Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 15

Biki Bye Tuyigira ku Byamagero Yesu Bye Yakola?

Biki Bye Tuyigira ku Byamagero Yesu Bye Yakola?

“N’agenda mu bitundu byonna ng’akola ebintu ebirungi era ng’awonya.”​—BIK. 10:38.

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

OMULAMWA a

1. Mbeera ki eyaliwo Yesu bwe yakola ekyamagero ekyasooka?

 LOWOOZA ku mbeera eno eyaliwo mu mwaka gwa 29 E.E. nga Yesu yaakatandika obuweereza bwe. Yesu ne maama we Maliyamu awamu n’abamu ku bayigirizwa ba Yesu bayitiddwa ku mbaga e Kaana, ekiri ebukiikakkono w’akabuga Nazaaleesi Yesu gye yakulira. Ab’omu maka omuli embaga eyo mikwano gya Maliyamu, era kirabika Maliyamu ayambako mu kulabirira abagenyi. Kyokka embaga bw’eba ekyagenda mu maaso, omwenge ogugabulwa guggwaawo era ekyo kiyinza okuviirako ab’omu maka ago n’abagole okuswala ennyo. b Kirabika abantu abazze ku mbaga bangi nnyo okusinga ku abo ababadde basuubirwa. Maliyamu agenda mangu eri mutabani we n’amugamba nti: “Tebalina mwenge.” (Yok. 2:1-3) Kiki Yesu ky’akolawo? Akola ekintu ekitali kya bulijjo. Afuula amazzi “omwenge omulungi.”—Yok. 2:9, 10.

2-3. (a) Byamagero ki Yesu bye yakola? (b) Tuyinza tutya okuganyulwa mu kwekenneenya ebyamagero Yesu bye yakola?

2 Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi mu buweereza bwe ku nsi. c Yakola ebyamagero ebyo okuyamba abantu mitwalo na mitwalo. Ng’ekyokulabirako, bwe yaliisa abasajja 5,000 n’oluvannyuma abasajja 4,000, mu byamagero ebyo byombi awamu ayinza okuba nga yaliisa abantu abasukka mu 27,000, ng’obaliddeko abakazi n’abaana abaaliwo. (Mat. 14:15-21; 15:32-38) Ate era ku mirundi egyo gyombi, Yesu yawonya abantu bangi abaali abalwadde. (Mat. 14:14; 15:30, 31) Lowooza ku ngeri abantu gye baakwatibwako nga Yesu abawonyezza mu ngeri ey’ekyamagero era ng’abaliisizza!

3 Tulina bingi bye tuyigira ku byamagero Yesu bye yakola. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebimu ku ebyo bye tuyigira ku byamagero ebyo, era ekyo kigenda kutuyamba okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukoppa obwetoowaze n’obusaasizi Yesu bye yayoleka ng’akola ebyamagero ebyo.

KYE BITUYIGIRIZA KU YAKUWA NE YESU

4. Ebyamagero Yesu bye yakola bituyamba kuyiga ku baani?

4 Ng’oggyeeko okuba nti ebyamagero Yesu bye yakola bituyamba okuyiga ebintu bingi ebimukwatako, era bituyamba n’okuyiga ebintu bingi ebikwata ku Kitaawe. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa ye yawa Yesu amaanyi okukola ebyamagero ebyo. Ebikolwa 10:38 wagamba nti: ‘Katonda yafuka ku Yesu omwoyo omutukuvu era n’amuwa amaanyi, n’agenda mu bitundu byonna ng’akola ebintu ebirungi era ng’awonya abo bonna abaali batawaanyizibwa Omulyolyomi, kubanga Katonda yali naye.’ Ate era tusaanidde okukijjukira nti mu bintu byonna Yesu bye yayogera ne bye yakola, nga mw’otwalidde n’ebyamagero, yayolekera ddala endowooza n’enneewulira ya Kitaawe. (Yok. 14:9) Ka tulabeyo ebintu bisatu bye tuyigira ku byamagero Yesu bye yakola.

5. Kiki ekyaleetera Yesu okukola ebyamagero? (Matayo 20:30-34)

5 Ekisooka, Yesu ne Kitaawe batwagala nnyo. Yesu bwe yali ku nsi, yakiraga nti yali ayagala nnyo abantu ng’akola ebyamagero okuyamba abo abaali babonaabona. Lumu abasajja babiri abaali abazibe b’amaaso baamusaba abayambe. (Soma Matayo 20:30-34.) Weetegereze nti Bayibuli egamba nti Yesu ‘yabakwatirwa ekisa’ era n’abawonya. Ekigambo eky’Oluyonaani akyavvuunulwa nga ‘yabakwatirwa ekisa,’ kitegeeza obusaasizi obungi omuntu bw’aba alina. Obusaasizi obwo obwali bwoleka okwagala okungi Yesu kw’alina, era bwamuleetera okuliisa abantu abaali balumwa enjala n’okuwonya omulwadde w’ebigenge. (Mat. 15:32; Mak. 1:41) Ekyo kituyamba okukiraba nti Yakuwa Katonda ‘omusaasizi’ n’Omwana we, batwagala nnyo era bawulira bubi bwe balaba nga tubonaabona. (Luk. 1:78; 1 Peet. 5:7) Bateekwa okuba nga beesunga nnyo ekiseera lwe bajja okuggyawo ebizibu byonna abantu bye boolekagana nabyo!

6. Buyinza ki Katonda bwe yawa Yesu?

6 Eky’okubiri, Katonda yawa Yesu obuyinza okumalawo ebizibu byonna abantu bye boolekagana nabyo. Ebyamagero Yesu bye yakola byalaga nti asobola okumalawo ebizibu abantu bye batasobola kumalawo. Ng’ekyokulabirako, asobola okuggyawo ekibi abantu kye baasikira n’ebizibu byonna ebyajjawo olw’ekibi ekyo, omuli obulwadde n’okufa. (Mat. 9:1-6; Bar. 5:12, 18, 19) Ebyamagero bye yakola byalaga nti asobola okuwonya endwadde “eza buli kika” n’okuzuukiza abafu. (Mat. 4:23; Yok. 11:43, 44) Ate era asobola okukkakkanya emiyaga egy’amaanyi n’okugoba emyoyo emibi ku bantu. (Mak. 4:37-39; Luk. 8:2) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa yawa Omwana we obuyinza okukola ebintu ebyo!

7-8. (a) Ebyamagero Yesu bye yakola bituyamba kuba bakakafu ku ki? (b)  Ggwe kyamagero ki ky’osinga okwesunga mu nsi empya?

7 Eky’okusatu, tusobola okuba abakakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kutukolera ebintu ebirungi mu biseera eby’omu maaso. Olw’okuba Yesu ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ebyamagero bye yakola ng’ali ku nsi byalaga ebyo by’ajja okukola ku kigero ekinene mu nsi yonna. Lowooza ku bintu ebirungi ebinaatera okubaawo nga Kristo afuga ensi yonna. Tujja kuba balamu bungi, kubanga ajja kuggyawo endwadde zonna n’obulemu bwonna. (Is. 33:24; 35:5, 6; Kub. 21:3, 4) Tetujja kuddamu kulumwa njala oba okukosebwa obutyabaga. (Is. 25:6; Mak. 4:41) Tujja kufuna essanyu lingi nnyo nga twaniriza abantu baffe abanaaba bazuukiziddwa. (Yok. 5:28, 29) Ggwe kyamagero ki ky’osinga okwesunga mu nsi empya?

8 Yesu bwe yalinga akola ebyamagero, yayolekanga obwetoowaze n’obusaasizi, engeri naffe ze tusaanidde okukoppa. Ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri, era ka tutandike n’ekyo ekyaliwo ku mbaga e Kaana.

BITUYIGIRIZA OKUBA ABEETOOWAZE

9. Lwaki Yesu yakola ekyamagero ku mbaga e Kaana? (Yokaana 2:6-10)

9 Soma Yokaana 2:6-10. Omwenge bwe gwaggwaawo, Yesu kyali kimukakatako okubaako ky’akolawo? Nedda. Tewaaliwo bunnabbi bwali bugamba nti Masiya yandifudde amazzi omwenge. Naye lowooza ku bwe wandiwulidde singa eby’okunywa ku mbaga yo biba tebimala. Kirabika Yesu yasaasira ab’omu maka ago, nnaddala abagole, era yali tayagala baswale. Nga bwe kyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino, yakola ekyamagero. Yafuula lita z’amazzi nga 390 (ebidomola nga 20) omwenge omulungi. Oboolyawo yafuula amazzi mangi nnyo bwe gatyo omwenge ab’omu maka ago basobole okufissaawo gwe bandinywedde mu biseera ebirala, oba gutundibwe nako abagole basobole okufuna ssente ezandibayambye. Yesu bwe yakola ekyamagero ekyo, abagole bateekwa okuba nga baawulira obuweerero obw’amaanyi!

Koppa Yesu nga weewala okwewaana olw’ebyo by’oba okoze (Laba akatundu 10-11) e

10. Bintu ki ebimu bye twetegerezza ku kyamagero Yesu kye yakola ekiri mu Yokaana essuula 2? (Laba n’ekifaananyi.)

10 Lowooza ku bintu ebimu ku ebyo ebyaliwo nga Yesu akola ekyamagero ekyo kye tusomako mu Yokaana essuula 2. Weetegereza nti Yesu si ye yajjuza amatogero amazzi. Mu kifo ky’okukola ekintu ekyo ekyandiviiriddeko abantu bangi okumulaba ne bamutendereza, yalagira abaweereza be baba bagajjuza. (Olunyiriri 6, 7) Ate oluvannyuma lw’okufuula amazzi omwenge, Yesu si ye yatwalira kalabalaba w’omukolo gw’embaga omwenge ogwo. Mu kifo ky’ekyo, yalagira abaweereza be baba bagumutwalira. (Olunyiriri 8) Ate era teyakwata kikopo ky’omwenge ne yeewaanira mu maaso g’abagenyi ng’agamba nti, ‘Mulozeeko ku mwenge guno gwe nva okukola!’

11. Kiki kye tuyigira ku kyamagero Yesu kye yakola?

11 Kiki kye tuyigira ku kyamagero Yesu kye yakola eky’okufuula amazzi omwenge? Tukiyigirako okuba abeetoowaze. Yesu teyeewaana ng’akoze ekyamagero ekyo. Mu butuufu, teyeewaananga olw’ebintu bye yakolanga. Ekitiibwa n’ettendo yabiwanga Kitaawe. (Yok. 5:19, 30; 8:28) Naffe bwe tukoppa Yesu ne tuba beetoowaze, tetujja kwewaana olw’ebyo bye tuba tukoze oba bye tuba tutuuseeko. Ka kibe ki kye tuba tukoze mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, ka tulemenga okwewaana. Mu kifo ky’ekyo, bulijjo ka twenyumiririzenga mu Katonda waffe atuwa enkizo ey’ekitalo ey’okumuweereza. (Yer. 9:23, 24) Ka tumuwenga ekitiibwa ky’agwanidde okuweebwa. Mu butuufu, tewali kintu kyonna kye tusobola kutuukiriza mu buweereza bwaffe awatali buyambi bwa Yakuwa.—1 Kol. 1:26-31.

12. Ngeri ki endala gye tuyinza okukoppamu obwetoowaze bwa Yesu? Waayo ekyokulabirako.

12 Waliwo n’engeri endala gye tuyinza okuba abeetoowaze nga Yesu. Lowooza ku mbeera eno: Omukadde amala ebiseera bingi ng’ayamba omuweereza mu kibiina okutegeka emboozi ye esookedde ddala. Omuweereza oyo awa bulungi nnyo emboozi ye, era ekyo kisanyusa nnyo ab’oluganda bonna mu kibiina. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, wabaawo ow’oluganda ajja n’agamba omukadde oyo nti: ‘Emboozi y’ow’oluganda gundi ng’ebadde nnungi nnyo!’ Omukadde kimwetaagisa okugamba nti: ‘Ebadde nnungi nnyo kubanga nnamaze ebiseera bingi nnyo nga mmuyamba’? Oba mu bwetoowaze yandigambye nti: ‘Emboozi ye ebadde nnungi nnyo. Mu butuufu tumwenyumiririzaamu nnyo’? Bwe tuba abeetoowaze, tetujja kwagala kutenderezebwa olw’ebintu ebirungi bye tuba tukoledde abalala. Tujja kuba bamativu okukimanya nti Yakuwa alaba bye tukola era abisiima. (Geraageranya Matayo 6:2-4; Beb. 13:16) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukoppa Yesu ne tuba beetoowaze.—1 Peet. 5:6.

BITUYIGIRIZA OKUBA ABASAASIZI

13. Kiki Yesu kye yalaba ng’anaatera okutuuka ku mulyango gw’ekibuga Nayini, era kiki kye yakolawo? (Lukka 7:11-15)

13 Soma Lukka 7:11-15. Lowooza ku mbeera eno eyaliwo nga waakayita emyaka ng’ebiri bukya Yesu atandika obuweereza bwe ku nsi. Yesu yali agenda mu kibuga ky’e Ggaliraaya ekiyitibwa Nayini, ekyali okumpi n’akabuga Sunemu nnabbi Erisa gye yazuukiririza omwana w’omukazi omu emyaka nga 900 emabega. (2 Bassek. 4:32-37) Yesu bwe yali anaatera okutuuka ku mulyango gw’ekibuga ekyo, yalaba abaali basitudde omulambo nga bafuluma mu kibuga okugenda okuziika. Ennaku yali ya maanyi nnyo kubanga omuvubuka gwe baali bagenda okuziika ye yali omwana yekka ow’omukazi eyali nnamwandu. Yesu yatuukirira abantu abo n’akolera omukyala oyo eyali mu nnaku ey’amaanyi ekintu ekirungi ennyo. Yazuukiza omwana we! Guno gwe mulundi ogusooka ku mirundi esatu Yesu gye yazuukiza abantu egyogerwako mu bitabo by’Enjiri.

Koppa Yesu ng’obudaabuda abo ababa bafiiriddwako abantu baabwe (Laba akatundu 14-16)

14. Ebimu ku bintu bye twetegerezza mu kyamagero ekyogerwako mu Lukka essuula 7 bye biruwa? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Weetegereze ebimu ku ebyo ebyaliwo nga Yesu akola ekyamagero ekyo ekyogerwako mu Lukka essuula 7. Okirabye nti Yesu “bwe yalaba” omukyala oyo eyali omunakuwavu ennyo olw’okufiirwa omwana we, ‘yamusaasira’? (Olunyiriri 13) Oboolyawo bwe yalaba omukyala oyo ng’akulembeddemu abo abaali basitudde omulambo gw’omwana we ng’agenda akaaba, yakwatibwako nnyo era n’amusaasira. Yesu teyakoma ku kukwatirwa mukyala oyo kisa, wabula alina kye yakolawo ekyalaga nti yali amusaasira. Yayogera naye, kirabika mu ngeri ezzaamu amaanyi, n’amugamba nti: “Lekera awo okukaaba.” Oluvannyuma yazuukiza omuvubuka “n’amuwa nnyina.”—Olunyiriri 14, 15.

15. Kiki kye tuyigira ku kyamagero Yesu kye yakola?

15 Ekyamagero Yesu kye yakola eky’okuzuukiza omwana wa nnamwandu kituyigiriza ki? Kituyigiriza okusaasira abo ababa bafiiriddwako abantu baabwe. Kyo kituufu nti tetusobola kuzuukiza bafu nga Yesu bwe yakola. Naye bwe tufuba okwetegereza, tusobola okubaako kye tukolawo okulaga nti tubasaasira. Tusobola okwogera nabo ebigambo ebizzaamu amaanyi oba okubaako bye tubakolera okubayamba n’okubabudaabuda. d (Nge. 17:17; 2 Kol. 1:3, 4; 1 Peet. 3:8) N’ebintu ebirabika ng’ebitono bye twogera oba bye tukola, bikola kinene nnyo mu kugumya abantu abo.

16. Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi, kiki ky’oyigidde ku mwannyinaffe eyali yaakafiirwa omwana we?

16 Lowooza ku kino ekyaliwo. Mwannyinaffe omu bwe yali mu lukuŋŋaana ng’oluyimba luyimbibwa, yalengera mwannyinaffe omulala ng’akaaba. Oluyimba olwo lwali lwogera ku ssuubi ery’okuzuukira, era mwannyinaffe eyali akaaba yali yaakafiirwa omwana we. Ekyo mwannyinaffe bwe yakiraba, mangu ddala yagenda w’ali n’amukwatako ne bayimbira wamu. Oluvannyuma mwannyinaffe eyafiirwa muwala we yagamba nti: “Nnawulira nga nneeyongedde okwagala ennyo ab’oluganda.” Yasiima nnyo okuba nti yali agenze mu nkuŋŋaana. Era yagamba nti: “Eyo ku Kizimbe ky’Obwakabaka we wali obuyambi bwe twetaaga.” Tuli bakakafu nti Yakuwa alaba era asiima nnyo n’ebintu ebirabika ng’ebitono bye tukola okubudaabuda abo ababa ‘bamenyese omutima.’—Zab. 147:3.

OKWESOMESA OKUJJA OKWONGERA OKUNYWEZA OKUKKIRIZA KWO

17. Biki bye tuyize mu kitundu kino?

17 Okusoma ebikwata ku byamagero Yesu bye yakola kinyweza nnyo okukkiriza kwaffe. Ebyamagero ebyo bituyamba okukiraba nti Yakuwa ne Yesu batwagala nnyo, nti Yesu asobola okumalawo ebizibu byonna abantu bye boolekagana nabyo, era nti ebintu ebirungi Yakuwa by’atusuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso bijja kutuukirira, Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi mu bujjuvu. Bwe tuba tusoma ku byamagero ebyo, kikulu okufumiitiriza ku ngeri gye tuyinza okukoppa engeri za Yesu. Waayo ebiseera okwekenneenya ebyamagero Yesu bye yakola, oba mubyekenneenye mu kusinza kw’amaka. Weetegereze ebyo by’oyinza okubiyigirako, era obibuulireko abalala. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba na bingi ebizimba eby’okunyumiza abalala!—Bar. 1:11, 12.

18. Biki bye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Ekyamagero eky’okusatu Yesu kye yakola eky’okuzuukiza abafu, yakikola anaatera okumaliriza obuweereza bwe ku nsi. Naye kino kyali kya njawulo nnyo ku birala, kubanga oyo gwe yazuukiza yali mukwano gwe ow’oku lusegere era embeera eyaliwo ng’amuzuukiza yali ya njawulo nnyo. Biki bye tuyigira ku kyamagero ekyo? Era tuyinza tutya okwongera okunyweza essuubi lye tulina mu kuzuukira? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 20 Wawaayo Omwana Wo gw’Oyagala Ennyo

a Tukwatibwako nnyo bwe tusoma ku byamagero Yesu bye yakola. Ng’ekyokulabirako, yakkakkanya omuyaga, yawonya abalwadde, yazuukiza n’abafu! Ng’oggyeeko okuba nti tukwatibwako nnyo nga tusomye ku byamagero ebyo, era waliwo bingi bye tubiyigirako. Mu kitundu kino tugenda kulabayo ebimu ku byamagero ebyo n’ekyo kye bituyigiriza ku Yakuwa ne Yesu. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okubakoppamu.

b Omwekenneenya omu owa Bayibuli agamba nti: “Abantu mu biseera by’edda baalinga bakitwala nti kikulu nnyo okusembeza abagenyi. Omuntu eyasembezanga abagenyi, nnaddala ku mbaga, yakakasanga nti baba n’eby’okulya awamu n’eby’okunywa bingi ddala.”

c Ebitabo by’Enjiri byogera ku byamagero ebirala Yesu bye yakola ebisukka mu 30. Waliwo n’ebyamagero ebirala bingi bye yakola naye nga Bayibuli tebyogerako kinnakimu. Ng’ekyokulabirako, lumu ‘abantu bonna’ ab’omu kibuga ekimu bajja gy’ali “n’awonya bangi abaalina endwadde.”—Mak. 1:32-34.

d Okusobola okumanya ebyo by’osobola okwogera oba okukola okubudaabuda abo ababa bafiiriddwako abantu baabwe, laba ekitundu “Budaabuda Abafiiriddwa, nga Yesu bwe Yakola,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1, 2011.

e EKIFAANANYI: Abagole n’abantu abaayitiddwa ku mbaga nga banywa omwenge omulungi, era Yesu ayimiridde kumpi awo.