Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 15

Koppa Yesu Osigale ng’Olina Emirembe

Koppa Yesu Osigale ng’Olina Emirembe

“Emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe.”​—BAF. 4:7.

OLUYIMBA 113 Emirembe Gye Tulina

OMULAMWA *

1-2. Lwaki Yesu yalina ennaku ey’amaanyi ku mutima?

YESU bwe yali anaatera okuttibwa, yawulira ennaku ey’amaanyi ku mutima. Yali agenda kubonyaabonyezebwa era attibwe abantu ababi. Naye okufa kwe si kwe kwokka okwali kumuleetedde okunakuwala. Yesu ayagala nnyo Kitaawe, era yali ayagala okumusanyusa. Yesu yali akimanyi nti bwe yandisigadde nga mwesigwa mu kugezesebwa kwe yali agenda okuyitamu, yandiyambye mu kuggya enziro ku linnya lya Yakuwa. Ate era Yesu ayagala nnyo abantu, era yali akimanyi nti essuubi lyabwe ery’okufuna obulamu obutaggwaawo lyali lyesigamye ku kuba nti asigala nga mwesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala okufa.

2 Wadde nga Yesu yali ayolekaganye n’embeera enzibu ennyo, yalina emirembe. Yagamba abatume be nti: “Mbawa emirembe gyange.” (Yok. 14:27) Yesu yalina “emirembe gya Katonda,” kwe kugamba, emirembe omuntu gy’aba nagyo olw’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Emirembe egyo gyayamba Yesu obuteeraliikirira.​—Baf. 4:6, 7.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Tewali n’omu ku ffe ajja kuyita mu mbeera nzibu ng’eyo Yesu gye yayitamu, naye abo bonna abagoberera Yesu bajja kwolekagana n’ebigezo. (Mat. 16:24, 25; Yok. 15:20) Era okufaananako Yesu, oluusi tujja kuba n’ebitweraliikiriza. Biki bye tuyinza okukola ebisobola okutuyamba obuteeraliikirira kisukkiridde, tusobole okusigala nga tulina emirembe ku mutima? Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bisatu Yesu bye yakola mu buweereza bwe ku nsi, era tulabe engeri gye tuyinza okumukoppa nga twolekagana n’ebizibu.

YESU YANYIIKIRIRA OKUSABA

Okusaba kusobola okutuyamba okusigala nga tulina emirembe (Laba akatundu 4-7)

4. Ng’olowooza ku bigambo ebiri mu 1 Abassessalonika 5:17, waayo ebyokulabirako ebiraga nti Yesu yanyiikirira okusaba ku lunaku lwe yattibwa?

4 Soma 1 Abassessalonika 5:17. Yesu yasaba nnyo ku lunaku lwe yattibwa. Bwe yatandikawo omukolo gw’okujjukira okufa kwe, yasabira omugaati n’envinnyo. (1 Kol. 11:23-25) Yesu n’abayigirizwa be bwe baali tebannava mu kifo we baali bakwatidde omukolo ogw’Okuyitako, Yesu yasaba nabo. (Yok. 17:1-26) Yesu n’abayigirizwa be bwe baatuuka ku Lusozi olw’Emizeyituuni mu kiro ekyo kyennyini, yasaba emirundi egiwerako. (Mat. 26:36-39, 42, 44) Ate era ebigambo Yesu bye yasembayo okwogera nga tannafa, yabyogera asaba. (Luk. 23:46) Buli mbeera Yesu gye yayitamu ku lunaku olwo lwe yattibwa, yagitegeeza Yakuwa ng’ayitira mu kusaba.

5. Lwaki abatume tebaali bavumu kimala?

5 Ekimu ku bintu ebyayamba Yesu okugumira okugezesebwa kwe yayitamu kwe kuba nti yeesiga Yakuwa, era ekyo yakyoleka ng’amusaba enfunda n’enfunda. Ku luuyi olulala, abatume bo tebaanyiikirira kusaba mu kiro ekyo. N’ekyavaamu tebaali bavumu kimala ng’ekiseera eky’okugezesebwa kituuse. (Mat. 26:40, 41, 43, 45, 56) Bwe twolekagana n’ebigezo, tujja kusobola okusigala nga tuli beesigwa singa tukoppa Yesu ne tunyiikirira okusaba. Biki bye tuyinza okusaba?

6. Okukkiriza kunaatuyamba kutya okusigala nga tulina emirembe?

6 Tusobola okusaba Yakuwa ‘atwongere okukkiriza.’ (Luk. 17:5; Yok. 14:1) Twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi kubanga Sitaani agezesa abo bonna abagoberera Yesu. (Luk. 22:31) Okukkiriza kunaatuyamba kutya okusigala nga tulina emirembe ne bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa? Bwe tukola kyonna ekisoboka okuvvuunuka ekizibu kye tuba twolekagana nakyo, okukkiriza kujja kutuyamba okulekera awo okweraliikirira nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba mu kiseera ekituufu. Olw’okuba tukimanyi nti Yakuwa amanyi engeri y’okukwatamu embeera okutusinga, tusigala tulina emirembe ku mutima.​—1 Peet. 5:6, 7.

7. Kiki ky’oyigidde ku bigambo bya Robert?

7 Okusaba kutuyamba okusigala nga tulina emirembe ku mutima ka tube nga twolekagana na bigezo ki. Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Robert, aweereza ng’omukadde era ali mu myaka 80. Agamba nti: “Ebigambo ebiri mu Abafiripi 4:6, 7 binnyambye okwaŋŋanga ebigezo bingi mu bulamu bwange. Nnayolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna. Ate era waliwo n’ekiseera we nnaggibwako enkizo ey’okuweereza ng’omukadde mu kibiina.” Kiki ekiyambye Robert okusigala ng’alina emirembe ku mutima? Agamba nti: “Bwe ntandika okweraliikirira, nsabirawo. Gye nkoma okusaba, gye nkoma okuwulira nga nnina emirembe ku mutima.”

YESU YABUULIRA N’OBUNYIIKIVU

Okubuulira kusobola okutuyamba okusigala nga tulina emirembe (Laba akatundu 8-10)

8. Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 8:29, kiki ekirala ekyaleetera Yesu okuba n’emirembe ku mutima?

8 Soma Yokaana 8:29. Yesu yalina emirembe ku mutima ne bwe yali ayigganyizibwa kubanga yali akimanyi nti asanyusa Kitaawe. Yeeyongera okugondera Katonda wadde nga tekyali kyangu kukikola. Yali ayagala nnyo Kitaawe, era okuweereza Yakuwa kye kintu kye yakulembeza mu bulamu bwe. Yesu bwe yali tannaba kujja ku nsi yali ‘mukozi wa Katonda omukugu.’ (Nge. 8:30) Ate bwe yali ku nsi, yanyiikira okuyigiriza abalala ebikwata ku Kitaawe. (Mat. 6:9; Yok. 5:17) Omulimu ogwo gwaleetera Yesu essanyu lingi.​—Yok. 4:34-36.

9. Okuba n’eby’okukola ebingi mu mulimu gw’okubuulira kituyamba kitya okusigala nga tulina emirembe ku mutima?

9 ‘Bulijjo bwe tuba n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe,’ tuba tugondera Yakuwa nga Yesu bwe yakola. (1 Kol. 15:58) Bwe ‘twemalira ku mulimu gw’okubuulira,’ kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bizibu bye tuba twolekagana nabyo. (Bik. 18:5) Ng’ekyokulabirako, abantu be tusanga nga tubuulira emirundi mingi baba n’ebizibu nga binene okusinga ku byaffe. Naye bwe bayiga ebikwata ku Yakuwa era ne babikolerako, obulamu bwabwe bulongooka ne baba basanyufu. Buli lwe tulaba ekintu ng’ekyo nga kibaawo, tweyongera okwesiga Yakuwa nti ajja kutulabirira. Ekyo kituyamba okusigala nga tulina emirembe ku mutima. Mwannyinaffe omu abadde n’obulwadde bw’okwennyamira obulamu bwe bwonna era ng’awulira nti talina mugaso yakiraba nti okuba n’eby’okukola ebingi mu mulimu gw’okubuulira kiyamba omuntu okuba n’emirembe. Agamba nti: “Bwe mba n’eby’okukola bingi mu mulimu gw’okubuulira, kinnyamba okufuga ebirowoozo byange era mba musanyufu. Ekyo kiva ku kuba nti bwe mba mu mulimu gw’okubuulira kindeetera okuwulira nti ndi kumpi ne Yakuwa.”

10. Kiki ky’oyigidde ku bigambo bya Brenda?

10 Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Brenda. Brenda ne muwala we balina obulwadde obw’amaanyi. Brenda atambulira mu kagaali era alina amaanyi matono. Oluusi n’oluusi abuulira nnyumba ku nnyumba naye okusingira ddala abuulira akozesa mabaluwa. Agamba nti: “Bwe nnakikkiriza nti obulwadde bwange tebusobola kuwona mu nteekateeka y’ebintu eno, kyannyamba okumalira ebirowoozo byange ku mulimu gw’okubuulira. Mu butuufu bwe mba mbuulira mba sirowooza ku bulwadde bwange. Mu kifo ky’ekyo, mba ndowoza ku bantu be mbuulira. Ate era bwe mba mbuulira ndowooza nnyo ku ssuubi lye nnina erikwata ku biseera eby’omu maaso.”

YESU YAKKIRIZA MIKWANO GYE OKUMUYAMBA

Emikwano emirungi gisobola okutuyamba okusigala nga tulina emirembe (Laba akatundu 11-15)

11-13. (a) Abatume n’abantu abalala baakiraga batya nti baali mikwano gya Yesu aba nnamaddala? (b) Mikwano gya Yesu baamuleetera kuwulira atya?

11 Mu kiseera kyonna Yesu kye yamala mu buweereza bwe ku nsi, abatume be abeesigwa baakiraga nti baali mikwano gye egya nnamaddala. Baatuukiriza bulungi ebigambo bino: “Wabaawo ow’omukwano anywerera ku munne okusinga ow’oluganda.” (Nge. 18:24) Ab’omukwano ng’abo Yesu yali abatwala nga ba muwendo nnyo. Mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi, tewali n’omu ku baganda be yamukkiririzaamu. (Yok. 7:3-5) Mu butuufu, lumu ab’eŋŋanda ze baalowooza n’okulowooza nti yali atabuse omutwe. (Mak. 3:21) Naye mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu bwe yali ayogera ku batume be abeesigwa, yagamba nti: “Mmwe abatanjabulidde nga ngezesebwa.”​—Luk. 22:28.

12 Oluusi n’oluusi abatume baakolanga ebintu ebitaasanyusa Yesu, naye ebirowoozo bye teyabimalira ku nsobi zaabwe, mu kifo ky’ekyo yakiraba nti baalina okukkiriza. (Mat. 26:40; Mak. 10:13, 14; Yok. 6:66-69) Mu kiro kye yasembayo okuba nabo nga tannattibwa, Yesu yagamba abatume be abeesigwa nti: “Mbayise mikwano gyange kubanga mbategeezezza ebintu byonna bye nnawulira okuva eri Kitange.” (Yok. 15:15) Tewali kubuusabuusa nti mikwano gya Yesu baamuzangamu nnyo amaanyi. Obuyambi bwe baamuwa mu kiseera ky’obuweereza bwe ku nsi bwaleetera Yesu essanyu lingi.​—Luk. 10:17, 21.

13 Ng’oggyeeko abatume, Yesu yalina n’emikwano emirala, abasajja n’abakazi, abaamuyamba mu mulimu gw’okubuulira ne mu bintu ebirala. Abamu baamwanirizanga mu maka gaabwe ne bamuwa eby’okulya. (Luk. 10:38-42; Yok. 12:1, 2) Abalala baatambulanga naye era ne bamuwa ku bintu byabwe. (Luk. 8:3) Yesu yalina emikwano emirungi kubanga naye yali wa mukwano mulungi. Yakoleranga abalala ebirungi era teyabasuubiranga kukola kisukka ku busobozi bwabwe. Yesu yali atuukiridde, naye yasiimanga obuyambi mikwano gye abaali batatuukiridde bwe baamuwanga. Kya lwatu nti mikwano gye abo baamuyamba okusigala ng’alina emirembe ku mutima.

14-15. Tuyinza tutya okufuna emikwano emirungi, era giyinza gitya okutuyamba?

14 Emikwano emirungi gituyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. Okusobola okufuna emikwano emirungi, ggwe kennyini olina okuba ow’omukwano omulungi. (Mat. 7:12) Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etukubiriza okukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okuyamba abalala, naddala abo ‘abali mu bwetaavu.’ (Bef. 4:28) Waliwo omuntu yenna ali mu kibiina kyo gw’oyinza okuyamba? Waliwo ow’oluganda oba mwannyinaffe atakyasobola kuva waka gw’osobola okuyambako okugula ebintu? Osobola okukyaza ab’omu maka agamu abali obubi mu by’enfuna ne muliirako wamu nabo emmere? Bw’oba omanyi engeri y’okukozesaamu omukutu gwa jw.org® oba JW Library® app, osobola okuyamba abalala abali mu kibiina kyo okumanya engeri y’okubikozesaamu? Bwe tufuba okuyambanga abalala, tujja kuba basanyufu.​—Bik. 20:35.

15 Emikwano gye tukola gijja kutuyamba nga tufunye ebizibu era gijja kutuyamba okusigala nga tulina emirembe ku mutima. Nga Eriku bwe yawuliriza Yobu nga Yobu ayogera ku nnaku eyamuli ku mutima, mikwano gyaffe batuwuliriza nga tubabuulira ennaku gye tulina, era ekyo kituyamba nnyo. (Yob. 32:4) Wadde nga tetusaanidde kusuubira mikwano gyaffe kutusalirawo kya kukola, tusaanidde okubawuliriza nga batuwa amagezi agava mu Bayibuli. (Nge. 15:22) Ate era nga Kabaka Dawudi bwe yakkiriza obuyambi okuva eri mikwano gye, naffe tetusaanidde kukkiriza malala kutuleetera kugaana buyambi okuva eri mikwano gyaffe nga tuli mu bwetaavu. (2 Sam. 17:27-29) Mazima ddala emikwano ng’egyo birabo okuva eri Yakuwa.​—Yak. 1:17.

ENGERI GYE TUYINZA OKUSIGALA NGA TULINA EMIREMBE

16. Okusinziira ku Abafiripi 4:6, 7, engeri yokka gye tusobola okufunamu emirembe egya nnamaddala y’eruwa? Nnyonyola.

16 Soma Abafiripi 4:6, 7. Lwaki Yakuwa atugamba nti tusobola okufuna emirembe gye “okuyitira mu Kristo Yesu”? Kubanga tetusobola kufuna mirembe gya nnamaddala ku mutima okuggyako nga tutegedde ekifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa era ne tumukkiririzaamu. Ng’ekyokulabirako, okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu ebibi byaffe byonna bisobola okusonyiyibwa. (1 Yok. 2:12) Ekyo kituleetera obuweerero bwa maanyi nnyo. Nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu ajja kumalawo ebizibu byonna ebireeteddwa Sitaani n’ensi ye. (Is. 65:17; 1 Yok. 3:8; Kub. 21:3, 4) Ekyo kituwa essuubi ery’ekitalo. Wadde nga Yesu atuwadde omulimu ogutali mwangu kukola, ali wamu naffe okutuyamba mu nnaku zonna ez’enkomerero. (Mat. 28:19, 20) Ekyo kituwa obuvumu bungi. Obuweerero obwo, essuubi, n’obuvumu bye bimu ku bintu ebikulu ennyo ebituyamba okusigala nga tulina emirembe ku mutima.

17. (a) Omukristaayo ayinza atya okusigala ng’alina emirembe ku mutima? (b) Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 16:33, kiki kye tujja okusobola okukola?

17 Kati olwo oyinza otya okusigala ng’olina emirembe ku mutima ng’oyolekagana n’ebigezo eby’amaanyi? Osobola okusigala ng’olina emirembe singa okola ebintu Yesu bye yakola. Ekisooka, nyiikirira okusaba. Eky’okubiri, weeyongere okugondera Yakuwa era buulira n’obunyiikivu ne bwe kiba nga si kyangu kukikola. N’eky’okusatu, kkiriza mikwano gyo gikuyambe ng’oyolekagana n’ebizibu. Bw’onookola bw’otyo, emirembe gya Katonda gijja kukuuma omutima gwo n’ebirowoozo byo. Era okufaananako Yesu, ojja kusobola okwaŋŋanga ekigezo kyonna ky’onooba ofunye.​—Soma Yokaana 16:33.

OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange

^ lup. 5 Ffenna twolekagana n’ebizibu ebiyinza okutumalako emirembe. Ekitundu kino kyogera ku bintu bisatu Yesu bye yakola era naffe bye tusobola okukola okusobola okusigala nga tulina emirembe wadde nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi.