egamba nti Katonda ayokya abantu mu muliro ogutazikira eviiriddeko abantu abamu okutulugunya bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu abaawakanyanga enjigiriza z’Ekkereziya baabawanikanga ku miti ne babookya omuliro. Ekitabo ekimu ekyogera ku kkooti eyabonerezanga abantu abaawakanyanga enjigiriza z’Ekkereziya kigamba nti, abamu ku balamuzi ba kkooti eyo baayokyanga abantu abaawakanyanga enjigiriza z’Ekkereziya nga balowooza nti mu kubookya, abantu abo banditegedde obulumi omuntu bw’abaamu ng’ali mu muliro ogutazikira ne beenenya baleme kugenda mu muliro ogutazikira. Mu mawanga mangi abantu basinza abafu, babawa ekitiibwa, era babasaba okubawa emikisa. Ate abalala bakola ebintu ebitali bimu okusanyusa abantu baabwe abaafa nga balowooza nti singa tebabikola abantu abo basobola okukomawo ne bababonereza. Enjigiriza za Sitaani ezo ez’obulimba tezibudaabuda bantu n’akamu. Mu kifo ky’ekyo zibaleetera okweraliikirira ekiteetaagisa n’okubeera mu kutya.
ENGERI GYE TUYINZA OKUNYWERERA KU MAZIMA AGALI MU BAYIBULI
11. Ab’eŋŋanda zaffe n’ab’emikwano bayinza batya okugezaako okutupikiriza okumenya amateeka ga Katonda?
11 Okwagala kwe tulina eri Katonda n’Ekigambo kye kutuleetera okuba abamalirivu okugondera Yakuwa ne mu mbeera ng’ab’eŋŋanda zaffe oba mikwano gyaffe bagezaako okutupikiriza okwenyigira mu bulombolombo obukwata ku bafu obukontana ne Bayibuli. Bayinza okugezaako okutuswaza oboolyawo nga bagamba nti twali tetwagala muntu waffe eyafa oba nti twali tetumussaamu kitiibwa. Ate era bayinza okugamba nti engeri gye tweyisaamu ejja kuleetera omuntu eyafa okukomawo abonyeebonye abalamu. Tuyinza tutya okunywerera ku mazima agali mu Bayibuli mu mbeera ng’eyo? Lowooza ku ngeri gy’oyinza okukolera ku misingi gya Bayibuli gino wammanga.
12. Obumu ku bulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa bwe buluwa?
2 Kol. 6:17) Ku kizinga ekimu eky’oku Nnyanja Caribbean bangi ku bantu abakibeerako balowooza nti omuntu bw’afa, “omuzimu” gwe guyinza okumala ekiseera nga gutaayaaya ku nsi nga gubonereza abo bonna abaamuyisa obubi ng’akyali mulamu. Ekitabo ekimu kigamba nti “omuzimu” gusobola n’okuleeta emitawaana mu kitundu. Mu nsi ezimu ez’omu Afirika, omuntu bw’afa, abantu batera okubikka endabirwamu zonna eziri mu nnyumba ye n’okutunuza ebifaananyi byonna ku kisenge. Lwaki? Abamu bagamba nti baba tebaagala mufu yeerabe! Ate mu bitundu ebimu, abantu batera okukuma ekyoto wakati mu luggya nga balowooza nti ekyo kiyamba mu kutangira emyoyo gy’abafu okubatuusaako obulabe. Abaweereza ba Yakuwa tetwenyigira mu bulombolombo bwonna obutumbula obulimba bwa Sitaani!—1 Kol. 10:21, 22.
12 Ba mumalirivu obuteenyigira mu bulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa. (13. Okusinziira ku Yakobo 1:5, bwe wabaawo ekintu kyonna ekikolebwa ng’omuntu afudde naye nga tokyekakasa, kiki ky’osaanidde okukola?
13 Bwe wabaawo ekintu kyonna ekikolebwa ng’omuntu afudde naye nga tokyekakasa bulungi, saba Yakuwa akuwe amagezi. (Soma Yakobo 1:5.) Oluvannyuma noonyereza mu bitabo ebikubibwa ekibiina kya Yakuwa. Bwe kiba kyetaagisa, weebuuze ku bakadde abali mu kibiina kyo. Tebajja kukugamba kya kukola, wabula bajja kukulaga emisingi egiri mu Bayibuli, gamba ng’egyo egiri mu kitundu kino, gy’osaanidde okulowoozaako. Bw’okola ebintu ebyo, oba otendeka ‘obusobozi bwo obw’okutegeera,’ era obusobozi obwo bukuyamba “okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.”—Beb. 5:14.
14. Tuyinza tutya okwewala okwesittaza abalala?
14 ‘Mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa. Temwesittazanga balala.’ (1 Kol. 10:31, 32) Nga tetunnasalawo kwenyigira mu kintu kyonna, tusaanidde n’okulowooza ku ngeri ekyo kye twagala okusalawo gye kiyinza okukwata ku muntu ow’omunda ow’abalala, naddala Bakristaayo bannaffe. Tetwagala kwesittaza muntu yenna! (Mak. 9:42) Ate era bwe kiba kisoboka tetwandyagadde kunyiiza abo abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Okwagala kujja kutuleetera okwogera nabo mu ngeri eraga nti tubawa ekitiibwa, era ekyo kijja kuweesa Yakuwa ekitiibwa. Tetuwakana na bantu era tetujerega bulombolombo bwabwe. Kijjukire nti okwagala kulina amaanyi! Bwe twoleka okwagala nga tufaayo ku balala era nga tubawa ekitiibwa, tusobola n’okukkakkanya emitima gy’abo abatuwakanya.
15-16. (a) Lwaki kya magezi okutegeeza abalala ekyo kye tukkiriza? Waayo ekyokulabirako. (b) Ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abaruumi 1:16 bitukwatako bitya?
15 Manyisa abantu mu kitundu mw’obeera nti oli Is. 43:10) Ekyo bw’okikola kiyinza okukubeerera ekyangu okwaŋŋanga embeera ng’ab’eŋŋanda zo n’abantu b’omu kitundu bakusunguwalidde olw’okugaana okwenyigira mu bulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa. Francisco abeera mu Mozambique yagamba nti: “Nze ne mukyala wange Carolina bwe twayiga amazima, twategeeza ab’eŋŋanda zaffe nti tetukyaddamu kusinza bafu. Okukkiriza kwaffe kwagezesebwa muganda wa Carolina bwe yafa. Mu buwangwa bwaffe, omuntu bw’afa, bakola omukolo ogw’okumunaaza. Oluvannyuma abo abamulinako oluganda olw’okulusegere balina okumala ennaku ssatu nga basula mu kifo we bayiye amazzi ge bakozesezza okunaaza omufu. Obulombolombo obwo bukolebwa okusanyusa omwoyo gw’omufu. Ab’eŋŋanda za Carolina baali bamusuubira naye okusula mu kifo ekyo.”
Mujulirwa wa Yakuwa. (16 Francisco ne mukyala we baakwata batya embeera eyo? Francisco agamba nti: “Olw’okuba twagala Yakuwa era twagala okumusanyusa, twagaana okwenyigira mu bulombolombo obwo. Ab’eŋŋanda za Carolina baanyiiga nnyo. Baagamba nti twali tetussa kitiibwa mu mufu era ne bagamba nti baali tebajja kuddamu kukyala waffe na kutuyamba. Naye olw’okuba twali twabannyonnyola dda ebikwata ku nzikiriza yaffe, twasalawo obutoogera nabo ku nsonga eyo nga bakyali basunguwavu. Abamu ku b’eŋŋanda za Carolina baatuwolereza ne bagamba nti twali twabannyonnyola dda ku nsonga eyo. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo ab’eŋŋanda ze bakkakkana era emirembe ne giddawo. Mu butuufu abamu bajja n’ewaffe okutusaba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli.” Mazima ddala tetusaanidde kutya kunywerera ku kituufu kubanga tumanyi amazima agakwata ku kufa.—Soma Abaruumi 1:16.
OKUBUDAABUDA N’OKUYAMBA ABO ABAFIIRIDDWA
17. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba ab’omukwano aba nnamaddala eri Mukristaayo munnaffe aba afiiriddwa?
17 Mukristaayo munnaffe bw’afiirwa omuntu we, tusaanidde okufuba okukyoleka nti tuli ‘ba mukwano aba nnamaddala gy’ali era baganda be mu biro eby’okulaba ennaku.’ (Nge. 17:17) Tuyinza tutya okuba ‘ab’omukwano aba nnamaddala,’ naddala nga muganda waffe oba mwannyinaffe apikirizibwa okwenyigira mu bulombolombo obukontana n’Ebyawandiikibwa? Lowooza ku misingi gya Bayibuli ebiri egisobola okutuyamba okubudaabuda oyo aba afiiriddwa.
18. Lwaki Yesu yakaaba, era ekyo kituyigiriza ki?
18 “Mukaabire wamu n’abo abakaaba.” (Bar. ) Oluusi kiyinza obutatwanguyira kumanya ebyo byennyini bye tuyinza kugamba muntu ali mu nnaku ey’amaanyi olw’okufiirwa omuntu we. Ne bwe tuba nga tetumanyi bya kwogera, omuntu oyo bw’atulaba nga tukaaba kisobola okumuleetera okukiraba nti tulumirirwa wamu naye. Laazaalo, mukwano gwa Yesu, bwe yafa, Maliyamu, Maliza, n’abalala baakaaba olw’okufiirwa muganda waabwe era mukwano gwabwe. Nga wayise ennaku nnya Yesu yatuuka era naye ‘n’akulukusa amaziga,’ wadde nga yali akimanyi nti mu kaseera katono yali agenda kuzuukiza Laazaalo. ( 12:15Yok. 11:17, 33-35) Yesu okukaaba kyalaga engeri Yakuwa gye yawuliramu nga Laazaalo afudde. Ate era kyalaga nti Yesu yali ayagala nnyo Maliza ne Maliyamu, era ekyo kiteekwa okuba nga kyababudaabuda nnyo. Mu ngeri y’emu, baganda baffe ne bannyinaffe bwe bakiraba nti tubaagala era nti tubafaako, kibaleetera okuwulira nti tebali bokka wabula beetooloddwa emikwano egya nnamaddala.
19. Bwe tuba nga tubudaabuda Mukristaayo munnaffe aba afiiriddwa omuntu we, tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebiri mu Omubuulizi 3:7?
19 “Ekiseera eky’okusirika n’ekiseera eky’okwogera.” (Mub. 3:7) Engeri endala gye tuyinza okubudaabudamu Mukristaayo munnaffe aba afiiriddwa omuntu we kwe kumuwuliriza obulungi. Leka muganda wo akubuulire engeri gy’awuliramu, era tonyiiga bw’ayogera ebigambo “ebitaliimu nsa.” (Yob. 6:2, 3) Ayinza okuba ng’azitoowereddwa nnyo olw’okupikirizibwa ab’eŋŋanda ze abatali Bajulirwa ba Yakuwa. N’olwekyo, sabako naye. Weegayirire Oyo “awulira okusaba” amuwe amaanyi era amusobozese okusalawo obulungi. (Zab. 65:2) Bwe kiba kisoboka, somerako wamu naye Bayibuli. Oba somerako wamu naye ekitundu ekimu ekituukirawo ekiri mu bitabo byaffe, gamba ng’ekitundu ekizzaamu amaanyi ekikwata ku omu ku bakkiriza bannaffe.
20. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
20 Nga twesiimye nnyo okumanya amazima agakwata ku bafu n’essuubi abo abali mu ntaana lye balina! (Yok. 5:28, 29) N’olwekyo, ka tukyolekenga mu bigambo ne mu bikolwa nti tunyweredde ku mazima agali mu Bayibuli, era ka tukozesenga buli kakisa ke tufuna okugabuulirako abalala. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri endala Sitaani gy’agezaako okukuumira abantu mu kizikiza eky’eby’omwoyo, nga buno bwe busamize. Tujja kulaba ensonga lwaki tulina okwewala ebikolwa n’eby’okwesanyusaamu ebirina akakwate n’eby’obusamize.
OLUYIMBA 24 Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa
^ lup. 5 Sitaani ne badayimooni balimbalimba abantu ku bikwata ku mbeera y’abafu. Obulimba obwo buviiriddeko abantu okukola obulombolombo bungi obukontana n’Ebyawandiikibwa. Ekitundu kino kijja kukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa ng’abalala bakupikiriza okwenyigira mu bulombolombo ng’obwo.
^ lup. 55 EBIFAANANYI: Abajulirwa ba Yakuwa nga babudaabuda ow’eŋŋanda zaabwe atali Mujulirwa wa Yakuwa afiiriddwa.
^ lup. 57 EBIFAANANYI: Oluvannyuma lw’okunoonyereza ku bulombolombo obukolebwa ng’omuntu afudde, Omujulirwa wa Yakuwa annyonnyola ab’eŋŋande ze ekyo ky’akkiriza.
^ lup. 59 EBIFAANANYI: Abakadde mu kibiina nga babudaabuda mukkiriza munnaabwe afiiriddwa omuntu we.