Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa
Oganyulwa mu ngeri ennyiriri ezitali zimu mu Bayibuli gye zinnyonnyolwa mu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza?
Ebyawandiikibwa binnyonnyolwa mu ngeri etuyamba okweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda. Mu kunnyonnyola okwo tuyambibwa okutegeera embeera ezaaliwo ebintu ebiba byogerwako mu nnyiriri ezimu we byabeererawo, ensonga lwaki ennyiriri ezo zaawandiikibwa, baani be zikwatako, oba amakulu g’ebigambo ebimu.
Bw’oba obikkudde Bayibuli eri mu Watchtower ONLINE LIBRARY™ ne ku JW Library® osobola okutuuka butereevu ku bitabo ebyogera ku lunyiriri lw’oba oliko ebiri mu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Ebitabo ebyo oba obiraba awo ku bbali awalagirwa ebikwata ku buli lunyiriri oluba mu ssuula ya Bayibuli gy’oba oguddewo.
Bw’oba okozesa ebitabo ebyo ebiba biragiddwa, weetegereze ekiseera we byafulumira. Ebipya bye biba bisooka waggulu. Ebyo ebisembayo wansi biyinza okuba nga birimu ebintu ebikadde era nga byakyusibwamu mu bitabo ebipya.
Ku Watchtower ONLINE LIBRARY osobola okubikkula butereevu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, n’olaba engeri ennyiriri ezitali zimu mu Bayibuli gye zinnyonnyolwamu.
Okusobola okunyiga ku lunyiriri lwonna mu Bayibuli mu JW Library n’oba ng’otuuka butereevu ku Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, olina okuba nga wakiwanula era ng’owanula n’ebintu ebipya ebiba biteekeddwayo.