Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Omusajja Omukristaayo bw’agattululwa ne mukyala we nga tasinzidde ku nsonga ey’omu Byawandiikibwa n’awasa omukazi omulala, ekibiina kitwala kitya obufumbo bwe obwasooka n’obufumbo bwe obupya?
Mu mbeera eyo, singa omusajja addamu n’awasa, ekibiina kitwala obufumbo obwasooka nti bwakoma era obufumbo obupya kibutwala nti bukkirizibwa. Okusobola okutegeera ensonga lwaki tugamba bwe tutyo, ka tulabe ekyo Yesu kye yayogera ku kugattululwa era n’okuddamu okuyigira obufumbo.
Nga bwe kiragibwa mu Matayo 19:9, Yesu yagamba nti waliwo ensonga emu yokka abafumbo kwe basobola okusinziira okugattululwa. Yagamba nti: “Buli agoba mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.” Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebyo, tuyiga nti (1) obwenzi ye nsonga yokka abafumbo gye basobola okusinziirako okugattululwa ne (2) omusajja bw’agattululwa ne mukazi we nga tasinzidde ku nsonga ey’omu Byawandiikibwa n’awasa omulala, aba ayenze. *
Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti omusajja ayenze era n’agattululwa ne mukyala we aba wa ddembe okuwasa omukazi omulala? Nedda. Singa omu ku bafumbo ayenda, oyo atalina musango wa ddembe okusalawo okumusonyiwa oba obutamusonyiwa. Singa asalawo obutamusonyiwa, basobola okugattululwa era buli omu ku bo n’aba wa ddembe okuddamu okuwasa oba okufumbirwa omuntu omulala.
Ku luuyi olulala, oyo atalina musango ayinza okwagala okusigala mu bufumbo obwo n’asalawo okusonyiwa munne aba ayenze. Ate watya singa omusajja aba ayenze agaana ekya mukyala we okumusonyiwa n’asalawo ku lulwe okugattululwa? Olw’okuba mukyala we aba mwetegefu okumusonyiwa, Ebyawandiikibwa biba tebimukkiriza kuwasa mukazi mulala. Naye singa agenda mu maaso n’awasa omukazi omulala ng’Ebyawandiikibwa tebimukkiriza kukikola, era aba ayenze. Awo akakiiko akalamuzi ak’ekibiina katuula ne kaddamu okutunula mu nsonga ze.—1 Kol. 5:1, 2; 6:9, 10.
Singa omusajja addamu okuwasa ng’Ebyawandiikibwa tebimukkiriza kukikola, ekibiina kitwala kitya obufumbo bwe obwasooka era n’obufumbo bwe obupya? Obufumbo bwe obwasooka buba bukyaliwo okusinziira ku Byawandiikibwa? Oyo ataayenda aba akyasobola okumusonyiwa oba obutamusonyiwa? Ekibiina kitwala obufumbo bwe obw’okubiri ng’obutakkirizibwa?
Mu biseera eby’emabega, ekibiina kyatwalanga obufumbo obupya ng’obutakkirizibwa, kasita kyabanga nti oyo atalina musango akyali mulamu, tafumbirwanga oba tawasanga muntu mulala, oba teyeenyigirangako mu bwenzi. Kyokka Yesu teyayogerako ku mufumbo atalina musango bwe yali ayogera ku kugattululwa n’okuddamu okuyingira obufumbo. Mu kifo ky’ekyo, yagamba nti omusajja agattulula mukazi we nga tamuvunaana
gwa bwenzi, n’awasa omukazi omulala aba ayenze. Ekyo kitegeeza nti okugattululwa n’okuddamu okuwasa, Yesu kye yayita obwenzi, bikomya obufumbo obwasooka.“Buli agoba mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.”—Mat. 19:9
Obufumbo bwe buba bukomye olw’okuba omusajja yagattululwa ne mukyala we n’awasa omukazi omulala, eyali mukyala we aba takyasobola kumusonyiwa oba obutamusonyiwa. N’olwekyo kiba tekimwetaagisa kusalawo obanga anaasonyiwa eyali omwami we oba nedda. Ate era, engeri ekibiina gye kitwalamu obufumbo obupya eba tesinziira ku ky’okuba nti oyo atalina musango yafa oba akyali mulamu, yafumbirwa, oba yeenyigira mu bwenzi. *
Mu kyokulabirako kye tulabye waggulu, omusajja yayenda era ne bagattululwa. Watya singa omusajja teyayenda naye n’asalawo okugattululwa ne mukyala we era n’awasa omukazi omulala? Oba watya singa omusajja teyeenyigira mu bwenzi nga tebannaba kugattululwa, naye oluvannyuma lw’okugattululwa ne yeenyigira mu bwenzi era n’awasa omukazi omulala, wadde nga mukyala we yali mwetegefu okumusonyiwa? Ne mu mbeera ezo zombi, okugattululwa n’okuddamu okuyingira obufumbo buba bwenzi, era biba byakomya obufumbo obwasooka. Obufumbo obupya buba bukkirizibwa mu mateeka. Nga bwe kyalagibwa mu Watchtower eya Noovemba 15, 1979, olupapula 32, “kati aba ayingidde obufumbo obupya, era aba tasobola kubuvaamu n’addayo mu bufumbo obwasooka; okugattululwa, obwenzi, n’okuddamu okuwasa, biba byakomya obufumbo obwasooka.”
Enkyukakyuka eno tetegeeza nti kati obufumbo tetubutwala nti butukuvu nnyo, oba nti obwenzi si kibi kya maanyi. Omusajja agattululwa ne mukazi we nga tasinzidde ku nsonga ey’omu Byawandiikibwa n’awasa omukazi omulala aba ayenze, era akakiiko akalamuzi ak’ekibiina kaba kajja kumutuuza katunule mu nsonga ze, nga kamuvunaana gwa bwenzi. (Oyo gw’aba awasizza bw’aba nga Mukristaayo, naye akakiiko akalamuzi kaba kajja kumutuuza ku nsonga y’emu.) Wadde ng’obufumbo obwo buba butwalibwa nti bukkirizibwa, omusajja eyakola ekikolwa ekyo taweebwa nkizo mu kibiina okutuusa nga wayiseewo emyaka mingi, era ng’abantu abalala tebakyayisibwa bubi olw’ekibi kye yakola era nga tebakyakitwala nti tasaana kuweebwa kitiibwa. Ate era ng’abakadde tebannamuwa nkizo yonna, basooka kulowooza ku mbeera oyo eyali mukyala we ayinza okuba nga yakuusibwakuusibwa gy’alimu kati era n’abaana be yalekawo, abayinza okuba nga baali bakyalabirirwa.—Mal. 2:14-16.
Olw’okuba ensonga ey’okugattululwa n’okuddamu okuyingira obufumbo nkulu nnyo, Abakristaayo basaanidde okweyongera okutwala obufumbo nga butukuvu nga Yakuwa bw’abutwala.—Mub. 5:4, 5; Beb. 13:4.
^ Mu kitundu kino, omufumbo eyayenda tugenda kumwogerako ng’omusajja ate ataayenda tugenda kumwogerako ng’omukazi. Kyokka okusinziira ku Makko 10:11, 12, Yesu yakiraga nti ensonga eno abafumbo bombi, omusajja n’omukazi, ebakwatako kyenkanyi.
^ Kino kikyusaamu kye twali tumanyi nti obufumbo ng’obwo tebukkirizibwa mu mateeka okutuusa ng’oyo atalina musango afudde, azzeemu okuyingira obufumbo, oba yeenyigidde mu bwenzi.