Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 16

Weeyongere Okusiima Ekinunulo

Weeyongere Okusiima Ekinunulo

‘Omwana w’omuntu yajja okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’​—MAK. 10:45.

OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

OMULAMWA *

1-2. Ekinunulo kye ki, era lwaki tukyetaaga?

ADAMU, omusajja eyali atuukiridde bwe yayonoona, yafiirwa enkizo ey’okubaawo emirembe gyonna era n’agifiiriza n’abaana be yandizadde. Adamu teyalina kya kwekwasa. Yajeemera Katonda mu bugenderevu. Naye ate bo abaana be? Tebaaliyo nga Adamu ayonoona. (Bar. 5:12, 14) Waliwo ekintu kyonna ekyali kiyinza okukolebwa abaana ba Adamu basobole okununulwa okuva mu kufa? Yee! Amangu ddala nga Adamu yaakamala okwonoona, Yakuwa yatandika okulaga engeri gye yandinunuddemu obukadde n’obukadde bw’abaana ba Adamu okuva mu kibi n’okufa. (Lub. 3:15) Mu kiseera kye ekituufu, Yakuwa yali agenda kusindika Omwana we okuva mu ggulu “okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”​—Mak. 10:45; Yok. 6:51.

2 Ekinunulo kye ki? Okusinziira ku Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekinunulo gwe muwendo Yesu gwe yasasula okusobola okuzzaawo ekyo Adamu kye yali abuzizza. (1 Kol. 15:22) Lwaki twetaaga ekinunulo? Kubanga nga bwe kiragibwa mu Mateeka, omutindo Yakuwa gwe yassaawo ogukwata ku bwenkanya gwali gwetaagisa obulamu okuweebwayo ku lw’obulamu. (Kuv. 21:23, 24) Adamu yabuza obulamu obutuukiridde. Okusobola okutuukiriza omutindo Katonda gwe yassaawo ogw’obwenkanya, Yesu yawaayo obulamu bwe obutuukiridde. (Bar. 5:17) Bwe kityo, yafuuka “Kitaffe ow’Emirembe n’Emirembe” eri abo bonna abakkiririza mu kinunulo.​—Is. 9:6; Bar. 3:23, 24.

3. Okusinziira Yokaana 14:31 ne 15:13, lwaki Yesu yali mwetegefu okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde?

3 Yesu yali mwetegefu okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde olw’okwagala kw’alina eri Kitaawe n’eri ffe. (Soma Yokaana 14:31; 15:13.) Olw’okwagala okwo, yali mumalirivu okusigala nga mwesiga okutuukira ddala okufa n’okutuukiriza Kitaawe ky’ayagala. Ekyo kijja kusobozesa ekigendererwa Katonda ky’alina eri abantu n’ensi okutuukirira. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ensonga lwaki Yakuwa yakkiriza Yesu okubonyaabonyezebwa ennyo nga tannattibwa. Ate era tugenda kulabayo n’omu ku bawandiisi ba Bayibuli eyakiraga nti yali asiima nnyo ekinunulo. Ate era tugenda kulaba, engeri gye tuyinza okulagamu nti tusiima ekinunulo n’engeri gye tusobola okweyongera okusiima ssaddaaka Yakuwa ne Yesu gye baatuweerayo.

LWAKI YAKUWA YAKKIRIZA YESU OKUBONYAABONYEZEBWA?

Lowooza ku kubonaabona kwonna Yesu kwe yayitamu okusobola okuwaayo ekinunulo ku lwaffe! (Laba akatundu 4)

4. Nnyonnyola engeri Yesu gye yattibwamu.

4 Lowooza ku ebyo ebyaliwo ku lunaku Yesu lwe yattibwa. Wadde nga yali asobola okuyita eggye lya bamalayika okumukuuma, yakkiriza okukwatibwa abasirikale Abaruumi abaamukuba awatali kumusaasira. (Mat. 26:52-54; Yok. 18:3; 19:1) Baamukubisa embooko ezaaliko obuntu obufumita obwayuza omubiri gwe. Oluvannyuma baamusituza omuti omuzito kwe yali agenda okukomererwa, era yagusitulira ku mugongo ogwali gutiiriika omusaayi. Yesu yatandika okuwalula omuti ogwo ng’agutwala mu kifo we yali agenda okukomererwa, naye aba yaakatambulako katono ne balagira omu ku bantu abaali bayimiridde ku mabbali okugumusitulirako. (Mat. 27:32) Yesu bwe yatuuka mu kifo we yali agenda okuttirwa abasirikale baakomerera emisumaali mu mikono gye ne mu bigere bye. Olw’obuzito bw’omubiri gwa Yesu, emisumaali we gyakomererwa weeyongera okuyulika. Mikwano gye baalumwa nnyo era maama we yakaaba, naye bo abakulembeze b’Abayudaaya baamujerega bujerezi. (Luk. 23:32-38; Yok. 19:25) Yesu yali mu bulumi obw’amaanyi okumala essaawa eziwerako. Olw’engeri gye yali awanikiddwa, omutima gwe n’amawuggwe ge byali bikaluubirirwa okukola era yali akaluubirirwa okussa. Yesu yali akimanyi nti yali akuumye obwesigwa era bwe yali afa, yasaba Yakuwa omulundi ogwasembayo. Oluvannyuma yakutamya omutwe n’afa. (Mak. 15:37; Luk. 23:46; Yok. 10:17, 18; 19:30) Mazima ddala yafa mu ngeri ey’obuswavu era yafiira mu bulumi bungi!

5. Kiki ekyaluma Yesu n’okusinga engeri gye yattibwamu?

5 Engeri Yesu gye yattibwamu si ye yasinga okumuleetera obulumi. Ekyasingira ddala okumuluma ye nsonga gye baasinziirako okumutta. Baamusibako omusango ogw’obuvvoozi, kwe kugamba, nti yali tawa Katonda kitiibwa oba nti yali tassa kitiibwa mu linnya lya Katonda. (Mat. 26:64-66) Okulowooza obulowooza ku kintu ekyo kyaleetera Yesu obulumi bungi ne kiba nti yatuuka n’okulowooza nti oboolyawo Kitaawe yandibaddeko ne ky’akolawo n’ataswazibwa atyo. (Mat. 26:38, 39, 42) Lwaki Yakuwa yakkiriza Omwana we gw’ayagala ennyo okubonyaabonyezebwa n’okuttibwa? Ka tulabe ensonga ssatu.

6. Lwaki Yesu yalina okuwanikibwa ku muti ogw’okubonaabona?

6 Ekisooka, Yesu yalina okuwanikibwa ku muti okusobola okununula Abayudaaya okuva mu kikolimo ekyabaliko. (Bag. 3:10, 13) Baali baasuubiza okukwata Mateeka ga Katonda naye baalemererwa okugakwata. N’olwekyo, ng’oggyeeko okuba nti baali bagwana okufa olw’ekibi kye baasikira okuva ku Adamu era baaliko ekikolimo eky’obutakwata Mateeka. (Bar. 5:12) Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri gaali gagamba nti omuntu eyakolanga ekibi ekyali kimugwanyiza okufa yalina okuttibwa. Oluvannyuma omulambo gwe gwali guyinza okuwanikibwa ku muti. * (Ma. 21:22, 23; 27:26) Bwe kityo, Yesu bwe yakomererwa ku muti, yasobozesa eggwanga eryamwegaana okuganyulwa mu ssaddaaka ye.

7. Ensonga ey’okubiri lwaki Katonda yakkiriza Omwana we okubonaabona y’eruwa?

7 Lowooza ku nsonga ey’okubiri eyaleetera Katonda okuleka Omwana we okubonaabona. Yali atendeka Yesu asobole okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe nga Kabona waffe Asinga Obukulu. Yesu yalaba bwe kiri ekizibu ennyo omuntu okugondera Yakuwa ng’ayita mu kugezesebwa okw’amaanyi. Yagezesebwa nnyo n’atuuka ‘n’okukaaba mu ddoboozi ery’omwanguka era n’akulukusa amaziga’ ng’asaba Yakuwa amuyambe. Olw’okuba Yesu yayita mu bulumi obw’amaanyi, ategeera bulungi ebyetaago byaffe era ‘asobola okutuyamba’ nga ‘tugezesebwa.’ Nga tusiima nnyo Yakuwa olw’okutulondera Kabona Asinga Obukulu omusaasizi, ‘atulumirirwa mu bunafu bwaffe’!​—Beb. 2:17, 18; 4:14-16; 5:7-10.

8. Ensonga ey’okusatu lwaki Katonda yaleka Yesu okugezesebwa ennyo y’eruwa?

8 Ey’okusatu, Yakuwa yaleka Yesu okubonyaabonyezebwa ennyo ekibuuzo kino ekikulu okusobola okuddibwamu: Abantu basobola okunywerera ku Yakuwa ne bwe baba nga bagezeseddwa nnyo? Sitaani agamba nti ekyo tekisoboka! Agamba nti abantu baweereza Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe. Era alowooza nti okufaananako jjajjaabwe Adamu, tebeemalidde ku Yakuwa. (Yob. 1:9-11; 2:4, 5) Olw’okuba Yakuwa yali yeesiga Omwana we nti yandisigadde nga mwesigwa, yamuleka okugezesebwa ku kigero ekisingayo. Yesu yasigala nga mwesigwa n’akiraga nti Sitaani mulimba.

OMUWANDIISI WA BAYIBULI EYALI ASIIMA ENNYO EKINUNULO

9. Kyakulabirako ki omutume Yokaana kye yassaawo?

9 Okukkiriza kw’Abakristaayo bangi kunywezeddwa olw’okumanya ebikwata ku kinunulo. Beeyongedde okubuulira wadde nga bayigganyizibwa era bagumidde ebigezo ebya buli ngeri okutuukira ddala mu myaka gyabwe egy’obukadde. Lowooza ku mutume Yokaana. Kirabika Yokaana yamala emyaka egisukka mu 60 ng’abuulira amazima agakwata ku Kristo ne ku kinunulo. Wadde nga yali anaatera okuweza emyaka 100, yali atwalibwa ng’ow’obulabe eri obwakabaka bwa Rooma ne kiba nti yasibibwa ku kizinga Patumo. Yali avunaanibwa musango ki? Gwa kwogera “ebikwata ku Katonda n’olw’okuwa obujulirwa ku Yesu.” (Kub. 1:9) Nga yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okukkiriza n’obugumiikiriza!

10. Ebitabo Yokaana bye yawandiika biraga bitya nti yali asiima nnyo ekinunulo?

10 Mu bitabo ebyaluŋŋamizibwa Yokaana bye yawandiika, yakyoleka nti yali ayagala nnyo Yesu era ng’asiima nnyo ekinunulo. Emirundi egisukka mu 100, yayogera ku kinunulo oba ku bintu ebirungi ekinunulo bye kyasobozesa okubaawo. Ng’ekyokulabirako, Yokaana yawandiika nti: “Omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina omuyambi ali ne Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu.” (1 Yok. 2:1, 2) Ebitabo Yokaana bye yawandiika era biraga obukulu ‘bw’okuwa obujulirwa ku Yesu.’ (Kub. 19:10) Tewali kubuusabuusa nti Yokaana yali asiima nnyo ekinunulo. Naffe tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekinunulo?

OYINZA OTYA OKULAGA NTI OSIIMA EKINUNULO?

Bwe tuba nga ddala tusiima ekinunulo, tujja kwewala okukola ekibi nga tukemeddwa (Laba akatundu 11) *

11. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okukola ekibi nga tukemeddwa?

11 Weewale okukola ekibi ng’okemeddwa. Bwe tuba nga ddala tusiima ekinunulo, tujja kwewala okuba n’endowooza egamba nti: ‘Seetaaga kufuba nnyo kunywerera ku kituufu nga nkemeddwa. Nsobola okukola ekibi oluvannyuma ne nsaba okusonyiyibwa.’ Mu kifo ky’ekyo, bwe tukemebwa okukola ekibi, tujja kugamba nti: ‘Ku bintu ebirungi Yakuwa ne Yesu bye bankoledde, sisobola kukola kintu ng’ekyo.’ Ate era tujja kusaba Yakuwa nti: ‘Nnyamba nneme okukola ekibi wadde nga nkemebwa.’​—Mat. 6:13.

12. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira okuli mu 1 Yokaana 3:16-18?

12 Yagala bakkiriza banno. Bwe tubalaga okwagala, tuba tulaga nti tusiima ekinunulo. Lwaki? Kubanga Yesu teyafiiririra ffe ffekka, wabula yafiiririra ne baganda baffe ne bannyinaffe. Bwe kiba nti yali mwetegefu okubafiirira, ba muwendo nnyo gy’ali. (Soma 1 Yokaana 3:16-18.) Tukiraga nti twagala baganda baffe ne bannyinaffe okuyitira mu ngeri gye tubayisaamu. (Bef. 4:29, 31–5:2) Ng’ekyokulabirako, tubayamba nga balwadde oba nga boolekagana n’ebizibu ebirala eby’amaanyi, nga muno mw’otwalidde n’obutyabaga. Naye kiki kye tusaanidde okukola singa mukkiriza munnaffe akola oba ayogera ekintu ekitunyiiza?

13. Lwaki tusaanidde okusonyiwa abalala?

13 Oluusi okisanga nga kizibu okusonyiwa mukkiriza munno aba akunyiizizza? (Leev. 19:18) Bwe kiba kityo, kolera ku kubuulirira kuno: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.” (Bak. 3:13) Buli lwe tusonyiwa mukkiriza munnaffe tuba tulaga Kitaffe ow’omu ggulu nti tusiima ekinunulo. Tuyinza tutya okweyongera okusiima ekirabo kino Katonda kye yatuwa?

OYINZA OTYA OKWEYONGERA OKUSIIMA EKINUNULO?

14. Engeri emu gye tuyinza okweyongera okusiima ekinunulo y’eruwa?

14 Weebaze Yakuwa olw’ekinunulo. Mwannyinaffe Joanna ow’emyaka 83 abeera mu Buyindi agamba nti: “Nkiraba nti kikulu okwogera ku kinunulo buli lunaku mu ssaala zange n’okwebaza Yakuwa olw’ekirabo ekyo.” Bw’oba osaba, lowooza ku nsobi z’okoze mu lunaku era osabe Yakuwa akusonyiwe. Kya lwatu nti bw’oba okoze ekibi eky’amaanyi, oba weetaaga n’obuyambi bw’abakadde. Bajja kukuwuliriza era bajja kukuwa okubuulirira okulungi okuva mu Kigambo kya Katonda. Bajja kusabira wamu naawe, basabe Yakuwa akuyambe osobole “okuwonyezebwa” mu by’omwoyo, oddemu okuba n’enkolagana ennungi naye.​—Yak. 5:14-16.

15. Lwaki tusaanidde okuwaayo ebiseera okusoma ku kinunulo n’okukifumiitirizaako?

15 Fumiitiriza ku kinunulo. Mwannyinaffe Rajamani alina emyaka 73 agamba nti: “Bwe nsoma ku kubonaabona Yesu kwe yayitamu, amaziga ganzija mu maaso.” Naawe oyinza okuwulira ennaku ey’amaanyi bw’olowooza ku ngeri omwana wa Katonda gye yabonaabonamu ennyo. Naye gy’okoma okufumiitiriza ku ngeri Yesu gye yeefiirizaamu, gy’okoma okumwagala n’okwagala Kitaawe. Okusobola okufumiitiriza ku kinunulo, lwaki tokola enteekateeka n’okisomako?

Okuyitira mu mukolo omwangu, Yesu yalaga abayigirizwa be engeri y’okujjukiramu okufa kwe (Laba akatundu 16)

16. Okuyigiriza abalala ebikwata ku kinunulo kituganyula kitya? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

16 Yigiriza abalala ebikwata ku kinunulo. Buli lwe tubuulira abalala ebikwata ku kinunulo, tweyongera okukisiima. Tulina ebintu ebirungi ennyo bye tusobola okukozesa okuyamba abalala okulaba ensonga lwaki Yesu yatufiirira. Ng’ekyokulabirako, tusobola okukozesa essomo 4 mu brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Essomo eryo ligamba nti “Yesu y’Ani?” Oba tuyinza okukozesa essuula 5 mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? Essuula eyo egamba nti “Ekinunulo​—Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo Katonda Kye Yatuwa.” Ate era buli mwaka tweyongera okusiima ekinunulo nga tubaawo ku mukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu era nga tufuba okuyita n’abalala okutwegattako. Nga nkizo ya maanyi Yakuwa gy’atuwadde okuyigiriza abalala ebikwata ku Mwana we!

17. Lwaki ekinunulo kye kirabo ekisingayo mu byonna Katonda bye yawa abantu?

17 Mazima ddala tulina ensonga nnyingi lwaki tusaanidde okusiima ennyo ekinunulo. Olw’ekinunulo, tusobola okuba mikwano gya Yakuwa wadde nga tetutuukiridde. Olw’ekinunulo, ebikolwa by’Omulyolyomi bijja kuggibwawo. (1 Yok. 3:8) Ate era olw’ekinunulo, ekigendererwa Yakuwa ky’alina eri ensi kijja kutuukirira. Ensi yonna ejja kufuuka lusuku lwa Katonda. Buli muntu gw’onoosanganga ajja kuba ng’ayagala Yakuwa era ng’amuweereza. N’olwekyo, ka bulijjo tunoonye engeri y’okulagamu nti tusiima ekinunulo, ekirabo ekisinga byonna Katonda kye yawa abantu!

OLUYIMBA 20 Wawaayo Omwana Wo gw’Oyagala Ennyo

^ lup. 5 Lwaki Yesu yabonyaabonyezebwa era n’attibwa? Ekitundu kino kigenda kuddamu ekibuuzo ekyo. Ate era kigenda kutuyamba okweyongera okusiima ekinunulo.

^ lup. 6 Yalinga nkola y’Abaruumi okukomerera oba okusibira ku muti omumenyi w’amateeka ng’akyali mulamu, era Yakuwa yakkiriza Omwana we okuttibwa mu ngeri eyo.

^ lup. 55 EBIFAANANYI: Buli omu ku b’oluganda yeewala okukola ekintu ekikyamu ng’akemeddwa. Omu yeewala okutunuulira ebifaananyi ebitasaana, omulala yeewala okunywa ssigala, ate omulala yeewala okukkiriza enguzi.