EKITUNDU EKY’OKUSOMA 18
‘Maliriza Embiro’
“Embiro nzimalirizza.”—2 TIM. 4:7.
OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza
OMULAMWA *
1. Kiki ffenna kye tulina okukola?
WANDYAGADDE okudduka embiro z’omanyi nti nzibu ate ng’oli mulwadde oba ng’oli mukoowu? Kirabika nedda. Omutume Pawulo yagamba nti Abakristaayo bonna bali mu mbiro. (Beb. 12:1) Era ffenna, ka tube bato oba bakulu, ka tube nga tulina amaanyi oba nga tuli bakoowu, tulina okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero bwe tuba ab’okufuna ekirabo Yakuwa kye yatusuubiza.—Mat. 24:13.
2. Lwaki Pawulo yali asobola okwogera ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 4:7, 8?
2 Pawulo yali asobola okwogera bw’atyo kubanga yali asobodde okudduka ‘n’amalako embiro.’ (Soma 2 Timoseewo 4:7, 8.) Naye mbiro ki Pawulo ze yali ayogerako?
MBIRO KI ZE YALI AYOGERAKO?
3. Mbiro ki Pawulo ze yali ayogerako?
3 Oluusi Pawulo yakozesanga ebintu ebyakolebwanga mu mizannyo egyabanga mu Buyonaani mu biseera by’edda okubaako ensonga enkulu z’ayigiriza. (1 Kol. 9:25-27; 2 Tim. 2:5) Enfunda eziwerako, yageraageranya obulamu bw’Omukristaayo ku mbiro ez’empaka. (1 Kol. 9:24; Bag. 2:2; Baf. 2:16) Omuntu ayingira embiro ezo bwe yeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa. (1 Peet. 3:21) Atuuka ku kaguwa awamalirwa, Yakuwa bw’amuwa ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.—Mat. 25:31-34, 46; 2 Tim. 4:8.
4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
4 Kufaanagana ki okuliwo wakati w’okudduka embiro empanvu n’obulamu bw’Omukristaayo? Waliwo okufaanagana kungi. Tugenda kulabayo kwa mirundi esatu. Okusookera ddala, tulina okuddukira mu kkubo ettuufu; eky’okubiri, tulina okussa
ebirowoozo byaffe ku kaguwa awamalirwa; n’eky’okusatu, tulina okweyongera okudduka ne bwe tusanga ebizibu mu kkubo.DDUKIRA MU KKUBO ETTUUFU
5. Kkubo ki lye tulina okuddukiramu, era lwaki?
5 Okusobola okufuna ekirabo mu mbiro eza bulijjo, abaddusi balina okuddukira mu kkubo abategesi b’embiro lye baba babalagidde. Mu ngeri y’emu, bwe tuba twagala okufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo, tulina okuddukira mu kkubo ly’Ekikristaayo oba okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri Omukristaayo gy’alina okubutambuzaamu. (Bik. 20:24; 1 Peet. 2:21) Kyokka Sitaani n’abo abamugoberera baagala tukwate ekkubo eddala; baagala tuddukire wamu nabo. (1 Peet. 4:4) Bavumirira ekkubo lye tuddukiramu era bagamba nti ekkubo lye balimu lye lisinga obulungi era nti libasobozesa okuba ab’eddembe. Naye ekyo kye bagamba si kituufu.—2 Peet. 2:19.
6. Kiki ky’oyigidde ku Brian?
6 Abo bonna abaddukira awamu n’abo abali mu nsi ya Sitaani bamala ne bakiraba nti ekkubo lye baddukiramu teribasobozesa kufuna ddembe wabula libafuula baddu. (Bar. 6:16) Lowooza ku Brian. Bazadde be baamukubiriza okuddukira mu kkubo ery’Ekikristaayo. Naye bwe yayingira emyaka egy’obuvubuka, yatandika okubuusabuusa obanga ekkubo eryo lyandimusobozesezza okuba omusanyufu. Brian yasalawo okuddukira awamu n’abo abakolera ku mitindo gya Sitaani. Agamba nti: “Saakimanya nti eddembe lye nnali nnoonya lyali ligenda kunviirako okuba omuddu w’emize emibi. Nnatandika okukozesa ebiragalalagala, okwekatankira omwenge, n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, nnatandika okukozesa ebiragalalagala eby’amaanyi ennyo era nnafuuka muddu waabyo. . . . Nnatandika n’okutunda ebiragalalagala.” Naye Brian yamala n’asalawo okutambuliza obulamu bwe ku mitindo gya Yakuwa. Yakyusa amakubo ge era n’abatizibwa mu 2001. Olw’okuba kati Brian atambulira mu kkubo ery’Ekikristaayo, alina essanyu erya nnamaddala. *
7. Okusinziira ku Matayo 7:13, 14, makubo ki abiri ge tulina okulondako?
7 Kikulu nnyo okuba nti tusalawo okuddukira mu kkubo ettuufu. Sitaani ayagala tulekera awo okuddukira mu kkubo ery’akanyigo ‘erigenda mu bulamu,’ tuddukire mu kkubo eggazi abantu abasinga obungi mu nsi Matayo 7:13, 14.) Okusobola okusigala mu kkubo ettuufu ne tutawugulibwa, tulina okwesiga Yakuwa n’okumuwuliriza.
lye balimu. Abantu bangi baagala nnyo ekkubo eggazi, era lyangu okutambuliramu. Naye ‘ligenda mu kuzikirira.’ (SomaTOWUGULIBWA ERA WEEWALE OKWESITTALA
8. Singa omuddusi yeesittala, kiki ky’akola?
8 Abo ababa badduka embiro empanvu, amaaso gaabwe tebagaggya ku luguudo lwe baddukiramu baleme kwesittala kugwa. Wadde kiri kityo, baddusi bannaabwe bayinza okubatega mu butali bugenderevu oba bayinza okulinnya mu kannya. Bwe bagwa, basitukawo ne beeyongera okudduka. Ebirowoozo byabwe tebabiteeka ku ekyo ekiba kibaviiriddeko okwesittala, wabula babiteeka ku kaguwa ne ku kirabo kye basuubira okuwangula.
9. Bwe twesittala, kiki kye tusaanidde okukola?
9 Mu mbiro ze tulimu, emirundi mingi tuyinza okwesittala mu bye twogera oba bye tukola. Oba baddusi bannaffe bayinza okukola ensobi ezitulumya. Ekyo kisuubirwa. Ffenna tetutuukiridde ate nga tuddukira mu kkubo ery’akanyigo erigenda mu bulamu. N’olwekyo, oluusi n’oluusi twekoonagana. Pawulo yagamba nti oluusi n’oluusi tujja ‘kuba n’ensonga ku bannaffe.’ (Bak. 3:13) Naye mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku ekyo ekiba kituviiriddeko okwesittala, ka tubisse ku kirabo ekituteereddwawo. Bwe twesittala, tusaanidde okuyimuka tweyongere okudduka. Bwe tunyiiga ne tugaana okuyimuka, tetujja kutuuka ku kaguwa awamalirwa era tetujja kufuna kirabo. Ate era tuyinza n’okuviirako abalala abaddukira mu kkubo ery’akanyigo erigenda mu bulamu okwesittala.
10. Tuyinza tutya okwewala ‘okwesittaza’ abalala?
10 Engeri endala gye tuyinza okwewalamu ‘okwesittaza’ baddusi bannaffe kwe kwewala okuba nga buli kiseera tukalambira ku bye twagala. (Bar. 14:13, 19-21; 1 Kol. 8:9, 13) Tetuli ng’abaddusi abadduka embiro eza bulijjo. Buli omu ku baddusi abo aba ayagala kusinga munne, era aba ayagala kulaba nga ye yekka afuna ekirabo. Abaddusi abo beerowoozaako bokka. Bayinza n’okusindika bannaabwe basobole okubayitako. Naye ffe tetuvugaanya na balala. (Bag. 5:26; 6:4) Ekigendererwa kyaffe kwe kuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka, ffenna tutuuke ku kaguwa tufune ekirabo eky’obulamu. N’olwekyo, tufuba okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo, ‘nga tetufaayo ku byaffe byokka naye nga tufaayo ne ku by’abalala.’—Baf. 2:4.
11. Kiki omuddusi ky’assaako ebirowoozo bye era lwaki?
11 Ng’oggyeeko okutunuulira ekkubo kwe baddukira, abo abadduka embiro eza bulijjo, ebirowoozo byabwe babissa ku kaguwa. Ne bwe baba nga tebalaba kaguwa ako, bakuba akafaananyi nga bakatuuseeko era nga bafunye ekirabo. Okukuumira ekirabo ekyo mu birowoozo byabwe kibayamba obutakoowa.
12. Kiki Yakuwa ky’atusuubizza?
12 Mu mbiro ze tudduka, Yakuwa asuubizza okuwa bonna abazimalako obulamu obutaggwaawo, mu ggulu oba ku nsi. Ebyawandiikibwa bitubuulira ebikwata ku kirabo ekyo tusobole okukuba akafaananyi ku bulamu bwe tunaabaamu mu kiseera ekyo. Gye tukoma okulowooza ku ssuubi eryo lye tulina, gye tujja okukoma okuba abamalirivu okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero.
WEEYONGERE OKUDDUKA WADDE NG’OYOLEKAGANA N’EBIZIBU
13. Kiki kye tusinga ku baddusi aba bulijjo?
13 Abaddusi Abayonaani baalina okugumira ebizibu ebitali bimu gamba ng’obukoowu n’obulumi. Ekintu kyokka kye beesigamangako kwe kutendekebwa kwe baafunanga era n’amaanyi gaabwe. Naffe tuli ng’abaddusi abo mu ngeri nti tutendekebwa engeri y’okuddukamu embiro ze tulimu. Naye ffe tulina kye tubasingako. Ffe tusobola okufuna amaanyi okuva eri Yakuwa, Oyo alina amaanyi agataliiko kkomo. Bwe twesiga Yakuwa, atusuubiza okututendeka n’okutuwa amaanyi!—1 Peet. 5:10.
14. Ebyo ebiri mu 2 Abakkolinso 12:9, 10 bituyamba bitya okwaŋŋanga ebizibu?
14 Pawulo yayolekagana n’ebizibu bingi. Ng’oggyeeko okuvumibwa n’okuyigganyizibwa oluusi yawulira nga talina maanyi era yalina n’okugumira ekizibu kye yayita “eriggwa mu mubiri.” (2 Kol. 12:7) Naye mu kifo ky’okukkiriza ebizibu ebyo okumuleetera okulekera awo okudduka embiro ez’obulamu, yakiraba nti yali afunye akakisa okwesiga Yakuwa. (Soma 2 Abakkolinso 12:9, 10.) Olw’okuba Pawulo yeesiga Yakuwa, Yakuwa yamuyamba mu bizibu byonna bye yayolekagana nabyo.
15. Bwe tukoppa Pawulo, kiki kye tujja okulaba?
15 Naffe tuyinza okuvumibwa oba okuyigganyizibwa olw’okukkiriza kwaffe. Oba tuyinza okulwala oba okuwulira nga tuli bakoowu. Naye bwe tukoppa Pawulo, buli kimu ku bizibu ebyo kiyinza okutuwa akakisa okulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu.
16. Ne bw’oba ng’oli mulwadde, kiki ky’oyinza okukola?
16 Oli ku ndiri oba otambulira mu kagaali? Amaviivi go gajugumira oba amaaso gakutawaanya? Bwe kiba kityo, osobola okuddukira awamu n’abo abakyali abato oba abakyali abalamu obulungi. Bannamukadde bangi n’abalwadde badduka embiro ez’obulamu. Ekyo tebasobola kukikola mu maanyi gaabwe. Bafuna amaanyi okuva eri Yakuwa, nga bawuliriza enkuŋŋaana ze babakwatidde ku butambi. Beenyigira mu mulimu gw’okubuulira nga babuulirako abasawo n’ab’eŋŋanda zaabwe.
17. Yakuwa atwala atya abalwadde?
17 Bw’oba nga tosobola kukola bintu bye wandyagadde okukola mu buweereza bwo, tokkiriza ekyo kukuleetera kulowooza nti tosobola kudduka mbiro z’obulamu n’ozimalako. Yakuwa akwagala olw’okumwesiga n’olwebintu byonna by’ozze omukolera. Weetaaga Zab. 9:10) Mu kifo ky’ekyo, ajja kweyongera okukusemberera. Lowooza ku bigambo bya mwannyinaffe ayolekagana n’obulwadde obutali bumu. Agamba nti: “Endwadde ezinnuma gye zikoma okweyongera, emikisa gye nfuna okubuulira abalala gye gikoma okukendeera. Naye nkimanyi nti n’ekitono kye nkola kisanyusa Yakuwa era ekyo kindeetera essanyu.” Bw’owulira ng’oweddemu amaanyi, kijjukire nti toli wekka. Lowooza ku kyokulabirako Pawulo kye yassaawo era jjukira ebigambo bye bino ebizzaamu amaanyi: “Nsanyukira obunafu, . . . kubanga bwe mbeera omunafu lwe mbeera ow’amaanyi.”—2 Kol. 12:10.
nnyo obuyambi bwe kati era tasobola kukwabulira. (18. Buzibu ki obw’amaanyi abamu bwe boolekagana nabwo?
18 Abamu ku abo abadduka embiro ez’obulamu boolekagana n’okusoomooza okulala. Boolekagana n’embeera abalala ze batalaba era ze bayinza n’obutategeera. Ng’ekyokulabirako, bayinza okuba nga balina obulwadde bw’okwennyamira oba nga balina ebibeeraliikiriza. Lwaki embeera abaweereza ba Yakuwa abo gye boolekagana nayo nzibu nnyo? Kubanga omuntu bw’aba ng’amenyese omukono oba ng’atambulira mu kagaali, abalala kibanguyira okulaba ekizibu ky’alina era ne bamuyamba. Kyokka abo aboolekagana n’obuzibu bw’enneewulira oba abalina ekizibu ku bwongo bayinza okulabika ng’abatalina kizibu. Obulumi bwe baba balina buba bwa maanyi okufaananako obwo omuntu amenyese omukono oba okugulu bw’aba alina. Naye olw’okuba abalala baba tebasobola kukiraba, bayinza obutabawa buyambi bwe beetaaga.
19. Kiki kye tuyigira ku Mefibosesi?
19 Bw’oba ng’olina by’otosobola kukola era ng’owulira nti abalala tebakutegeera, ekyokulabirako kya Mefibosesi kisobola okukuzzaamu amaanyi. (2 Sam. 4:4) Mefibosesi yalina obulemu ku mubiri ate era Kabaka Dawudi yamulamula mu bukyamu. Ebizibu ebyo Mefibosesi si ye yabyereetera. Naye teyakkiriza mbeera eyo kumumalako ssanyu. Yasiima ebintu ebirungi bye yafuna mu bulamu bwe. Ng’ekyokulabirako, yasiima nnyo ekisa Dawudi kye yali yamulaga emabega. (2 Sam. 9:6-10) N’olwekyo Dawudi bwe yamulamula obubi, Mefibosesi yalowooza ku byonna ebyali bizingirwamu. Teyakkiriza nsobi ya Dawudi kumumalako ssanyu. Era teyanenya Yakuwa olw’ekyo Dawudi kye yakola. Mefibosesi ebirowoozo yabissa ku ekyo kye yali asobola okukola okuwagira kabaka Yakuwa gwe yalonda. (2 Sam. 16:1-4; 19:24-30) Ekyokulabirako kya Mefibosesi Yakuwa yakiwandiisa mu Kigambo kye tusobole okukiganyulwamu.—Bar. 15:4.
20. Okweraliikirira kuyinza kukwata kutya ku bantu abamu, naye basaanidde kuba bakakafu ku ki?
20 Olw’okuba abooluganda abamu balina ekizibu ky’okweraliikirira ennyo, batera okutya nga bali mu mbeera ezibeetaagisa okukolagana n’abantu. Kiyinza okuba nga kibakaluubirira okubeera mu bantu abangi, naye beeyongera okubaawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Ate era tekibanguyira kwogera na bantu be batamanyi, naye bagenda okubuulira ne boogera n’abantu. Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’oli, toli wekka. Bangi boolekagana n’ebizibu ng’ebyo. Kijjukire nti Yakuwa asiima eky’okuba nti omuweereza n’omutima gwo gwonna. Okuba nti okyeyongera okumuweereza bukakafu obulaga nti akuwa emikisa n’amaanyi ge weetaaga. * (Baf. 4:6, 7; 1 Peet. 5:7) Bw’oba ng’oweereza Yakuwa wadde ng’oyolekagana n’obulwadde obulabika oba obutalabika, ba mukakafu nti Yakuwa akusiima.
21. Kiki ffenna kye tujja okusobola okukola olw’obuyambi bwa Yakuwa?
21 Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okuba nti waliwo enjawulo wakati w’embiro eza bulijjo n’ezo Pawulo ze yayogerako. Mu mbiro eza bulijjo mu biseera by’edda, omuntu omu yekka ye yawangulanga ekirabo. Naye mu mbiro ez’obulamu, buli muntu agumiikiriza n’asigala nga mwesigwa afuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. (Yok. 3:16) Ate era mu mbiro eza bulijjo, abaddusi bonna baalina okuba nga balamu bulungi, era singa omuddusi teyabanga mulamu bulungi kyabanga kizibu okuwangula embiro. Naye bangi ku ffe abadduka embiro ez’obulamu, tetuli balamu bulungi naye tugumiikiriza. (2 Kol. 4:16) Yakuwa ajja kutuyamba okudduka embiro ezo tuzimaleko!
OLUYIMBA 144 Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
^ lup. 5 Abaweereza ba Yakuwa bangi leero boolekagana n’ebizibu ebireetebwa obukadde; ate abalala balina endwadde ez’amaanyi. Ate era ffenna oluusi tuba bakoowu. N’owekyo, eky’okudduka embiro kiyinza okulabika ng’ekizibu ennyo. Ekitundu kino kiraga engeri ffenna gye tusobola okudduka n’obugumiikiriza ne tuwangula embiro ez’obulamu omutume Pawulo ze yayogerako.
^ lup. 6 Laba ekitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1, 2013.
^ lup. 20 Okusobola okulaba amagezi amalala agasobola okukuyamba okwaŋŋanga okweraliikirira n’ebyokulabirako by’abo abasobodde okukwaŋŋanga, laba programu ya Maayi 2019 ku jw.org®. Genda wansi wa LAYIBULALE > JW BROADCASTING®.
^ lup. 63 EBIFAANANYI: Okuba omunyiikivu mu buweereza kiyamba ow’oluganda ono akaddiye okusigala ng’addukira mu kkubo ettuufu.
^ lup. 65 EBIFAANANYI: Tusobola okwesittaza abalala singa tubawaliriza okunywa omwenge omungi oba singa tetwefuga mu ngeri gye tukozesaamu omwenge.
^ lup. 67 EBIFAANANYI: Wadde ng’ow’oluganda ali ku kitanda mu ddwaliro, asigala adduka embiro ez’obulamu ng’abuulira abo abamujjanjaba.