Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 14

Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?

Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?

“Weeyongere okubuulira amawulire amalungi, tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo.”​—2 TIM. 4:5, obugambo obuli wansi.

OLUYIMBA 57 Okubuulira Abantu aba Buli Ngeri

OMULAMWA *

Yesu bwe yamala okuzuukira, yasisinkana abayigirizwa be n’abalagira ‘okugenda okufuula abantu abayigirizwa’ (Laba akatundu 1)

1. Kiki abaweereza ba Katonda bonna kye baagala okukola, era lwaki? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

KRISTO YESU yalagira abagoberezi be ‘okugenda okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.’ (Mat. 28:19) Abaweereza ba Katonda bonna abeesigwa baagala okumanya engeri gye bayinza ‘okutuukiriza mu bujjuvu’ obuweereza obwo obwabakwasibwa. (2 Tim. 4:5) Omulimu ogwo gwe gusingayo obukulu era gwetaaga okukolebwa mu bwangu. Naye oluusi tekiba kyangu kumala biseera bingi mu buweereza bwaffe nga bwe twandyagadde.

2. Bizibu ki ebiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe?

2 Waliwo ebintu ebirala bingi ebikulu bye twetaaga okukola. Kiyinza okuba nga kitwetaagisa okumala essaawa eziwerako ku mirimu gye tukola okusobola okufuna ebyetaago byaffe n’eby’ab’omu maka gaffe. Tuyinza okuba nga tulina obuvunaanyizibwa obulala bungi mu maka, oba nga tuli balwadde, nga tulina ebitwennyamiza, oba nga tukaddiye. Tuyinza tutya okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe wadde nga twolekagana n’ebizibu ng’ebyo?

3. Ebigambo ebiri mu Matayo 13:23 biraga ki?

3 Bwe kiba nti embeera yaffe tetusobozesa kumala biseera bingi mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Yesu yali akimanyi nti ffenna tetusobola kukola kyenkanyi mu buweereza bwaffe. (Soma Matayo 13:23.) Yakuwa asiima obuweereza bwaffe kasita kiba nti tumuwa ekyo ekisingayo obulungi okusinziira ku busobozi bwaffe. (Beb. 6:10-12) Ku luuyi olulala, tuyinza okukiraba nti embeera yaffe etusobozesa okukola ekisingawo. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukulembeza obuweereza bwaffe, okwewala ebintu ebiyinza okutuwuggula, n’engeri gye tuyinza okwongera okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu ne gye tuyigirizaamu. Naye ekyo nga tetunnakiraba, ka tusooke tulabe kye kitegeeza okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe.

4. Okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe kitegeeza ki?

4 Okusobola okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe, tulina okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Ebiseera bye tumala nga tubuulira si bye byokka ebyetaagisa okusobola okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe. Yakuwa afaayo ne ku kigendererwa kye tuba nakyo nga tubuulira. Olw’okuba twagala Yakuwa ne bantu bannaffe, tunyiikirira obuweereza bwaffe eri Yakuwa. * (Mak. 12:30, 31; Bak. 3:23) Okuweereza Katonda n’obulamu bwaffe bwonna kitegeeza okukozesa amaanyi gaffe n’obusobozi bwaffe mu bujjuvu okumuweereza. Bwe tuba nga tusiima enkizo ey’okubuulira gye tulina, tujja kufuba okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka.

5-6. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri omuntu alina obudde obutono gy’ayinza okukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwe.

5 Lowooza ku muvubuka anyumirwa okukuba ggita. Ayagala nnyo okukuba ennyimba buli lw’afuna akadde. Omuvubuka oyo afuna omulimu ogw’okukuba ggita buli wiikendi mu kifo ekimu ekisanyukirwamu. Naye ssente ze bamusasula ku mulimu ogwo tezimumala kukola ku byetaago bye. Bwe kityo asalawo okufunayo n’omulimu omulala ogw’okutunda mu dduuka gw’akola okuva ku Bbalaza okutuuka ku Lwokutaano. Wadde ng’ebiseera bye ebisinga obungi abimala atunda mu dduuka, ekintu ky’asinga okwagala kwe kukuba ggita. Ayagala okwongera ku bukugu bw’alina mu kukuba ggita era ayagala omulimu ogwo agukole ekiseera kyonna. N’olwekyo, akozesa buli kakisa k’afuna okukuba ggita.

6 Mu ngeri y’emu, oyinza okuba nga tosobola kumala biseera biwanvu mu mulimu gw’okubuulira nga bwe wandyagadde. Naye omulimu ogwo ogwagala nnyo. Ogezaako nga bw’osobola okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu osobole okutuuka ku mitima gy’abantu. Olw’okuba olina eby’okukola bingi, oyinza okwebuuza engeri gy’oyinza okukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwo.

ENGERI GY’OYINZA OKUKULEMBEZAAMU OMULIMU GW’OKUBUULIRA

7-8. Tuyinza tutya okwoleka endowooza Yesu gye yalina ku mulimu gw’okubuulira?

7 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku ngeri gye tusaanidde okutwalamu obuweereza bwaffe. Okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda kye yakulembeza mu bulamu bwe. (Yok. 4:34, 35) Yatambula eŋŋendo empanvu okusobola okubuulira abantu bangi nga bwe kisoboka. Yakozesanga buli kakisa ke yafunanga okubuulira abantu mu bifo ebya lukale ne mu maka gaabwe. Yesu yakulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwe.

8 Okufaananako Kristo, naffe tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira amawulire amalungi. Tuba beetegefu okubaako bye twefiiriza okusobola okubuulira. (Mak. 6:31-34; 1 Peet. 2:21) Ab’oluganda ne bannyinaffe abamu baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo, bapayoniya aba bulijjo, oba nga bapayoniya abawagizi. Abalala bayize ennimi endala oba bagenze mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Kyokka omulimu ogusinga obunene gukolebwa babuulizi abatasobola kuweereza mu ngeri eyo naye nga bakola kyonna ekisoboka okusinziira ku busobozi bwabwe. Ka tube nga tukola kyenkana wa mu mulimu gw’okubuulira, Yakuwa tatusuubira kukola kisukka ku busobozi bwaffe. Ayagala ffenna tunyumirwe okumuweereza era tulangirire ‘amawulire amalungi ag’ekitiibwa aga Katonda omusanyufu.’​—1 Tim. 1:11; Ma. 30:11.

9. (a) Pawulo yeeyongera atya okukulembeza omulimu gw’okubuulira ne bwe kyali nga kimwetaagisa okukola okusobola okweyimirizaawo? (b) Ebikolwa 28:16, 30, 31 walaga watya endowooza Pawulo gye yalina ku mulimu gw’okubuulira?

9 Omutume Pawulo naye omulimu gw’okubuulira gwe yakulembeza mu bulamu bwe. Bwe yali mu Kkolinso ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okubiri, yalina ssente ntono nnyo ne kiba nti kyamwetaagisa okukozesa ebimu ku biseera bye okukola weema asobole okufunamu ssente. Kyokka omulimu gw’okukola weema Pawulo si gwe yakulembeza mu bulamu bwe. Yakola omulimu ogwo okusobola okufuna ssente okweyimirizaawo mu buweereza bwe asobole okubuulira abantu b’omu Kkolinso amawulire amalungi “ku bwereere.” (2 Kol. 11:7) Wadde nga Pawulo yalina okukola omulimu okusobola okweyimirizaawo, yeeyongera okukulembeza omulimu gw’okubuulira era buli Ssabbiiti yabuuliranga. Embeera ye mu by’enfuna bwe yatereeramu, yayongera ku biseera bya yali amala mu mulimu gw’okubuulira. “Yeemalira ku kubuulira ekigambo, ng’awa Abayudaaya obujulirwa okukakasa nti Yesu ye Kristo.” (Bik. 18:3-5; 2 Kol. 11:9) Nga wayise ekiseera, Pawulo yasibibwa mu nnyumba ye mu Rooma okumala emyaka ebiri. Yabuuliranga abo abajjanga okumulaba era yawandiika n’amabaluwa. (Soma Ebikolwa 28:16, 30, 31.) Pawulo yamalirira obutakkiriza kintu kyonna kumulemesa kubuulira. Yawandiika nti: ‘Olw’okuba twaweebwa obuweereza buno, tetulekulira.’ (2 Kol. 4:1) Okufaananako Pawulo ne bwe kiba nti tumala ebiseera bingi ku mirimu gye tukola okusobola okweyimirizaawo, tusobola okusigala nga tukulembeza omulimu gw’Obwakabaka mu bulamu bwaffe.

Waliwo engeri nnyingi gye tuyinza okutuukirizaamu mu bujjuvu obuweereza bwaffe (Laba akatundu 10-11)

10-11. Tuyinza tutya okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe ne bwe tuba nga tuli balwadde oba nga tukaddiye?

10 Bwe tuba nga tetusobola kumala kiseera kiwanvu nga tubuulira nnyumba ku nnyumba, oboolyawo olw’okukaddiwa oba olw’obulwadde, tusobola okwenyigira mu ngeri endala ez’okubuulira. Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baabuuliranga abantu wonna we baabanga. Baakozesanga buli kakisa ke baafunanga okubuulira abantu nnyumba ku nnyumba ne mu bifo ebya lukale. (Bik. 17:17; 20:20) Bwe tuba nga tetukyasobola kutambula ŋŋendo mpanvu, tusobola okubaako we tutuula mu kifo ekya lukale ne tubuulira abayitawo. Oba tusobola okubuulira embagirawo oba okubuulira nga tukozesa amabaluwa oba essimu. Bangi ku babuulizi abatakyasobola kumala kiseera kiwanvu nga babuulira nnyumba ku nnyumba bafunye essanyu mu kubuulira nga bakozesa engeri ezo.

11 Ne bw’oba ng’oli mulwadde, osobola okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo. Lowooza nate ku mutume Pawulo. Yagamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” (Baf. 4:13) Pawulo yali yeetaaga amaanyi ago bwe yalwala ng’ali ku lugendo lwe olumu olw’obuminsani. Yagamba Abaggalatiya nti: “Olw’obulwadde bwange, nnafuna akakisa okubabuulira amawulire amalungi omulundi ogwasooka.” (Bag. 4:13) Mu ngeri y’emu, naawe bw’oba oli mulwadde, kiyinza okukuwa akakisa okubuulira abalala amawulire amalungi, gamba ng’abasawo oba abo abakulabirira. Bangi ku bantu abo tebaba waka ababuulizi we bagendera mu maka gaabwe okubabuulira.

ENGERI GY’OYINZA OKWEWALA EBIWUGULA

12. Kitegeeza ki okuba n’eriiso ‘eritunula awamu’?

12 Yesu yagamba nti: “Ettaala y’omubiri lye liiso. Eriiso lyo bwe liba nga litunula wamu, omubiri gwo gwonna guba mutangaavu.” (Mat. 6:22) Kiki kye yali ategeeza? Yali ategeeza nti ebirowoozo byaffe tulina okubikuumira ku kintu kimu tuleme kuwugulibwa kukivaako. Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo ng’akuumira ebirowoozo bye ku mulimu gw’okubuulira, era yagamba abayigirizwa be okukuumira ebirowoozo byabwe ku kuweereza Yakuwa ne ku Bwakabaka bwe. Tukoppa Yesu nga tukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwaffe. Nga Yesu bwe yagamba, ‘tusooka kunoonya Bwakabaka n’obutuukirivu bwa Katonda.’​—Mat. 6:33.

13. Kiki ekisobola okutuyamba okwemalira ku buweereza bwaffe?

13 Ekimu ku bintu bye tuyinza okukola okusobola okwemalira ku buweereza bwaffe kwe kubaako bye twerekereza, tusobola okwongera ku budde bwe tumala nga tuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumwagala. * Ng’ekyokulabirako, tuyinza okukendeeza ku ssaawa ze tumala ku mirimu tusobole okwongera ku budde bwe tumala mu mulimu gw’okubuulira wakati mu wiiki? Tusobola okukendeeza ku budde bwe tumalira mu by’okwesanyusaamu?

14. Nkyukakyuka ki ow’oluganda omu ne mukyala we ze baakola okusobola okwongera ku budde bwe baali bamala mu kubuulira?

14 Ekyo omukadde omu ayitibwa Elias ne mukyala we kye baakola. Agamba nti: “Mu kusooka twali tetusobola kuweereza nga bapayoniya naye waliwo ebintu bye twali tusobola okukola okusobola okwongera ku budde bwe twali tumala mu mulimu gw’okubuulira. N’olwekyo, twabaako enkyukakyuka entonotono ze twakola tusobole okwongera ku biseera bye twali tumala mu mulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, twakendeeza ku nsaasaanya yaffe, ne tukendeeza ku budde bwe twali tumala mu by’okwesanyusaamu, era twasaba abaali batukozesa okukyusa obudde bwe twabeererangako ku mulimu kitusobozese okufuna obudde obuwerako okubuulira. N’ekyavaamu, twatandika okwenyigira mu kubuulira okw’akawungeezi, tweyongera okufuna abayizi ba Bayibuli, era twatandika n’okubuulira wakati mu wiiki emirundi ebiri buli mwezi. Ekyo kyatuleetera essanyu lingi!”

OKULONGOOSA MU NGERI GY’OBUULIRAMU NE GY’OYIGIRIZAAMU

Okukolera ku ebyo bye tuyiga mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki kijja kutuyamba okweyongera okukulaakulana mu ngeri gye tubuuliramu (Laba akatundu 15-16) *

15-16. Okusinziira ku 1 Timoseewo 4:13, 15, tuyinza tutya okwongera okukuguka mu ngeri gye tubuuliramu? (Laba n’akasanduuko “ Ebiruubirirwa Bye Nnyinza Okweteerawo Okusobola Okutuukiriza mu Bujjuvu Obuweereza Bwange.”)

15 Engeri endala gye tuyinza okutuukirizaamu obuweereza bwaffe mu bujjuvu kwe kulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu. Abantu abamu ku mirimu gye bakolera beeyongera okutendekebwa basobole okwongera okukuguka mu ngeri gye bakolamu emirimu gyabwe. Naffe ababuulizi b’Obwakabaka bwe tutyo bwe tuli. Naffe tulina okweyongera okutendekebwa, kituyambe okwongera okukuguka mu ngeri gye tukolamu omulimu gw’okubuulira.​—Nge. 1:5; soma 1 Timoseewo 4:13, 15.

16 Kati olwo tuyinza tutya okweyongera okukulaakulana mu ngeri gye tubuuliramu? Tusaanidde okussaayo omwoyo ku bulagirizi bwe tuweebwa mu Lukuŋŋaana olw’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe buli wiiki. Obulagirizi bwe tufuna mu lukuŋŋaana olwo butuyamba okweyongera okukuguka mu ngeri gye tukolamu omulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, ssentebe bw’aba awabula abo ababa babadde n’ebyokulabirako, mu by’ayogera naffe tusobola okulondamu ebisobola okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu. Tusaanidde okukolera ku magezi ago ku mulundi gwe tuddako okugenda okubuulira. Tusobola okusaba omulabirizi w’ekibinja kyaffe eky’okubuulira atuwe ku magezi, oba tusobola okubuulirako awamu naye oba okubuulirako awamu n’omubuulizi omulala alina obumanyirivu, oba okubuulirako ne payoniya oba omulabirizi akyalira ebibiina. Ate era gye tukoma okukuguka mu ngeri gye tukozesaamu Ebintu Bye Tukozesa mu Kuyigiriza kituyamba okweyongera okunyumirwa omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza.

17. Bw’onootuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo kinaakuganyula kitya?

17 Nkizo ya maanyi ‘okukolera awamu’ ne Yakuwa! (1 Kol. 3:9) ‘Bw’omanya ebintu ebisinga obukulu’ era n’okulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwo, ojja kufuna “essanyu.” (Baf. 1:10; Zab. 100:2) Bw’oba oweereza Yakuwa, ba mukakafu nti ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga okusobola okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo k’obe ng’oyolekagana na bizibu ki. (2 Kol. 4:1, 7; 6:4) Embeera yo k’ebe ng’ekusobozesa okumala ebiseera bingi oba bitono mu mulimu gw’okubuulira, osobola ‘okuba ne ky’osinziirako okwenyumiriza’ kasita kiba nti okola kyonna ekisoboka okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (Bag. 6:4) Bw’otuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo, kiba kiraga nti oyagala Yakuwa ne bantu banno. Mu kukola bw’otyo, “ojja kwerokola era olokole n’abo abakuwuliriza.”​—1 Tim. 4:16.

OLUYIMBA 58 Okunoonya Abo Abaagala Emirembe

^ lup. 5 Yesu yatulagira okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okutuukirizaamu mu bujjuvu obuweereza bwaffe wadde nga twolekagana n’ebizibu bingi. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwongera okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu n’engeri gye tuyinza okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira.

^ lup. 4 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Obuweereza bwaffe eri Yakuwa buzingiramu engeri ez’enjawulo ez’okubuulira n’okuyigiriza, okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe ebikozesebwa mu mirimu gy’Obwakabaka, n’okudduukirira abo abakoseddwa obutyabaga.​—2 Kol. 5:18, 19; 8:4.

^ lup. 62 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe ng’alaga ekyokulabirako eky’okuddiŋŋana mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki. Oluvannyuma ssentebe bw’aba amuwabula abaako by’awandiika mu brocuwa ye Nnyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza. Oluvannyuma bw’aba abuulira ku wiikendi, akolera ku ebyo bye yayize mu lukuŋŋaana.