OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Apuli 2020

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Jjuuni 1–Jjulaayi 5, 2020.

Obulumbaganyi Okuva mu Bukiikakkono!

Ekitundu eky’okusoma 14: Jjuuni 1-7, 2020. Nsonga ki ennya ezituleetedde okukyusa mu ngeri gye tubadde tutegeeramu obunnabbi obuli mu Yoweeri essuula 1 ne 2?

Otunuulira Otya Ennimiro?

Ekitundu eky’okusoma 15: Jjuuni 8-14, 2020. Laba engeri gye tusobola okukoppa Yesu n’omutume Pawulo nga tulowooza ku ebyo abantu bye bakkiririzaamu, bye baagala, n’obusobozi bwabwe.

Wuliriza, Tegeera, era Laga Obusaasizi

Ekitundu eky’okusoma 16: Jjuuni 15-21, 2020. Yakuwa yayamba Yona, Eriya, Agali, ne Lutti. Laba engeri gy’oyinza okukoppa Yakuwa mu ngeri gy’okolaganamu n’abalala.

“Mbayise Mikwano Gyange”

Ekitundu eky’okusoma 17: Jjuuni 22-28, 2020. Waliwo okusoomooza kwe tufuna nga tufuba okuba mikwano gya Yesu. Naye tusobola okuvvuunuka okusoomooza okwo.

‘Maliriza Embiro’

Ekitundu eky’okusoma 18: Jjuuni 29–Jjulaayi 5, 2020. Ffenna tuyinza tutya okuwangula embiro ez’obulamu ka tube nga tukaddiye oba nga tuli balwadde?