Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Lwaki Yesu bwe yali tannafa yajuliza ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 22:1?
Ebimu ku bigambo Yesu bye yasembayo okwogera ng’anaatera okufa by’ebyo ebisangibwa mu Matayo 27:46 awagamba nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yatuukiriza ebigambo bya Dawudi ebisangibwa mu Zabbuli 22:1. (Mak. 15:34) Kiba kikyamu okugamba nti Yesu okujuliza ebigambo ebyo yali awulira nti Yakuwa amuyiyeeyo oba nti okumala akaseera yali aweddemu okukkiriza. Yesu yali ategeera bulungi ensonga lwaki kyali kimwetaagisa okufa era yali mwetegefu okufa. (Mat. 16:21; 20:28) Ate era yali akimanyi nti mu kiseera ky’okufa kwe Yakuwa yandimuggyeeko obukuumi bwonna. (Yob. 1:10) Mu kuggyako Yesu obukuumi Yakuwa yawa Yesu akakisa okukakasa nti yandisigadde nga mwesigwa k’ebe mbeera ki gye yandiyiseemu ng’attibwa.—Mak. 14:35, 36.
Kati olwo lwaki Yesu yayogera ebigambo ebiri mu zabbuli eyo? Wadde nga tetumanyidde ddala nsonga yamuleetera okubyogera, ka tulabe ezimu ku nsonga eziyinza okuba nga ze zaamuleetera okubyogera. *
Mu kwogera ebigambo ebyo, kyandiba nti Yesu yali akikkaatiriza nti Yakuwa yali tagenda kumuwa bukuumi aleme kuttibwa? Yesu yalina okusasula ekinunulo nga tayambiddwako Yakuwa. Kyali kimwetaagisa okufa “asobole okulega ku kufa ku lwa buli muntu.”—Beb. 2:9.
Mu kujuliza ebigambo ebitonotono okuva mu zabbuli eyo, kyandiba nti Yesu yali ayagala Zab. 22:7, 8, 15, 16, 18, 24) Ate era ennyiriri ezisembayo mu zabbuli eyo zitendereza Yakuwa era ziraga nti ye Kabaka afuga ensi yonna.—Zab. 22:27-31.
abantu balowooze ku zabbuli eyo yonna? Mu kiseera ekyo Abayudaaya baateranga okukwatanga Zabbuli nnyingi mu mutwe. Bwe bajjukizibwanga olunyiriri olumu okuva mu zabbuli emu, kyabaleeteranga okufumiitiriza ku zabbuli eyo yonna. Bwe kiba nti ekyo Yesu kye yalina mu birowoozo, yayamba abagoberezi be Abayudaaya okujjukira obunnabbi bungi obuli mu zabbuli eyo obulaga ebintu ebyandibaddewo mu kufa kwe. (Mu kujuliza ebigambo bya Dawudi ebyo, kyandiba nti Yesu yali alaga nti talina musango? Nga Yesu tannattibwa, baamuwozesa mu bukyamu era ne bamusingisa omusango gw’obuvvoozi. (Mat. 26:65, 66) Kooti eyamuwozesa yatuula mangu ekiro mu ttumbi era ng’ekyo kyali kikontana n’amateeka. (Mat. 26:59; Mak. 14:56-59) Mu kubuuza ekibuuzo ekyo, Yesu ayinza okuba nga yali akiraga nti yali talina ky’akoze ekyali kimugwanyiza okuweebwa ekibonerezo ekyamusalirwa.
Ate era kyandiba nti Yesu yali ajjukiza abalala nti wadde nga Dawudi, omuwandiisi wa zabbuli eyo, Yakuwa yamuleka okubonaabona ekyo kyali tekitegeeza nti yali takyasiimibwa mu maaso ga Yakuwa? Dawudi okubuuza ekibuuzo ekyo kyali tekiraga nti talina kukkiriza. Oluvannyuma lw’okubuuza ekibuuzo ekyo, Dawudi yakiraga nti yali yeesiga Yakuwa nti alokola abantu be era nti yandyeyongedde okumuwa emikisa. (Zab. 22:23, 24, 27) Mu ngeri y’emu, wadde nga Yesu, “Omwana wa Dawudi,” yali abonaabonera ku muti ogw’okubonaabona, ekyo kyali tekitegeeza nti yali takyasiimibwa mu maaso ga Yakuwa.—Mat. 21:9.
Yesu yali ayoleka obulumi obw’amaanyi bwe yalina olw’okuba nti Yakuwa yali amuggyeeko obukuumi bwe asobole okukyoleka mu bujjuvu nti mwesigwa gy’ali? Yakuwa bwe yatonda omwana we, teyalina kigendererwa nti ekiseera kyandituuse n’abonaabona era n’afa. Okuba nti kyali kyetaagisa Yesu okubonaabona n’okufa, kyajjawo oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okwonoona. Yesu talina kikyamu kyonna kye yakola, naye kyali kimwetaagisa okubonaabona era n’okufa okusobola okumalawo okubuusabuusa Sitaani kwe yali aleeseewo era n’okusasula ekinunulo okusobozesa abantu okuddamu okufuna ekyo kye baali bafiiriddwa. (Mak. 8:31; 1 Peet. 2:21-24) Ekyo okusobola okubaawo, Yakuwa yalina okuggya obukuumi bwe ku Yesu okumala akaseera, era ogwo gwe mulundi ogwasookera ddala Yakuwa okuggya ku Yesu obukuumi.
Kyandiba nti Yesu yali agezaako okuyamba abagoberezi be okussa ebirowoozo ku nsonga lwaki Yakuwa yamuleka okufa mu ngeri eyo? * Yesu yali akimanyi nti okufiira ku muti ogw’okubonaabona ng’omumenyi w’amateeka kyandiviiriddeko bangi okwesittala. (1 Kol. 1:23) Abagoberezi be bwe banditadde ebirowoozo byabwe ku nsonga yennyini eyamuviirako okufa, kyandibayambye okutegeera obulungi amakulu g’okufa kwe. (Bag. 3:13, 14) Awo bandibadde bamutwala ng’omulokozi, so si ng’omumenyi w’amateeka.
K’ebe nsonga ki eyaviirako Yesu okujuliza ebigambo ebyo, yali akimanyi nti ebyo bye yali ayitamu bye bimu ku ebyo Yakuwa bye yali ayagala atuukirize. Nga waakayita akaseera katono ng’amaze okujuliza zabbuli eyo, Yesu yagamba nti: “Kiwedde!” (Yok. 19:30; Luk. 22:37) Yakuwa okuggya ku Yesu obukuumi okumala akaseera kyasobozesa Yesu okutuukiriza mu bujjuvu ebyo byonna Yakuwa bye yamutuma okukola ku nsi. Ate era kyamusobozesa okutuukiriza ebintu byonna ebyamuwandiikibwako “mu Mateeka ga Musa ne mu biwandiiko bya Bannabbi ne mu Zabbuli.”—Luk. 24:44.
^ lup. 2 Laba n’akatundu 9 ne 10 mu kitundu “Bye Tuyigira ku Bigambo bya Yesu Ebyasembayo” ekiri mu magazini eno.
^ lup. 4 Mu buweereza bwe, oluusi Yesu yayogeranga ebigambo oba yabuuzanga ebibuuzo nga talina kigendererwa kya kulaga nneewulira ye, wabula ng’ayagala okuleetera abagoberezi be okuwa endowooza zaabwe oba okwoleka okukkiriza kwabwe.—Mak. 7:24-27; Yok. 6:1-5; laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 15, 2010, lup. 4-5.