Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

“Kati Njagala Nnyo Obuweereza!”

“Kati Njagala Nnyo Obuweereza!”

NNAKULIRA mu kabuga Balclutha, akasangibwa ku kizinga ekimu ekya New Zealand. Bwe nnali nkyali muto, nnali njagala nnyo Yakuwa era nga njagala nnyo amazima. Nnanyumirwanga nnyo okugenda mu nkuŋŋaana, era nnasanyukanga nnyo okubeera awamu n’ab’oluganda. Wadde nga nnali musirise, nnanyumirwanga nnyo okugenda okubuulira buli wiiki. Saatyanga kubuulira bayizi bannange n’abantu abalala. Nneenyumiririzanga nnyo mu ky’okuba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, era nneewaayo eri Yakuwa nga nnina emyaka 11.

NZIGWEBWAKO ESSANYU

Bwe nnayingira emyaka egy’obutiini, enkolagana yange ne Yakuwa yatandika okunafuwa. Bayizi bannange baalabika ng’abalina eddembe eringi, era muli nnali ndowooza nti nnalina bye nsubwa. Nnatandika okuwulira nti amateeka ga bazadde bange n’emitindo gy’Ekikristaayo byali binkugira nnyo era nti okuweereza Yakuwa kyali kimenya. Wadde nga nnali sibuusabuusa nti Yakuwa gy’ali, nnali mpulira nga sirina nkolagana ya ku lusegere naye.

Wadde nga saalekera awo kubuulira, ebiseera bye nnamalanga mu kubuulira byakendeerera ddala. Nnagendanga okubuulira nga seetegese, n’olwekyo kyanzibuwaliranga okwogera n’abantu. Ekyo kyanviirako obutaba na bayizi ba Bayibuli oba bantu ba kuddira, era kyammalako essanyu ne nneeyongera obutaagala mulimu gwa kubuulira. Muli nneebuuzanga nti, ‘Omuntu asobola atya okubuulira wiiki ku wiiki, mwezi ku mwezi?’

Bwe nnaweza emyaka 17, nnayagala okubeera nzekka. N’olwekyo, nnasibako ebyange ne nva awaka ne ŋŋenda mu Australia. Ekyo kyanakuwaza nnyo bazadde bange era kyabeeraliikiriza. Naye baali basuubira nti nja kweyongera okuweereza Yakuwa.

Bwe nnali mu Australia, nneeyongera okuddirira ennyo mu by’omwoyo. Nnatandikanga okwosa enkuŋŋaana. Nnakola omukwano mu kibiina n’abavubuka abaali abakyakaze; nga leero basobola okuba mu lukuŋŋaana naye enkeera ne basula mu kiduula. Bwe ndowooza ku kiseera ekyo, ndaba ng’okugulu okumu nnali nkutadde mu mazima ate ng’okulala kuli mu nsi, naye nga yonna mpulira sigyayo.

NJIGA EKINTU EKIKULU KYE NNALI SISUUBIRA

Nga wayise emyaka ng’ebiri, nnasisinkana muganda wange omu eyandeetera okulowooza ku ngeri gye nnali ntambuzaamu obulamu bwange, kyokka ekyo ye teyakimanya. Nnali mbeera ne baganda bange abalala bataano, era twayaniriza omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we ayitibwa Tamara okubeera naffe okumala wiiki. Omulabirizi w’ekitundu bwe yabanga alina ebintu by’ekibiina by’akola, Tamara yabeeranga naffe ne tunyumya era ne tuseka. Ekyo kyansanyusa nnyo. Yali mwetoowaze nnyo era ng’atuukirikika. Kyanneewuunyisa nnyo okuba nti omuntu ow’eby’omwoyo bw’atyo yali mucamufu nnyo era ng’omuntu anyumirwa okuba naye.

Tamara yali muntu wa bbugumu. Bwe wabeeranga naye, yakuleeteranga okwagala amazima n’omulimu gw’okubuulira. Yali afuna essanyu lingi mu kuwa Yakuwa ekisingayo obulungi, kyokka nga nze siri musanyufu olw’okuba nnali siwa Yakuwa ekisingayo obulungi. Endowooza ennuŋŋamu n’essanyu erya nnamaddala bye yalina byankwatako nnyo. Ekyokulabirako kye kyandeetera okulowooza ku kintu kino ekikulu ennyo: Yakuwa ayagala ffenna tumuweereze “n’essanyu” era “mu ddoboozi ery’essanyu.”​—Zab. 100:2.

NZIRAMU OKWAGALA OKUBUULIRA

Nnali njagala okufuna essanyu ng’eryo Tamara lye yalina, naye okusobola okulifuna nnali nneetaaga okukola enkyukakyuka ez’amaanyi. Kyantwalira ekiseera, naye oluvannyuma nnatandika okuzikola. Nnatandika okweteekateekanga nga sinnagenda kubuulira, era buli luvannyuma lw’ekiseera nnakolangako nga payoniya omuwagizi. Ekyo kyannyamba okuggwaamu ekiwuggwe kye nnabanga nakyo. Olw’okuba nnakozesanga nnyo Bayibuli mu buweereza, nneeyongera okunyumirwa omulimu gw’okubuulira. Ekiseera kyatuuka ne ntandika okuweereza nga payoniya omuwagizi buli mwezi.

Nnatandika okukola emikwano n’abantu ab’emyaka egy’enjawulo abaali baweereza Yakuwa n’obunyiikivu era abaali banyumirwa obuweereza bwabwe. Ekyokulabirako ekirungi kye bassaawo kyannyamba okumanya ebintu ebisinga obukulu mu bulamu n’okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo. Nneeyongera okunyumirwa ennyo omulimu gw’okubuulira, era oluvannyuma ne ntandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Nnaddamu okufuna essanyu lye nnalina edda n’okunyumirwa ekibiina.

NFUNA PAYONIYA MUNNANGE OW’ENKALAKKALIRA

Nga wayise omwaka gumu nnasisinkana Alex. Alex yali wa kisa era yali ayagala nnyo Yakuwa n’omulimu gw’okubuulira. Yali muweereza mu kibiina era yali amaze emyaka mukaaga ng’aweereza nga payoniya. Alex era yali yaweerezaako okumala ekiseera mu Malawi, awaali obwetaavu obusingako. Ng’ali eyo, yabeeranga nnyo n’abaminsani abaamuteerawo ekyokulabirako ekirungi era abaamukubiriza okweyongera okukulembeza Obwakabaka.

Mu 2003, nze ne Alex twafumbiriganwa, era n’okutuusa kati tukyali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Tuyize ebintu bingi era Yakuwa atuwadde emikisa mingi.

YAKUWA YEEYONGERA OKUTUWA EMIKISA

Nga mbuulira mu Gleno, mu Timor-Leste

Mu 2009, twalondebwa okuweereza ng’abaminsani mu Timor-Leste, ensi esangibwa ku kimu ku bizinga bya Indonesia. Twewuunya nnyo, twasanyuka nnyo, ate era ne tweraliikirira mu kiseera kye kimu. Oluvannyuma lw’emyezi etaano, twatuuka mu Dili, ekibuga ekikulu eky’ensi eyo.

Obulamu mu nsi eyo bwali bwa njawulo nnyo ku bulamu bwe twalimu mu nsi yaffe. Twalina okumanyiira obuwangwa obupya, olulimi, emmere, n’embeera z’obulamu. Bwe twabanga tubuulira, twasanganga abantu abaavu ennyo, abataasoma, n’abanyigirizibwa. Ate era twasanga abantu bangi abaali baakosebwa olutalo. *

Obuweereza bwatunyumira nnyo! Ng’ekyokulabirako, lumu nnasanga omuwala ow’emyaka 13 ayitibwa Maria eyali omunakuwavu ennyo. * Maama we yali yafa emyaka mitono emabega, era nga tatera kulaba ku kitaawe. Okufaananako abaana bangi abaali mu myaka gye, Maria teyalina kigendererwa mu bulamu. Nzijukira lumu yakaaba era n’ambuulira ebimuli ku mutima. Kyokka saategeera bye yali ambuulira kubanga nnali sinnayiga kwogera bulungi lulimi lwe. Nnasaba Yakuwa annyambe nsobola okumuzzaamu amaanyi, era oluvannyuma nnatandika okumusomera ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, nnalaba engeri amazima gye gaakyusaamu endowooza ya Maria, endabika ye, n’obulamu bwe. Maria yabatizibwa era kati naye ayigiriza abantu Bayibuli. Kati Maria alina baganda be bangi abali mu kibiina kya Yakuwa era awulira nti ayagalibwa.

Yakuwa awadde omukisa omulimu gw’okubuulira mu Timor-Leste. Wadde ng’ababuulizi abasinga obungi babatiziddwa mu myaka ekkumi egiyise, bangi ku bo baweereza nga bapayoniya, abaweereza mu kibiina, oba abakadde. Abalala baweerereza ku ofiisi awavvuunulirwa ebitabo ne bayambako okufulumya ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi ezoogerwa mu nsi eyo. Kyansanyusanga nnyo okubawulira nga bayimba mu nkuŋŋaana, nga basanyufu, era nga bakulaakulana mu by’omwoyo.

Nga ndi ne Alex nga tugenda mu kitundu ekyesudde okugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo

NNALI SIROWOOZA NTI NDIFUNA ESSANYU MU BULAMU

Obulamu bwe twalimu mu Timor-Leste bwali bwa njawulo nnyo ku obwo bwe twalimu mu Australia, naye bwali bunyuma nnyo. Ebiseera ebimu twatambuliranga mu mmotoka eyabanga ekubyeko abantu, ng’erimu ebyennyanja ebikalu n’ebintu ebirala ebyabanga biguliddwa mu katale. Ennaku ezimu twayigiririzanga abayizi ba Bayibuli mu nnyumba enfunda era nga zirimu ebbugumu lingi, nga wansi za ttaka, era nga n’enkoko zeetala. Wadde kyali kityo, obulamu bwali bunnyumira!

Nga tugenda mu kitundu gye twali tugenda okubuulira

Bwe ndowooza ku bulamu bwange obw’emabega, nsiima nnyo bazadde bange olw’okufuba okunjigiriza amakubo ga Yakuwa, n’olw’okunnyamba mu myaka gyange egy’obutiini egitaali myangu. Ebigambo ebiri mu Engero 22:6 bituukiridde mu bulamu bwange. Maama ne taata basanyufu okuba nti nze ne Alex, Yakuwa akyeyongera okutukozesa mu buweereza obutali bumu. Okuva mu 2016 tubadde tukola omulimu ogw’okukyalira ebibiina mu kitundu ekitwalibwa ettabi lya Australasia.

Nga ndi mu Timor-Leste, nga ndaga abaana vidiyo ya Kalebu ne Sofiya

Kinneewuunyisa nnyo okuba nti nnamala ekiseera kiwanvu nga sinyumirwa mulimu gwa kubuulira. Kati nnyumirwa nnyo okubuulira! Nkizudde nti ka kibe ki ekibaawo mu bulamu bwaffe, essanyu erya nnamaddala liva mu kuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Mu butuufu emyaka 18 nze ne Alex gye tumaze nga tuweerereza wamu Yakuwa, gye myaka egisinzeeyo okuba egy’essanyu mu bulamu bwange. Kati ntegeera bulungi amakulu g’ebigambo bino omuwandiisi wa zabbuli Dawudi bye yagamba Yakuwa nti: “Abo bonna abaddukira gy’oli bajja kusanyuka; bajja kwogereranga waggulu n’essanyu. . . . Era abo abaagala erinnya lyo bajja kusanyuka.”​—Zab. 5:11.

Kyatusanyusanga nnyo okuyigiriza abantu ng’abo abawombeefu Bayibuli!

^ lup. 21 Mu mwaka gwa 1975, Timor-Leste yagwamu olutalo olwamala emyaka egisukka mu 20, ng’abantu balwanirira obwetwaze.

^ lup. 22 Erinnya likyusiddwa.