Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 15

Otunuulira Otya Ennimiro?

Otunuulira Otya Ennimiro?

“Muyimuse amaaso gammwe mutunuulire ennimiro; zituuse okukungula.”​—YOK. 4:35.

OLUYIMBA 64 Okwenyigira mu Makungula n’Essanyu

OMULAMWA *

1-2. Kiki ekiyinza okuba nga kyaleetera Yesu okwogera ebigambo ebiri mu Yokaana 4:35, 36?

YESU yali ava kuyita mu malimiro, kirabika aga ssayiri eyali tannaba kukula. (Yok. 4:3-6) Kirabika ssayiri oyo yandituuse okukungulwa mu bbanga lya myezi ng’ena. Yesu yayogera ekintu ekiyinza okuba nga kyewuunyisa abaali bamuwuliriza. Yagamba nti: “Muyimuse amaaso gammwe mutunuulire ennimiro; zituuse okukungula.” (Soma Yokaana 4:35, 36.) Kiki kye yali ategeeza?

2 Yesu ateekwa okuba nga yali ayogera ku kukungula abantu mu ngeri ey’akabonero. Lowooza ku ekyo ekyali kyakabaawo. Wadde ng’Abayudaaya baali tebakolagana na Basamaliya, Yesu yali yaakamala okubuulira omukazi Omusamaliya era omukazi oyo yali awulirizza! Mu butuufu, Yesu bwe yali ng’ayogera ku ‘nnimiro ezaali zituuse okukungula,’ ekibinja ky’Abasamaliya abaali bawulidde ebikwata ku Yesu okuva ku mukazi oyo baali mu kkubo nga bajja eri Yesu abayigirize ebisingawo. (Yok. 4:9, 39-42) Omwekenneenya wa Bayibuli omu ayogera bw’ati ku bantu abo: “Okuba nti abantu abo baali baagala nnyo okuwuliriza Yesu . . . baali ng’ebimera ebituuse okukungulwa.”

Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tukitwala nti ‘ennimiro zaffe zituuse okukungulwa’? (Laba akatundu 3)

3. Bw’oba otunuulira abantu nga Yesu bwe yali abatunuulira, kinaakwata kitya ku kubuulira kwo?

3 Ate bo abantu b’obuulira amawulire amalungi? Obatwala ng’ebimera ebituuse okukungulwa? Bwe kiba kityo, ebintu bisatu bijja kulaga nti bw’otyo bw’obatwala. Ekisooka, ojja kubuulira n’obunyiikivu. Ekiseera ky’amakungula kiba kitono; tewaba budde bwa kwonoona. Eky’okubiri, bw’onoolaba abantu nga bawuliriza amawulire amalungi, ojja kusanyuka nnyo. Bayibuli egamba nti: ‘Abantu basanyuka mu kiseera eky’amakungula.’ (Is. 9:3) Eky’okusatu, buli muntu ojja kumutunuulira ng’asobola okufuuka omuyigirizwa wa Kristo era ekyo kijja kukuleetera okukyusakyusa mu nnyanjula zo osobole okusikiriza b’obuulira.

4. Biki bye tugenda okuyigira ku mutume Pawulo mu kitundu kino?

4 Abamu ku bagoberezi ba Yesu bayinza okuba nga baali balowooza nti Abasamaliya tebasobola kufuuka bayigirizwa ba Yesu, naye ye Yesu yali tabatwala bw’atyo. Mu kifo ky’ekyo, yali abatwala ng’abaali basobola okufuuka abayigirizwa be. Naffe abantu abali mu kitundu kye tubuuliramu tusaanidde okubatwala ng’abasobola okufuuka abayigirizwa ba Kristo. Omutume Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Kiki kye tuyinza okumuyigirako? Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri (1) gye yamanyaamu ebyo abo be yabuuliranga bye baali bakkiriza, (2) gye yamanyaamu bye baali baagala, ne (3) gye yabatwala ng’abaali basobola okufuuka abayigirizwa ba Yesu.

BIKI BYE BAKKIRIZA?

5. Lwaki Pawulo yali ategeera bulungi abo be yabuuliranga mu kkuŋŋaaniro?

5 Pawulo yateranga okubuulira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya. Ng’ekyokulabirako, mu kuŋŋaaniro erimu ery’omu Ssessalonika, yamala ssabbiiti ssatu ng’akubaganya n’Abayudaaya ebirowoozo ku Byawandiikibwa. (Bik. 17:1, 2) Pawulo kiteekwa okuba nga kyamwanguyiranga okubuulira mu makuŋŋaaniro. Yali Muyudaaya. (Bik. 26:4, 5) Bwe kityo yali amanyi Abayudaaya bye bakkiririzaamu era yali asobola okubabuulira nga yeekakasa.​—Baf. 3:4, 5.

6. Abantu Pawulo be yabuulira mu katale k’omu Asene baali baawukana batya ku bantu be yabuulira mu kkuŋŋaaniro?

6 Pawulo bwe baamuyigganya mu Ssessalonika ne mu Beroya, yagenda mu Asene. Bwe yatuuka eyo, yatandika “okukubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro n’abalala abaali basinza Katonda.” (Bik. 17:17) Kyokka Pawulo bwe yali abuulira mu katale, abo abaali bamuwuliriza baali ba njawulo. Mu bo mwalimu abafirosoofo n’abantu abalala ab’amawanga abaali batwala obubaka bwe ‘ng’enjigiriza empya.’ Baamugamba nti: “Ebintu by’oyogerako tetubiwulirangako.”​—Bik. 17:18-20.

7. Okusinziira ku Ebikolwa 17:22, 23, Pawulo yakyusa atya mu nnyanjula ye?

7 Soma Ebikolwa 17:22, 23. Engeri Pawulo gye yayanjulamu obubaka bwe eri abantu ab’amawanga mu Asene si ye ngeri gye yabwanjulamu ng’abuulira Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro. Kirabika Pawulo yeebuuza nti, ‘Biki abantu bano ab’omu Asene bye bakkiririzaamu?’ Yeetegereza ebintu ebyali bimwetoolodde n’amanya bye baali bakkiririzaamu. Bwe yali abayigiriza amazima agali mu Byawandiikibwa, yatandikira ku bintu bye yalaba nti baali babikkiririzaamu. Omwekenneenya wa Bayibuli omu agamba nti: “Olw’okuba Pawulo yali Mukristaayo Omuyudaaya, yali akimanyi nti Abayonaani abakaafiiri baali tebasinza Katonda ow’amazima ow’Abayudaaya n’Abakristaayo. Naye yagezaako okulaga Abaasene nti Katonda gwe yali ababuulira teyali mupya gye bali.” N’olwekyo, Pawulo yali mwetegefu okukyusa mu nnyanjula ye. Yagamba Abaasene nti obubaka bwe bwali buva eri Katonda gwe baali bakkiriza nti gy’ali naye nga tebamumanyi. Wadde ng’ab’amawanga baali tebamanyi Byawandiikibwa, Pawulo teyakitwala nti baali tebasobola kufuuka Bakristaayo. Mu kifo ky’ekyo, yabatwala ng’ebimera ebyali bituuse okukungulwa, era yakyusa mu nnyanjula ye.

Koppa ekyokulabirako kya Pawulo, obeere omuntu eyeetegereza, otuukanye ennyanjula yo n’abantu b’obuulira, era otunuulire abantu ng’abasobola okufuuka abayigirizwa (Laba akatundu 8, 12, 18) *

8. (a) Oyinza otya okumanya ebyo abantu mu kitundu mw’obuulira bye bakkiriza? (b) Singa omuntu akugamba nti alina eddiini ye, oyinza kumuddamu otya?

8 Okufaananako Pawulo, beera muntu eyeetegereza. Noonya ebintu ebisobola okukuyamba okumanya ebintu abantu mu kitundu mw’obuulira bye bakkiririzaamu. Oyo gw’ogenda okubuulira biki by’atimbye mu nnyumba ye oba ku mmotoka ye? Erinnya lye, ennyambala ye, engeri gye yeekozeeko, oba ebigambo by’akozesa bisobola okukuyamba okumanya eddiini ye? Oboolyawo akubuulidde butereevu eddiini ye. Payoniya omu ayitibwa Flutura bwe yeesanga mu mbeera eyo agamba omuntu nti, “Sizze kukukakaatikako ddiini yange naye nzize kwogera ku . . . ”

9. Bintu ki omuntu eyettanira eby’eddiini by’ayinza okuba ng’akkiriza by’oyinza okwogerako naye?

9 Biki by’oyinza okwogerako n’omuntu eyettanira eby’eddiini? Yogera ku bintu by’akkiriza era nga naawe obikkiriza. Ayinza okuba ng’akkiriza nti eriyo Katonda omu yekka, oba nti Yesu ye mulokozi w’abantu, oba nti tuli mu biseera ebizibu ennyo era nti enkomerero eneetera okujja. Kozesa ekintu kye mukkiriziganyaako omubuulire obubaka obuli mu Bayibuli mu ngeri esikiriza.

10. Kiki kye tusaanidde okufuba okukola, era lwaki?

10 Kijjukire nti abantu abamu baba tebakkiriza buli kimu eddiini yaabwe ky’eyigiriza. N’olwekyo, ne bw’oba ng’omaze okumanya eddiini y’omuntu, gezaako okumanya ekyo ye ky’akkiriza. Payoniya omu mu Australia ayitibwa David agamba nti: “Abantu bangi leero batabika obufirosoofo n’ebyo amadiini gaabwe bye gayigiriza.” Donalta ow’omu Albania, agamba nti, “Abamu be tusanga nga tubuulira bagamba nti balina eddiini naye oluvannyuma bakiraga nti tebakkiriza nti Katonda gy’ali.” Ate omuminsani omu mu Argentina agamba nti abantu abamu bagamba nti bakkiririza mu busatu, naye bayinza okuba nga tebakkiriza nti Kitaffe, Omwana, n’omwoyo omutukuvu bakola Katonda omu. Era agamba nti: “Okumanya ebintu ebyo kituyamba okufuna bye tufaanaganya n’abantu abatali bamu bye tuyinza okutandikirako nga twogera nabo.” N’olwekyo, gezaako okumanya ebyo ddala abantu bye bakkiriza. Mu ngeri eyo, okufaananako Pawulo, ojja kusobola ‘okufuuka byonna eri abantu aba buli ngeri.’​—1 Kol. 9:19-23.

BIKI EBIBANYUMIRA?

11. Okusinziira ku Ebikolwa 14:14-17, Pawulo yabuulira atya bantu b’omu Lusitula mu ngeri esikiriza?

11 Soma Ebikolwa 14:14-17. Pawulo yafubanga okumanya ebyo ebyanyumiranga abantu be yabuuliranga, era n’atuukanya ennyanjula ye nabyo. Ng’ekyokulabirako, abantu be yayogera nabo mu Lusitula baali bamanyi kitono oboolyawo n’obutabaako kye bamanyi ku Byawandiikibwa. N’olwekyo, Pawulo yayogera ebintu mu ngeri gye baali basobola okutegeera. Yayogera ku Katonda okubaza emmere mu biseera byayo n’okusobozesa abantu okunyumirwa obulamu. Yakozesa ebigambo n’ebyokulabirako abaali bamuwuliriza bye baali basobola okutegeera amangu.

12. Oyinza otya okumanya ebinyumira omuntu osobole okutuukanya ennyanjula yo nabyo?

12 Kozesa amagezi okutegeera ebyo abantu b’omu kitundu kyo bye baagala era otuukanye ennyanjula yo nabyo. Bw’oba onootera okutuuka ku muntu oba awaka we, oyinza otya okumanya ebyo ebimunyumira? Beera muntu eyeetegereza. Ayinza okuba ng’alima, ng’aliko akatabo k’asoma, ng’akanika mmotoka, oba ng’akola ekintu ekirala kyonna. Bwe kiba kituukirawo, lwaki tosinziira ku ekyo ky’akola okutandika okunyumya naye? (Yok. 4:7) N’engoye omuntu z’aba ayambadde ziyinza okukuyamba okubaako ky’omumanyaako, oboolyawo eggwanga lye, omulimu gwe, oba omuzannyo gw’asinga okunyumirwa. Gustavo agamba nti: “Nnatandika okunyumya n’omuvubuka ow’emyaka 19 eyali ayambadde omujoozi ogwaliko ekifaananyi ky’omuyimbi omu omututumufu. Nnamubuuza ku kifaananyi ekyo era n’aŋŋamba nti yali ayagala nnyo omuyimbi oyo. Emboozi eyo yannyamba okutandika okuyigiriza omuvubuka oyo Bayibuli era kati muganda waffe.”

13. Oyinza otya okulaga omuntu mu ngeri esikiriza engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli?

13 Bw’oba oyagala okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli yogera naye mu ngeri esikiriza era mulage engeri okuyiga Bayibuli gye kujja okumuganyula. (Yok. 4:13-15) Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Poppy yabuulira omukazi omu eyamwaniriza mu nnyumba ye ng’ayagala okumanya ebisingawo. Poppy bwe yalaba satifikeeti eyali etimbiddwa ku kisenge ng’eraga nti omukazi oyo yali profesa mu by’enjigiriza, yagamba omukazi oyo nti naffe tuyigiriza abantu okuyitira mu nteekateeka ey’okuyiga nabo Bayibuli n’okuyitira mu nkuŋŋaana zaffe. Omukazi oyo yakkiriza okumuyigiriza Bayibuli, olunaku olwaddako n’agenda mu nkuŋŋaana, era yagenda ne ku lukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu. Nga wayise omwaka gumu, yabatizibwa. Weebuuze: ‘Biki ebinyumira abantu b’eŋŋenda okuddiŋŋana? Nsobola okunnyonnyola abantu mu ngeri esikiriza engeri gye tuyigirizaamu Bayibuli?’

14. Oyinza otya okuyigiriza mu ngeri etuukana n’embeera ya buli muyizi?

14 Bw’otandika okuyigiriza omuntu Bayibuli, tegeka bulungi ku buli mulundi lw’oba ogenda okumuyigiriza, ng’olowooza ku bimukwatako ne ku bimunyumira. Bw’oba otegeka, londa ebyawandiikibwa by’onoosoma, vidiyo z’onoomulaga, n’eby’okulabirako by’onookozesa okunnyonnyola amazima agali mu Bayibuli. Weebuuze, ‘Okusingira ddala kiki ekinaamusikiriza era ekinaamutuuka ku mutima?’ (Nge. 16:23) Mu Albania, omukazi omu eyali ayiga ne Payoniya eyitibwa Flora yagamba nti, “Nze sisobola kukkiririza mu kuzuukira.” Flora teyagezaako kukaka mukazi oyo kukkiririzaawo njigiriza eyo. Flora agamba nti, “Nnakiraba nti nnalina okusooka okumuyamba otegeera Katonda asuubiza okuzuukiza abantu.” Okuva ku olwo, ku buli mulundi Flora lwe yabanga asomesa omukazi oyo, yakkaatirizanga okwagala kwa Yakuwa, amagezi ge, n’amaanyi ge. Oluvannyuma omukazi oyo yatandika okukkiririza mu kuzuukira. Kati muweereza wa Yakuwa omunyiikivu.

BATWALE NTI BASOBOLA OKUFUUKA ABAYIGIRIZWA

15. Okusinziira ku Ebikolwa 17:16-18, biki mu Asene ebitaasanyusa Pawulo, naye lwaki yeeyongera okubuulira Abaasene?

15 Soma Ebikolwa 17:16-18. Pawulo teyakitwala nti abantu b’omu Asene baali tebasobola kufuuka bayigirizwa olw’okuba ekibuga kyabwe kyali kijjudde ebifaananyi, obugwenyufu, n’obufirosoofo bw’abakaafiiri; era teyalekera awo kubabuulira olw’okuba baamujerega. Ne Pawulo kennyini yafuuka Omukristaayo wadde nga mu kusooka yali “muvvoozi, ayigganya abalala, era atawa balala kitiibwa.” (1 Tim. 1:13) Nga Yesu bwe yakiraba nti Pawulo yali asobola okukyuka, ne Pawulo yakiraba nti Abaasene baali basobola okukyuka, era yali mutuufu.​—Bik. 9:13-15; 17:34.

16-17. Kiki ekiraga nti abantu aba buli ngeri basobola okufuuka abayigirizwa ba Kristo? Waayo ekyokulabirako.

16 Mu kyasa ekyasooka abantu aba buli ngeri baafuuka abayigirizwa ba Yesu. Pawulo bwe yawandiikira Abakristaayo abaali babeera mu kibuga Kkolinso eky’omu Buyonaani, yagamba nti abamu ku bo edda baaliko abamenyi b’amateeka oba abagwenyufu. Oluvannyuma yagattako nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo. Naye kaakano munaaziddwa.” (1 Kol. 6:9-11) Singa waliyo, abantu abo wandibalabye ng’abaali basobola okukyuka ne bafuuka abayigirizwa?

17 Leero abantu bangi beetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa okusobola okufuuka abayigirizwa ba Yesu. Ng’ekyokulabirako, payoniya ow’enjawulo mu Australia, ayitibwa Yukina yakiraba nti abantu aba buli ngeri basobola okukolera ku bubaka obuli mu Bayibuli. Lumu bwe yali mu kifo ekimu ekikolerwamu bizineesi yalaba omuwala eyali yeekubye tatu eziwerako, era ng’ayambadde agagoye aganene. Yukina agamba nti, “Saasooka kwagala kumubuulira, naye oluvannyuma nnatandika okwogera naye. Nnakizuula nti yali ayagala nnyo Bayibuli era ezimu ku tatu ze yali yeekubye zaali nnyiriri okuva mu kitabo kya Zabbuli!” Omuwala oyo yatandika okuyiga Bayibuli, n’okujjanga mu nkuŋŋaana. *

18. Lwaki tetusaanidde kusalira bantu musango?

18 Yesu yali akitwala nti ennimiro zituuse okukungula olw’okuba yali asuubira nti abantu abasinga obungi bandifuuse abagoberezi be? Nedda. Ebyawandiikibwa byali byalaga nti abantu abandimukkiririzzaamu bandibadde batono. (Yok. 12:37, 38) Ate era Yesu yali asobola okumanya ekiri mu mitima gy’abantu. (Mat. 9:4) Wadde kyali kityo, ebirowoozo bye yabissa ku batono abo abandimukkiririzzaamu, era yabuulira n’obunyiikivu buli muntu. Ffe tetusobola kumanya kiri mu mitima gy’abantu, n’olwekyo, tetusaanidde n’akamu kusalira bantu musango! Mu kifo ky’ekyo, tulina okubatunuulira ng’abasobola okufuuka abayigirizwa. Marc, aweereza ng’omuminsani mu Burkina Faso, agamba nti: “Abantu be ndowooza nti bajja kukulaakulana, emirundi mingi tebeeyongera kuyiga. Naye abo be ndowooza nti tebajja kugenda wala mu kuyiga batera okukulaakulana. N’olwekyo, njize nti kikulu okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa.”

19. Abantu abali mu kitundu kyaffe tusaanidde kubatwala tutya?

19 Mu kusooka tuyinza okulowooza nti mu kitundu kye tubuuliramu temuliimu bantu bangi abali ng’ebimera ebituuse okukungulwa. Naye tusaanidde okujjukira ekyo Yesu kye yagamba abayigirizwa be. Yabagamba nti ennimiro zituuse okukungula. Abantu basobola okukyuka ne bafuuka abayigirizwa ba Kristo. Abantu abo abasobola okufuuka abayigirizwa, Yakuwa abatwala ‘ng’ebintu eby’omuwendo.’ (Kag. 2:7) Singa tutunuulira abantu nga Yakuwa ne Yesu bwe babatunuulira, tujja kufuba okumanya ebibakwatako n’ebibanyumira. Tujja kubatwala ng’abasobola okufuuka baganda baffe ne bannyinaffe.

OLUYIMBA 57 Okubuulira Abantu aba Buli Ngeri

^ lup. 5 Engeri gye tutwalamu ekitundu kye tubuuliramu ekwata etya ku ngeri gye tubuuliramu ne gye tuyigirizaamu? Ekitundu kino kiraga engeri Yesu n’omutume Pawulo gye baatwalangamu abo be baabanga babuulira, n’engeri gye tuyinza okubakoppa nga tulowooza ku nzikiriza z’abantu be tusanga, ebintu bye baagala, n’obusobozi bwabwe.

^ lup. 17 Ekitundu “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” kirimu ebyokulabirako ebirala bingi ebiraga nti abantu basobola okukyuka. Ekitundu kyo kyafulumiranga mu Omunaala gw’Omukuumi okutuusa mu 2017. Kati kiri ku jw.org®. Genda wansi wa EBITUKWATAKO > EBYOKULABIRAKO.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Omwami n’omukyala bwe baba babuulira nnyumba ku nnyumba, beetegereza (1) amaka agalabirirwa obulungi era agasimbiddwako ebimuli; (2) amaka agalimu abaana; (3) amaka agatafiibwako munda n’ebweru; ne (4) amaka agettanira eby’eddiini. Nnyumba ki mw’osobola okusanga omuntu ayinza okufuuka omuyigirizwa wa Kristo?